Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Yamba Abagwira Okuweereza Yakuwa n’Essanyu

Yamba Abagwira Okuweereza Yakuwa n’Essanyu

“Yakuwa akuuma abagwira.”​—ZAB. 146:9.

ENNYIMBA: 84, 73

1, 2. (a) Bizibu ki abamu ku bakkiriza bannaffe bye boolekagana nabyo? (b) Bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu mu kitundu kino?

 OW’OLUGANDA ayitibwa Lije agamba nti: “Olutalo bwe lwabalukawo mu Burundi, nze n’ab’eka twali ku lukuŋŋaana olunene. Twagenda okulaba ng’abantu badduka era twawulira ng’amasasi gavuga. Nze, bazadde bange, ne baganda bange ekkumi twadduka okusobola okutaasa obulamu bwaffe era tetwalina kantu konna okuggyako engoye ze twalimu. Abamu ku b’eka baasobola okutuuka mu kambi y’abanoonyi b’obubudamu mu Malawi. Okusobola okutuukayo baatindigga olugendo lwa mayiro ezisukka mu 1,000. Naye abamu ku ffe buli omu yakwata lirye.”

2 Okwetooloola ensi waliwo abantu nga 65,000,000 abadduka mu maka gaabwe olw’entalo oba olw’okuyigganyizibwa, era omuwendo guno gwe gukyasinzeeyo obunene mu byafaayo. * Mu bantu abo mulimu n’Abajulirwa ba Yakuwa bangi. Bangi ku bo bafiiriddwa ab’eŋŋanda zaabwe n’ebintu byabwe. Bizibu ki ebirala abanoonyi b’obubudamu bye boolekagana nabyo? Tuyinza tutya okuyamba bakkiriza bannaffe abo ‘okuweereza Yakuwa n’essanyu’ wadde nga boolekagana n’okusoomooza okutali kumu? (Zab. 100:2) Era tuyinza tutya okubuulira abanoonyi b’obubudamu abatannamanya bikwata ku Yakuwa?

EMBEERA ABANOONYI B’OBUBUDAMU GYE BAYITAMU

3. Yesu n’abamu ku bayigirizwa be baafuuka batya abanoonyi b’obubudamu?

3 Malayika wa Yakuwa bwe yalabula Yusufu nti Kabaka Kerode yali ayagala kutta Yesu, Yesu ne bazadde be baddukira mu Misiri okufuna obubudamu. Baasigala mu Misiri okutuusa Kerode bwe yafa. (Mat. 2:13, 14, 19-21) Nga wayise emyaka mingi, abayigirizwa ba Yesu abaasooka baasaasaanira “mu bitundu by’e Buyudaaya n’e Samaliya” olw’okuyigganyizibwa. (Bik. 8:1) Yesu yakiraga nti bangi ku bagoberezi be bandiwaliriziddwa okudduka mu maka gaabwe. Yagamba nti: “Bwe babayigganyanga mu kibuga ekimu, muddukiranga mu kirala.” (Mat. 10:23) Ka kibe ki ekiba kiviiriddeko omuntu okufuuka omunoonyi w’obubudamu, embeera abanoonyi b’obubudamu gye bayitamu teba nnyangu.

4, 5. Buzibu ki abanoonyi b’obubudamu bwe boolekagana nabwo (a)  nga badduka? (b) nga bali mu nkambi?

4 Abanoonyi b’obubudamu bwe baba baddukira mu bitundu ebirala oba nga bali mu nkambi, boolekagana n’embeera ezissa obulamu bwabwe mu kabi. Gad, muto Lije, agamba nti: “Twatambula okumala wiiki eziwera nga tuyita ku mirambo. Mu kiseera ekyo nnalina emyaka 12. Ebigere byange byazimba ne ŋŋamba ab’eka bandeke bo beeyongereyo. Taata yali tasobola kundeka bayeekera bantuuseeko obulabe era bw’atyo yansitula. Twasabanga Yakuwa era ne tumwesiga. Era okusobola okubaawo oluusi twalyanga miyembe gye twasanganga ku makubo.”​—Baf. 4:12, 13.

