Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

“Muziyize Omulyolyomi”

“Muziyize Omulyolyomi”

“Muziyize Omulyolyomi”

“Muziyize Omulyolyomi, naye anaabadduka.”​—YAKOBO 4:7, NW.

1. Kiki ekiyinza okwogerwa ku nsi ey’akakyo kano, era lwaki abaafukibwako amafuta ne bannaabwe balina okubeera obulindaala?

 “KATONDA taliiwo, naye Omulyolyomi ye waali.” Ebigambo ebyo ebyayogerwa omuwandiisi Omufalansa, André Malraux, bituukagana bulungi nnyo n’embeera eri mu nsi mu kakyo kano, kubanga ebikolwa by’abantu byoleka nkola ya Setaani so si ebyo Katonda by’ayagala. Setaani abuzaabuza abantu ng’akozesa ‘ebikolwa n’obubonero eby’obulimba na buli kyonna ekiyinza okukyamya abo ababula.’ (2 Abasessaloniika 2:9, 10) Kyokka, mu ‘nnaku zino ez’enkomerero,’ Setaani yeefubiridde nnyo abaweereza ba Katonda abeewaddeyo gy’ali, ng’alwanagana n’Abakristaayo abaafukibwako amafuta, ‘abakwata ebiragiro bya Katonda era abalina omulimu gw’okuwa obujulirwa ku Yesu.’ (2 Timoseewo 3:1; Okubikkulirwa 12:9, 17) Abaweereza banno abaafukibwako amafuta awamu ne bannaabwe abalina essuubi ery’okubeera ku nsi, balina okubeera obulindaala.

2. Setaani yasendasenda atya Kaawa, era kutya kwa ngeri ki omutume Pawulo kwe yalina?

2 Setaani mulimba lukulwe. Ng’akozesa omusota, yalimbalimba Kaawa eyatuuka n’okulowooza nti yandisobodde okufuna essanyu erisingawo nga yeeyawudde ku Katonda. (Olubereberye 3:1-6) Nga wayiseewo emyaka ng’enkumi nnya, omutume Pawulo yatya nti Abakristaayo abaafukibwako amafuta mu Kkolinso nabo bandigudde mu kyambika kya Setaani. Pawulo yawandiika: ‘Ntidde nti, ng’omusota bwe gwalimbalimba Kaawa mu bukuusa bwagwo, mpozzi ebirowoozo byammwe biyinza okwonoonebwa muve ku bwesimbu n’obulongoofu ebiri eri Kristo.’ (2 Abakkolinso 11:3) Setaani ayonoona era n’akyamya ebirowoozo by’abantu. Nga bwe yasendasenda Kaawa, ayinza okuleetera Abakristaayo okulowooza mu bukyamu nti bandifunye essanyu singa bakola ebintu Yakuwa n’Omwana we bye batayagala.

3. Bukuumi ki Yakuwa bw’awa okuva ku Mulyolyomi?

3 Setaani ayinza okugeraageranyizibwa ku muntu atega ebinnyonnyi. Okusobola okwewala emitego gya Setaani, twetaaga ‘okubeera mu kifo eky’ekyama eky’Oyo Ali Waggulu Ennyo,’ ekifo eky’obukuumi eky’akabonero Yakuwa ky’awa abo abakkiriza era ne bagondera obufuzi bwe mu byonna bye bakola. (Zabbuli 91:1-3) Twetaaga obukuumi bwonna Yakuwa bw’atuwa okuyitira mu Kigambo kye, omwoyo gwe n’ekibiina kye tulyoke tusobole ‘okuziyiza enkwe za Setaani.’ (Abaefeso 6:11) Ekigambo ky’Oluyonaani ekivvuunulwa “enkwe” era kiyinza okuvvuunulwa nga “obukujjukujju.” Awatali kubuusabuusa, Omulyolyomi akozesa obukujjukujju ng’ayagala okusuula abaweereza ba Yakuwa mu mutego.

