Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abakristaayo Abatalina Ludda Lwe Bawagira mu by’Obufuzi

Abakristaayo Abatalina Ludda Lwe Bawagira mu by’Obufuzi

Abakristaayo Abatalina Ludda Lwe Bawagira mu by’Obufuzi

“Si ba nsi, nga nze bwe siri wa nsi.”​—YOKAANA 17:16.

1, 2. Kiki Yesu kye yayogera ekikwata ku nkolagana abayigirizwa be gye bandibadde n’ensi, era ebigambo bye bireetawo bibuuzo ki?

 EKIRO ekyasembayo eky’obulamu bwe ku nsi ng’omuntu atuukiridde, Yesu yasaba ng’abayigirizwa be bawulira. Mu kusaba okwo, yayogera ekintu ekikwata ku bulamu bw’Abakristaayo bonna ab’amazima. Bwe yali ng’ayogera ku bagoberezi be, yagamba: “Mbawadde ekigambo kyo; era ensi yabakyawa, kubanga si ba nsi nga nze bwe siri wa nsi. Sisaba ggwe kubaggya mu nsi, naye obakuumenga mu bubi. Si ba nsi, nga nze bwe siri wa nsi.”​—Yokaana 17:14-16.

2 Emirundi ebiri, Yesu yagamba nti abagoberezi be tebaali ba nsi. Kyokka, okweyawula ku nsi okwo, kwandibaleetedde ebizibu​—ensi yandibakyaye. Wadde kiri bwe kityo, Abakristaayo tebaalina kweraliikirira; Yakuwa yandibakuumye. (Engero 18:10; Matayo 24:9, 13) Okusinziira ku bigambo bya Yesu, tuyinza okubuuza: ‘Lwaki Abakristaayo ab’amazima si ba nsi? Kitegeeza ki obutaba ba nsi? Ensi bw’eba ng’ekyawa Abakristaayo, bandigitunuulidde batya? Naddala, batunuulira batya gavumenti z’ensi?’ Eby’okuddamu mu bibuuzo bino ebyesigamiziddwa ku Byawandiikibwa bikulu nnyo kubanga bitukwatako ffenna.

“Tuli ba Katonda”

3. (a) Kiki ekitufuula abaawufu ku nsi? (b) Bujulizi ki obulaga nti ensi ‘eri mu buyinza bw’omubi’?

3 Enkolagana ennungi gye tulina ne Yakuwa ye nsonga emu etuleetera obutaba ba nsi. Omutume Yokaana yawandiika: “Tumanyi nga tuli ba Katonda, n’ensi yonna eri mu [buyinza bw’omubi].” (1 Yokaana 5:19) Ebigambo Yokaana bye yayogera ku nsi bituufu nnyo. Entalo, obumenyi bw’amateeka, obukambwe, okunyigirizibwa, obutali bwesigwa n’obugwenyufu ebicaase ennyo leero, bikakasa nti ensi eri mu buyinza bwa Setaani so si bwa Katonda. (Yokaana 12:31; 2 Abakkolinso 4:4; Abaefeso 6:12) Omuntu bw’afuuka omu ku Bajulirwa ba Yakuwa, tasemba wadde okwenyigira mu bikolwa ebibi, era ekyo kimufuula obutaba wa nsi.​—Abaruumi 12:2; 13:12-14; 1 Abakkolinso 6:9-11; 1 Yokaana 3:10-12.

