Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Emitindo gy’Empisa Gigenda Giddirira

Emitindo gy’Empisa Gigenda Giddirira

Emitindo gy’Empisa Gigenda Giddirira

“EKINTU ng’ekyo tekyabangawo,” bw’atyo Helmut Schmidt, eyali omukulembeze wa Bugirimaani bwe yagamba. Yali munakuwavu olw’ebikolwa ebitali bya bwesigwa eby’abakungu ebyali bya kabaawo, ebyali omutwe omukulu mu mpa- pula z’amawulire. “Emitindo gy’e- mpisa giweddewo olw’omululu,” bw’atyo bwe yagamba.

Bangi bandikkiriziganyizza naye. Emitindo gy’empisa egyesigamiziddwa ku Kigambo kya Katonda, Baibuli, era egimaze ekiseera ekiwanvu nga gikkirizibwa mu bifo bingi okuba obulagirizi eri ekirungi n’eri ekibi kati tegikyatwalibwa ng’ekikulu. Ekyo bwe kiri ne mu nsi ezikwataganyizibwa n’Obukristaayo.

Emitindo gy’Empisa egy’Omu Baibuli Gisaanira?

Empisa ezeesigamiziddwa ku kuyigiriza kw’omu Baibuli zitwaliramu obwesigwa n’obugolokofu. Kyokka, okubba, obulyi bw’enguzi, n’obukumpanya bicaase nnyo. Olupapula lw’amawulire The Times olw’omu London lugamba nti ba mbega abamu “boogerwako nga ababba sente eziwera pawundi 100,000 buli omu nga batwala amalagala agaba gawambiddwa abapoliisi ate ne bagawa abamenyi b’amateeka okuddamu okugatunda oba ne babuzza obujulizi obukwata ku bumenyi bw’amateeka.” Mu Austria kigambibwa nti obukumpanya mu yinsuwalensi bucaase nnyo. Ate mu Bugirimaani bannasayansi baafuna ekikangabwa abanoonyereza bwe baazuula gye buvuddeko awo “obumu ku bulimba obukyasingidde ddala okuba obw’amaanyi mu sayansi w’omu Bugirimaani.” Profesa omu, “omumanyifu ennyo mu bannasayansi Abagirimaani abakugu ku bikwata ku nkula y’abantu,” yavunaanibwa okujingirira bye yakozesa ku kigero ekinene.

Empisa ezeesigamiziddwa ku Baibuli era zitwaliramu obwesigwa mu bufumbo, obulina okubeera obw’olubeerera. Kyokka, omuwendo gw’abafumbo abagattululwa mu kkooti gweyongera okuba omunene. Olupapula olw’amawulire olw’Abakatoliki oluyitibwa Christ in der Gegenwart

(Omukristaayo ow’Omu Kiseera Kyo) lugamba nti “wadde mu Switzerland ensi enywerera ku mitindo egy’edda, obufumbo bweyongedde okusasika.” Ate mu Netherlands, ebitundu 33 ku buli kikumi eby’abafumbo bagattululwa. Omukyala omu eyeetegereza enkyukakyuka mu mbeera z’abantu mu Bugirimaani mu myaka emitono egiyise yawandiika bw’ati: “Obufumbo kati butwalibwa ng’ekintu ekitakyali ku mulembe. Abantu tebakyafumbiriganwa okubeera awamu obulamu bwonna.”

Ku ludda olulala, obukadde n’obukadde bw’abantu batwala emitindo gy’empisa egiyigirizibwa mu Baibuli okubeera egyesigika era egisaanidde mu bulamu mu nsi yaffe ey’omu kakyo kano. Omugogo gw’abafumbo ababeera ku nsalo ya Switzerland ne Bugirimaani baakizuula nti okuyiga okukolera ku mpisa ez’omu Baibuli kyabaleetera essanyu erisingawo. Okusinziira ku ndowooza yaabwe, “waliwo obulagirizi bwa mulundi gumu gwokka mu mbeera zonna ez’obulamu. Obulagirizi obwo ye Baibuli.”

Gwe kiki ky’olowooza? Baibuli eyinza okukuwa obulagirizi obw’omuwendo? Emitindo gy’empisa egy’esigamiziddwa ku Baibuli gikola leero?