Emitindo gy’Empisa egy’Omu Baibuli Gye Gisingayo Obulungi?
Emitindo gy’Empisa egy’Omu Baibuli Gye Gisingayo Obulungi?
“ABANTU beetaaga emitindo egy’okugoberera egibawa obukuumi n’obulagirizi.” Bw’atyo omuwandiisi Omugirimaani alina obumanyirivu era aweereza programu ku ttivi bwe yagamba. Mazima ddala ekyo kya magezi. Abantu okusobola okubeera n’obutebenkevu era n’okukulaakulana, balina okubeera n’emitindo eminywevu egikkirizibwa egiraga ekirungi oba ekibi. Ekibuuzo kiri nti: Mitindo ki egisingayo obulungi, eri ekitundu n’abantu abakibeeramu?
Bwe kiba nti emitindo gy’empisa egiri mu Baibuli gye gigobererwa, gyandiyambye abantu okubeera n’obulamu obutebenkevu era obw’essanyu. Ekyo, mu ngeri esingawo, kyandifudde abantu abakwata emitindo egyo abasanyufu era abatebenkevu okusingawo. Bwe kityo bwe kiri? Ka twekenneenye Baibuli ky’eyogera ku nsonga biri: obwesigwa mu bufumbo era n’obwesigwa mu buli mbeera ey’obulamu.
Nywerera ku Munno mu Bufumbo
Omutonzi waffe yatonda Adamu era n’amukolera Kaawa munne mu bufumbo. Obufumbo bwabwe bwe bwasookera ddala mu byafaayo era bwali bwa kuwangaala. Katonda yagamba: “Omusajja ky’anaavanga aleka kitaawe ne nnyina, ne yeetaba ne mukazi we.” Nga wayiseewo emyaka 4,000, Yesu Kristo yaddiramu abagoberezi be bonna omutindo guno ogukwata ku bafumbo. Ate era, y’avumirira eky’okwetaba nga temuli bafumbo.—Olubereberye 1:27, 28; 2:24; Matayo 5:27-30; 19:5.
Okusinziira ku Baibuli, ebisumuluzo ebibiri ebikulu eby’essanyu mu bufumbo kwe kwagala n’abafumbo bombi okusiŋŋanamu ekitiibwa. Omwami, era nga ye mutwe gw’amaka, alina okulaga okwagala okw’obuteefaako ng’akola ekyo mukyala we ky’ayagala. Alina okubeera naye “n’amagezi” era tasaanidde ‘kumukambuwaliranga.’ Omukazi alina ‘okuwa bba we ekitiibwa.’ Abafumbo singa bagoberera 1 Peetero 3:1-7; Abakkolosaayi 3:18, 19; Abaefeso 5:22-33.
emisingi gino, ebizibu bingi ebisangibwa mu bufumbo biyinza okwewalibwa oba okuvvuunukibwa. Omwami ajja kwagala okunywerera ku mukazi we era n’omukazi ku mwami we.—Ddala omusingi oguli mu Baibuli ogw’okunywerera ddala ku munno mu bufumbo guyinza okuleeta essanyu mu bufumbo? Weekenneenye ebyava mu kunoonyereza okwakolebwa mu Bugirimaani. Abantu baabuuzibwa ensonga enkulu ezisobozesa obufumbo obulungi okubaawo. Emu ku nsonga esingirayo ddala obukulu eyayogerwako yali bwesigwa. Tewandikikkiriza nti abafumbo babeera basanyufu nnyo bwe bamanya nti munnaabwe mu bufumbo mwesigwa?
Kiba Kitya Singa Ebizibu Bijjawo?
Kiba kitya, singa omwami n’omukyala babeera n’obutategeeragana obw’amaanyi? Kiba kitya singa okwagala kwabwe kuggwaawo? Tekyandibadde kirungi mu mbeera ng’ezo okukomya obufumbo? Oba omutindo ogw’omu Baibuli ogw’okunywerera ddala ku munno guba gukyali gwa makulu?
Abawandiisi ba Baibuli baakimanya nti abafumbo bonna bajja kubeera n’ebizibu olw’okuba abantu si batuukirivu. (1 Abakkolinso 7:28) Wadde kiri kityo, abafumbo abakwata emitindo gy’empisa egiri mu Baibuli bafuba okusonyiwa era n’okugonjolera awamu ebizibu byabwe. Kya lwatu, waliwo embeera—gamba ng’obwenzi oba okutulugunyizibwa—ezandireetedde Omukristaayo okulowooza ku kugattululwa mu bufumbo oba okwawukana. (Matayo 5:32; 19:9) Naye okwanguwa okukomya obufumbo awatali nsonga ey’amaanyi oba okusobola okufumbiriganwa n’omuntu omulala kyoleka obutafaayo ku balala. Mazima ddala tekireeta butebenkevu oba ssanyu mu bulamu bw’omuntu. Ka tufuneyo ekyokulabirako.
