Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
Abantu be baagunjaawo amadiini?
ABANTU ABAMU BAGAMBA NTI abantu be baagunjaawo amadiini; abalala bagamba nti Katonda akozesa amadiini okuyamba abantu okumanya ebimukwatako. Ggwe olowooza otya?
BAYIBULI KY’EGAMBA
Waliwo ‘eddiini ennongoofu era etaliiko bbala mu maaso ga Katonda waffe era Kitaffe.’ (Yakobo 1:27, obugambo obuli wansi) Eddiini ennongoofu, oba entuufu, eva eri Katonda.
EBIRALA BYE TUYIGA MU BAYIBULI
Eddiini bw’eba ey’okusanyusa Katonda, by’eyigiriza birina okuba nga bikwatagana n’amazima agali mu Bayibuli.—Yokaana 4:23, 24.
Amadiini agayigiriza endowooza z’abantu tegalina mugaso.—Makko 7:7, 8.
Kyetaagisa omuntu okuba n’eddiini?
GGWE OLOWOOZA OTYA?
Yee
Nedda
Kisinziira
BAYIBULI KY’EGAMBA
“Buli omu ku ffe alowoozenga ku munne, okumukubiriza okwagala n’okukola ebikolwa ebirungi, nga tetulekaayo kukuŋŋaananga wamu.” (Abebbulaniya 10:24, 25) Katonda ayagala abantu okukuŋŋaananga awamu bamusinze.
EBIRALA BYE TUYIGA MU BAYIBULI
Abo abasinza Katonda mu mazima balina okuba nga bye bakkiriza bye bimu.—1 Abakkolinso 1:10, 11.
Abali mu ddiini entuufu baagalana ng’ab’oluganda.—1 Peetero 2:17.