Emitego Setaani Gye Yatega Abakristaayo Abaasooka

4. Abakristaayo abaasooka baali mu mbeera ya ngeri ki?

4 Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka n’eky’okubiri C.E., baali mu kiseera Obufuzi bw’Abaruumi we bwatuukira ku ntikko yaabwo. Emirembe egyaliwo mu Bufuzi bw’Abaruumi mu kiseera ekyo, gyasobozesa enkulaakulana mu by’obusuubuzi. Okukulaakulana okwo kwasobozesa abafuzi okuba n’ebiseera eby’eddembe bingi, era abafuzi abo baakolera abantu aba bulijjo enteekateeka nnyingi ez’okwesanyusaamu baleme okwegugunga. Ebiseera ebimu, ennaku ez’okuwummula zaali zenkanankana obungi n’ez’okukolerako emirimu. Abakulembeze baakozesanga ensimbi z’eggwanga okuwa abantu eby’okulya era ne babakolera n’enteekateeka ez’eby’amasanyu, mu ngeri eyo, ne bawugula ebirowoozo byabwe.

5, 6. (a) Lwaki tekyali kirungi Abakristaayo okugendanga mu bifo Abaruumi mwe baalagiranga emizannyo? (b) Kakodyo ki Setaani ke yakozesa, era Abakristaayo bandisobodde batya okukeewala?

5 Embeera eyo yali ya kabi eri Abakristaayo abaasooka? Bwe twekenneenya okulabula kw’abawandiisi abaaliwo amangu ddala ng’abatume baakavaawo, gamba nga Tertullian, eby’amasanyu ebisinga obungi ebyaliwo mu kiseera ekyo byali bya kabi eri embeera ey’eby’omwoyo n’empisa z’Abakristaayo ab’amazima. Mu ngeri emu waaliwo akabi olw’okuba emikolo n’emizannyo egisinga obungi abantu gye beenyigirangamu gyakolebwanga okuwa bakatonda abakaafiiri ekitiibwa. (2 Abakkolinso 6:14-18) Mu bifo omwalagibwanga emizannyo, wadde n’egyo egyali gitwalibwa ng’emirungi, gyalingamu ebikolwa eby’obugwenyufu oba okuyiwa omusaayi. Ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, n’emizannyo egyanyumiranga abantu, abantu baalekera awo okugijjumbira era mu kifo kyagyo, ne bazzaawo emizannyo egy’obugwenyufu n’egyo egyabangamu amazina. Mu kitabo kye ekiyitibwa Daily Life in Ancient Rome, munnabyafaayo, Jérôme Carcopino, agamba: “Mu mizannyo egyo, abazannyi baakkirizibwanga okweyambula ne basigalira ddala bukunya . . . Omusaayi mungi gwayiibwanga. . . . Emizannyo egyo egy’obugwenyufu gyasanyusanga nnyo abantu abangi abaali mu kibuga. Abantu abo tebeesisiwalanga olw’emizannyo egyo kubanga mu kiseera ekyo baali bamanyidde okugiraba.”​—Matayo 5:27-28.

6 Mu bifo omwalagibwanga emizannyo, abasajja abalwanyi baalwananga bokka na bokka okutuusa omu oba bombi bwe baafa, oba baalwananga n’ebisolo ebikambwe okutuusa bwe baabitta oba byo bwe byabatta. Abamenyi b’amateeka era n’Abakristaayo bangi, baakasukibwanga mu bisolo ebikambwe. Wadde ne mu biseera ebyo ebyasooka, akakodyo ka Setaani kaali okuleetera bantu okumanyiira ebikolwa eby’obugwenyufu n’eby’ettemu okutuusa lwe byandifuuse ebintu ebya bulijjo abantu bye bettanira ennyo. Engeri yokka eyandisobozesezza Abakristaayo okwewala emitego egyo, bwe butagendera ddala mu bifo ebyo.​—1 Abakkolinso 15:32, 33.

7, 8. (a) Lwaki tekyandibadde kya magezi Omukristaayo okugenda mu bifo ebyalingamu empaka z’amagaali? (b) Setaani ayinza okuba yakozesa atya ebifo Abaruumi gye baanaabiranga okutega Abakristaayo?

