Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ebikolwa eby’Obukambwe Biriggwaawo?

Ebikolwa eby’Obukambwe Biriggwaawo?

Ggwe oba omu ku b’eŋŋanda zo mwali mukoleddwako ekikolwa eky’obukambwe? Otya nti oyinza okukolebwako ebikolwa eby’obukambwe? Abantu bangi bakolebwako ebikolwa eby’obukambwe mu nsi yonna. Lowooza ku byokulabirako bino.

OBUTABANGUKO MU MAKA: Ekibiina ky’Amawanga Amagatte kyafulumya lipooti eraga nti “omukyala omu ku buli bakyala basatu akakibwa omukwano oba atulugunyizibwa omwami we.” Eky’ennaku, “kiteeberezebwa nti mu nsi yonna, omukyala omu ku buli bakyala bataano ayinza okukakibwa omukwano oba ayinza okuwonera awatono okukakibwa omukwano.”

OBUMENYI BW’AMATEEKA: Kigambibwa nti mu Amerika waliyo ebibinja by’abamenyi b’amateeka ebisukka mu 30,000. Mu Amerika ow’ebukiikaddyo, kumpi omuntu omu ku buli bantu basatu yali akoleddwako ekikolwa eky’obukambwe.

ETTEMU: Kiteeberezebwa nti mu 2012, abantu ng’emitwalo ataano be baatemulwa, era ng’omuwendo ogwo gusinga ogw’abo abaafiira mu ntalo. Ettemu lisinga kuba mu Amerika ow’ebukiikaddyo ne mu Amerika ow’omu masekkati. Abantu abatemulwa mu bitundu ebyo basukka mu kimu kya kuna eky’abantu abatemulwa mu nsi yonna. Mu mwaka gumu, abantu abasukka mu 100,000 be baatemulwa mu Amerika ow’omu masekkati, ate mu Brazil mwokka, abantu nga 50,000 be baatemulwa. Ekizibu ekyo kisoboka okugonjoolwa?

EBIKOLWA EBY’OBUKAMBWE BIRIKOMA?

Lwaki waliwo ebikolwa eby’obukambwe bingi? Ebimu ku bintu ebiviirako ebikolwa eby’obukambwe bye bino: obusosoze mu mawanga n’obutali bwenkanya, obutassa kitiibwa mu bulamu bw’abalala, okunywa ennyo omwenge n’okukozesa ebiragalalagala, abaana okulaba ebikolwa eby’obukambwe abantu abakulu bye bakola, n’eky’okuba nti abamenyi b’amateeka oluusi tebabonerezebwa.

Eky’essanyu, mu bitundu ebimu eby’ensi basobodde okulwanyisa obumenyi bw’amateeka. Mu myaka kkumi egiyise, obumenyi bw’amateeka bukendezeddwako ebitundu 80 ku kikumi mu kibuga São Paulo ekya Brazil, ekirimu enkuyanja y’abantu. Wadde kiri kityo, ekibuga ekyo kikyalimu obumenyi bw’amateeka bungi, era abantu 10 ku buli bantu 100,000 batemulwa. Kati olwo ebikolwa eby’obukambwe birimalibwawo bitya?

Ebikolwa eby’obukambwe tebisobola kuggwaawo ng’abantu tebakyusizza ndowooza zaabwe n’engeri gye beeyisaamu. Abantu abakambwe okusobola okukyuka, balina okweggyamu amalala, omululu, n’okwefaako bokka, ne bayiga okwagala abalala, okubassaamu ekitiibwa, n’okubafaako.

Biki ebiyinza okuyamba omuntu okukola enkyukakyuka ezo ez’amaanyi? Ka tulabe Bayibuli ky’egamba:

  • “Okwagala Katonda kitegeeza okukwata ebiragiro bye; era ebiragiro bye tebizitowa.”—1 Yokaana 5:3.

  • “Okutya Yakuwa kwe kukyawa ebintu ebibi.” *Engero 8:13.

Omuntu bw’aba ng’ayagala Katonda era nga tayagala kumunyiiza, asobola okukyusa enneeyisa ye ne bw’aba nga mukambwe nnyo. Ekyo kyali kibaddewo?