4. Tusobola tutya okulaga nti tuli ba Yakuwa?

4 Yokaana yagamba nti, okwawukana ku nsi, Abakristaayo bo ‘ba Katonda.’ Bonna abeewaayo eri Yakuwa, babeera babe. Omutume Pawulo yagamba: “Bwe tubeera abalamu, tuba balamu ku bwa Mukama waffe: oba bwe tufa, tufa ku bwa Mukama waffe: kale, bwe tuba abalamu, oba bwe tufa, tuba ba Mukama waffe.” (Abaruumi 14:8; Zabbuli 116:15) Olw’okuba tuli ba Yakuwa, ye yekka gwe tulina okusinza. (Okuva 20:4-6) N’olwekyo, Omukristaayo ow’amazima teyeemalira ku biruubirirwa eby’ensi. Wadde ng’assa ekitiibwa mu bubonero obukozesebwa mu nsi, tabusinza, ka kibe mu bikolwa oba mu mutima gwe. Mazima ddala tasinza bazannyi baatiikirivu oba ebintu ebirala ebisinzibwa leero. Kya lwatu, tayingirira ddembe ly’abalala okukola kye baagala, naye ye asinza Mutonzi yekka. (Matayo 4:10; Okubikkulirwa 19:10) Ekyo nakyo kimufuula atali wa nsi.

“Obwakabaka Bwange Si bwa mu Nsi Muno”

5, 6. Okubeera abafugibwa Obwakabaka bwa Katonda kitwawula kitya ku nsi?

5 Abakristaayo bagoberezi ba Yesu Kristo era bafugibwa Obwakabaka bwa Katonda, era ekyo nakyo kibafuula obutaba ba nsi. Yesu bwe yali ng’awozesebwa mu maaso ga Piraato, yagamba: “Obwakabaka bwange si bwa mu nsi muno: singa obwakabaka bwange bubadde bwa mu nsi munno, basajja bange bandirwanye ne ssiweebwayo mu Bayudaaya; naye kaakano obwakabaka bwange si bwa wano.” (Yokaana 18:36) Yakuwa ajja kukozesa Obwakabaka bwe okutukuza erinnya lye, okugulumiza obufuzi bwe era n’okukola by’ayagala ku nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu. (Matayo 6:9, 10) Mu buweereza bwe bwonna, Yesu yabuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka era n’agamba nti n’abagoberezi be bandigalangiridde okutuukirira ddala ku nkomerero y’enteekateeka y’ebintu bino. (Matayo 4:23; 24:14) Mu 1914, ebigambo by’obunnabbi ebiri mu Okubikkulirwa 11:15 byatuukirizibwa: “Obwakabaka bw’ensi bufuuse bwa Mukama waffe, era bwa Kristo we; era anaafuganga emirembe n’emirembe.” Mangu ddala, Obwakabaka obwo bwe bwokka obujja okufuga abantu bonna. (Danyeri 2:44) Ekiseera kijja kutuuka, n’abafuzi b’ensi bawalirizibwe okutegeera obuyinza bwabwo.​—Zabbuli 2:6-12.

6 Olw’okumanya ebyo byonna, Abakristaayo ab’amazima leero bali wansi w’Obwakabaka bwa Katonda era bagoberera okubuulirira kwa Yesu ‘okw’okusooka okunoonya obwakabaka bwa Katonda n’obutuukirivu bwe.’ (Matayo 6:33) Ekyo tekibaleetera kujeemera ggwanga mwe babeera, naye kibafuula abatali ba nsi mu by’omwoyo. Omulimu ogusinga obukulu Abakristaayo gwe bakola leero, nga bwe kyali mu kyasa ekyasooka, kwe ‘kuwa obujulirwa ku bwakabaka bwa Katonda.’ (Ebikolwa 28:23) Tewali gavumenti y’abantu yonna egwanidde okulemesa omulimu ogwo ogwabaweebwa Katonda.

7. Lwaki Abakristaayo ab’amazima tebalina ludda lwe bawagira mu by’obufuzi, era ekyo bakiraze batya?

7 Olw’okuba ba Yakuwa era nga bagoberezi ba Yesu ate nga bafugibwa Obwakabaka bwa Katonda, Abajulirwa ba Yakuwa tebabadde na ludda lwe bawagira mu bunyoolagano obubaddewo mu nsi mu kyasa ekya 20 n’ekya 21. Tebeenyigidde mu ntalo wadde okusaasaanya ppokopoko w’ensi. Wadde nga bayigganyiziddwa nnyo, boolese okukkiriza okunywevu nga bagoberera omusingi oguli mu bigambo ebyategeezebwa abafuzi Abagirimaani mu 1934: “Tetwagala kwenyigira mu nsonga z’eby’obufuzi, naye twagala okwemalira ku Bwakabaka bwa Katonda obufugibwa Kristo nga Kabaka. Tetujja kulumya oba kutuusa bisago ku muntu yenna. Twagala mirembe era n’okukolera abalala bonna ebirungi nga bwe tuba tusobodde.”

