Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Oyinza Okusigala ng’Oli Muyonjo mu Mpisa

Oyinza Okusigala ng’Oli Muyonjo mu Mpisa

Oyinza Okusigala ng’Oli Muyonjo mu Mpisa

“Kuno kwe kwagala kwa Katonda ffe okukwatanga ebiragiro bye.”​—1 YOKAANA 5:3.

1. Njawulo ki mu mpisa eriwo mu bantu leero?

 EDDA ennyo, nnabbi Malaki yaluŋŋamizibwa okulagula ekiseera empisa z’abantu ba Katonda lwe zandibadde nga za njawulo nnyo okuva ku z’abantu abataweereza Katonda. Nnabbi yawandiika: ‘Awo lwe mulidda muliraba enjawulo wakati w’omutuukirivu n’omubi, wakati w’oyo aweereza Katonda n’oyo atamuweereza.’ (Malaki 3:18) Obunnabbi obwo butuukirizibwa leero. Okukwata ebiragiro bya Katonda, ng’otwaliddemu n’ebyo ebyetaagisa okuba omuyonjo mu mpisa, ye ngeri ey’amagezi era esaanira mu bulamu. Kyokka, si ngeri nnyangu. Ng’alina ensonga ennungi, Yesu yagamba nti Abakristaayo balina okufuba ennyo okusobola okufuna obulokozi.​—Lukka 13:23, 24.

2. Kupikirizibwa ki okuva ebweru okukifuula ekizibu eri abamu okusigala nga balina empisa ennongoofu?

2 Lwaki kizibu okusigala ng’olina empisa ennongoofu? Ensonga emu eri nti waliwo okupikirizibwa okuva ebweru. Enteekateeka y’eby’amasanyu eraga okwetaba okutakkirizibwa ng’ekintu ekisikiriza, ekisanyusa, era ekiraga obukulu, ng’ate eno bw’ebuusa amaaso akabi akabivaamu. (Abaefeso 4:17-19) Enkolagana ez’okulusegere ezisinga obungi eziragibwa zibeera wakati w’abantu abatali bafumbo. Ebifaananyi eby’oku ntimbe n’ebiragibwa ku ttivi byoleka okwetaba ng’ekintu ekya bulijjo. Bulijjo, okwagala n’okussiŋŋanamu ekitiibwa tekubaawo. Bangi baanikiddwa eri obubaka ng’obwo okuviira ddala mu buto. Kyokka, era waliwo okupikirizibwa okugoberera empisa eziriwo leero, era abo abatakikola oluusi baduulirwa oba bavumibwa.​—1 Peetero 4:4.

3. Nsonga ki ezimu ezireetera abamu mu nsi okwenyigira mu bugwenyufu?

3 Okupikirizibwa okuva munda yaffe nakwo kukifuula kizibu okusigala nga tulina empisa ennongoofu. Yakuwa yatonda abantu n’okwegomba okw’okwetaba, era okwegomba ng’okwo kuyinza okubeera okw’amaanyi. Okwegomba kulina kinene nnyo kye kukola ku kye tulowooza, ate obugwenyufu bukwataganyizibwa n’endowooza etetuukana na birowoozo bya Yakuwa. (Yakobo 1:14, 15) Ng’ekyokulabirako, okusinziira ku kunoonyereza okwakolebwa gye buvuddeko awo okwafulumira mu British Medical Journal, bangi abeetaba omulundi ogusooka baali baagala bwagazi okumanya okwetaba bwe kuli. Abalala bakkiriza nti abantu abasinga obungi bwe benkanya emyaka baali beenyigira mu kwetaba, n’olwekyo nabo baayagala obutabeera mbeerera. Era abamu baagamba nti baatwalirizibwa enneewulira zaabwe oba “baali batamidde mu kiseera ekyo.” Bwe tuba twagala okusanyusa Katonda, tetuteekwa kulowooza bwe tutyo. Ndowooza ya ngeri ki eneetuyamba okukuuma empisa ennyonjo?

