Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okubudaabuda Abo Ababonaabona

Okubudaabuda Abo Ababonaabona

Okubudaabuda Abo Ababonaabona

EKIBUUZO lwaki Katonda akkiriza okubonaabona okubaawo kibobbezza emitwe gy’Abafirosoofo n’abasomerera eby’eddiini okumala ebyasa n’ebyasa. Abamu bagambye nti olw’okuba Katonda ye muyinza wa byonna, ateekwa okuba nga yavunaanyizibwa mu bujjuvu ku kubonaabona okuliwo. Omuwandiisi w’ekitabo The Clementine Homilies, ekyawandiikibwa mu kyasa eky’okubiri, yagamba nti Katonda afuga ensi n’emikono ebiri. Ku mukono gwe ogwa kkono akozesa Setaani okuleetawo okubonaabona, ate ku gwa ddyo n’akozesa Yesu okulokola abantu n’okubawa essanyu.

Abalala, olw’obutakkiriza nti Katonda asobola okukkiriza okubonaabona okubaawo, basazeewo okugamba nti tekuliiwo. Mary Baker Eddy yawandiika: “Obubi buteeberezebwa buteeberezebwa okubaawo era nti tewali kisinziirwako kugamba nti weebuli. Singa ekibi, okulwala n’okufa bitwalibwa okuba ng’ebitaliiwo, byandibuze.”​—Science and Health With Key to the Scriptures.

Olw’ebintu ebibi ebibaddewo mu byafaayo, naddala okuva ku ssematalo eyasooka okutuusa kati, bangi batuuse n’okugamba nti Katonda tasobola kuziyiza kubonaabona. Omuwandiisi Omuyudaaya ayitibwa David Wolf yawandiika: “Okutta abantu okw’ekikungo okwaliwo mu ssematalo ow’okubiri, mu kulaba okwange kwoleka nti kiba tekikyasaanira okuyita Katonda omuyinza w’ebintu byonna.” Agattako: “Bwe tubeera baakutegeera Katonda, olwo nno obulungi bwe buteekwa okukwataganyizibwa n’okubeerawo kw’obubi, era kino kisoboka bwe kiba nti Katonda si ye muyinza w’ebintu byonna.”

Kyokka, ebyo ebyogerwa nti Katonda mu ngeri emu oba endala aleetawo okubonaabona, nti talina busobozi kukuziyiza, oba nti okubonaabona kuteeberezebwa buteeberezebwa tebireetera buweerero abo ababonaabona. N’ekisinga obukulu, endowooza ezo zikontana n’ebyo Baibuli by’eyogera ku Katonda ng’omwenkanya era afaayo. (Yobu 34:10, 12; Yeremiya 32:17; 1  Yokaana 4:8) Kati olwo Baibuli ewa nsonga ki lwaki Katonda akkirizza okubonaabona okubaawo?

Okubonaabona Kwatandika Kutya?

Katonda teyatonda bantu kubonaabona. Okwawukana kw’ekyo, yatonda abantu abaasooka Adamu ne Kaawa nga batuukiridde mu mubiri ne mu birowoozo. Yabategekera olusuku olulungi okubeera amaka gaabwe n’abawa n’omulimu omulungi era ogumatiza. (Olubereberye 1:27, 28, 31; 2:8) Kyokka, essanyu lyabwe lyali lyesigamye ku kukkiriza bufuzi bwe era n’okuba nga y’alina okubasalirawo ekirungi n’ekibi. Etteeka lya Katonda eryo lyali likiikirirwa omuti “ogw’okumanya obulungi n’obubi.” (Olubereberye 2:17) Adamu ne Kaawa bandyolesezza obuwulize eri Katonda nga bagondera etteeka lye ery’obutalya ku muti ogwo. *

Eky’ennaku, Adamu ne Kaawa baalemererwa okugondera Katonda. Ekitonde eky’omwoyo ekyagyema, oluvannyuma ekyamanyibwa nga Setaani Omulyolyomi, kyagamba Kaawa nti okugondera Katonda tekyandimuleetedde miganyulo era nti Katonda yalina ekintu ekirungi ennyo kye yali amusubya, kwe kugamba, obwetwaze, oba eddembe ery’okwesalirawo ekirungi n’ekibi. Setaani yagamba kaawa nti singa yalya ku muti, ‘amaaso ge gandizibuse era yandifuuse nga Katonda, ng’amanyi obulungi n’obubi.’ (Olubereberye 3:1-6; Okubikkulirwa 12:9) Olw’okwagala okufuna obwetwaze, kaawa yalya ku muti era ne Adamu n’amwegattako.