5 Bangi ku b’eŋŋanda za Lije baamala emyaka mingi nga bali mu nkambi z’abanoonyi b’obubudamu, naye embeera teyali nnyangu. Lije, kati aweereza ng’omulabirizi akyalira ebibiina agamba nti: “Abantu abasinga tebaalina mirimu. Abantu bangi baddanga mu lugambo, baatamiiranga, baakubanga zaala, babbanga, era baali bagwenyufu.” Okusobola okwewala okutwalirizibwa empisa ezo embi, Abajulirwa ba Yakuwa baalina okufuba okwemalira ku bintu eby’omwoyo. (Beb. 6:11, 12; 10:24, 25) Bangi ku bo baasalawo okutandika okuweereza nga bapayoniya. Era ekintu ekirala ekyabayamba kwe kuba n’essuubi nti, okufaananako Abayisirayiri mu ddungu, ekiseera kyandituuse ne bava mu nkambi y’abanoonyi b’obubudamu.​—2 Kol. 4:18.

OKULAGA ABANOONYI B’OBUBUDAMU OKWAGALA

6, 7. (a) Okwagala Abakristaayo kwe balina eri Katonda kubaleetera kuyisa batya baganda baabwe ababa mu bwetaavu? (b) Waayo ekyokulabirako.

6 Tukiraga nti twagala Katonda nga tulaga baganda baffe abali mu mbeera enzibu okwagala. (Soma 1 Yokaana 3:17, 18.) Enjala bwe yakosa Abakristaayo abaali mu Buyudaaya mu kyasa ekyasooka, ekibiina kyakola enteekateeka okuyamba Abakristaayo abo. (Bik. 11:28, 29) Omutume Pawulo ne Peetero baakubiriza Abakristaayo okusembezanga bakkiriza bannaabwe mu maka gaabwe. (Bar. 12:13; 1 Peet. 4:9) Bwe kiba nti Abakristaayo basembeza ab’oluganda ababa bakyalidde ebibiina mu maka gaabwe, tebandifubye n’okusingawo okusembeza bakkiriza bannaabwe ababa mu buzibu oba abayigganyizibwa olw’okuweereza Yakuwa!​—Soma Engero 3:27. *

7 Gye buvuddeko awo Abajulirwa ba Yakuwa bangi, nga mwe muli abasajja, abakazi, n’abaana, mu bavanjuba bwa Ukraine badduka mu kitundu ekyo olw’olutalo n’okuyigganyizibwa ebyaliyo. Eky’ennaku, abamu ku bo battibwa. Naye Abajulirwa ba Yakuwa bangi mu bitundu bya Ukraine ebirala ne mu Russia baasembeza baganda baabwe abo mu maka gaabwe. Abajulirwa ba Yakuwa mu nsi ezo zombi tebeenyigira mu bya bufuzi olw’okuba ‘si ba nsi.’ Era bafuba ‘okulangirira amawulire amalungi ag’ekigambo kya Katonda.’​—Yok. 15:19; Bik. 8:4.

OKUYAMBA ABANOONYI B’OBUBUDAMU OKUNYWEZA OKUKKIRIZA KWABWE

8, 9. (a) Bizibu ki abanoonyi b’obubudamu bye bayinza okwolekagana nabyo mu nsi mwe baba baddukidde? (b) Lwaki tusaanidde okuba abagumiikiriza nga tubayamba?

8 Wadde ng’abantu abamu badduka okuva mu kitundu ekimu eky’ensi yaabwe okudda mu kirala, abantu abasinga obungi badduka okuva mu nsi yaabwe ne bagenda mu nsi endala. Oluusi gavumenti ziwa abantu abo emmere, eby’okwambala, n’aw’okusula, naye emmere abantu abo gye baba baamanyiira si gye batera okubawa. Abanoonyi b’obubudamu abava mu nsi ez’ebbugumu oluusi baba tebabeerangako mu bunnyogovu era nga tebamanyi ngeri ya kwambalamu mu mbeera ng’eyo. Bwe baba baava mu byalo, bayinza obutamanya ngeri ya kukozesaamu bintu eby’omulembe ebikozesebwa mu mayumba ag’omu bibuga.

9 Gavumenti ezimu zirina enteekateeka ey’okuyamba abanoonyi b’obubudamu okumanyiira embeera empya gye baba bazzeemu. Naye mu myezi mitono baba basuubirwa okuba nga basobola okweyimirizaawo ku lwabwe. Oluusi ekyo tekiba kyangu. Kirowoozeeko: bangi mu kiseera kye kimu baba balina okuyiga olulimi olupya, okumanya amateeka g’ensi, empisa z’omu kitundu, okukwata obudde, okusasula emisolo, okusasula ebisale by’essomero, n’engeri y’okukangavvulamu abaana. Tusaanidde okuba abagumiikiriza nga tuyamba bakkiriza bannaffe abali mu mbeera ng’eyo.​—Baf. 2:3, 4.

