Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

‘Mutunulenga’!

‘Mutunulenga’!

‘Mutunulenga’!

“Kye mbagamba mmwe mbagamba bonna nti mutunule.”​—Makko 13:37.

1, 2. (a) Kya kuyiga ki omusajja omu kye yafuna ekikwata ku kukuuma ebintu bye? (b) Mu kyokulabirako kya Yesu ekikwata ku mubbi, kiki kye tuyiga ekikwata ku kusigala nga tutunula mu by’omwoyo?

JUAN ebintu bye eby’omuwendo yabiterekanga waka. Yabiteekanga wansi w’ekitanda gye yalowooza nti we waali wasinga obulungi okubikweka. Kyokka, ekiro kimu ye ne mukazi we bwe baali nga beebase, omubbi yayingira mu kisenge. Kirabika, omubbi oyo yali amanyi bulungi ebintu gye biri. Mpolampola, yatoola ebintu byonna eby’omuwendo ebyali wansi w’ekitanda awamu ne ssente Juan ze yali alese mu kabada. Enkeera, Juan yakizuula nti ebintu bye byali bibbiddwa. Talyerabira eky’okuyiga ekikulu kye yafuna: Omuntu eyeebase tayinza kukuuma bintu bye.

2 Era bwe kiri ne mu by’omwoyo. Tetuyinza kukuuma ssuubi lyaffe n’okukkiriza singa twebaka mu by’omwoyo. N’olwekyo, Pawulo yabuulirira bw’ati: “Kale nno tulemenga okwebaka ng’abalala, naye tutunulenga.” (1 Abasessaloniika 5:6) Okusobola okulaga bwe kiri ekikulu ennyo okutunula mu by’omwoyo, Yesu yakozesa ekyokulabirako ky’omubbi. Yayogera ku bintu ebyandibaddewo nga tannaba kujja ng’Omulamuzi, era n’alabula: “Kale mutunule; kubanga temumanyi lunaku bwe luli Mukama wammwe lw’ajjirako. Naye kino mukitegeere nti Alina enju ye singa yamanya ekisisimuka bwe kiri omubbi ky’anajjiramu, yanditunudde, teyandirese nnyumba ye kusimibwa. Mukale nammwe mweteeketeeke: kubanga mu kiseera kye mutalowoolezaamu Omwana w’omuntu ky’ajjiramu.” (Matayo 24:42-44) Omubbi tasooka kukutegeeza nti agenda kujja. Asobola okujjira mu kiseera ky’atasuubirirwamu. Mu ngeri y’emu, nga Yesu bwe yagamba, enkomerero y’enteekateeka eno ejja kujja mu ‘kiseera kye tutasuubira.’

‘Mutunulenga, Mubeerenga Banywevu mu Kukkiriza’

3. Ng’akozesa olugero lw’abaddu abalindirira mukama waabwe eyagenda ku mbaga, Yesu yalaga atya obukulu bw’okubeera obulindaala?

3 Mu bigambo ebiri mu Njiri ya Lukka, Yesu yageraageranya Abakristaayo ku baddu abalindirira mukama waabwe eyagenda ku mbaga. Kibeetaagisa okubeera obulindaala basobole okwaniriza mukama waabwe ng’atuuse. Mu ngeri y’emu, Yesu yagamba: “Omwana w’omuntu ajjira mu kiseera mwe mutalowooleza.” (Lukka 12:40) Abamu abaweerezza Yakuwa okumala emyaka mingi bayinza okwerabira obukulu bw’ebiseera bye tulimu. Bayinza n’okutandika okulowooza nti enkomerero ekyali wala nnyo. Naye endowooza ng’eyo eyinza okuwugula ebirowoozo byaffe okubijja ku bintu eby’omwoyo n’etuleetera okubongoota mu by’omwoyo.​—Lukka 8:14; 21:34, 35.