Ababaka n’Abatume ba Kristo

8, 9. Mu ngeri ki Abajulirwa ba Yakuwa leero gye bali ababaka era abatume, era ekyo kikwata kitya ku nkolagana yaabwe n’ensi?

8 Pawulo yeeyogerako ye kennyini era ne ku banne abaafukibwako amafuta nga “ababaka mu kifo kya Kristo, Katonda ng’afaanana ng’abeegayirira mu ffe.” (2 Abakkolinso 5:20; Abaefeso 6:20) Okuva mu 1914, Abakristaayo abaafukibwako amafuta bayinza okuyitibwa ababaka b’Obwakabaka bwa Katonda, era nga ‘baana’ mu bwo. (Matayo 13:38; Abafiripi 3:20; Okubikkulirwa 5:9, 10) Okugatta ku ebyo, Yakuwa aggye mu mawanga “ekibiina ekinene” ‘eky’ab’endiga endala,’ Abakristaayo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi, bayambe abaana abaafukibwako amafuta mu mulimu gwe bakola ng’ababaka. (Okubikkulirwa 7:9; Yokaana 10:16) Ab’endiga endala bayinza okuyitibwa “abatume” b’Obwakabaka bwa Katonda.

9 Omubaka n’abantu be tebeeyingiza mu nsonga z’ensi gye baweerereza. Mu ngeri y’emu, Abakristaayo tebabaako ludda lwe bawagira mu by’obufuzi bw’ensi. Tebeenyigira mu nkaayana z’amawanga oba ez’eby’enfuna. (Ebikolwa 10:34, 35) Wabula, ‘babakolera bonna ebirungi.’ (Abaggalatiya 6:10) Olw’okuba Abajulirwa ba Yakuwa tebalina ludda lwe bawagira mu by’obufuzi, mu butuufu, tewandibaddewo n’omu eyandigaanyi obubaka bwabwe ng’agamba nti balina eggwanga, oba ekika ky’abantu kye bawagira.

Baawulwawo lwa Kwagala

10. Okwagala kukulu kwenkana wa eri Omukristaayo?

10 Okwongereza ku ebyo ebyogeddwako, Abakristaayo tebalina ludda lwe bawagira mu nsonga z’ensi olw’enkolagana gye balina ne Bakristaayo bannaabwe. Yesu yagamba abagoberezi be: “Bonna kwe banaategeereranga nga muli bayigirizwa bange, bwe munaabanga n’okwagalana mwekka na mwekka.” (Yokaana 13:35) Okwagala kw’ab’oluganda kintu kikulu nnyo mu kubeera Omukristaayo. (1 Yokaana 3:14) Ng’oggyeko okubeera n’enkolagana ennungi ne Yakuwa era ne Yesu, Omukristaayo era asaanidde okubeera n’enkolagana ennungi n’Abakristaayo abalala. Okwagala kwe tekukoma ku abo bokka abali mu kibiina eky’omu kitundu kye. Kuzingiramu ‘baganda be abali mu nsi yonna.’​—1 Peetero 5:9.

11. Okwagala kuleetedde Abajulirwa ba Yakuwa okweyisa mu ngeri ki eri bannaabwe?

11 Leero Abajulirwa ba Yakuwa booleka okwagala kwabwe okw’ab’oluganda nga batuukiriza ebigambo bya Isaaya 2:4: “Baliweesa ebitala byabwe okubifuula enkumbi, n’amafumu gaabwe okugafuula ebiwabyo: eggwanga teririyimusa kitala eri eggwanga linnaalyo.” Olw’okuba bayigirizibwa Yakuwa, Abakristaayo ab’amazima balina emirembe ne Katonda era ne bannaabwe. (Isaaya 54:13) Olw’okuba baagala Katonda ne baganda baabwe, tekiyinza na kujja mu birowoozo byabwe nti bayinza okulwanyisa Bakristaayo bannaabwe​—oba omuntu omulala yenna mu nsi endala. Emirembe n’obumu bye balina, bikulu nnyo eri okusinza kwabwe, ekiragira ddala nti balina omwoyo gwa Katonda. (Zabbuli 133:1; Mikka 2:12; Matayo 22:37-39; Abakkolosaayi 3:14) ‘Baagala okubeera n’emirembe era n’okugigoberera,’ nga bamanyi nti “amaaso ga Mukama galaba abatuukirivu.”​—Zabbuli 34:14, 15.