Ku lunaku olwo lwennyini, Adamu ne Kaawa baatandika okwolekagana n’ebyava mu bujeemu bwabwe. Olw’okugaana obufuzi bwa Katonda, baafiirwa obukuumi n’emikisa gye. Katonda yabagoba mu Lusuku era n’agamba Adamu: “Ensi ekolimiddwa ku lulwo. Mu ntuuyo ez’omu maaso go mw’onooliiranga emmere, okutuusa lw’olidda mu ttaka.” (Olubereberye 3:17, 19) Adamu ne Kaawa baali boolekedde okulwala, okulumwa, okukaddiwa n’okufa. Abantu baatandika okubonaabona.​—Olubereberye 5:29.

Okugonjoola Ensonga

Omuntu ayinza okubuuza: ‘Naye Katonda teyandibuusizza maaso kibi kya Adamu ne Kaawa?’ Nedda, kubanga ekyo kyandiviiriddeko abalala obutassa kitiibwa mu bufuzi bwe, oboolyawo n’ekiviirako n’abalala okumujeemera, ekyandireeseewo okubonaabona okusingawo. (Omubuulizi 8:11) Okugatta ku ekyo, okuttira ku liiso obujeemu obwo, kwandifudde Katonda okuba ng’eyeekobaana n’aboonoonyi abo. Omuwandiisi wa Baibuli Musa atujjukiza: ‘Emirimu gya Katonda gy’atuukirira, kubanga amakubo ge gonna ga bwenkanya. Katonda wa bwesigwa, talina bubi, wa mazima era mwenkanya.’ (Ekyamateeka 32:4, NW) Okusobola okutuukana n’emitindo gye, Katonda yalina okuleka Adamu ne Kaawa okwolekagana n’ebyava mu bujeemu bwabwe.

Lwaki Katonda teyazikiriza mbagirawo abantu abo ne Setaani ayabasendasenda okujeema, ng’ate yalina obusobozi okukikola? Adamu ne kaawa tebandizadde baana ba kulaba nnaku. Kyokka, singa Katonda yayolesa amaanyi ge mu ngeri eyo, tekyandiraze butuufu bwa bufuzi bwe eri ebitonde bye. Okugatta ku ekyo, singa Adamu ne Kaawa baafa tebazadde, ekyo kyandiraze nti Katonda alemereddwa okutuukiriza ekigendererwa kye oky’okujjuza ensi n’abaana baabwe abatuukiridde. (Olubereberye 1:28) Ekirala ‘Katonda si muntu okulimba, atuukiriza buli ky’aba agambye.’​—Okubala 23:19.

Mu magezi ge ag’ensusso, Yakuwa Katonda yasalawo okuleka obujeemu okubaawo okumala akaseera. Abajeemu bandifunye ekiseera ekimala okulaba ebyandivudde mu bwewagguzi bwabwe. Ebyafaayo byandiraze bulungi nnyo nti omuntu yeetaaga obulagirizi bwa Katonda era nti obufuzi bwa Katonda busingira wala obw’abantu oba obwa Setaani. Mu kiseera kye kimu, Katonda yabaako ky’akola okulaba nti ekigendererwa kye ekyasooka eri ensi kituukirira. Yasuubiza nti “ezzadde” lyali lijja ‘kubetenta omutwe gwa Setaani’ era liggyirewo ddala obujeemu bwe n’okubonaabona kwonna.​—Olubereberye 3:15.

Yesu Kristo lye lyali ezzadde eryo essuubize. Mu 1 Yokaana 3:8, tusoma nti “Omwana wa Katonda kyeyava alabisibwa amalewo ebikolwa bya Setaani.” Kino yakikola ng’awaayo obulamu bwe obutuukiridde ng’omutango okununula abaana ba Adamu okuva mu kibi n’okufa. (Yokaana 1:29; 1 Timoseewo 2:5, 6) Abo abakkiririza mu ssaddaaka ya Yesu, basuubizibwa obutaddamu kubonaabona nate. (Yokaana 3:16; Okubikkulirwa 7:17) Kino kinaabaawo ddi?