4. Kiki ekijja okutukubiriza okubeera obulindaala, era ekyo Yesu yakiraga atya?

4 Tusobola okufuna eky’okuyiga ekirala okuva mu lugero lwa Yesu. Wadde ng’abaddu baali tebamanyi kiseera mukama waabwe kye yandituukiddeko, kirabika nti baali bamanyi ekiro mwe yandituukidde. Kyandibabeeredde kizibu okusigala nga batunula ekiro ekyo kyonna singa baali balowooza nti mukama waabwe ayinza obutajja kiro ekyo. Naye baali bamanyi ekiro kyennyini kye yali ajjiramu, era ekyo kye kyabasobozesa okubeera obulindaala. Mu ngeri y’emu, obunnabbi bwa Baibuli bulaga bulungi nti tuli mu biseera eby’enkomerero; naye tebututegeeza lunaku oba ssaawa yennyini enkomerero w’eneetuukira. (Matayo 24:36) Bwe tukkiriza nti enkomerero ejja, kituyamba okubeera obulindaala, naye bwe tuba abakakafu nti ddala olunaku lwa Yakuwa luli kumpi, kijja kutukubiriza nnyo n’okusingawo okusigala nga tutunula mu by’omwoyo.​—Zeffaniya 1:14.

5. Tuyinza tutya okukolera ku kubuulirira kwa Pawulo okw’okusigala nga ‘tutunula’ mu by’omwoyo?

5 Pawulo bwe yali awandiikira Abakkolinso yabakubiriza: “Mutunulenga, munywerenga mu kukkiriza.” (1 Abakkolinso 16:13) Yee, okutunula mu by’omwoyo kikwataganyizibwa n’okubeera abanywevu mu kukkiriza. Tusobola tutya okusigala nga tutunula mu by’omwoyo? Nga tweyongera okuyiga ebiri mu Kigambo kya Katonda. (2 Timoseewo 3:14, 15) Okubeera n’enkola ennungi ey’okweyigiriza n’okubeerangawo mu nkuŋŋaana obutayosa bituyamba okunyweza okukkiriza kwaffe era n’okukuumira olunaku lwa Yakuwa mu birowoozo byaffe, kye kimu ku ebyo ebisobola okunyweza okukkiriza kwaffe. N’olwekyo, bwe twejjukanya enfunda n’enfunda obujulizi obw’omu Byawandiikibwa obulaga nti tuli mu biseera eby’enkomerero y’enteekateeka eno, kijja kutuyamba obuteerabira ebintu ebyo ebikulu ebikwata ku kujja kw’enkomerero. * Era kiba kirungi okwetegereza ebiriwo mu nsi ebituukiriza obunnabbi bwa Baibuli. Ow’oluganda omu mu Bugirimaani yawandiika: “Buli lwe ndaba amawulire​—entalo, musisi, obukambwe n’okwonoonebwa kw’ensi yaffe​—nneeyongera okutegeera nti enkomerero eri kumpi.”

6. Kyakulabirako ki Yesu kye yakozesa okulaga nti ebiseera bwe bigenda biyitawo omuntu ayinza okulemererwa okubeera obulindaala?

6 Mu Makko essuula 13, tusangamu ebigambo ebirala Yesu bye yayogera ng’abuulirira abagoberezi be okusigala nga batunula mu by’omwoyo. Mu ssuula eno, Yesu ageraageranya embeera yaabwe ku y’omukuumi alindirira mukama we okudda ng’ava mu nsi endala. Omukuumi yali tamanyi kiseera mukama we kye yandiddiddemu. Kyali kimwetaagisa okubeera obulindaala. Yesu yayogera ku bisisimuka bina mukama we mwe yali ayinza okutuukira. Ekisisimuka eky’okuna kyatandikanga ku ssaawa nga mwenda ez’ekiro ne kikoma ku makya ng’enjuba evaayo. Mu kisisimuka ekyo, kyalinga kyangu omukuumi okubongoota. Abaserikale bagamba nti ekiseera ekyo ng’emmambya eneetera okusala, kye kisingayo okuba ekirungi okuvumbiikiririzaamu omulabe. Mu ngeri y’emu, mu kiseera kino eky’enkomerero, ng’abantu abasinga obungi beebase mu by’omwoyo, kiyinza okutwetaagisa okufuba ennyo n’okusingawo okusigala nga tutunula mu by’omwoyo. (Abaruumi 13:11, 12) N’olwekyo, mu lugero lwe, enfunda n’enfunda Yesu atukubiriza: “Mutunulenga, mutunulenga . . . Kale mutunule . . . Kye mbagamba mmwe mbagamba bonna nti Mutunule.”​—Makko 13:32-37.