Lowooza ku Alex, * eyali amaze emyaka 19 mu kkomera mu Brazil olw’okwenyigira mu bikolwa eby’obukambwe. Yafuuka Omujulirwa wa Yakuwa mu mwaka gwa 2000, oluvannyuma lw’Abajulirwa ba Yakuwa okumuyigiriza Bayibuli. Naye ddala Alex yaleka ebikolwa eby’obukambwe? Yee, kyokka yejjusa nnyo olw’ebintu ebibi bye yakola. Naye agamba nti: “Kati njagala nnyo Katonda olw’okuba muli mpulira nga yansonyiwa. Okwagala ennyo Yakuwa kunnyambye okukyusa enneeyisa yange.”

César, nga naye abeera mu Brazil, yali mu kibinja kya bakkondo ababbisanga emmundu. Yali mu kibinja ekyo okumala emyaka 15. Kiki ekyamuleetera okukyusa enneeyisa ye? Abajulirwa ba Yakuwa baamusanga mu kkomera ne bamubuulira, era n’atandika okuyiga Bayibuli. César agamba nti: “Kati njagala nnyo Katonda era obulamu bwange bulina ekigendererwa. Ate era ntya Katonda—ntya okuddamu okukola ebintu ebimunyiiza. Njagala okulaga nti nsiima nnyo ekisa Katonda kye yandaga. Okwagala Katonda n’okumutya byankubiriza okukyusiza ddala enneeyisa yange.”

Manya engeri gy’oyinza okuba mu nsi etejja kubaamu bikolwa bya bukambwe

Ebyokulabirako ebyo biraga ki? Biraga nti Bayibuli erina amaanyi agasobola okukyusiza ddala endowooza z’abantu ne bakyusa enneeyisa yaabwe. (Abeefeso 4:23) Alex ayogeddwako waggulu, agamba nti: “Bye nnayiga mu Bayibuli byali ng’amazzi amayonjo aganfukibwako, ne gagenda nga gantukuza mpolampola okutuusa ebirowoozo ebibi lwe byanzigwamu. Nnali sisuubira nti nsobola okukola enkyukakyuka mu bulamu bwange.” Bwe tusoma Bayibuli ne tufumiitiriza ku ebyo bye tuba tusomye, kisobola okutuyamba okweggyamu ebirowoozo ebibi. Ekigambo kya Katonda kisobolera ddala okutereeza omuntu. (Abeefeso 5:26) Kisobola okuyamba abantu abakambwe era abeefaako bokka okukyusa enneeyisa yaabwe ne bafuuka abantu ab’ekisa era abasobola okukolagana obulungi n’abalala. (Abaruumi 12:18) Bwe bassa mu nkola bye bayiga mu Bayibuli, bafuna emirembe.—Isaaya 48:18.

Abajulirwa ba Yakuwa abasukka mu bukadde omunaana okuva mu nsi 240 bazudde ekisobola okumalawo ebikolwa eby’obukambwe. Bategedde Katonda, bamwagala, era beewala okukola ebimunyiiza. Ate era baagalana era bali bumu. (1 Peetero 4:8) Obwo bukakafu obulaga nti ebikolwa eby’obukambwe bisobola okuggwaawo mu nsi.

EBIKOLWA EBY’OBUKAMBWE BINAATERA OKUGGWAAWO!

Bayibuli esuubiza nti Katonda anaatera okumalawo ebikolwa byonna eby’obukambwe mu nsi. Ensi ya leero ejjuddemu ebikolwa eby’obukambwe eyolekedde okuzikirizibwa “ku lunaku olw’omusango era olw’okuzikiririzaako abantu abatatya Katonda.” (2 Peetero 3:5-7) Abantu abakola ebikolwa eby’obukambwe tebaliddamu kubonyaabonya balala. Tukakasa tutya nti Katonda ajja kumalawo ebikolwa eby’obukambwe?

Bayibuli egamba nti Katonda “akyawa omuntu yenna ayagala ebikolwa eby’obukambwe.” (Zabbuli 11:5) Omutonzi waffe ayagala emirembe n’obwenkanya. (Zabbuli 33:5; 37:28) Eyo ye nsonga lwaki tajja kuleka bikolwa bya bukambwe kweyongera kukolebwa mirembe gyonna.

Ensi empya ey’emirembe enaatera okutuuka. (Zabbuli 37:11; 72:14) Weeyongere okumanya ebisingawo ebikwata ku ngeri naawe gy’oyinza okubeera mu nsi eyo etejja kubaamu bikolwa bya bukambwe.

^ lup. 14 Amannya gakyusiddwa.