7 Awatali kubuusabuusa, empaka z’amagaali ezaalinga mu bifo omwalagibwanga emizannyo zaali nnyuvu nnyo, naye Abakristaayo baali tebayinza kuzeetabamu kubanga abantu beeyisanga mu ngeri ey’obukambwe. Omuwandiisi ow’omu kyasa eky’okusatu yagamba nti abamu ku balabi baalwananga bokka na bokka, ate ye Carcopino n’agamba nti mu bifo ebyo mwalimu “abalaguzi ne bamalaaya.” Mazima ddala, Abakristaayo baali tebasaanidde kugenda mu bifo ebyo eby’Abaruumi omwalagirwanga emizannyo.​—1 Abakkolinso 6:9, 10.

8 Naye ate kyali kitya ku bifo Abaruumi gye baanaabiranga? Awatali kubuusabuusa, tewaaliwo kikyamu kyonna mu kunaaba okusobola okweyonja. Naye ebifo ebisinga obungi Abaruumi gye baanaabiranga byalinga binene nnyo, nga mulimu ebisenge mwe baakoleranga masaagi, eby’emizannyo, eby’okukubiramu zzaala, eby’okuliiramu awamu n’okunywa. Wadde nga kyali kigambibwa nti abakazi baanaabanga bokka era n’abasajja bokka, tebaagaananga basajja n’abakazi okunaabira awamu. Clement ow’e Alexandria yawandiika: “Ebifo eby’okunaabiramu byakkirizibwamu abasajja n’abakazi, era nga bali eyo beeyambula ne basigala bukunya ne beenyigira mu bikolwa eby’obuseegu.” N’olwekyo, Setaani yali asobola bulungi okukozesa ebifo ng’ebyo okutega Abakristaayo. Abo abaali ab’amagezi, beewala ebifo ebyo.

9. Mitego ki Abakristaayo abasooka gye baali balina okwewala?

9 Abantu baanyumirwanga nnyo okukuba zzaala mu kiseera Obufuzi bw’Abaruumi we bwatuukira ku ntikko yaabwo. Abakristaayo abaasooka bandyewaze okukuba zzaala mu bifo omwalinga empaka z’amagaali nga tebagenderayo ddala. Abantu baakubanga zzaala mu ngeri emenya amateeka mu bisenge ebimu eby’amabbaala. Okukuba zzaala kwasanyusanga nnyo abantu, kubanga kwabasobozesanga okufuna ssente ez’amangu. (Abaefeso 5:5) Okwongereza ku ebyo, abakyala abaakolanga mu bbaala ezo, baalinga bamalaaya, ekyaleetawo akabi ak’okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu. Egyo gye gimu ku mitego Setaani gye yateerawo Abakristaayo abaabeeranga mu bibuga mu biseera by’Obufuzi bw’Abaruumi. Embeera eriwo leero eyawukana nnyo ku eyo?

Emitego gya Setaani Leero

10. Embeera eriwo leero efaanagana etya n’eyo eyaliwo mu Bufuzi bw’Abaruumi?

10 Okutwalira awamu, obukodyo bwa Setaani tebukyuse n’akamu wadde nga wayiseewo ebyasa bingi. Okusobola okuyamba Abakristaayo abaali mu kibuga ky’e Kkolinso ‘obutawangulwa Setaani,’ omutume Pawulo yababuulirira n’amaanyi. Yabagamba: ‘Tumanyi enkwe za Setaani.’ (2 Abakkolinso 2:11, NW) Mu nsi nnyingi ezaakula edda, embeera efaananira ddala ng’eyo eyaliwo mu kiseera Obufuzi bw’Abaruumi we bwatuukira ku ntikko yaabwo. Abantu kati balina ebiseera bingi eby’okwesanyusaamu okusinga bwe kyali kibadde. Emizannyo egy’okukuba obululu gavumenti gy’eteekawo gireetera n’abaavu okusuubira okuggagawala. Waliwo eby’amasanyu bingi abantu bye basobola okwenyigiramu. Ebisaawe by’emizannyo bikubako, abantu bakuba zzaala, era ebiseera ebimu abalabi n’abazannyi beeyisa mu ngeri ey’obukambwe. Abantu bawuliriza ennyimba embi, era emizannyo egy’obugwenyufu giragibwa mu bifo omulagibwa emizannyo ne ku ttivi. Mu nsi ezimu, kya bulijjo abasajja n’abakazi okunaabira awamu mu bisenge ebimu, ng’ate yo ku mbalama z’ennyanja abantu banaaba nga bali bukunya. Nga bwe kyali eri Abakristaayo abaasooka, Setaani agezaako nnyo okutega abaweereza ba Katonda okuyitira mu by’amasanyu ng’ebyo.