7. Kabi ki akaliwo, era kubuulirira ki kwe tusoma mu Baibuli emirundi mingi?

7 Emirundi mingi mu buweereza bwe era n’oluvannyuma lw’okuzuukira kwe, Yesu yakubiriza abaweereza be okubeera obulindaala. Mu butuufu, kumpi buli mulundi Ebyawandiikibwa lwe biba byogera ku nkomerero y’enteekateeka y’ebintu bino, tusangamu okulabula okukwata ku kusigala nga tutunula oba okubeera obulindaala. * (Lukka 12:38, 40; Okubikkulirwa 3:2; 16:14-16) Mazima ddala, kya kabi nnyo okubongoota mu by’omwoyo. Ffenna twetaaga okulabula okwo!​—1 Abakkolinso 10:12; 1 Abasessaloniika 5:2, 6.

Abatume Abasatu Abaalemererwa Okusigala nga Batunula

8. Nga bali mu lusuku lw’e Gesusemane, abatume ba Yesu abasatu baakola ki Yesu bwe yabagamba okusigala nga batunula?

8 Okubeera obubeezi n’ebiruubirirwa ebirungi, si kye kyokka ekisobozesa omuntu okusigala ng’atunula, nga bwe tulaba okusinziira ku ebyo ebyatuuka ku Peetero, Yakobo ne Yokaana. Bano bonsatule baali bagoberezi ba Yesu abeesigwa, abaafaayo ennyo ku by’omwoyo era nga bamwagala nnyo. Wadde kyali kityo, mu kiro ekya Nisani 14, 33 C.E., baalemererwa okusigala nga batunula. Nga bavudde mu kisenge ekya waggulu gye baali bakwatidde embaga ey’Okuyitako, abatume abo abasatu baagenda ne Yesu mu lusuku olw’e Gesusemane. Nga bali eyo, Yesu yabagamba: “Omwoyo gwange guliko ennaku nnyingi, zigenda kunzita: mubeere wano, mutunule nange.” (Matayo 26:38) Emirundi esatu Yesu yasaba nnyo Kitaawe ow’omu ggulu, era emirundi esatu yaddayo eri mikwano gye, kyokka nga buli mulundi abasanga beebase.​—Matayo 26:40, 43, 45.

9. Kiki ekyaleetera abatume okwebaka?

9 Lwaki abasajja abo abeesigwa baalemererwa okukola ekyo Yesu kye yali abagambye? Baali bakooye. Obudde bwali buyise, oboolyawo bwali eyo mu matumbi budde, era “amaaso gaabwe gaali gakambagga.” (Matayo 26:43) Wadde kyali kityo, Yesu yagamba: “Mutunulenga musabe, muleme okuyingira mu kukemebwa: omwoyo gwe gwagala naye omubiri gwe munafu.”​—Matayo 26:41.

10, 11. (a) Wadde nga yali mukoowu, kiki ekyasobozesa Yesu okusigala ng’atunula mu lusuku lw’e Gesusemane? (b) Kiki kye tuyinza okuyigira ku ekyo ekyatuuka ku batume abasatu Yesu be yagamba okusigala nga batunula?

10 Awatali kubuusabuusa, ne Yesu yali mukoowu mu kiro ekyo eky’ebyafaayo. Kyokka, mu kifo ky’okwebaka, yasaba nnyo mu kiro ekyo ekyasembayo nga tebannaba kumukwata. Ennaku ntono ezaali ziyiseewo, yakubiriza abagoberezi be okusaba, ng’agamba: “Mutunulenga mu biro byonna musabenga musobole okudduka ebyo byonna ebigenda okubaawo n’okuyimirira mu maaso g’Omwana w’Omuntu.” (Lukka 21:36; Abaefeso 6:18) Singa tukolera ku kubuulirira kwa Yesu era ne tugoberera ekyokulabirako kye nga tusaba nnyo, tujja kusobola okusigala nga tutunula mu by’omwoyo.

