Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Kiba kikyamu okukuba zzaala bwe kiba nti ssente ezisingiddwaawo ntono?

Ekigambo kya Katonda tekyogera butereevu ku kukuba zzaala, naye kiraga bulungi nti okukuba zzaala okw’engeri yonna kukontana n’emisingi gyakyo. * Ng’ekyokulabirako, abantu bangi bakimanyi nti okukuba zzaala kuleeta omulugube. Ekyo kikulu nnyo Abakristaayo okukirowoozaako kubanga Baibuli egamba nti ‘abaluvu’ tebalisikira Bwakabaka bwa Katonda, era nti okwegomba kugwa mu ttuluba lye limu n’okusinza ebifaananyi.​—1 Abakkolinso 6:9, 10; Abakkolosaayi 3:5.

Okukuba zzaala era kuleetera abantu okwerowoozaako ennyo ssaako n’omwoyo gw’okuvuganya, olw’okwagala ennyo okuwangula. Omutume Pawulo yalabula ku bintu ng’ebyo bwe yawandiika: “Tuleme okwenyumiririzanga obwereere, nga twesunguwaza fekka na fekka, nga tukwatibwa obuggya fekka na fekka.” (Abaggalatiya 5:26) Ate era, okukuba zzaala kuleetera abamu okwesigama ku bulombolombo obugambibwa okuleeta emikisa. Abakubi ba zzaala beenyigira mu bulombolombo bungi basobole okufuna omukisa ogw’okuwangula. Batujjukiza Abaisiraeri abataali beesigwa ‘abaategekeranga katonda Mukisa emmeeza era abaajulizanga katonda w’Entuuko omwenge omusu.’​—Isaaya 65:11.

Abamu bayinza okugamba nti okusibawo ssente entonotono nga bazannya amatatu oba omuzannyo omulala n’ab’emikwano oba n’ab’eŋŋanda mu ngeri etali ya kuvuganya kwa maanyi, tekiriimu kabi. Kituufu nti omuntu asibawo ssente entonotono mu kuzannya zzaala ayinza obuteeraba ng’ow’omulugube, eyeefaako yekka, avuganya, oba agoberera obulombolombo obukyamu. Naye abo b’azannya nabo kinaabakolako ki? Abakubi ba zzaala bangi, baatandika mpolampola nga basibawo obusente obutonotono mu ngeri ‘ey’okwesanyusaamu.’ (Lukka 16:10) Ogwali omuzannyo obuzannyo, gwabafuukira ekyambika.

Ekyo kikyase nnyo ne mu baana. Abaana bangi bacamuukirira nnyo bwe bawangula obusente obutonotono era ne bakemebwa okuluubirira okuwangula ezisingawo. (1 Timoseewo 6:10) Okunoonyereza okwatwala ebbanga eggwanvu mu Amerika, okwakolebwa ekitongole ekiyitibwa Arizona Council on Compulsive Gambling, kulaga nti bangi ku baakwatibwa omuze gw’okukuba zzaala, baatandika bakyali bato “nga basibawo obusente obutonotono ku binaava mu mizannyo oba nga bazannya amatatu n’ab’emikwano oba ab’eŋŋanda.” Lipoota endala egamba nti “abaana batandikira waka okukuba zzaala, emirundi mingi nga bazannya amatatu n’ab’eŋŋanda oba n’ab’emikwano.” Lipoota eyo egattako nti “abaana asatu ku buli kikumi ku abo abakuba zzaala, baatandika tebannaweza myaka kkumi na gumu.” Okusinziira ku kunoonyereza Why Do People Gamble Too Much​—Pathological and Problem Gambling, abatiini bangi beenyigira mu bikolwa eby’obumenyi bw’amateeka, oba eby’obugwenyufu okusobola okufuna ssente ez’okukuba zzaala. Ekintu ekyabalabikira ng’ekitalina kabi konna mu ntandikwa nga kyabaviiramu emitawaana egy’amaanyi!

Okuva bwe tuli mu nsi eyajjula edda ebikemo, lwaki tuba twereetera ekikemo ekirala? (Engero 27:12) Okukuba zzaala​—ka wabe nga waliwo abaana oba tewali, kube nga kuzingiramu ssente nnyingi oba ntono​—kuba kwa kabi nnyo eri embeera yaffe ey’eby’omwoyo era tusaana okukwewala. Kyandibadde kirungi Abakristaayo abanyumirwa okuzannya amatatu oba ludo obutayingizaamu ssente. Abakristaayo ab’amagezi era abafaayo ku mbeera yaabwe ey’eby’omwoyo awamu n’ey’abalala, beewala omuze ogw’okukuba zzaala​—k’abe oyo ow’essente entono.

[Obugambo obuli wansi]

^ Ekitabo World Book Encyclopedia kinnyonnyola okukuba zzaala nga “okusibawo ssente ku binaava mu muzannyo, oba ekintu ekirala.” Era kyeyongera ne kigamba nti “abakubi ba zzaala batera okusibawo ssente ku . . . mizannyo gamba ng’okukuba obululu, matatu, ne ludo.”