Zimba Okukkiriza Okunywevu

4. Okusobola okusigala nga tulina empisa ennongoofu, tuteekwa kukola ki?

4 Okusigala nga tulina empisa ennongoofu, tuteekwa okumanya nti okugoberera obulamu obw’ekika ng’ekyo kugwanidde. Kino kituukana n’ekyo omutume Pawulo kye yawandiikira Abakristaayo mu Rooma: “Mukemenga bwe biri Katonda by’ayagala, ebirungi, ebisanyusa, ebituufu.” (Abaruumi 12:2) Okumanya nti empisa ennongoofu zigwana kisingawo ku kumanya obumanya nti obugwenyufu tebukkirizibwa mu Kigambo kya Katonda. Kitwaliramu okumanya ensonga lwaki obugwenyufu bugaanibwa era n’engeri gye tuganyulwamu bwe tubwesamba. Ezimu ku nsonga ezo zaayogeddwako mu kitundu ekisoose.

5. Okusingira ddala, lwaki Abakristaayo bandyagadde okusigala nga bayonjo mu mpisa?

5 Kyokka, eri Abakristaayo ensonga ezisingira ddala okubeera ez’amaanyi ez’okwewala obwenzi ziva mu nkolagana yaffe ne Katonda. Tumaze okuyiga nti amanyi ekisingayo obulungi ekitugwanidde. Okwagala kwe tulina gy’ali kutuyamba okukyawa ekibi. (Zabbuli 97:10) Katonda ye mugabi wa “buli kirabo ekirungi, na buli kitone ekituukirivu.” (Yakobo 1:17) Atwagala. Bwe tumugondera, tulaga nti tumwagala era nti tusiima byonna by’atukoledde. (1 Yokaana 5:3) Tetwagala kunyiiza Yakuwa nga tumenya ebiragiro bye eby’obutuukirivu. (Zabbuli 78:41) Tetwagala kweyisa mu ngeri enneevumisa okusinza kwe okutukuvu era okw’obutuukirivu. (Tito 2:5; 2 Peetero 2:2) Bwe tusigala nga tulina empisa ennongoofu, tuleetera Oyo ali Waggulu Ennyo okusanyuka.​—Engero 27:11.

6. Kiyamba kitya okumanyisa abalala emitindo gyaffe egy’empisa?

6 Bwe tuba tusazeewo okubeera n’empisa ennongoofu, obukuumi obulala kwe kumanyisa abalala okukkiriza kwe tulina. Leka abantu bamanye nti oli muweereza wa Yakuwa Katonda era nti omaliridde okukuuma emitindo gye egya waggulu. Bwe bulamu bwo, omubiri gwo, era okusalawo kwo. Kiki ekiri mu kabi? Enkolagana yo ey’omuwendo ennyo ne Kitaawo ow’omu ggulu. ­N’olwekyo, kirage bulungi nti toyinza kulekayo kukuuma bugolokofu mu mpisa. Weenyumirizenga mu ­kukiikirira Katonda ng’okuuma emisingi gye. (Zabbuli 64:10) Tokwatibwanga nsonyi okwogera n’abalala ku nzikiriza gy’olina ku mitindo gyo egy’empisa. Okwogera n’obuvumu kiyinza okukunyweza, okukukuuma, era n’okukubiriza abalala okugoberera ekyokulabirako kyo.​—1 Timoseewo 4:12.

7. Tuyinza tutya okukuuma obumalirivu bwaffe okusigala nga tuli bayonjo mu mpisa?

7 Ekiddako, oluvannyuma lw’okusalawo okukuuma emitindo egy’empisa egya waggulu era nga tumaze okumanyisa ennyimirira yaffe, tuteekwa okubaako kye tukola okunywerera ku bumalirivu bwaffe. Engeri emu gye tuyinza okukolamu kino kwe kubeera abeegendereza nga tulonda abo abanaabeera mikwano gyaffe. ‘Oyo atambula n’abantu ab’amagezi naye aliba n’amagezi,’ bw’etyo Baibuli bw’egamba. Beera n’abo b’ofaananya empisa; bajja kukunyweza. Ekyawandiikibwa kino era kigamba: “Naye munnaabwe w’abasirusiru alibalagalwa.” (Engero 13:20) Nga bwe kiba kisobose, weewale abantu abayinza okunafuya okusalawo kwo.​—1 Abakkolinso 15:33.