Engeri Abakristaayo gye Batunuuliramu Ensi

12. Ndowooza ki Yakuwa gy’alina ku bantu abali mu nsi Abajulirwa be gye bakoppa, era bagikoppa mu ngeri ki?

12 Yakuwa amaze okusalira ensi eno omusango, naye tannaba kusalira musango bantu bonna kinnoomu abali mu nsi eno. Ekyo ajja kukikola okuyitira mu Yesu ekiseera Kye nga kituuse. (Zabbuli 67:3, 4; Matayo 25:31-46; 2 Peetero 3:10) Ekiseera ekyo nga tekinnatuuka, alaga abantu bonna okwagala okw’amaanyi. Era yawaayo n’omwana we eyazaalibwa omu yekka buli omu asobole okufuna obulamu obutaggwaawo. (Yokaana 3:16) Ng’Abakristaayo, tukoppa okwagala kwa Katonda nga tutegeeza abantu abalala ku nteekateeka Katonda gy’akoze okubalokola, wadde ng’ebiseera ebimu tebakkiriza bye tubabuulira.

13. Twanditunuulidde tutya abafuzi b’ensi?

13 Twanditunuulidde tutya abafuzi mu nsi? Pawulo yaddamu ekibuuzo ekyo bwe yawandiika: ‘Buli muntu awulirenga abakulu abafuga: kubanga tewali bukulu butava eri Katonda; n’abakulu abaliwo Katonda abalese mu bifo ebyo okumala akaseera.’ (Abaruumi 13:1, 2) Abantu baba n’obuyinza obw’okufuga ‘obw’akaseera obuseera’ (ka bube nga bungi kwenkana wa, bulijjo buba bwa wansi nnyo ku bwa Yakuwa) kubanga Nnyini buyinza y’abakkiriza okuba nabwo. Omukristaayo agondera abafuzi b’ensi kubanga bw’akola bw’atyo, aba agondera Yakuwa. Naye kiba kitya singa wabeerawo okukontana wakati w’ebyo Katonda by’ayagala ne gavumenti z’abantu bye zaagala?

Amateeka ga Katonda n’Aga Kayisaali

14, 15. (a) Danyeri yasobola atya okwewala omutawaana ku nsonga ekwata ku buwulize? (b) Kiki Abayudaaya abasatu kye baakola bwe baali nga tebasobola kwewala nsonga eyali ekwata ku buwulize?

14 Danyeri ne banne abasatu baatuteerawo ekyokulabirako ekirungi ku ngeri ey’obutagwa lubege nga tugondera gavumenti z’abantu ne Katonda. Abavubuka abo Abayudaaya abana bwe baali mu buwaŋŋanguse mu Babulooni, baagondera amateeka g’omu nsi eyo era mangu ddala baalondebwa okutendekebwa mu ngeri ey’enjawulo. Danyeri bwe yamanya nti okutendekebwa okwo kwandimuleetedde okumenya Amateeka ga Katonda, ensonga eyo yagyogerako n’omukungu eyali avunaanyizibwa. Ekyavaamu, enteekateeka yakolebwa era ne bakkiriza ekyo Abayudaaya abo abana kye baasalawo okukola. (Danyeri 1:8-17) Abajulirwa ba Yakuwa bagoberera ekyokulabirako kya Danyeri nga bannyonnyola abakungu endowooza yaabwe okusobola okwewala ebizibu.