10. Tuyinza tutya okuyamba bakkiriza bannaffe abanoonyi b’obubudamu okunyweza okukkiriza kwabwe? (Laba ekifaananyi ku lupapula 3.)

10 Oluusi ab’obuyinza bakifuula kizibu eri baganda baffe abanoonyi b’obubudamu okuzuula bakkiriza bannaabwe. Ebitongole ebimu bitiisatiisa okulekera awo okuyamba baganda baffe oba okubamma olukusa okubeera mu nsi mwe baba baddukidde singa bagaana okukkiriza okukola emirimu egibalemesa okugenda mu nkuŋŋaana. Oluusi okutya kuleetedde baganda baffe okwekkiriranya. N’olwekyo kikulu nnyo okufuba okuzuula bakkiriza bannaffe abanoonyi b’obubudamu amangu ddala nga baakatuuka mu nsi yaffe. Basaanidde okukiraba nti tubafaako. Bwe tulaga nti tubafaako, kiyinza okunyweza okukkiriza kwabwe.​—Nge. 12:25; 17:17.

OKUYAMBA ABANOONYI B’OBUBUDAMU

11. (a) Mu kusooka biki bye tuyinza okukolera abanoonyi b’obubudamu? (b) Abanoonyi b’obubudamu bayinza batya okukyoleka nti basiima?

11 Mu kusooka, kiyinza okutwetaagisa okuyamba baganda baffe nga tubawaayo ku mmere, engoye, n’ebintu ebirala ebyetaagisa. * N’ebintu ebitono ng’okuwa ow’oluganda ettaayi, bikola kinene nnyo. Ate era singa ab’oluganda abanoonyi b’obubudamu bakiraga nti basiima ebyo bye babawa, ne batakitwala nti baganda baabwe bateekeddwa okubawa, kiyamba bakkiriza bannaabwe okufuna essanyu eriva mu kugaba. Mu butuufu, abanoonyi b’obubudamu bwe bamala ekiseera ekiwanvu nga buli kimu babawa kiwe, kisobola okubaleetera okuwulira nga baweddemu ekitiibwa era kisobola okwonoona enkolagana yaabwe ne bakkiriza bannaabwe. (2 Bas. 3:7-10) Wadde kiri kityo, waliwo ebirala bye tusobola okukola okuyamba baganda baffe ng’abo.

Tuyinza tutya okuyamba bakkiriza bannaffe abanoonyi b’obubudamu? (Laba akatundu 11-13)

12, 13. (a) Biki bye tusobola okukola okuyamba abanoonyi b’obubudamu? (b) Waayo ekyokulabirako.

12 Okusobola okuyamba abanoonyi b’obubudamu tekitwetaagisa kuba na ssente nnyingi, naye okusingira ddala kitwetaagisa okuwaayo ebiseera byaffe n’okubafaako. Kiyinza okukwetaagisa okubayamba okumanya ebikwata ku ntambula eya lukale, wa gye bayinza okugula emmere ennungi ku ssente entono, oba engeri gye bayinza okufunamu ebintu ebiyinza okubayamba okweyimirizaawo, gamba ng’ekyalaani oba akuuma akasaawa omuddo. N’ekisinga obukulu, osaanidde okubayamba okwenyigira mu bujjuvu mu mirimu gy’ekibiina mwe baba bazze. Bwe kiba kisoboka, batwalengako mu nkuŋŋaana. Era bayambe okumanya engeri gye bayinza okutuukiriramu abantu nga babuulira. Buulirako wamu n’ab’oluganda abanoonyi b’obubudamu.

13 Abavubuka bana abanoonyi b’obubudamu bwe baatuuka mu kibiina ekimu, abakadde abatali bamu baabayigiriza okuvuga emmotoka, okukuba tayipu, okuwandiika amabaluwa agasaba emirimu, n’okumanya engeri gye bayinza okukozesa obulungi ebiseera byabwe ne basobola okweyongera okuweereza Yakuwa mu bujjuvu. (Bag. 6:10) Oluvannyuma, abavubuka abo bonna abana baatandika okuweereza nga bapayoniya. Obuyambi obwo abakadde bwe baabawa awamu n’okufuba bo bennyini kwe baateekamu okukulaakulana mu by’omwoyo, byabayamba obutawugulibwa nsi ya Sitaani.

14. (a) Kikemo ki abanoonyi b’obubudamu kye balina okuziyiza? (b) Waayo ekyokulabirako.