8. (a) Lwaki twandiriisizza ebirowoozo byaffe ebintu ebizimba? (b) Kiki kye tulina okwewala?

8 Okwongereza ku ekyo, twetaaga okuliisa ebirowoozo byaffe ebintu eby’amazima, ebisaanira ekitiibwa byonna, eby’obutuukirivu byonna, ebirongoofu byonna, ebyagalibwa byonna, ebisiimibwa byonna, ebirungi era eby’ettendo. (Abafiripi 4:8) Tukola kino nga twegendereza bye tulondawo okulaba n’okusoma era n’ennyimba ze tuwuliriza. Okugamba nti ebitabo omuli eby’obugwenyufu tebirina kibi kye biyinza kutukolako kiringa okugamba nti ebitabo ebitumbula empisa ennungi tebirina kirungi kye biyinza kutukolako. Jjukira nti abantu abatatuukiridde basobola okwenyigira mu mpisa ez’obugwenyufu. Kale nno, ebitabo, magazini, firimu, n’ennyimba ezikubiriza enneewulira ez’okwetaba zijja kukuleetera okwegomba okubi, era bino oluvannyuma bijja kukusuula mu kibi. Okusobola okukuuma obuyonjo mu mpisa, tuteekwa okujjuza ebirowoozo byaffe n’amagezi agava eri Katonda.​—Yakobo 3:17.

Emitendera Egituusa mu Bugwenyufu

9-11. Nga Sulemaani bwe yakyogerako, mitendera ki egyatuusa omuvubuka omu mu bugwenyufu?

9 Oluusi, wabeerawo emitendera egirabika egituusa mu bugwenyufu. Buli mutendera gw’otuukako gukifuula kizibu okudda ennyuma. Weetegereze engeri kino bwe kyogerwako mu Engero 7:6-23. Sulemaani yeetegereza “omuvubuka atalina kutegeera,” oba ekigendererwa ekirungi. Omuvubuka “ayita mu luguudo kumpi ku mugguukiriro [gw’omwenzi], ng’agenda mu kkubo eridda mu nnyumba ye, mu kizikiza obudde nga buwungedde.” Awo we wali ensobi ye esookera ddala. Mu biseera eby’ekizikiza, “omutima” gwe gumukubiriza okugenda, si mu kkubo lyonna, naye mu eryo ly’amanyi nti omwenzi gy’asangibwa.

10 Era tuddako ne tusoma tuti: “Kale, laba, ne wamusisinkana omukazi, ng’ayambadde ebyambalo eby’omwenzi, era ow’omutima omugerengetanya.” Kati awo n’amulaba! Yandisobodde okukyuka n’addayo eka, naye kino kizibu nnyo okusinga bwe kyali okusooka, naddala nga bwalina obunafu mu kugoberera emitindo gy’empisa entuufu. Awo n’amukwata n’amunywegera. Oluvannyuma lw’okukkiriza okumunywegera, kati olwo n’awuliriza eddoboozi lye erisendasenda: “Ssaddaaka ez’ebiweebwayo olw’emirembe ziri wange,” n’ayogera bw’atyo. “Leero mmaze okusasula obweyamo bwange.” Ssaddaaka ez’ebiweebwayo zaalingamu ennyama, obutta, amafuta, n’envinnyo. (Abaleevi 19:5, 6; 22:21; Okubala 15:8-10) Ng’ayogera ku ebyo, ayinza okuba nga yali ategeeza nti yali afaayo ku by’omwoyo era, mu kiseera kye kimu, ayinza okuba yali amutegeeza nti waliyo ebintu ebirungi bingi eby’okulya era n’eby’okunywa mu nnyumba ye. ‘Jjangu,’ bw’atyo n’amwegayirira, “tukkute okwagala okukeesa obudde; twesanyuse n’okwagala.”