15 Kyokka, ku mulundi omulala, baali tebasobola kwewala kizibu ekyajjawo ekyali kikwata ku buwulize bwabwe. Kabaka wa Babulooni yassaawo ekifaananyi ekinene ennyo mu kiwonvu kya Dduula era n’alagira abakungu nga mw’otwalidde n’ab’amasaza bonna okukuŋŋaana ng’ekifaananyi kiwongebwa. Mu kiseera ekyo, banne ba Danyeri abasatu baali bakuziddwa okubeera ab’amasaza mu Babulooni, n’olwekyo, nabo ekiragiro ekyo kyali kibakwatako. Ekiseera kyandituuse, bonna abaali bakuŋŋaanye ne bavuunamira ekifaananyi ekyo. Naye Abayudaaya abo baali bakimanyi nti ekyo kyali kikontana n’etteeka lya Katonda. N’olwekyo, abalala bonna bwe baavvunamira ekifaananyi, bo baasigala nga bayimiridde. (Ekyamateeka 5:8-10) Olw’okujeemera etteeka lya kabaka, beeteeka mu kabi ak’okuttibwa mu ngeri ey’entiisa, naye obulamu bwabwe bwawonyezebwa mu ngeri ey’ekyamagero. Wadde kyali kityo baali balonzeewo okuttibwa okusinga okujeemera Yakuwa.​—Danyeri 2:49–3:29.

16, 17. Abatume baakola ki bwe baabalagira okulekera awo okubuulira, era lwaki?

16 Mu kyasa ekyasooka, abatume ba Yesu baatwalibwa mu maaso g’abakulembeze b’Abayudaaya mu Yerusaalemi era ne balagirwa okulekera awo okubuulira ebikwata ku linnya lya Yesu. Bandikoze ki? Yesu yali abalagidde okufuula abantu abayigirizwa mu mawanga gonna, nga mw’otwalidde ne Buyudaaya. Era yali abagambye okubeera abajulirwa be mu Yerusaalemi ne mu nsi yonna. (Matayo 28:19, 20; Ebikolwa 1:8) Abatume baali bakimanyi nti ekiragiro kya Yesu kyali kyoleka ekyo Katonda kye yali ayagala bakole. (Yokaana 5:30; 8:28) N’olwekyo, baagamba: “Kigwana okuwulira Katonda okusinga abantu.”​—Ebikolwa 4:19, 20; 5:29.

17 Abatume tebaali bajeemu. (Engero 24:21) Kyokka, abafuzi b’ensi bwe baabagaana okukola Katonda ky’ayagala, baabagamba nti, ‘Kigwana okugondera Katonda okusinga abantu.’ Yesu yagamba nti tusaana ‘okuwa Kayisaali ebibye, ne Katonda ebibye.’ (Makko 12:17) Singa tujeemera etteeka lya Katonda kubanga abantu batulagidde okukola bwe tutyo, awo tuba tuwa abantu ebya Katonda. Mu kifo ky’ekyo, tuwa Kayisaali ebibye byonna by’atusaba, naye era tukimanyi nti Yakuwa y’asinga obuyinza. Ye Mufuzi w’obutonde bwonna, Omutonzi era Nnanyini buyinza.​—Okubikkulirwa 4:11.

Tujja Kusigala nga Tuli Banywevu

18, 19. Baganda baffe bangi bataddewo kyakulabirako ki ekirungi, era tusobola tutya okugoberera ekyokulabirako kyabwe?

18 Mu kiseera kino, gavumenti z’abantu nnyingi zimanyi nti Abajulirwa ba Yakuwa tebalina ludda lwe bawagira mu by’obufuzi era ekyo kitusanyusa nnyo. Kyokka, mu nsi ezimu, Abajulirwa boolekaganye n’okuziyizibwa okw’amaanyi ennyo. Mu kyasa ekya 20 kyonna n’okutuukira ddala mu kiseera kino, abamu ku baganda baffe bafaabinye nnyo, nga balwana ‘olutalo olulungi olw’okukkiriza’ olw’eby’omwoyo.’​—1 Timoseewo 6:12.