Peter yakitegeera nti obufumbo bwe bwali buweddemu okwagala okwaliwo okusooka. * Bwe kityo, yaleka mukazi we n’awasa Monika, naye eyali ayabulidde bba we. Ebintu byali bitya? Nga wayiseewo emyezi mitono, Peter yagamba nti okubeera ne Monika “tekyali kyangu nnyo nga bwe nnali ndowooza.” Lwaki? Obunafu bw’omuntu bwali bwe bumu mu nkolagana ye empya nga bwe bwali mu nkadde. Okwongereza ku kizibu, okusalawo kwe yakola nga ayanguyiriza era nga yeerowoozaako yekka kwa mutuusa mu bizibu eby’amaanyi ennyo mu by’enfuna. Okugatta ku ekyo, abaana ba Monika baalumizibwa nnyo mu nneewulira zaabwe ez’omunda olw’enkyukakyuka eyali mu bulamu bwabwe obw’amaka.
Ng’ekyokulabirako kino bwe kiraga, obufumbo bwe bwolekagana n’ebizibu, okubwabulira si kye kigonjoola ebizibu. Ku ludda olulala, bwe wabaawo ebizibu, okunywerera ku mitindo gy’empisa egy’omu Kigambo kya Katonda, Baibuli, kiyinza okuyamba okunyweza era n’okutebenkeza obufumbo. Bwe kityo bwe kyali eri Thomas ne Doris.
Thomas ne Doris baali bamaze emyaka egisukka mu 30 mu bufumbo Thomas bwe yatandika okunywa ennyo omwenge. Doris yanakuwala nnyo, era bombi ne boogera ku ky’okugatululwa mu bufumbo. Doris yabuulirako omu ku Bajulirwa ba Yakuwa. Omujulirwa yalaga Doris Baibuli ky’eyogera ku bufumbo, n’amukubiriza obutayanguyiriza kwawukana n’omwami we naye okusooka okukubaganya ebirowoozo ku nsonga ne bba we bagezeeko okufuna amagezi ag’okugonjola ebizibu. Ekyo kyennyini Doris kye yakola. Nga wayiseewo emyezi mitono, baali tebakyalowooza ku ky’okugatululwa mu bufumbo. Thomas ne Doris baali bakola ku bizibu byabwe bombi. Okugoberera okubuulirirwa okw’omu Baibuli kwanyweza obufumbo bwabwe era ne kibawa ekiseera okugonjoola ebizibu byabwe.
Obwesigwa mu Bintu Byonna
Okunywerera ddala ku munno mu bufumbo kyetaagisa okubeera abamalirivu okunywerera ku mpisa ennungi era n’okwagala okugoberera emisingi emituufu. Engeri ze zimu zeetaagisa okusigala ng’oli mwesigwa mu nsi eno etali ya bwesigwa. Baibuli erina bingi by’eyogera ku bwesigwa. Omutume Pawulo yawandiikira Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka mu Buyudaaya: “Twagala okubanga n’empisa ennungi [“abeesigwa,” NW] mu byonna.” (Abaebbulaniya 13:18) Ekyo kitegeeza ki?
Omuntu omwesigwa aba wa mazima era taba mukumpanya. Akolagana n’abalala mu ngeri ey’obwenkanya—mu bwesimbu, nga abawa ekitiibwa, nga talimba wadde okubuzaabuza. Ate era, omuntu omwesigwa aba muntu omugolokofu atabba muntu munne. Abantu abeesigwa batumbula embeera ey’obwesigwa, ereetawo endowooza ennuŋŋamu era n’etumbula enkolagana ennungi mu bantu.
Abantu abeesigwa baba basanyufu? Mazima ddala, balina ensonga okubeera abasanyufu. Wadde
ng’obulyi bw’enguzi n’obubbi bucaase—oba olw’okuba weebuli—abantu abeesigwa basiimibwa nnyo abantu abalala. Okusinziira ku kunoonyereza okwakolebwa ku bavubuka, obwesigwa ye mpisa ennungi abantu 70 ku buli kikumi gye batwala nga ya muwendo nnyo. Okwongereza ku ekyo, ka tube nga tulina myaka emeka egy’obukulu, obwesigwa kye kintu ekyetaagisa ennyo mu abo be tutwala okubeera mikwano gyaffe.Christine yayigirizibwa okubba okuva bwe yaweza emyaka 12 egy’obukulu. Emyaka bwe gy’agenda giyitawo yafuuka omusazi w’ensawo omukugu. “Waaliwo ennaku lwe nnaleeta awaka sente eziwera doola 2,200,” bw’atyo bw’annyonnyola. Naye, Christine yakwatibwa emirundu mingi, era buli kiseera yali mu kabi ak’okutwalibwa mu kkomera. Abajulirwa ba Yakuwa bwe bamunnyonnyola Baibuli ky’egamba ku bwesigwa, Christine yasikirizibwa emitindo gy’empisa egiri mu Baibuli. Yayiga okugondera okubuulirirwa: “Eyabbanga alemenga okubba nate.”—Abaefeso 4:28.