14 Okufaananako Abakristaayo abalala bonna, ab’oluganda abanoonyi b’obubudamu basaanidde okwegendereza baleme kutwalirizibwa mwoyo gwa kwagala bintu, ekintu ekiyinza okwonoona enkolagana yaabwe ne Yakuwa. * Lije ne baganda be bajjukira engeri taata waabwe gye yabayambamu okuba n’okukkiriza okw’amaanyi bwe baali badduka. Bagamba nti: “Taata yagenda asuula ebintu bye twali tuteetaaga, kimu ku kimu. Oluvannyuma yakwata ensawo enjereere n’agitulaga nga bw’amwenya, n’atugamba nti: ‘Kino kyokka kye mwetaaga!’”​—Soma 1 Timoseewo 6:8.

OKUKOLA KU BWETAAVU BW’ABANOONYI B’OBUBUDAMU OBUSINGAYO OBUKULU

15, 16. Abanoonyi b’obubudamu tuyinza tutya (a) okubayamba mu by’omwoyo? (b) okufaayo ku nneewulira zaabwe?

15 Ng’oggyeeko okuyamba abanoonyi b’obubudamu mu byetaago byabwe eby’omubiri, kikulu nnyo okubayamba mu by’omwoyo n’okufaayo ku nneewulira yaabwe. (Mat. 4:4) Abakadde basobola okubayamba nga babafunira ebitabo mu nnimi zaabwe oba nga babayamba okumanya ab’oluganda aboogera olulimi lwabwe. Abanoonyi b’obubudamu bangi baawalirizibwa okuleka ab’eŋŋanda zaabwe, okuva mu bitundu byabwe, n’okuva mu bibiina byabwe. Engeri gye tubayisaamu esaanidde okubayamba okukiraba nti Yakuwa abaagala era nti abafaako. Bwe tutabafaako, kisobola okubaleetera okukola omukwano ogw’oku lusegere n’ab’eŋŋanda zaabwe oba n’abantu abalala abaava mu nsi yaabwe abatasinza Yakuwa. (1 Kol. 15:33) Bwe tukiraga nti tubafaako, tuba tukolera wamu ne Yakuwa mu ‘kukuuma abagwira.’​—Zab. 146:9.

16 Okufaananako Yesu ne bazadde be, bakkiriza bannaffe abanoonyi b’obubudamu bayinza obutasobola kuddayo mu nsi yaabwe okutuusa ng’abo abaali babanyigiriza bavudde mu buyinza. Ate era, nga Lije bwe yagamba, “abazadde bangi abaalaba abamu ku b’omu maka gaabwe nga bakwatibwa oba nga battibwa, kisobola obutabanguyira kuddayo mu nsi ebintu ebyo gye byali.” Okusobola okuyamba bakkiriza bannaffe ng’abo, ab’oluganda abali mu nsi abanoonyi b’obubudamu gye baddukira balina ‘okulumirirwa bakkiriza bannaabwe, okubaagala, okubasaasira, era balina okuba abeetoowaze.’ (1 Peet. 3:8) Embeera enzibu abanoonyi b’obubudamu gye baayitamu eyinza okubaleetera okwennyamira, era bayinza okuwulira nga baswala okuginyumyako, naddala ng’abaana baabwe bawulira. Weebuuze, ‘Singa nze mbadde mu mbeera ng’eyo, abalala nnandyagadde bampise batya?’​—Mat. 7:12.

ABANOONYI B’OBUBUDAMU ABATALI BAJULIRWA BA YAKUWA

17. Okubuulira abanoonyi b’obubudamu kibayamba kitya?

17 Bangi ku banoonyi b’obubudamu bava mu nsi omulimu gwaffe ogw’okubuulira gye gwawerebwa. Naye kisanyusa okukimanya nti Abajulirwa ba Yakuwa abanyiikivu bayambye abantu ng’abo okuwulira “ekigambo ky’Obwakabaka.” (Mat. 13:19, 23) Bangi ku abo “abazitoowereddwa” bazzibwamu amaanyi mu by’omwoyo bwe bajja mu nkuŋŋaana zaffe era bakiraba nti, “ddala Katonda ali mu [ffe].”​—Mat. 11:28-30; 1 Kol. 14:25.

18, 19. Tuyinza tutya okwoleka amagezi nga tubuulira abanoonyi b’obubudamu?