11. Mitego ki egiri mu kubeerako mu ggandaalo?

11 Mu nsi eno omuli okweraliikirira okungi, kya bulijjo okwagala okubeerako mu ggandaalo n’okwesanyusaamu. Kyokka, ng’ebifo Abaruumi gye baanaabiranga bwe byali eby’akabi eri Abakristaayo abaasooka, mu ngeri y’emu, ebifo ebimu eby’okwesanyusaamu ebiriwo leero, Setaani abikozesa ng’emitego okusuula Abakristaayo ab’omu kiseera kino mu bikolwa eby’obugwenyufu oba okubaleetera okwekamirira omwenge. Pawulo yawandiikira Abakristaayo ab’omu Kkolinso: “Temulimbibwanga. Emikwano emibi gyonoona empisa ennungi. Mutamiirukukenga mu butuukirivu, so temwonoonanga; kubanga abalala tebategeera Katonda.”​—1 Abakkolinso 15:33, 34.

12. Bukodyo ki obumu Setaani bw’akozesa okutega abaweereza ba Yakuwa leero?

12 Tumaze okulaba engeri Setaani gye yakozesaamu obukujjukujju okwonoona endowooza ya Kaawa. (2 Abakkolinso 11:3) Ogumu ku mitego Omulyolyomi gw’akozesa leero, kwe kuleetera Abakristaayo okulowooza nti singa beeyisa ng’abantu aba bulijjo, bajja kusobola okusikiriza abamu eri amazima. Naye ebiseera ebimu beeyisiza ddala ng’abatali bakkiriza era ku nkomerero ne babeera nga bo. (Kaggayi 2:12-14) Akakodyo akalala Setaani k’akozesa, kwe kuleetera Abakristaayo, abakulu n’abato ‘okunakuwaza omwoyo omutukuvu’ nga batambulira mu bulamu obw’emirundi ebiri. (Abaefeso 4:30) Abamu bagudde mu katego ako nga bakozesa bubi Internet.

13. Mutego ki omwekusifu Setaani gw’akozesa, era kubuulirira ki okutuukirawo okuli mu Engero?

13 Omutego gwa Setaani omulala, bwe busamize obwekusifu. Tewali Mukristaayo n’omu eyandyagadde okwenyigira mu busamize. Kyokka, abamu tebaba bulindaala naddala nga balaba ebifaananyi eby’oku ntimbe, programu ku ttivi, emizannyo gy’oku vidiyo, oba nga basoma ebitabo by’abaana oba ebitabo ebirimu ebintu ebisesa kyokka nga birimu ebikolwa eby’ettemu n’obusamize. Ekintu kyonna ekyekuusa ku busamize kirina okwewalibwa. Olugero olw’amagezi lugamba: “Amaggwa n’ebyambika biri mu kkubo ery’omubambaavu: akuuma emmeeme ye alibibeera wala.” (Engero 22:5) Okuva Setaani bw’ali “katonda ow’emirembe gino,” ekintu kyonna ekiganzi, kiyinza okubaamu emitego gye.​—2 Abakkolinso 4:4; 1 Yokaana 2:15, 16.