Enkomerero y’Okubonaabona

Okujeemera obufuzi bwa Katonda kuleesewo okubonaabona okutagambika. N’olwekyo, kisaanira Katonda okukozesa obuyinza bwe mu ngeri ey’enjawulo okukomya okubonaabona n’okutuukiriza ekigendererwa kye ekyasooka eri ensi. Yesu yayogera ku nteekateeka ya Katonda eno bwe yayigiriza abagoberezi be okusabanga: ‘Kitaffe ali mu ggulu, . . . Obwakabaka bwo bujje. By’oyagala bikolebwe ku nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu.’​—Matayo 6:9, 10.

Ekiseera Katonda ky’alese abantu okwefuga kinaatera okukoma. Mu kutuukirizibw kw’obunnabbi bwa Baibuli, Obwakabaka bwe bwateekebwawo mu ggulu mu 1914 nga Yesu Kristo ye Kabaka w’abwo. * Mangu ddala, bujja kuzikiriza era bukomye obufuzi bw’abantu bwonna.​—Danyeri 2:44.

Mu kiseera ekitono eky’obuweereza bwe ku nsi, Yesu yalengeza abantu ku mikisa egiriva mu kuzzaawo obufuzi bwa Katonda. Enjiri ziwa obukakafu nti Yesu yalaga ekisa abanaku n’abo abaaboolebwanga. Yawonya abalwadde, yaliisa abayala, era yazuukiza n’abafu. Yalina n’obuyinza ku mbeera z’obutonde. (Matayo 11:5; Makko 4:37-39; Lukka 9:11-16) Lowooza ku ebyo ebiribaawo Yesu bw’alikozesa ekinunulo kye okuganyula abantu abawulize! Baibuli esuubiza nti okuyitira mu bufuzi bwa Kristo, Katonda “alisangula buli zziga mu maaso [g’abantu]; era okufa tekulibaawo nate; so tewaabengawo nate nnaku newakubadde okukaaba newakubadde okulumwa.”​—Okubikkulirwa 21:4.

Okubudaabuda Abo Ababonaabona

Nga kizzaamu nnyo amaanyi okumanya nti Katonda waffe omwagazi era ayinza byonna, Yakuwa, atufaako era nti mangu ddala ajja kuleetera abantu obuweerero! Emirundi egisinga, omuntu omulwadde ennyo akkiriza obujjanjabi obunaamuwonya wadde nga buyinza okumuleetera obulumi bungi. Mu ngeri y’emu, bwe tumanya nti engeri Katonda gy’akuttemu ensonga ejja kuleeta emiganyulo egy’emirembe n’emirembe, okumanya okwo kuyinza okutuwanirira ka tube nga tuli mu bizibu bya ngeri ki.

Ricardo, eyayogeddwako mu kitundu ekivuddeko, y’omu ku bafunye okubudaabudibwa mu bisuubizo bya Baibuli. Agamba: “Oluvannyuma lwa mukyala wange okufa, muli nnawulira nga njagala nnyo okweyawula ku balala, naye mangu nnakitegeera nti ekyo tekyandikomezzaawo mukyala wange era nti kyandyongedde kutabangula birowoozo byange.” Mu kifo ky’ekyo, Ricardo yanywerera ku nkola ye ey’okugendanga mu nkuŋŋaana z’ekibiina n’okubuulira abalala obubaka bwa Baibuli. Agamba: “Bwe nnalaba nti Yakuwa yali annyamba era nti yali addamu okusaba kwange ne mu bintu ebitono, nneeyongera okuba n’enkolagana ennungi naye. Katonda okundaga okwagala mu ngeri eyo, kye kya nnyamba okugumira ekizibu ekikyasingiddeyo ddala okuba eky’amaanyi mu bulamu bwange.” Ayongera n’agamba: “Nkyasaalirwa nnyo mukyala wange, naye kati nzikiriza mu bujjuvu nti tewaliiwo kintu Katonda ky’akkiriza kubaawo ekijja okutulumya emirembe n’emirembe.”

Okufaananako Ricardo n’obukadde bw’abantu abalala, naawe weegomba ekiseera okubonaabona kw’abantu kwonna bwe ‘kutalijjukirwa era bwe kutaliyingirira mu mitima gy’abwe’? (Isaaya 65:17) Beera mukakafu nti oyinza okufuna emiganyulo gy’Obwakabaka bwa Katonda singa okolera ku magezi Baibuli geewa: “Munoonye Mukama nga bw’akyayinzika okulabika, mumukaabirire nga bw’akyali okumpi.”​—Isaaya 55:6.

