Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Engeri gy’Oyinza Okutunuuliramu Omulimu Gwo mu Ngeri Etagudde Lubege

Engeri gy’Oyinza Okutunuuliramu Omulimu Gwo mu Ngeri Etagudde Lubege

Engeri gy’Oyinza Okutunuuliramu Omulimu Gwo mu Ngeri Etagudde Lubege

MU NSI ya leero omuli okusuubula okw’amaanyi wakati w’amawanga, okuvuganya, n’amakolero agakola ebintu ebingi ennyo, abantu bangi tebeesunga kugenda ku mulimu buli lunaku. Kyokka, tusaanidde okunyumirwa emirimu gyaffe. Lwaki? Kubanga twatondebwa mu kifaananyi kya Katonda​—era Katonda asanyukira emirimu gye. Ng’ekyokulabirako, nga yeetegereza bye yali akoze ku nkomerero ‘y’ennaku’ omukaaga ez’obutonzi, ‘Katonda yalaba nga buli kye yali akoze nga kirungi nnyo,’ bwe lutyo Olubereberye 1:31 bwe lugamba.

Katonda okuba ng’ayagala okukola, awatali kubuusabuusa y’emu ku nsonga lwaki ayitibwa ‘Katonda omusanyufu.’ (1 Timoseewo 1:11, NW) Tokiraba nti gye tukoma okumukoppa, gye tukoma okuba abasanyufu? Ku nsonga eno, Kabaka Sulemaani, owa Isiraeri eky’edda era omutegesi omulungi, yawandiika: “Buli muntu okulyanga n’okunywanga n’okusanyukiranga ebirungi mu kutegana [“kukola ennyo,” NW] kwe kwonna, kye kirabo kya Katonda.”​—Omubuulizi 3:13.

Kiyinza obutaba kyangu, okubeera n’endowooza etagudde lubege ku mirimu gyaffe mu nsi eno ekyuka amangu. Kyokka, Yakuwa awa omukisa abo abagoberera obulagirizi bwe obulungi. (Zabbuli 119:99, 100) Abalinga abo bafuuka abakozi ab’omuwendo era abeesigibwa. Era n’olw’ensonga eyo tekiba kyangu kufiirwa mulimu gwabwe. Era batandika okutunuulira obulamu bwabwe n’omulimu si okusinziira ku ndaba ey’eby’enfuna yokka wabula n’endaba ey’eby’omwoyo. Kino kibayamba okusalawo mu ngeri ey’obuvunaanyizibwa era n’okutegeera nti essanyu lyabwe era n’obukuumi bwabwe tebyesigamye ku mulimu gwe bakola. (Matayo 6:31-33; 1 Abakkolinso 2:14, 15) Mazima ddala ekyo kibayamba okuba n’endowooza etagudde lubege ku mulimu.

Kulaakulanya Empisa Ennungi ku Mulimu

Abantu abamu baba baagala kukola buli kiseera, nga bakulembeza mulimu gwabwe mu bulamu. Abalala baba balindirira ssaawa kutuuka balyoke baddeyo eka. Endowooza etagudde lubege y’eruwa? Baibuli eddamu: “Olubatu lumu wamu n’okutereera [“n’okuwummula,” NW] lusinga embatu bbiri wamu n’okutegana [“n’okukola ennyo,” NW] n’okugoberera empewo.” (Omubuulizi 4:6) Okukola ennyo oba okumala ekiseera kiwanvu ng’okola, mu butuufu tekiganyula, wabula kireeta bizibu​—kiba nga “okugoberera empewo.” Lwaki? Kubanga tuyinza okukosa ebintu ate ebyandituleetedde essanyu eppitirivu: enkolagana yaffe n’ab’omu maka gaffe, mikwano gyaffe, embeera yaffe ey’eby’omwoyo, obulamu bwaffe, oba n’ekiseera kye twandiwangadde. (1 Timoseewo 6:9, 10) Endowooza etagudde lubege kwe kubeera abamativu n’ebintu ebitono bye tulina, kyokka nga tulina emirembe, mu kifo ky’okukola ennyo ng’ate tetuli basanyufu.

Mu kukubiriza endowooza ng’eyo ey’obutagwa lubege, Baibuli eba tewagira bunafu. (Engero 20:4) Bwe tubeera abanafu, abalala tebajja kutussaamu kitiibwa. Ekisingawo n’obubi, kyonoona enkolagana yaffe ne Katonda. Baibuli ekyogera kaati nti omuntu atayagala kukola tasaanidde na kulya by’abalala. (2 Abasessaloniika 3:10) Wabula, asaanidde okukyusa amakubo ge era akole nnyo, bwe kityo asobole okweyimirizaawo awamu n’abo baalinako obuvunaanyizibwa. Olw’okukola ennyo, ayinza n’okuyamba abo abali mu bwetaavu, ekikolwa Ekigambo kya Katonda kye kikubiriza.​—Engero 21:25, 26; Abaefeso 4:28.

