Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
Kwandibadde kugattika nzikiriza singa ekizimbe kigulibwa ku kibiina ky’eddiini ekirala ne kifuulibwa Ekizimbe ky’Obwakabaka?
Okutwalira awamu, Abajulirwa ba Yakuwa beewala enkolagana ng’eyo n’amadiini amalala. Kyokka, ekyo ne bwe kiba nga kibaddewo, kiyinza obutaba kugattika nzikiriza. Kiyinza okutwalibwa ng’enkolagana mu bizineesi. Ekibiina ky’Abajulirwa ba Yakuwa eky’omu kitundu ekyo kiba tekikolagana n’ekibiina ky’eddiini ekirala okuzimba ekifo ekinaakozesebwa ebibiina byombi mu kusinza.
Kiki Yakuwa ky’atwala ng’okugattika enzikiriza? Lowooza ku bigambo by’omutume Pawulo: “Temwegattanga na batakkiriza kubanga temwenkanankana: kubanga obutuukirivu n’obujeemu bugabana butya? Oba omusana gussa kimu gutya n’ekizikiza? Era Kristo atabagana atya ne Beriyali? Oba mugabo ki eri omukkiriza n’atali mukkiriza? Era yeekaalu ya Katonda yeegatta etya n’ebifaananyi? . . . Kale muve wakati w’abo, mweyawule, bw’ayogera Mukama, so temukomanga ku kintu ekitali kirongoofu; nange ndibasembeza.” (2 Abakkolinso 6:14-17) Omutume Pawulo yali ategeeza ki bwe yagamba nti “bugabana butya” oba nti “gussa gutya ekimu”?
Okutabagana Pawulo kwe yayogerako kuzingiramu okusinza n’okubeera n’enkolagana mu by’omwoyo n’abantu abasinza ebifaananyi era abatali bakkiriza. Yalabula Abakristaayo ‘obutagabana ku mmeeza ya balubaale.’ (1 Abakkolinso 10:20, 21) N’olwekyo, okugattika enzikiriza kukwata ku kusinza oba okutabagana mu by’omwoyo n’ebibiina by’eddiini ebirala. (Okuva 20:5; 23:13; 34:12) Ekizimbe ekibadde kikozesebwa ekibiina ky’eddiini ekirala bwe kigulibwa, ekigendererwa kiba kufuna bufunyi kizimbe kyokka ekyetaagisa okubeera Ekizimbe ky’Obwakabaka. Nga tekinnakozesebwa ng’Ekizimbe ky’Obwakabaka, kiggyibwamu ebintu byonna ebikwataganyizibwa n’okusinza okw’obulimba. Nga kimaze okukyusibwa mu ngeri eyo, kiweebwayo eri Yakuwa era ne kikozesebwa mu kumusinza. Awo tewabaawo kugattika kusinza okw’amazima n’okw’obulimba.
Enteesaganya ezikwata ku kugula ekizimbe ng’ekyo, tezisaanidde kusukka kigendererwa ekyo. Abo abali mu kibiina Ekikristaayo basaanidde okujjukira okubuulirira kwa Pawulo okukwata ku ‘butatabagana na batakkiriza.’ Wadde nga tetwetwala kuba ba waggulu okusinga ab’enzikiriza endala, twewala okubeegattako mu kusinza kwabwe. *
Naye ate kiba kitya ekibiina okupangisa ekizimbe ky’eddiini ekirala? Okupangisa ekizimbe kitera okuleetawo enkolagana n’abantu ab’eddiini endala, ekintu ekirina okwewalibwa. Ne bwe kiba nga kyandyetaagisiza okupangisa ekizimbe ekyo okukoleramu omukolo gumu gwokka, akakiiko k’abakadde kalina okwetegereza bino: Mu kizimbe ekyo oba wabweru waakyo eriyo ebifaananyi ebikozesebwa mu kusinza n’obubonero obulala obw’eddiini? Abantu b’omu kitundu banaakitwala batya singa tukozesa ekifo ekyo? Waliwo omuntu yenna ali mu kibiina ayinza okwesittala nga tukozesezza ekizimbe ekyo? (Matayo 18:6; 1 Abakkolinso 8:7-13) Abakadde balina okukubaganya ebirowoozo ku nsonga ezo ne balyoka basalawo. Basaanidde okulowooza ku muntu waabwe ow’omunda n’ow’abo abali mu kibiina nga tebannaba kusalawo kupangisa kizimbe oba okukigula n’okukifuula Ekizimbe ky’Obwakabaka.
[Obugambo obuli wansi]
^ Laba The Watchtower aka Apuli 15, 1999, empapula 28 ne 29 ku bikwata ku kukola bizineesi n’ebibiina Yakuwa by’atasiima.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 30]
Ekizimbe kino ekyali esinzizo, kyagulibwa era ne kifuulibwa Ekizimbe ky’Obwakabaka