11 Ekyavaamu si kizibu okumanya. “Amuwaliriza okugenda n’okwegonza okw’emimwa gye.” N’amugoberera awaka “ng’ente bw’egenda okusalibwa” era “ng’ennyonyi bw’eyanguwa okugwa mu kyambika.” Sulemaani akomekereza n’ebigambo ebireetera omuntu okulowooza: ‘So tamanyi ng’obulamu bwe bukwatibwako.’ Obulamu bwe bukwatibwako kubanga “Katonda alisalira abenzi n’abakaba omusango.” (Abaebbulaniya 13:4) Nga kya kuyiga kya maanyi nnyo eri abasajja n’abakazi! Tulina okwewala okugoberera wadde emitendera egisooka mu kkubo eriviirako obutasiimibwa Katonda.

12. (a) Ebigambo “talina kutegeera” bitegeeza ki? (b) Tuyinza tutya okufuba okunywerera ku mitindo gy’empisa emituufu?

12 Weetegereze nti omuvubuka ayogeddwako mu byawandiikibwa ebyo yali “talina kutegeera.” Ebigambo ebyo bitutegeeza nti ebirowoozo bye, okwegomba, omukwano, enneewulira ez’omunda, era n’ebiruubirirwa bye mu bulamu byali tebituukana n’ebyo Katonda by’asiima. Obunafu bwe yalina mu kugoberera emitindo emituufu egy’empisa bwavaamu akabi ka maanyi. Mu biseera bino eby’okulaba ennaku mu “nnaku ez’oluvannyuma,” kyetaagisa okufuba okusobola okunywerera ku mitindo gy’empisa emituufu. (2 Timoseewo 3:1) Katonda atukolera enteekateeka ez’okutuyamba. Atuteerawo enkuŋŋaana ez’omu kibiina Ekikristaayo okutukubiriza okutambulira mu kkubo eggolokofu era n’okukolagana n’abalala abalina ebiruubirirwa ng’ebyaffe. (Abaebbulaniya 10:24, 25) Waliwo abakadde mu kibiina abatuwa obulagirizi era abatuyigiriza amakubo ag’obutuukirivu. (Abaefeso 4:11, 12) Tulina Ekigambo kya Katonda, Baibuli, okutuwa obulagirizi n’okutukulembera. (2 Timoseewo 3:16) Era buli kiseera kyonna, tulina omukisa okusaba omwoyo gwa Katonda okutuwa obuyambi.​—Matayo 26:41.

Okuyigira ku Bibi bya Dawudi

13, 14. Kabaka Dawudi yeenyigira atya mu kibi eky’amaanyi?

13 Kyokka, eky’ennaku, n’abaweereza ba Katonda abamanyifu ennyo beenyigidde mu bwenzi. Omu ku bantu ng’abo yali Kabaka Dawudi, eyali aweerezza Yakuwa n’obwesiggwa okumala emyaka mingi. Tewali kubuusabuusa nti yali ayagala nnyo Katonda. Kyokka, yakola ekibi eky’amaanyi. Okufaananako omuvubuka Sulemaani gwe yayogerako, waaliwo emitendera egyaleetera Dawudi okukola ekibi era ne gikireetera okubeera ekibi ennyo.

14 Mu kiseera ekyo oboolyawo Dawudi yali yaakaweza emyaka egy’obukulu 50. Ng’ali waggulu ku nnyumba ye, yalaba Basuseba afaanana obulungi ennyo ng’anaaba. Yabuuliriza ebimukwatako era n’amutegeera. Yakizuula nti bba we, Uliya, yali yeenyigidde mu kuzingiza Labba, ekibuga ky’Abaamoni. Dawudi n’atuma ne bamuleeta mu lubiri lwe ne yeetaba naye. Oluvannyuma, ebintu byazibuwala​—y’akizuula nti yali lubuto lwa Dawudi. Ng’asuubira nti Uliya yandisuzze ne mukazi we, Dawudi yamulagira akomewo okuva mu lutalo. Mu ngeri eyo, kyandirabise nga Uliya ye taata w’omwana wa Basuseba. Naye Uliya teyagenda mu maka ge. Ng’ayagala nnyo okukweka ekibi kye, Dawudi yalagira Uliya okuddayo e Labba n’ebbaluwa gy’awandiikidde omukulu w’amaggye ng’egamba nti Uliya asaanidde okuteekebwa mu kifo w’ayinza okuttibwa. Mu ngeri eyo, Uliya n’afiirwa obulamu bwe, era Dawudi n’awasa nammwandu nga tekinnamanyika nti yali lubuto.​—2 Samwiri 11:1-27.