Okusobola okukola ekyo, kifuule kiruubirirwa kyo ekikulu mu bulamu okusoma n’okutegeera ekigambo kya Katonda. Tegeera Katonda n’oyo gwe yatuma Yesu Kristo. Fuba okutuukanya obulamu bwo n’emitindo gya Katonda, mu ngeri eyo ojja kuba olaga nti oyagala okugondera obufuzi bwe. Bw’onookola bw’otyo, ojja kufuna essanyu erisingawo kati wadde ng’olina ebizibu bingi by’oyolekagana nabyo. Ate mu biseera ebijja, kijja kukuviirako okunyumirwa obulamu mu nsi omutaliba kubonaabona.​—Yokaana 17:3.

[Obugambo obuli wansi]

^ lup. 7 Mu bugambo bwayo obutono obukwata ku Olubereberye 2:17, The Jerusalem Bible ennyonnyola “okumanya obulungi n’obubi” nga “obusobozi bw’okusalawo ekituufu n’ekikyamubi era n’okola nga bw’oba osazeewo, okwagala okwemalirira mu bujjuvu n’ogaana okukkiriza nti oli kitonde butonde.” Egattako: “Ekibi ekyasooka kwali kusoomooza bufuzi bwa Katonda.”

^ lup. 17 Okumanya ebisingawo ebikwata ku bunnabbi bwa Baibuli obukwata ku mwaka 1914, soma essuula 10 ne 11 mu katabo Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo, akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

[Akasanduuko akali ku lupapula 6, 7]

TUYINZA TUTYA OKUGUMIRA OKUBONAABONA?

‘Katonda mumukwasenga byonna ebibeeraliikiriza.’ (1 Peetero 5:7) Kya butonde okusoberwa, okunyiiga, n’okuggwamu amaanyi bwe tuba tubonaabona oba bwe tulaba omwagalwa waffe ng’abonaabona. Wadde kiri kityo, beera mukakafu nti Yakuwa amanyi enneewulira zaffe. (Okuva 3:7; Isaaya 63:9) Okufaananako abasajja abeesigwa ab’edda, tusobola okweyabiza Katonda ne tumubuulira ebitweraliikiriza. (Okuva 5:22; Yobu 10:1-3; Yeremiya 14:19; Kaabakuuku 1:13) Ayinza obutaggyawo bizibu byaffe mu ngeri ey’ekyamagero, naye asobola okuddamu okusaba kwaffe ng’atuwa amagezi n’amaanyi okubyaŋŋanga.​—Yakobo 1:5,  6.

‘Bwe muba mubonaabona temwewuunyanga ng’abatuukiddwako ekitali kya bulijjo.’ (1 Peetero 4:12, New International Version ) Awo Peetero yali ayogera ku kuyigganyizibwa, naye ebigambo bye bikwata bulungi ne ku kubonaabona okulala kwonna okuyinza okutuuka ku mukkiriza. Abantu babonaabona olw’obutaba na bintu ebyetaagisa ennyo mu bulamu, obulwadde, n’okufiirwa abaagalwa baabwe. Baibuli egamba nti “bonna bibagwira bugwizi ebiseera n’ebigambo [“n’ebitasuubirwa,” NW].” (Omubuulizi 9:11) Ebintu ng’ebyo bye biriwo leero. Okutegeera ekyo kijja kutuyamba okugumira ebizibu bwe biba bizze. (1 Peetero 5:9) Naye ekisinga obukulu, tujja kubudaabudibwa singa tujjukira ebigambo bino ebiri mu Baibuli: “Amaaso ga Mukama gali ku batuukirivu, n’amatu ge gali eri okusaba kwabwe.”​—Zabbuli 34:15; Engero 15:3; 1 Peetero 3:12.

“Musanyukenga mu kusuubira.” (Abaruumi 12:12) Mu kifo ky’okumalira ebirowoozo byaffe ku ssanyu lye twalina mu biseera ebyayita, tuyinza okufumiitiriza ku kisuubizo kya Katonda eky’okukomya ekubonaabona kwonna. (Omubuulizi 7:10) Essuubi lino erya nnamaddala lijja kutukuuma nga sseppewo bw’ekuuma omutwe. Essuubi lituweweeza ku bizibu era lituyamba okulaba nti ebizibu ebyo tebiyinza kutuleetera kabi ka lubeerera mu mbeera yaffe ey’eby’omwoyo.​—1 Abasessaloniika 5:8.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 5]

Adamu ne Kaawa baagaana obufuzi bwa Katonda

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 7]

Katonda asuubiza ensi omutajja kuba kubonaabona