11 Kya lwatu, Yesu yali akimanyi nti mangu ddala yali ajja kukwatibwa era asalirwe omusango ogw’okufa, wadde ng’abayigirizwa be baali tebakimanyi mu kiseera ekyo. Ebizibu bye yali ayolekedde byali bijja kutuuka ku ntikko yaabyo ng’awanikibwa ku muti. Yesu yali abuuliddeko abayigirizwa be ku bintu ebyo, naye tebaabitegeera. N’olwekyo, beebaka wadde nga ye yasigala ng’atunula era ng’asaba. (Makko 14:27-31; Lukka 22:15-18) Okufaananako abatume, naffe emibiri gyaffe minafu era waliwo n’ebintu bye tutannaba kutegeera. Era nga singa twerabira obukulu bw’ebiseera bye tulimu, tusobola okwebaka mu by’omwoyo. Kyokka, bwe tubeera obulindaala, tujja kusobola okusigala nga tutunula mu by’omwoyo.

Engeri Ssatu Enkulu

12. Ngeri ki essatu Pawulo ze yayogerako ezituyamba okubeera obulindaala?

12 Tusobola tutya obuteerabira bukulu bwa biseera bye tulimu? Tumaze okulaba obukulu bw’okusaba n’obukulu bw’okukuumira olunaku lwa Yakuwa mu birowoozo byaffe. Okugatta ku ebyo, Pawulo yayogera ku ngeri enkulu ssatu ze tulina okubeera nazo. Yagamba: “Naye ffe, kubanga tuli ba musana, tulemenga okutamiira, nga twambadde eky’omu kifuba eky’okukkiriza n’okwagala, n’enkuufiira, essuubi ly’obulokozi.” (1 Abasessaloniika 5:8) Ka twekenneenye engeri okukkiriza, essuubi n’okwagala gye bituyamba okusigala nga tutunula mu by’omwoyo.

13. Okukkiriza kutusobozesa kutya okubeera obulindaala?

13 Tuteekwa okubeera n’okukkiriza okunywevu nti Yakuwa gy’ali era nti “ye mugabi w’empeera eri abo abamunoonya.” (Abaebbulaniya 11:6) Okutuukirizibwa kw’obunnabbi bwa Yesu obukwata ku nkomerero okwaliwo mu kyasa ekyasooka, kunyweza okukkiriza kwaffe mu kutuukirizibwa kwabwo okusingawo obukulu okuliwo mu kiseera kyaffe. Era okukkiriza kwaffe kutuleetera okwesunga ennyo olunaku lwa Yakuwa, nga tuli bakakafu nti “[okwolesebwa okw’obunnabbi] tekulirema kujja, tekulirwawo.”​—Kaabakuuku 2:3.

14. Essuubi kkulu kwenkana wa bwe tuba ab’okusigala nga tutunula mu by’omwoyo?

14 Essuubi lyaffe erinywevu liringa “essika ery’obulamu” eritusobozesa okugumira ebizibu wadde nga kiyinza okutwetaagisa okulindirira okutuusa ebisuubizo bya Katonda lwe birituukirizibwa. (Abaebbulaniya 6:18, 19) Margaret, mwannyinaffe eyafukibwako amafuta atemera mu myaka egy’obukulu egisukka mu 90 era eyabatizibwa emyaka egisukka mu 70 emabega, agamba: “Kookolo bwe yatta omwami wange mu 1963, muli nnawulira nti kyandibadde kirungi nnyo singa enkomerero ejja mangu. Naye kati nkiraba nti nnali nneerowoozaako nzekka. Mu kiseera ekyo twali tetumanyi ngeri omulimu gw’okubuulira gye gwandigaziyeemu okwetooloola ensi yonna. Ne mu kiseera kino, waliwo ebifo bingi omulimu gw’okubuulira gye gutandika obutandisi. N’olwekyo, ndi musanyufu olw’okuba Yakuwa abadde mugumiikiriza.” Omutume Pawulo atukakasa: “Okugumiikiriza kuleeta okusiimibwa; ate okusiimibwa ne kuleeta okusuubira, era ng’ebisuubirwa bituukirira.”​—Abaruumi 5:3-5, NW.