15. (a) Ekibi kya Dawudi kyayanikibwa kitya? (b) Dawudi yakola ki Nasani bwe yamukangavvula mu ngeri ey’amagezi?

15 Kyalabika nti, akakodyo ka Dawudi ak’okukweka ekibi kye kaali kayiseemu. Emyezi gyayitawo. Omwana​—ow’obulenzi​—nnaazaalibwa. Bwe kiba nti Dawudi yalina mu birowoozo bye ebyaliwo bino bwe yawandiika Zabbuli 32, kya lwatu omuntu we ow’omunda yamulumirizanga. (Zabbuli 32:3-5) Kyokka, ekibi kyali tekikwekeddwa Katonda. Baibuli egamba: “Ekigambo Dawudi kye yakola ne kinyiiza Mukama.” (2 Samwiri 11:27) Yakuwa yatuma nnabbi Nasani, eyatuukirira Dawudi mu ngeri ey’amagezi ku ekyo kye yali akoze. Amangu ago Dawudi yeenenya era n’asaba Yakuwa amusonyiwe. Okwenenya kwe okw’obwesimbu kwamuleetera okutabagana ne Katonda. (2 Samwiri 12:1-13) Dawudi teyanyooma kukangavvulwa. Wabula, yalaga endowooza eri mu Zabbuli 141:5: “Omutuukirivu ankubenga nga kwa kisa; era ambuulirirenga, ng’amafuta ku mutwe; omutwe gwange gulemenga okugagaana.”

16. Kulabula ki n’okubuulirira Sulemaani kwe yawa okukwata ku bibi?

16 Sulemaani eyali mutabani wa Dawudi ne Basuseba ow’okubiri, ayinza okuba nga yalowooza ku kikolwa kino ekibi ekyaliwo mu bulamu bwa kitaawe. Oluvannyuma yawandiika: “Abikka ku kusobya kwe taliraba mukisa: naye buli akwatula n’akuleka alifuna okusaasirwa.” (Engero 28:13) Bwe tugwa mu nsobi ey’amaanyi, tulina okugoberera okubuulirirwa kuno okwaluŋŋamizibwa, okulabula era okuwa amagezi. Tulina okwatula ebibi byaffe eri Yakuwa era tutuukirire abakadde mu kibiina okusobola okufuna ­obuyambi. Obuvunaanyizibwa obukulu obw’abakadde kwe kutereeza abo ababa bagudde mu nsobi ez’amaanyi.​—Yakobo 5:14, 15.

Okugumiikiriza Ebiva mu Kibi

17. Wadde nga Yakuwa asonyiwa ebibi, tatukuuma kuva ku ki?

17 Yakuwa yasonyiwa Dawudi. Lwaki? Kubanga Dawudi yali musajja mugolokofu, kubanga yasaasira abalala, era kubanga okwenenya kwe kwali kwa bwesimbu. Wadde kyali kityo, Dawudi teyakwekebwa okuva mu kabi akaava mu nsobi ye. (2 Samwiri 12:9-14) Era bwe kityo bwe kiri leero. Wadde nga Yakuwa taleeta bubi ku abo abenenya, tabakugira okuva ku ebyo ebibatuukako olw’ensobi zaabwe. (Abaggalatiya 6:7) Ebimu ku ebyo ebiva mu bwenzi biyinza okuba okugattululwa mu bufumbo, okufuna embuto ezitayagalibwa, endwadde ez’obukaba, era n’obutassibwamu bwesige n’ekitiibwa.

18. (a) Pawulo yagamba atya ekibiina ky’e Kkolinso okukola ku kikolwa ekibi ennyo eky’obwenzi? (b) Yakuwa alaga atya okwagala n’obusaasizi aboonoonyi?

