Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Oyinza Okusemberera Katonda Atalabika?

Oyinza Okusemberera Katonda Atalabika?

Oyinza Okusemberera Katonda Atalabika?

‘Nnyinza ntya okukulaakulanya enkolagana ey’oku lusegere n’omuntu gwe siyinza kulaba?’ bw’otyo bw’oyinza okubuuza. Eyo eyinza okulabika ng’ensonga entuufu. Naye lowooza ku kino:

OKULABA kukulu kwenkana wa ku bikwata ku kukulaakulanya enkolagana ez’okwagala era ez’olubeerera? Ebitalabika nabyo tebyenkana bukulu, kabekasinge n’okusingawo? Mazima ddala bwe kiri! Olw’ensonga eyo, abantu abamu bakulaakulanyizza omukwano ogw’oku lusegere okuyitira mu kuwuliziganya​—amabaluwa gaabwe nga gooleka bye baagala, bye bataagala, ebiruubirirwa, emisingi, engeri yaabwe ey’okusaaga, n’engeri endala oba ebirala bye bassaako omwoyo.

Bamuzibe nabo bakyoleka nti okulaba si kukulu nnyo ku bikwata ku kukulaakulanya enkolagana ey’oku lusegere n’omuntu omulala. Lowooza ku ky’okulabirako kya Edward ne Gwen, abafumbo ate nga bamuzibe. * Edward yasisinkana Gwen mu ssomero lya bamuzibe, naye gye yali omuyizi. Yasiima engeri za Gwen, naddala obwesimbu mu njogera ye n’enneeyisa, n’endowooza ennungi ennyo gye yalina eri okukola. Ate ye Gwen yasikirizibwa eri Edward kubanga, okusinziira ku bigambo bya Gwen, “yayoleka engeri zonna ze nnayigirizibwa okutwala ng’enkulu.” Twatandika okwogerezeganya era oluvannyuma lw’emyaka esatu twafumbiriganwa.

“Bwe muba muli wamu,” bw’atyo Edward bw’agamba, “okubeera abazibe tekiremesa kukulaakulanya nkolagana n’omuntu omulala. Muyinza obutasobola kulabagana, naye zo enneewulira ziba weeziri.” Kaakati, oluvannyuma lw’emyaka 57, bakyayagalana nnyo. Bagamba nti ekiviiriddeko enkolagana yaabwe ennungi ennyo kizingiramu ebintu bina: (1) okutegeera engeri za munno, (2) okuzirowoozaako era n’okusikirizibwa eri engeri ezo, (3) okubeera n’empuliziganya ennungi, era (4) okukolera awamu ebintu.

Ensonga zino ennya nkulu nnyo mu nkolagana yonna ennungi, k’ebe wakati w’ab’omukwano, abafumbo, oba ekisingawo n’obukulu wakati w’abantu ne Katonda.

[Obugambo obuli wansi]

^ Amannya gakyusiddwa.