Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

‘Katonda, Lwaki Wakkirizza Kino Okubaawo?’

‘Katonda, Lwaki Wakkirizza Kino Okubaawo?’

‘Katonda, Lwaki Wakkirizza Kino Okubaawo?’

RICARDO akyajjukira olunaku bwe yali ng’atudde ne mukyala we Maria mu kisenge awalindirwa omusawo. * Bombi tebaalina buvumu kusoma lipoota y’omusawo eyali eraga ebyali bivudde mu kukeberebwa kwa Maria. Oluvannyuma, Ricardo yasumulula ebbaasa era bunnambiro ne bayisa amaaso mu lipoota eyo. Baalabamu ekigambo “kookolo” era bombi baatulika ne bakaaba kubanga baali bamanyi ekigambo ekyo kye kitegeeza mu bujjuvu.

Ricardo agamba nti “omusawo yali wa kisa nnyo kyokka yakiraba nti obulamu bw’omulwadde bwali mu katyabaga era yatugambanga nti twesige Katonda.”

Nga tannamuwa bujjanjabi obw’okukalirira kookolo, omusawo yalaba okugulu kwa Maria okwa ddyo nga kukankana. Bwe yeeyongera okukeberebwa, kyazuulibwa nti kookolo yali amutuuse ku bwongo. Oluvannyuma lwa wiiki emu yokka, baalekeraawo okumukalirira kookolo. Maria yazirika era n’afa oluvannyuma lw’emyezi ebiri. Ricardo agamba: “Nnasanyuka kubanga yali owonye obulumi, naye nnamusaalirwa nnyo n’entuuka n’okwagala okufa. Emirundi mingi nnalaajaniranga Katonda: ‘Lwaki wakkirizza kino okubaawo?’”

Obutyabaga Bwe Bugwawo, Abantu Beebuuza Ebibuuzo Bingi

Okufaananako Ricardo, abantu bangi okwetooloola ensi babonaabona. Emirundi mingi bassaalumanya be babonaabona. Lowooza ku nnyiike ereetebwawo entalo ezitakoma. Oba lowooza ku bulumi obutagambika obw’abakazi abakwatibwa, abaana abatuntuzibwa, abo abakolebwako ebikolwa eby’obukambwe mu maka n’ebikolobero ebirala bingi abantu bye bakola bannaabwe. Mu byafaayo byonna abantu bayisizza bannaabwe mu ngeri atali ya bwenkanya. (Omubuulizi 4:1-3) Ate waliwo abali mu buyinike olw’endwadde ez’omubiri n’ez’ebirowoozo n’olw’obutyabaga obw’omu butonde. N’olwekyo, tekyewuunyisa lwaki abantu beebuuza: “Lwaki Katonda akkiriza okubonaabona okubaawo?”

Ka babeere abo abagoberera eddiini, tekibanguyira kugumiikiriza kubonaabona. Naawe oyinza okuba nga weebuuza lwaki Katonda ow’amaanyi era omwagazi akkiriza okubonaabona okubaawo. Okufuna eky’okuddamu ekituufu era ekimatiza mu kibuuzo kino, kitusobozesa okuba n’emirembe mu mutima era n’okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda. Baibuli etuwa eky’okuddamu ekyo. Weetegereze ky’eddamu mu bitundu ebiddirira.

[Obugambo obuli wansi]

^ lup. 2 Amannya gakyusiddwa.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 3]

Omusawo yatugambanga nti twesige Katonda