Geraageranya Bayibuli ky’Egamba n’Ebyo by’Okkiririzaamu
OLI Mukristaayo? Bwe kiba bwe kityo, oli omu ku bantu abasukka mu buwumbi bubiri mu nsi yonna abeeyita abagoberezi ba Kristo. Leero waliwo amadiini nkumi na nkumi agagamba nti gagoberera Kristo, kyokka amadiini ago tegali bumu era gayigiriza ebintu ebikontana. N’olwekyo, ebyo by’okkiririzaamu biyinza okuba eby’enjawulo ennyo ku by’abantu abalala abeeyita Abakristaayo. Naye kikulu okufaayo ku ebyo by’okkiririzaamu? Yee, kikulu nnyo bw’oba ng’oyagala okubeera Omukristaayo ow’amazima.
Abagoberezi ba Yesu Kristo abaasooka baayitibwanga ‘Bakristaayo.’ (Ebikolwa 11:26) Kyali tekyetaagisa kubayita mannya malala okusobola okubaawula, kubanga Abakristaayo tebaalimu biwayi bya njawulo. Abakristaayo bonna baali bassa kimu era bonna baagobereranga enjigiriza za Yesu Kristo, eyatandikawo Obukristaayo. Ate kiri kitya mu ddiini yo? Olowooza mu ddiini yo bayigiriza ebyo Kristo bye yayigiriza era abagoberezi ba Kristo abaasooka bye baali bakkiririzaamu? Oyinza otya okukakasa obanga ebiyigirizibwa mu ddiini yo bituufu? Engeri yokka gy’oyinza okukikolamu kwe kukozesa Bayibuli nga minzaani.
Lowooza ku kino: Yesu Kristo yali assa nnyo ekitiibwa mu Kigambo kya Katonda, Bayibuli. Yanenya Makko 7:9-13) N’olwekyo, abagoberezi ba Yesu ab’amazima bayigiriza ebyo byokka ebiri mu Bayibuli. Buli Mukristaayo asaanidde okwebuuza nti, ‘Ebiyigirizibwa mu ddiini yange bikwatagana n’ebyo ebiri mu Bayibuli?’ Okusobola okuddamu ekibuuzo ekyo, geraageranya ebyo ebiyigirizibwa mu ddiini yo n’ebyo Bayibuli by’eyigiriza.
abo abaali bayigiriza obulombolombo bw’abantu mu kifo ky’okuyigiriza ebyo ebiri mu Bayibuli. (Yesu yagamba nti tulina okusinza Katonda mu mazima; amazima gasangibwa mu Bayibuli. (Yokaana 4:24; 17:17) Ate ye omutume Pawulo yagamba nti bwe tuba ab’okulokolebwa, tulina ‘okutegeerera ddala amazima.’ (1 Timoseewo 2:4) N’olwekyo, kikulu nnyo okuba nti ebyo bye tukkiririzaamu bikwatagana n’amazima agali mu Bayibuli; bwe kitaba kityo, tetujja kulokolebwa.
ENGERI GY’OYINZA OKUGERAAGERANYA BAYIBULI KY’EGAMBA N’EBYO BY’OKKIRIRIZAAMU
Tukusaba osome ebibuuzo omukaaga ebiri wammanga era weetegereze engeri Bayibuli gy’ebiddamu. Soma ebyawandiikibwa ebiragiddwa era ofumiitirize ku by’okuddamu ebiweereddwa. Oluvannyuma weebuuze nti, ‘Ebiyigirizibwa mu ddiini yange bikwatagana n’ekyo Bayibuli ky’egamba?’
Ebibuuzo ebyo n’eby’okuddamu ebiweereddwa bijja kukuyamba okugeraageranya obulungi. Wandyagadde okugeraageranya enjigiriza endala ez’eddiini yo n’ekyo Bayibuli ky’egamba? Abajulirwa ba Yakuwa bajja kuba basanyufu nnyo okukuyamba okumanya amazima agali mu Bayibuli. Basabe bakuyigirize Bayibuli ku bwereere, oba genda ku mukutu gwaffe jw.org/lg.