Lwaki Kizibu Nnyo Okwetonda?
Lwaki Kizibu Nnyo Okwetonda?
MU Jjulaayi 2000, Olukiiko Oluteeka Amateeka mu California mu Amereka, lwayisa ebbago ly’etteeka eriggyako omuntu obuvunaanyizibwa bw’aba nabwo obw’okusasula engassi singa yeetondera omuntu gw’aba atuusizzaako ebisago mu kabenje. Lwaki etteeka eryo lyayisibwa? Kyetegerezebwa nti akabenje bwe kakosa omuntu oba bwe kaviirako okwonoonebwa kw’ebintu, abantu batya okwetonda nga balowooza nti, ekyo kkooti ejja kukitwala ng’obujulizi obulaga nti bakkirizza ensobi yaabwe. Ku luuyi olulala, abo abalowooza nti basaanidde okwetonderwa mu bwangu, bayinza okunyiiga ekyo bwe kitakolebwa, era akabenje akabadde akatono ne kavaamu enkaayana ey’amaanyi.
Kya lwatu, kiba tekyetaagisa kwetonda olw’akabenje k’otakoze. Era ebiseera ebimu kiyinza okuba eky’amagezi okuba omwegendereza mu by’oyogera. Olugero olw’edda lugamba: “Mu lufulube lw’ebigambo temubula kusobya: [n]aye oyo aziyiza emimwa gye akola eby’amagezi.” (Engero 10:19; 27:12) Wadde nga kiri bwe kityo, oyinza okubeera omukkakkamu era n’obaako ky’okolawo okuyamba.
Si kituufu nti, abantu bangi tebeetonda wadde nga tebalina tteeka lye baba bamenye eriyinza okubatwaza mu kkooti? Awaka, omukyala ayinza okugamba nti, ‘Omwami wange tayinza kwetonda.’ Ku mulimu, nnampala ayinza okwemulugunya nti ‘Abakozi bange tebakkiriza nsobi zaabwe, era tebayinza kwetonda.’ Ku ssomero, omusomesa ayinza okugamba, ‘Abaana tebatendekeddwa kugamba nti nsonyiwa.
Ensonga emu lwaki abantu balonzalonza okwetonda eri nti batya okubeewala. Olw’okulowooza nti ayinza obutasaasirwa, omuntu ayinza obutalaga nneewulira ye ku ekyo ky’aba akoze. Mu butuufu, omuntu eyakolebwa ekibi ayinza okwewalira ddala oyo eyakimukola, ne kiba kizibu okuddamu okutabagana naye.
Ensonga endala ereetera abantu obuteetonda, bwe butafaayo ku nneewulira z’abalala. Bayinza okugamba nti ‘Okwetonda tekujja kuggyawo nsobi gye nkoze.’ Waliwo n’abo abagaana okwetonda olw’ebyo ebiyinza okuvaamu. Bayinza okwebuuza nti, ‘Banaanvunaana era ne baŋŋamba okuliwa?’ Naye ensonga esingayo obukulu ereetera abantu obutakkiriza nsobi zaabwe, ge malala. Omuntu agaana “okwetonda” olw’amalala ayinza okugamba nti, ‘saagala kuswala nga nzikiriza ensobi yange. Ekyo kiyinza okummalamu ekitiibwa.’
K’ebe nsonga ki omuntu gy’asinziirako, abantu bangi bakisanga nga kizibu okwetonda. Naye ddala kyetaagisa okwetonda? Miganyulo ki egiva mu kwetonda?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 3]
“Abaana tebatendekeddwa kugamba nti nsonyiwa”
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 3]
“Abakozi bange tebakkiriza nsobi zaabwe”
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 3]
“Mwami wange tayinza kwetonda”