Okutendekebwa Okuva mu Buto Okusiima Emirimu

Empisa ennungi ku mulimu tezijja zokka; wabula ziyigibwa okuva mu buto. N’olwekyo, Baibuli ekubiriza abazadde: “Manyiiza omwana omuto mu kkubo erimugwanira okutambuliramu, awo newakubadde nga mukadde talirivaamu.” (Engero 22:6) Ng’oggyeko bo bennyini okussaawo ekyokulabirako ekirungi, abazadde ab’amagezi batandika okutendeka abaana baabwe abato nga babawa emirimu egy’okukola awaka egituukana n’emyaka gyabwe. Wadde ng’abaana bayinza obutaagala kukola mirimu egimu, oluvannyuma bayinza okukiraba nti bantu ba mugaso mu maka​—naddala singa Maama ne Taata babasiima nga bakoze bulungi emirimu. Eky’ennaku, abazadde abamu bakolera abaana baabwe buli kintu, oboolyawo mu bukyamu nga balowooza nti babalaga ekisa. Abazadde ng’abo basaanidde okulowooza ku Engero 29:21 (NW), olugamba: “Aginnya omuddu we [oba omwana we] okuva mu buto, oluvannyuma mu bulamu alifuuka omuntu atasiimibwa.”

Abazadde ab’obuvunaanyizibwa era bafaayo nnyo ku buyigirize abaana baabwe bwe bafuna ku ssomero era babakubiriza okuyiga n’okukola ennyo nga bali ku ssomero. Ekyo kiyinza okuganyula abato oluvannyuma nga batandise okukola.

Kozesa Amagezi mu Kulonda Omulimu ogw’Okukola

Wadde tetutegeeza mulimu ki gwe tusaanidde okukola, Baibuli etuwa emisingi emirungi, egitusobozesa obutateeka mu kabi buweereza bwaffe eri Katonda, n’obuvunaanyizibwa obulala obukulu. Ng’ekyokulabirako, omutume Pawulo yawandiika: “Ebiro biyimpawadde, okutanula kaakano . . . abo abakoza eby’omu nsi babe ng’abatabikoza bubi: kubanga engeri ey’omu nsi muno eggwaawo.” (1 Abakkolinso 7:29-31) Tewaliiwo kintu kya nkalakkalira mu mbeera z’ebintu zino eziriwo. Okumalira ebiseera byaffe n’amaanyi gaffe gonna ku nsi eno kibanga okukozesa sente zaffe zonna ze tuterese mu bulamu okuzimba ennyumba mu kifo ekimanyiddwa okwanjaalamu amazzi. Nga ssente zo oba ozikozesezza mu ngeri ey’obusiru!

Ekyusa za Baibuli endala zivvuunula ebigambo “ng’abatabikoza bubi” nga “obutabyenyigiramu nnyo” ne “obutabyemalirako mu bujjuvu.” (The Jerusalem Bible; Today’s English Version) Abantu ab’amagezi tebeerabira nti ekiseera ‘kiyimpawadde’ eri embeera y’ebintu eno eriwo, era nti ‘okugyenyigiramu’ oba ‘okugyemalirako mu bujjuvu’ awatali kubuusabuusa kijja kuvaamu emitawaana n’okwejjusa.​—1 Yokaana 2:15-17.

‘Katonda Talikwabulira’

Yakuwa amanyi bulungi ebyetaago byaffe n’okutusinga. Era amanyi wa we tuli mu kutuukirizibwa kw’ebigendererwa bye. N’olwekyo, atujjukiza: “Mubeerenga n’empisa ey’obutaagalanga bintu; bye mulina bibamalenga: kubanga [Katonda] yagamba nti Sirikuleka n’akatono, so sirikwabulira n’akatono.” (Abaebbulaniya 13:5) Ebigambo ebyo nga bizzaamu nnyo amaanyi! Ng’akoppa engeri Katonda gye yafaayo ku bantu be, Yesu yamala ekiseera kiwanvu mu Kubuulira kwe okw’Oku Lusozi ng’ayigiriza abayigirizwa be endowooza entuufu ekwata ku mirimu ne ku bintu eby’omubiri.​—Matayo 6:19-33.