15. Okwagala kutukubiriza kutya wadde nga kiyinza okulabika ng’abalinze okumala ekiseera ekiwanvu?

15 Okwagala kw’Ekikristaayo kukulu nnyo kubanga kwe kutukubiriza mu byonna bye tukola. Tuweereza Yakuwa kubanga tumwagala wadde tetumanyi ddi lw’anaatuukiriza enteekateeka ze zonna. Okwagala baliraanwa baffe kutukubiriza okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka, ka kibe kiseera kyenkana wa Katonda ky’ayagala tweyongere okukoleramu omulimu guno oba ka gibe mirundi emeka gye tuddayo mu maka g’abantu. Nga Pawulo bwe yawandiika, “waliwo okukkiriza, okusuubira, okwagala, ebyo byonsatule; naye ku ebyo ekisinga obukulu kwagala.” (1 Abakkolinso 13:13) Okwagala kutuleetera okugumiikiriza era kutuyamba okusigala nga tutunula mu by’omwoyo. “[Okwagala] kusuubira byonna, kugumiikiriza byonna, kuzibiikiriza byonna. Okwagala tekuggwaawo.”​—1 Abakkolinso 13:7, 8.

‘Nyweza Ebyo by’Olina’

16. Mu kifo ky’okuddirira, ndowooza ki gye tusaanidde okubeera nayo?

16 Tuli mu kiseera kya kazigizigi ng’ebintu ebiriwo mu nsi bitujjukiza nti tuli wala nnyo mu nnaku ez’enkomerero. (2 Timoseewo 3:1-5) Kino si kiseera kya kuddirira wabula ‘okunyweza ebyo bye tulina.’ (Okubikkulirwa 3:11) Naye bwe ‘tunyiikirira okusaba,’ era bwe tubeera n’okukkiriza, essuubi, n’okwagala, tujja kubeera beetegefu mu kiseera eky’okugezesebwa. (1 Peetero 4:7) Tulina bingi eby’okukola mu mulimu gwa Mukama waffe. Bwe tubeera abanyiikivu mu mulimu gwa Katonda, kijja kutuyamba okusigala nga tutunula mu by’omwoyo.​—2 Peetero 3:11.

17. (a) Lwaki tetwandiweddemu maanyi olw’okuba bye tusuubira tebinnaba kutuukirizibwa? (Laba akasanduuko ku lupapula 31.) (b) Tusobola tutya okukoppa Yakuwa, era mikisa ki abo abamukoppa gye bajja okufuna?

17 Yeremiya yawandiika: “Mukama gwe mugabo gwange, kyennaava mmusuubira. Mukama aba mulungi eri abo abamulindirira, eri emmeeme emunoonya. Kirungi omuntu okusuubiranga n’okulindiriranga obulokozi bwa Mukama.” (Okukungubaga 3:24-26) Abamu ku ffe tubadde twakatandika okulindirira. Abalala balindiridde obulokozi bwa Yakuwa okumala emyaka mingi. Naye ekiseera kino kye tumala nga tulindirira nga kitono nnyo bw’okigeraageranya n’obulamu obutaggwaawo bwe tunaafuna mu biseera eby’omu maaso! (2 Abakkolinso 4:16-18) Kyokka nga tulindirira ekiseera kya Yakuwa ekigereke, tusobola okukulaakulanya engeri z’Ekikristaayo ennungi era n’okuyamba abalala okukkiriza amazima ne baganyulwa mu bugumiikiriza bwa Yakuwa. N’olwekyo, ka ffenna tweyongere okutunula mu by’omwoyo. Ka tukoppe Yakuwa era tweyongere okubeera abagumiikiriza, n’okusiima essuubi ly’atuwadde. Era nga tweyongera okubeera obulindaala, ka tweyongere okunyweza essuubi ery’obulamu obutaggwaawo. Mu ngeri eyo, ebisuubizo bino eby’obunnabbi bijja kutuukirira ku ffe: “[Yakuwa] alikugulumiza okusikira ensi. Ababi bwe balizikirizibwa, oliraba.”​—Zabbuli 37:34.