Ekiseera Christine we yabatirizibwa ng’omu ku Bajulirwa ba Yakuwa, yali takyali mubbi. Yali afuba nnyo okubeera omwesigwa mu bintu byonna, okuva Abajulirwa bwe bassa essira ku bwesigwa n’engeri endala ez’Ekikristaayo. Olupapula lw’amawulire Lausitzer Rundschau lugamba: “Emitindo gy’empisa gamba ng’obwesigwa, obukakamu, era n’okwagala muliraanwa gitwalibwa nga gya muwendo nnyo mu nzikkiriza ya Abajulirwa.” Christine awulira atya ku nkyukakyuka mu bulamu bwe? “Ndi musanyufu nnyo kati kubanga nnalekayo okubba. Muli mpulira nga nzisibwamu ekitiibwa mu bantu.”
Abantu Bonna Baganyulwa
Abantu abeesigwa eri bannaabwe mu bufumbo era abeesigwa mu bintu ebirala si basanyufu kyokka naye era baganyula abantu abali mu kitundu okutwalira awamu. Abakozesa baagala abakozi abatabba. Ffenna twagala okubeera ne baliraanwa abeesigika, era twagala okugula ebintu mu maduuka agaddukanyizibwa abasuubuzi abeesigwa. Bannabyabufuzi, abapoliisi, n’abalamuzi abatalya nguzi tetubassaamu ekitiibwa? Abantu abali mu kitundu baganyulwa nnyo singa bonna abakirimu beeyisa mu ngeri ey’obwesigwa buli kiseera, so si lwe kiba nga kibanguyira.
Okwongereza ku ekyo, abafumbo abeesigwa be basobozesa amaka amatebenkevu okubaawo. Era abantu abasinga obungi bandikkiriziganyiza ne munnabyabufuzi ow’omu Bulaaya eyagamba: “Amaka n’okutuusa leero kye kifo ekisingayo obukulu abantu gye bayinza okubeera n’obukuumi era n’ekigendererwa.” Amaka agalimu emirembe geego abakulu n’abaana gye bafunira omukisa okubeera n’obutebenkevu mu nneewulira zaabwe ez’omunda. Bwe kityo, abo ababa abeesigwa mu bufumbo bayamba okuzimba abantu abanywevu mu kitundu.
Lowooza ku ngeri buli omu bwe yandiganyuddwa singa tewaaliwo kwawukana mu bufumbo, kkooti ezigattulula abafumbo, oba emisango egikwata ku ani asaanidde okukuza omwana. Ate kyandibadde kitya singa tewaaliwo basazi b’ensawo, ababba ebintu mu maduuka, abakumpanya, abakungu abalyi b’enguzi, oba bannasayansi ab’obulimba? Ekyo kirabika ng’ekirooto obulooto? Si eri abo abaagala okumanya ebiri mu Baibuli era n’ekyo ky’eyogera ku biseera eby’omu maaso. Ekigambo kya Katonda kisuubiza nti Obwakabaka bwa Yakuwa obufugibwa Masiya buli kumpi okutandika okufuga abantu bonna abali ku nsi. Bonna abanaafugibwa Obwakabaka obwo bajja kuyigirizibwa okugoberera emitindo gy’empisa egy’omu Baibuli. Mu kiseera ekyo, “abatuukirivu balisikira ensi, [era] banaagibeerangamu emirembe gyonna.”—Zabbuli 37:29.
Emitindo gy’Empisa Egiri mu Baibuli Gye Gisingayo Obulungi
Obukadde n’obukadde bw’abantu abeekenneenyeza Ebyawandiikibwa Ebitukuvu bakitegedde nti okubuulirira okuli mu Baibuli kwesigamiziddwa ku magezi ga Katonda, agasingira ewala ebirowoozo by’omuntu. Abantu ng’abo Baibuli bagitwala okuba nga yeesigika era ng’esaanira okukola ku bulamu bwaffe mu nsi y’akakyo kano. Bakimanyi nti kiganyula bo bennyini okugoberera okubuulirira okuli mu Kigambo kya Katonda.
Bwe kityo, abantu ng’abo bakkiriza Okubuulirira kwa Baibuli: “Weesigenga Mukama n’omutima gwo gwonna. So teweesigamanga ku kutegeera kwo ggwe: Mwatulenga mu makubo go gonna, kale anaaluŋŋamyanga olugendo lwo.” (Engero 3:5, 6) Bwe bakola batyo, balongoosa nnyo obulamu bwabwe, era baganyula abo ababeetoolodde. Era bakulaakulanya obwesige obunywevu mu ‘bulamu obugenda okujja,’ emitindo gy’empisa egy’omu Baibuli lwe girigobererwa abantu bonna.—1 Timoseewo 4:8.
[Obugambo obuli wansi]
^ Amannya agakozeseddwa mu kitundu kino gakyusiddwa.