18 Bwe tubanga kinnoomu tugudde mu nsobi ez’amaanyi, kyangu okuggwaamu amaanyi nga tubonaabona olw’ebyo ebiva mu nsobi ze twakola. Wadde nga kiri kityo, tetulina kukkiriza kintu kyonna okutulemesa okwenenya era n’okutabagana ne Katonda. Mu kyasa ekyasooka, Pawulo yawandiikira Abakkolinso nti balina okuggya mu kibiina omuntu eyali akola obwenzi n’omuntu gw’alinako oluganda. (1 Abakkolinso 5:1, 13) Oluvannyuma lw’omuntu oyo okwenenya mu bwesimbu, Pawulo yagamba ekibiina: ‘Mumusonyiwe, mumubudaabudde era mumulage okwagala kwammwe.’ ( 2 Abakkolinso 2:5-8) Mu kubuulirira kuno okwaluŋŋamizibwa, tulabamu okwagala kwa Yakuwa n’obusaasizi bwe eri aboonoonyi abeenenya. Bamalayika mu ggulu basanyuka omwonoonyi bwe yenenya.​—Lukka 15:10.

19. Okunakuwala olw’ensobi zaffe kuyinza kuvaamu miganyulo ki?

19 Wadde nga tunakuwala olw’ensobi yaffe, okwejusa kye twakola kuyinza okutuyamba “okwekuuma obutaddamu kukola ekyo ekiyinza okutulumya.” (Yobu 36:21, NW) Mazima ddala, ebibi ebiva mu nsobi zaffe byanditukugidde okuddamu ensobi yaffe. Ate era, Dawudi yakozesa eby’ennaku ebyamutuukako olw’ensobi ye okubuulirira abalala. Yagamba: “Nja kuyigiriza aboonoonyi amakubo go, abalina ebibi bakomewo gy’oli.”​—Zabbuli 51:13. NW.

Essanyu Liva mu Kuweereza Yakuwa

20. Miganyulo ki egiva mu kugondera Katonda by’atwetaagisa eby’obutuukirivu?

20 “Balina omukisa [“essanyu,” NW] abawulira ekigambo kya Katonda ne bakyekuuma!” bw’atyo Yesu bwe yagamba. (Lukka 11:28) Okugondera ebyetaago bya Katonda eby’obutuukirivu kuleeta essanyu kaakano ne mu biseera eby’omu maaso ebitalikoma. Bwe tuba nga tusigadde nga tuli bayonjo mu mpisa, ka tweyongere mu kukola ekyo nga tukozesa byonna Yakuwa by’atuwa okutuyamba. Bwe tuba nga twenyigidde mu mpisa ez’obugwenyufu, ka tuddemu amaanyi nga tumanyi nti Yakuwa mwetefutefu okusonyiwa abo abeenenya, era ka tubeere bamalirivu obutaddamu nate okukola ekibi.​—Isaaya 55:7.

21. Kugoberera kubuulirirwa ki okw’omutume Peetero okuyinza okutuyamba okusigala nga tuli bayonjo mu mpisa?

21 Mangu ddala ensi eno etali ya butuukirivu ejja kuggwaawo, awamu n’endowooza n’ebikolwa byayo ebibi. Bwe tukuuma empisa ennongoofu, tujja kuganyulwa kaakano n’emirembe gyonna. Omutume Peetero yawandiika bw’ati: “Abaagalwa, kubanga musuubira ebyo, mufubenga okusangibwa mu mirembe nga temulina bbala newakubadde omusango mu maaso ge. . . . Kubanga musoose okutegeera, mwekuum[e]nga muleme okugwa okuva mu bunywevu bwammwe mmwe nga mutwalibwa obukyamu bw’ababi.”​—2 Peetero 3:14, 17.

Oyinza Okunnyonnyola?

• Lwaki kiyinza okubeera ekizibu okusigala ng’oli muyonjo mu mpisa?

• Ngeri ki ezimu mwe tuyinza okunyweza obumalirivu bwaffe okugoberera emitindo egy’empisa egya waggulu?

• Kiki kye tuyinza okuyiga okuva ku bibi by’omuvubuka Sulemaani gwe yayogerako?

• Ekyokulabirako kya Dawudi kituyigiriza ki ku bikwata ku kwenenya?

[Ebibuuzo]

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 25]

Kiba kya bukuumi okumanyisa abalala ennyimirira yo ku nsonga ezikwata ku mpisa

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 29]

Olw’okuba Dawudi yeenenya mu bwesimbu, Yakuwa yamusonyiwa