Yesu Yaziyiza Omulyolyomi

14. Yesu yaziyiza atya ekikemo ky’Omulyolyomi ekyasooka?

14 Yesu yassaawo ekyokulabirako ekirungi eky’okuziyiza Omulyolyomi era n’amuleetera okumudduka. Oluvannyuma lw’okubatizibwa era n’okusiiba ennaku 40, Setaani yakema Yesu. (Matayo 4:1-11) Okusooka, yakema Yesu ng’akozesa enjala eyali emuluma oluvannyuma lw’okusiiba. Setaani yagamba Yesu akole eky’amagero asobole okufuna eky’okulya. Ng’ajuliza Ekyamateeka 8:3, Yesu yagaana okukozesa amaanyi ge mu ngeri embi era n’alaga nti emmere ey’eby’omwoyo y’esinga ey’omubiri.

15. (a) Kintu ki eky’omu butonde Setaani kye yakozesa okukema Yesu? (b) Akamu ku bukodyo Setaani k’asinga okukozesa ku bantu ba Katonda leero ke kaluwa, naye tusobola tutya okumuziyiza?

15 Ekintu ekyewuunyisa ekikwata ku kikemo kino kiri nti, Setaani teyakema Yesu yenyigire mu bukaba. Enjala, ereetera omuntu okwagala okulya emmere, kye kintu ekyali kisaanira okukozesa okukema Yesu mu kiseera ekyo. Bikemo ki Omulyolyomi by’akozesa okutega abantu ba Katonda leero? Bingi nnyo ate nga bya njawulo, naye nga asinga kukozesa bukaba okumenya obugolokofu bw’abantu ba Yakuwa. Bwe tukoppa Yesu, tusobola okuziyiza Omulyolyomi era n’ebikemo bye. Nga Yesu bwe yalemesa Setaani ng’ajuliza ebyawandiikibwa ebyali bituukirawo, naffe bwe tuba nga tukemeddwa, tusobola okukozesa ebyawandiikibwa gamba nga Olubereberye 39:9 ne Abakkolinso 6:18.

16. (a) Setaani yakema atya Yesu omulundi ogw’okubiri? (b) Mu ngeri ki Setaani mw’asobolera okutukema okugezesa Yakuwa?

16 Ate era Omulyolyomi yasoomooza Yesu abuuke okuva ku kisenge kya yeekaalu alabe oba nga Katonda anaamuwanirira ng’akozesa bamalayika be. Ng’ajuliza Ekyamateeka 6:16, Yesu yagaana okukema Kitaawe. Setaani ayinza obutatukema okubuuka okuva ku kisenge kya yeekaalu, naye asobola okutukema okugezesa Yakuwa. Tukemebwa okulaba wa we tuyinza okukoma mu kukoppa abantu b’ensi mu nnyambala n’okwekolako ne tutakangavvulwa? Tukemebwa okwenyigira mu by’amasanyu ebitali birungi? Bwe tukola bwe tutyo, tuba tugezesa Yakuwa. Bwe tubeera n’endowooza ng’ezo, mu kifo kya Setaani okutudduka, ajja kutwesibako era afubenga nnyo okulaba nti tumwegattako mu kujeemera Katonda.

17. (a) Omulyolyomi yakema atya Yesu omulundi ogw’okusatu? (b) Tuyinza tutya okugoberera okubuulirira okuli mu Yakobo 4:7?

17 Setaani bwe yagamba Yesu okumuvuunamira alyoke amuwe Obwakabaka bw’ensi yonna, Yesu era yamuziyiza ng’ajuliza ekyawandiikibwa, era n’anywerera ku kusinza Kitaawe yekka. (Ekyamateeka 5:9; 6:13; 10:20) Setaani ayinza obutatuwa bwakabaka bw’ensi, naye buli kiseera atukema ng’akozesa eby’obugagga. Tukola nga Yesu bwe yakola, era ne tusalawo okusinza Yakuwa yekka? Bwe tukola bwe tutyo, ekyatuuka ku Yesu, naffe kijja kututuukako. Matayo yagamba: “Awo Setaani n’amuleka.” (Matayo 4:11) Setaani ajja kutuleka singa tumuziyiza nga tujjukira emisingi gya Baibuli egituukirawo era ne tugigoberera. Omuyigirizwa Yakobo yawandiika: ‘Muziyizenga Omulyolyomi, naye anaabaddukanga.’ (Yakobo 4:7, NW) Omukristaayo omu yawandiikira ettabi ly’Abajulirwa ba Yakuwa ery’omu Bufalansa ng’agamba: “Ddala Setaani mukujjukujju nnyo. Wadde nga nnina ebiruubirirwa ebirungi, nkisanga nga kizibu nnyo okufuga enneewulira era n’okwegomba kwange. Wadde kiri bwe kityo, olw’obuvumu, obugumiikiriza era n’ekisinga byonna, obuyambi bwa Yakuwa, nsobodde okunywerera mu mazima.”