18 Bw’oba obuulira abanoonyi b’obubudamu osaanidde okuba omwegendereza era n’okukozesa amagezi. (Mat. 10:16; Nge. 22:3) Bawulirize bulungi nga baliko bye bakugamba, era weewale okwogera nabo ku by’obufuzi. Goberera obulagirizi obuweebwa ofiisi y’ettabi n’ab’obuyinza ab’omu kitundu; weewale okwesuula oba okusuula abalala mu mitawaana. Manya enzikiriza z’abanoonyi b’obubudamu era ssa ekitiibwa mu ebyo bye bakkiririzaamu awamu n’obuwangwa bwabwe. Ng’ekyokulabirako, abantu ab’omu nsi ezimu bafaayo ekisukkiridde ku ngeri abakazi gye balina okwambalamu. N’olwekyo, bw’oba ogenda okubuulira abanoonyi b’obubudamu, yambala mu ngeri eteebanyiize.

19 Okufaananako Omusamaliya omulungi Yesu gwe yayogerako, tusaanidde okuyamba abantu ababonaabona, omuli n’abo abatali Bajulirwa ba Yakuwa. (Luk. 10:33-37) Engeri esingayo obulungi gye tusobola okubayambamu kwe kubabuulira amawulire amalungi. Omukadde omu ayambye abanoonyi b’obubudamu abawerako yagamba nti: “Kikulu nnyo okutegeerezaawo abanoonyi b’obubudamu nti tuli Bajulirwa ba Yakuwa era nti ekigendererwa kyaffe ekikulu kwe kuyamba abantu mu by’omwoyo, so si mu by’omubiri. Ekyo bwe tutakikola, abamu bayinza okukuŋŋaana naffe nga balina ekigendererwa eky’okubaako bye bafuna.”

EBIRUNGI EBIVAAMU

20, 21. (a) Birungi ki ebiva mu kulaga Abakristaayo abanoonyi b’obubudamu okwagala? (b) Kiki kye tujja okulaba mu kitundu ekiddako?

20 Okulaga “abagwira” okwagala kivaamu ebirungi. Mwannyinaffe ayitibwa Alganesh bwe yafiirwa omwami we, yadduka mu Eritrea n’abaana be omukaaga, olw’okuyigganyizibwa okwaliyo. Oluvannyuma lw’okutambula okumala ennaku munaana nga bayita mu ddungu, batuuka mu Sudan. Agamba nti: “Ab’oluganda mu Sudan baatuyisa ng’ab’eŋŋanda zaabwe, baatuwa emmere, eby’okwambala, aw’okusula, era baatuyamba mu by’entambula. Tewali bantu balala basobola kusembeza batyo bantu be batamanyi mu maka gaabwe olw’okuba nti basinza Katonda y’omu. Abajulirwa ba Yakuwa bokka be basobola okukola ekyo.”​—Soma Yokaana 13:35.

21 Ate bo abaana b’abanoonyi b’obubudamu n’abaabo ababa basengukidde mu nsi endala? Mu kitundu ekiddako tujja kulaba engeri ffenna gye tusobola okubayambamu okuweereza Yakuwa n’essanyu.

^ lup. 2 Mu kitundu kino, ebigambo “abanoonyi b’obubudamu” bikozesebwa okutegeeza abantu ababa badduse mu nsi yaabwe ne bagenda mu nsi endala oba ababa bavudde mu kitundu ekimu eky’ensi yaabwe ne bagenda mu kirala olw’entalo, olw’okuyigganyizibwa, oba olw’obutyabaga obugwawo. Kigambibwa nti leero omuntu omu ku buli bantu 113 munoonyi wa bubudamu.

^ lup. 6 Laba ekitundu “Temwerabiranga Okulaga Abantu Be Mutamanyi Ekisa” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Okitobba 2016, lup. 8-12.

^ lup. 11 Amangu ddala ng’abanoonyi b’obubudamu baakatuuka mu nsi, abakadde basaanidde okugoberera obulagirizi obuli mu katabo Tutegekeddwa Okukola Yakuwa by’Ayagala, essuula 8, akatundu 30. Basobola okukozesa jw.org okuwuliziganya ne ofiisi y’ettabi ab’oluganda abo gye baba bavudde. Nga bwe balinda ebyo ofiisi y’ettabi by’eneebaddamu, abakadde basobola okugezaako okumanya ebikwata ku mbeera y’abanoonyi b’obubudamu ey’eby’omwoyo nga babaako ebibuuzo bye bababuuza mu ngeri ey’amagezi.