Abajulirwa ba Yakuwa bafuba okugoberera okuyigiriza okwo. Ng’ekyokulabirako, omukoza omu bwe yagamba Omujulirwa, omukugu mu bya masannyalaze, okukolanga okusukka mu biseera ebya bulijjo, Omujulirwa yagaana. Lwaki? Kubanga teyayagala mulimu gwe kuyingirira biseera bye yawangayo eri ab’omu maka ge n’eri ensonga ez’eby’omwoyo. Okuva bwe yali omukozi omulungi era omwesigwa, eyali amukozesa yamuleka okukola ky’ayagala. Kya lwatu, ebintu bulijjo tebiba bwe bityo, era omuntu kiyinza okumwetaagisa okunoonya omulimu omulala okusobola obutagwa lubege mu bulamu. Wadde kiri kityo, abo abeesiga Yakuwa mu bujjuvu bakisanga nti enneeyisa yaabwe ennungi n’obunyiikivu ku mulimu bibaviirako okusiimibwa ababakozesa.​—Engero 3:5, 6.

Emirimu Gyonna bwe Giriba nga Giganyula

Mu mbeera y’ebintu eno embi, emirimu n’emikisa gy’okufuna emirimu bijja kubangamu ebizibu. Mu butuufu, ebintu bijja kweyongera okwonooneka ng’ensi yeeyongera okubaamu obutabanguko era nga n’eby’enfuna bigenda bikyukakyuka kabekasinge n’okwonoonekera ddala. Naye embeera eno ya kaseera buseera. Mangu ddala ekiseera kijja kutuuka buli omu abe n’omulimu. Ng’oggyeko ekyo, emirimu gyonna gijja kuba gisanyusa era nga giganyula. Ekyo kisoboka kitya? Kiki ekirireetawo enkyukakyuka ng’eyo?

Okuyitira mu nnabbi we Isaaya, Yakuwa yasonga ku kiseera ekyo. Yakuwa yagamba: “Ntonda eggulu eriggya n’ensi empya: so ebintu ebyasooka tebirijjukirwa so tebiriyingira mu mwoyo.” (Isaaya 65:17) Yali ayogera ku gavumenti ye empya, omulibeera abantu abappya.​—Danyeri 2:44.

Ku bikwata ku ngeri abantu gye balibeeramu era n’engeri gye balikolamu mu kiseera ekyo, obunnabbi bweyongera ne bugamba: “Balizimba ennyumba ne basulamu; era balisimba ensuku ez’emizabbibu ne balya ebibala byamu. Tebalizimba omulala n’asulamu; tebalisimba omulala n’alya: kubanga ng’ennaku ez’omuti bwe ziba, bwe zityo bwe ziriba ennaku ez’abantu bange, n’abalonde bange balirwawo nga balya omulimu ogw’engalo zaabwe. Tebalikolera bwereere mirimu so tebalizaala ba kulaba nnaku; kubanga lye zzadde ly’abo abaweebwa Mukama omukisa, n’enda yaabwe wamu nabo.”​—Isaaya 65:21-23.

Ng’ensi eyo empya Katonda gy’ateeseteese erireetawo enkyukakyuka za maanyi nnyo! Toyagala kubeera mu nsi ng’eyo, ‘mw’otolikolera bwereere mirimu,’ naye mw’olyeyagalira mu ‘bibala’ by’omulimu gwo? Kyokka, weetegereze abalifuna emikisa egyo: “Lye zzadde ly’abo abaweebwa Mukama omukisa.” Oyinza okuba omu ku abo ‘abalifuna omukisa’ ng’oyiga ku Yakuwa era ng’otuukiriza by’akwetaagisa. Yesu yagamba: “Buno bwe bulamu obutaggwaawo, okutegeera ggwe Katonda omu ow’amazima, n’oyo gwe watuma, Yesu Kristo.” (Yokaana 17:3) Abajulirwa ba Yakuwa baagala okukuyamba okufuna okumanya okwo okuwa obulamu nga bakuyigiriza Ekigambo kya Katonda, Baibuli.

[Akasanduuko akali ku lupapula 4]

“BEETAAGIBWA NNYO”

“Buli kyonna kye mukola, mukikole n’emmeeme yammwe yonna ku bwa Yakuwa, so si ku bwa bantu,” bw’etyo Baibuli bw’egamba. (Abakkolosaayi 3:23, NW) Kya lwatu, omukozi agoberera omusingi guno omulungi aba yeetaagibwa nnyo. Olw’ensonga eyo, mu kitabo kye, How to Be Invisible, J. J. Luna awa amagezi abo abanoonya abantu ab’okukozesa ku mirimu, okunoonya abantu abanyiikivu mu ddiini ezimu, kyokka n’agattako: “Naye, ekituufu kiri nti ffe tusalawo kukozesa Bajulirwa [ba Yakuwa].” Emu ku nsonga zaawa eri nti, bamanyiddwa nnyo olw’obwesigwa bwabwe, era ekyo kibaviirako okuba abantu ‘abeetaagibwa ennyo’ mu mirimu egimu.

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 5]

Okukola emirimu ng’ate bwe wenyigira mu bintu eby’omwoyo n’okwesanyusaamu nga togudde lubege kireeta essanyu