Tulina Byonna Ebitusobozesa Okuziyiza Omulyolyomi

18. Kyakulwanyisa ki eky’eby’omwoyo ekitusobozesa okuziyiza Omulyolyomi?

18 Yakuwa atuwadde ekyambalo eky’okulwanyisa eky’eby’omwoyo ekitusobozesa ‘okuziyiza enkwe z’Omulyolyomi.’ (Abaefeso 6:11-18) Okwagala amazima kujja kutuyamba okusiba ebiwato byaffe, kwe kugamba, okututeekateeka okukola omulimu ogw’Ekikristaayo. Obumalirivu bwaffe obw’okunywerera ku mitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu bujja kuba ng’eky’omu kifuba ekikuuma omutima gwaffe. Singa tunaanika ebigere byaffe amawulire amalungi, bulijjo tujja kwenyigira mu mulimu gw’okubuulira, era ekyo kijja kutunyweza n’okutukuuma mu by’omwoyo. Okukkiriza kwaffe okunywevu kujja kuba ng’engabo ennene, etukuuma okuva ku ‘busaale bw’omubi bwonna,’ kwe kugamba, enkwe ze n’ebikemo. Essuubi erinywevu lye tulina mu kutuukirizibwa kw’ebisuubizo bya Yakuwa lijja kuba nga sseppewo ekuuma ebirowoozo byaffe era litusobozese okubeera n’emirembe mu mutima. (Abafiripi 4:7) Singa tufuuka bakugu mu kukozesa Ekigambo kya Katonda, kijja kuba ng’ekitala kye tusobola okukozesa okuyamba abantu abalala okuva mu bufuge bwa Setaani mu by’omwoyo. Era tusobola okukikozesa okwetaasa, nga ne Yesu bwe yakola ng’akemeddwa.

19. Ng’oggyeko okuziyiza Omulyolyomi, kiki ekirala ekyetaagisa?

19 Bwe twambala “eby’okulwanyisa byonna ebya Katonda” era ne tunyiikirira okusaba, tusobola okuba abakakafu nti Yakuwa ajja kutukuuma singa Setaani atulumba. (Yokaana 17:15; 1 Abakkolinso 10:13) Kyokka, Yakobo yakiraga nti tekimala ‘okuziyiza obuziyiza Omulyolyomi.’ Wabula ekisinga byonna, tuteekwa ‘okugondera Katonda,’ oyo atufaako. (Yakobo 4:7, 8, NW) Engeri gye tusobola okukikolamu, ejja kwogerwako mu kitundu ekiddako.

Wandizzeemu Otya?

• Mitego ki egya Setaani Abakristaayo abaasooka gye baalina okwewala?

• Bukoddyo ki Setaani bw’akozesa leero okusobola okusuula abaweereza ba Yakuwa mu mutego?

• Yesu yaziyiza atya ebikemo by’Omulyolyomi?

• Kyakulwanyisa ki eky’eby’omwoyo ekituyamba okuziyiza Omulyolyomi?

[Ebibuuzo]

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 8, 9]

Yesu yaziyiza Omulyolyomi

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 10]

Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka baagaana okwenyigira mu bikolwa eby’ettemu n’eby’amasanyu ebibi

[Ensibuko y’ekifaananyi]

The Complete Encyclopedia of Illustration/J. G. Heck