Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ETTEREKERO LYAFFE

‘Twavaawo nga Tuli Bamalirivu Nnyo’

‘Twavaawo nga Tuli Bamalirivu Nnyo’

KU LWOKUTAANO ku makya abantu nga 8,000 be baali bamaze okuyingira mu kizimbe omwali olukuŋŋaana olunene olwaliwo mu Ssebutemba 1922. Wadde obudde bwali bukyali bwa ku makya, ebbugumu lyali lingi munda mu kizimbe. Ssentebe yalangirira nti mu kitundu ekyo eky’oku makya ekyali ekikulu ennyo, omuntu yenna yali wa ddembe okufuluma naye yali tajja kukkirizibwa kuddamu kuyingira mu kizimbe.

Ennyimba ez’okutendereza zaasooka ne ziyimbibwa era oluvannyuma Ow’oluganda Joseph F. Rutherford yagenda ku katuuti. Abantu abasinga obungi baali bulindaala nga balindirira ekiddako. Ate abalala abatonotono baali bayimiridde nga bawejjawejja olw’ebbugumu eringi. Omwogezi yabagamba nti batuule wansi bawulirize. Simanyi obanga waliwo omuntu n’omu eyasobola okulaba olugoye olwali luzingiddwako obulungi nga lulengejja waggulu ku siteegi.

Ow’oluganda Rutherford yayogera ku mutwe ogugamba nti, “Obwakabaka obw’omu ggulu busembedde.” Yamala essaawa ng’emu n’ekitundu ng’annyonnyola engeri bannabbi ab’edda gye baalangirira n’obuvumu okujja kw’Obwakabaka. Bwe yali anaatera okumaliriza, yabuuza nti, “Mukkiriza nti Kabaka ow’ekitiibwa atandise okufuga?” Abantu bonna baddamu mu ddoboozi ery’omwanguka nti: “Yee!”

Ow’oluganda Rutherford yayogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti: “Muddeeyo mubuulire, mmwe abaana ba Katonda asingayo okuba waggulu! Mulabe, Kabaka afuga! Mmwe b’alonze okumanyisa abalala ebimukwatako. N’olwekyo, mulangirire, mulangirire, mulangirire.”

Mu kaseera ako, olugoye olwali luzingiddwa nga lulengejjera waggulu lweyanjuluza, era lwaliko ebigambo ebigamba nti: “Mulangirire Kabaka n’obwakabaka bwe.”

Ray Bopp yagamba nti: “Abantu bonna baacamuka nnyo.” Anna Gardner ye yagamba nti: “Abantu bwe baakuba mu ngalo ne bayimusa amaloboozi, emirabba gyenyeenya.” Fred Twarosh yagamba nti: “Abantu bonna baayimuka omulundi gumu.” Ate ye Evangelos Scouffas yagamba nti: “Waali ng’awaaliwo amaanyi agaatusitula mu bifo byaffe. Twayimirira nga tukulukusa amaziga ag’essanyu.”

Abantu abasinga obungi abaaliwo ku lukuŋŋaana olwo baali baatandika dda okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka. Naye kati baali bawulira nga bazziddwamu nnyo amaanyi. Ethel Bennecoff yagamba nti: “Abayizi ba Bayibuli baava ku lukuŋŋaana olwo nga bamalirivu nnyo okubuulira.” Odessa Tuck, mu kiseera ekyo eyalina emyaka 18, yava ku lukuŋŋaana olwo nga mumalirivu okugenda yonna Yakuwa gye yandimutumye. Yagamba nti: “Nnali simanyi wa Yakuwa gye yandintumye. Naye kye nnali mmanyi kiri nti nnali njagala okubeera nga Isaaya eyagamba nti: “Nzuuno! Ntuma!” (Isa. 6:8) Ralph Leffler yagamba nti: “Kumpi olwo lwe lunaku abantu ba Katonda lwe baatandikira ddala okukola n’obunyiikivu omulimu gw’okubuulira kati ogubunye mu nsi yonna.”

N’olwekyo, tekyewuunyisa nti olukuŋŋaana olwo olunene olwali mu Cedar Point, Ohio mu 1922, lwa byafaayo nnyo eri abantu ba Yakuwa! George Gangas yagamba nti, “Olukuŋŋaana olwo lwandeetera okuba omumalirivu obutasubwa lukuŋŋaana lwonna olunene.” Mu butuufu talina lukuŋŋaana na lumu lwe yasubwa. Julia Wilcox yagamba nti: “Olukuŋŋaana olunene olwali mu Cedar Point mu 1922 buli lwe balwogerako mu bitabo byaffe, kindeetera essanyu lingi. Nneebaza nnyo Yakuwa olw’okunsobozesa okulubeerako.”

Bangi ku ffe tulina enkuŋŋaana ennene ze tujjukira ezaatukwatako ennyo era ezaatuleetera okwongera okwagala Katonda waffe Yakuwa awamu ne Kabaka waffe Yesu. Bwe tuzifumiitirizaako, naffe twebaza nnyo Yakuwa olw’okutusobozesa okuzibaako.