19 Tusobola tutya okunywera nga baganda baffe abo? Okusooka, tulina okujjukira nti tujja kuziyizibwa. Tetwandyeraliikiridde wadde okwewuunya singa twolekagana nakwo. Pawulo yalabula Timoseewo: “Bonna abaagala mu Kristo Yesu okukwatanga empisa ez’okutya Katonda banaayigganyizibwanga.” (2 Timoseewo 3:12; 1 Peetero 4:12) Mu nsi efugibwa Setaani, twandisuubidde obutayigganyizibwa? (Okubikkulirwa 12:17) Bwe tunaabeeranga abeesigwa, wajja kubangawo ‘abeewuunya era abatwogerako obubi.’​—1 Peetero 4:4.

20. Tujjukizibwa bintu ki ebituzzaamu amaanyi?

20 Eky’okubiri, tuli bakakafu nti Yakuwa ne bamalayika be bajja kutuyamba. Nga Erisa ow’edda bwe yagamba, “abali naffe bangi okusinga abali nabo.” (2 Bassekabaka 6:16; Zabbuli 34:7) Kiyinzika okuba nti, Yakuwa akkiriza abatuziyiza okutuyigganya okumala akabanga olw’ensonga ennungi. Wadde kiri kityo, bulijjo ajja kutuwa amaanyi ge twetaaga okugumiikiriza. (Isaaya 41:9, 10) Abamu battiddwa, naye ekyo tekitumalaamu maanyi. Yesu yagamba: “Temubatyanga abatta omubiri, naye nga tebayinza kutta bulamu: naye mutyenga ayinza okuzikiririza obulamu n’omubiri mu Ggeyeena.” (Matayo 10:16-23, 28) Tuli ‘bayise buyise’ mu nteekateeka y’ebintu bino. Tukozesa ebiseera byaffe kati ‘okusobola okufuna obulamu obwa nnamaddala,’ obulamu obutaggwaawo mu nsi ya Katonda empya. (1 Peetero 2:11; 1 Timoseewo 6:19) Tewali muntu yenna ayinza okutulemesa okufuna empeera eyo singa tusigala nga tuli beesigwa eri Katonda.

21. Kiki kye tulina okujjukiranga bulijjo?

21 N’olwekyo, ka tujjukire enkolagana ey’omuwendo gye tulina ne Yakuwa Katonda. Ka bulijjo tusiime nnyo omukisa ogw’okubeera abagoberezi ba Kristo era abo abanaafugibwa Obwakabaka bwe. Ka twagale baganda baffe n’omutima gwonna, era ka bulijjo tusiime okwagala nabo kwe batulaga. N’ekisinga byonna, ka tugoberere ebigambo by’omuwandiisi wa Zabbuli: “Lindirira Mukama: ddamu amaanyi, ogume omwoyo gwo; weewaawo, lindirira Mukama.” (Zabbuli 27:14; Isaaya 54:17) Olwo nno, okufaananako Abakristaayo abaatusookawo, tujja kusigala nga tuli banywevu era nga tulina essuubi ekakafu ng’Abakristaayo abeesigwa abatalina ludda lwe bawagira mu by’obufuzi era abatali ba nsi.

Osobola Okunnyonnyola?

• Enkolagana gye tulina ne Yakuwa etufuula etya abatali ba nsi?

• Ng’abafugibwa Obwakabaka bwa Katonda, tusobola tutya okubeera nga tetulina ludda lwe tuwagira mu by’obufuzi bw’ensi eno?

• Okwagala baganda baffe kutusobozesa kutya okubeera abatalina ludda lwe tuwagira mu by’obufuzi era abaawufu ku nsi eno?

[Ebibuuzo]

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 25]

Okugondera Obwakabaka bwa Katonda kukola ki ku nkolagana yaffe n’ensi?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 26]

Omuhutu n’Omutuusi bakolera wamu nga basanyufu

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 27]

Abakristaayo Abayudaaya n’Abawalabu

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 27]

Abakristaayo Abasabiya, Ababosiniya n’ab’omu Korosiya bali wamu

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 28]

Kiki kye twandikoze singa abafuzi batulagira okumenya amateeka ga Katonda?