[Obugambo obuli wansi]

^ lup. 5 Kyandibadde kirungi okwejjukanya obukakafu obw’emirundi omukaaga obulaga nti tuli mu “nnaku ez’oluvannyuma” obwayogerwako mu Omunaala gw’Omukuumi aka Febwali 1, 2000, empapula 6, 7.​—2 Timoseewo 3:1.

^ lup. 7 Bwe yali ayogera ku kigambo ky’Oluyonaani ekivvuunulwa “mutunulenga,’ omukugu mu kunnyonnyola amakulu g’ebigambo W. E. Vine yannyonnyola nti kitegeeza ‘okugoba otulo,’ era nti tekitegeeza kutunula butunuzi kyokka, wabula okubeera obulindaala.”

Wandizzeemu Otya?

• Tusobola tutya okunyweza okukkiriza kwaffe nti enkomerero y’enteekateeka y’ebintu bino eri kumpi okutuuka?

• Kiki kye tuyinza okuyigira ku Peetero, Yakobo ne Yokaana?

• Ngeri ki essatu ezijja okutuyamba okubeera obulindaala mu by’omwoyo?

• Lwaki kino kye kiseera ‘okunyweza ebyo bye tulina’?

[Ebibuuzo]

[Akasanduuko akali ku lupapula 31]

“Alina Omukisa Alindirira.”​—Danyeri 12:12

Teeberezaamu nti omukuumi asuubira omubbi okumenya ennyumba gy’akuuma. Ekiro bwe kituuka, omukuumi oyo abeera bulindaala ng’awuliriza n’obwegendereza ekintu kyonna ekikuba ekiyinza okumumanyisa nti omubbi azze. Naye kisoboka omukuumi oyo okubuzaabuzibwa singa wabaawo ekintu ekirala ekivuga oba ekyenyeenya, gamba nga okuwuuma kw’empewo oba singa kapa ebaako ekintu ky’esuula wansi.​—Lukka 12:39, 40.

Ekintu kye kimu kiyinza okutuuka ku abo ‘abalindirira okubikkulibwa kwa Mukama waffe Yesu Kristo.’ (1 Abakkolinso 1:7) Abatume baali balowooza nti Yesu yali agenda ‘kukomyawo obwakabaka mu Isiraeri’ amangu ddala nga yaakazuukira. (Ebikolwa 1:6) Nga wayiseewo emyaka mingi, Abakristaayo ab’omu Ssessaloniika baalina okujjukizibwa nti okubeerawo kwa Yesu kwali kwa kubaawo mu biseera eby’omu maaso. (2 Abasessaloniika 2:3, 8) Wadde bye baali basuubira ebikwata ku lunaku lwa Yakuwa tebyabaawo mu kiseera kye baali balowoolezaamu, ekyo tekyaleetera bagoberezi ba Yesu abo abaasooka okuleka ekkubo erituusa mu bulamu.​—Matayo 7:13.

Naffe mu kiseera kino, olw’okuba enkomerero erabika ng’eruddewo okujja, tekyandituleetedde kuddirira. Wayinza okubeerawo ebintu ebibuzaabuza omukuumi ali obulindaala, naye ateekwa okweyongera okubeera obulindaala! Ogwo gwe mulimu gwe. Kye kimu n’eri Abakristaayo.

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 29]

Enkuŋŋaana, okusaba, n’okubeera n’enkola ennungi ey’okwesomesa, bisobola okutuyamba okubeera obulindaala