Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

“Mubalenga Ebibala Bingi”

“Mubalenga Ebibala Bingi”

“Mubalenga Ebibala Bingi”

“Mubalenga ebibala bingi; era munaabanga abayigirizwa bange.”​—YOKAANA 15:8.

1. (a) Kintu ki ekyetaagisibwa okubeera omuyigirizwa Yesu kye yagamba abatume be? (b) Kibuuzo ki kye tusaanidde okwebuuza?

KAALI kawungeezi akaasembayo nga tannafa. Yesu yali awaddeyo ekiseera ekimala okuzzaamu abatume be amaanyi. Kaakano, kirabika obudde bw’ali bususse mu ssaawa mukaaga ez’ekiro, naye ng’akubirizibwa okwagala kwe yalina eri mikwano gye abo, Yesu yeeyongera okwogera gye bali. Mu kwogera kwe, yabajjukiza ekintu ekirala kye baalina okutuukiriza okusobola okusigala nga bayigirizwa be. Yabagamba: “Mu kino Kitange agulumizibwa, mubalenga, ebibala bingi; era munaabanga abayigirizwa bange.” (Yokaana 15:8) Naffe leero tutuukiriza ekintu kino ekyetaagisa okubeera omuyigirizwa? Kitegeeza ki ‘okubala ebibala bingi’? Okusobola okukitegeera, ka twekenneenye emboozi eyaliwo akawungeezi ako.

2. Lugero ki olukwata ku kubala ebibala Yesu lwe yagera akawungeezi akaasembayo nga tannafa?

2 Okukubirizibwa okubala ebibala bingi kusangibwa mu lugero Yesu lwe yagerera abatume be. Yagamba: “Nze muzabbibu ogw’amazima, ne Kitange ye mulimi. Buli ttabi eriri mu nze eritabala bibala, aliggyawo: na buli eribala ebibala alirongoosa, lyeyogerenga okubala. Mmwe kaakano mumaze okuba abalongoofu olw’ekigambo kye mbagambye. Mubeere mu nze, nange mu mmwe. Ng’ettabi bwe litayinza kubala bibala lyokka, bwe litabeera mu muzabbibu, bwe kityo nammwe temuyinza, bwe mutabeera mu nze. Nze muzabbibu, mmwe matabi. . . . Mu kino Kitange agulumizibwa, mubalenga, ebibala bingi; era munaabanga abayigirizwa bange. Nga Kitange bwe yanjagala, nange mbaagadde mmwe: mubeerenga mu kwagala kwange. Bwe mukwata ebiragiro byange, munaabeeranga mu kwagala kwange.”​—Yokaana 15:1-10.

3. Kiki abagoberezi ba Kristo kye balina okukola okusobola okubala ebibala?

3 Mu lugero luno Yakuwa ye Mulimi, Yesu ye muzabbibu, ate abatume Yesu be yali alugerera ge matabi. Abatume bwe bandifubye ‘okusigala mu Yesu,’ bandibaze ebibala. Awo Yesu n’abannyonnyola engeri gye bandisoboddemu okubeera obumu: “Bwe mukwata ebiragiro byange, munaabeeranga mu kwagala kwange.” Nga wayiseewo ekiseera, n’omutume Yokaana yandiwandiise ebigambo ebibifaananako ebyo eri Bakristaayo banne: “Akwata ebiragiro [bya Kristo] abeera mu ye.” * (1 Yokaana 2:24; 3:24) Bwe kityo, abagoberezi ba Kristo bwe bakwata ebiragiro bye babeera bumu naye, n’ekivaamu abasobozesa okubala ebibala. Biki ebizingirwa mu bibira bye tulina okubala?

Kisoboka Okukulaakulana

4. Kiki kye tuyigira ku kuba nti Yakuwa ‘aggyawo’ amatabi agatabala?

4 Mu lugero lw’omuzabbibu, Yakuwa ‘aggyawo,’ oba atema amatabi agatabala. Kino kituyigiriza ki? Kitutegeeza nti ng’oggyeko okuba nti abayigirizwa bonna beetaagibwa okubala ebibala, bonna basobola okubala ka babe nga bali mu mbeera ki oba nga bakugirwa batya. Mazima ddala, kyandibadde tekituukagana na makubo ga Yakuwa ag’okwagala ‘okuggyawo’ oba okwesamba omuyigirizwa wa Kristo, olw’okulemererwa okutuukiriza ekyo ekyali kisukulumye ku busobozi bwe.​—Zabbuli 103:14; Abakkolosaayi 3:23; 1 Yokaana 5:3.

5. (a) Olugero lwa Yesu lulaga lutya nti tusobola okweyongera okubala ebibala? (b) Bibala ki eby’emirundi ebiri bye tujja okwekenneenya?

5 Era, olugero lwa Yesu olukwata ku muzabbibu lulaga nti mu mbeera zonna ze tubaamu, tulina okweyongera okukulaakulana mu mulimu gwaffe ng’abayigirizwa. Weetegereze engeri Yesu gy’ayogera ku nsonga eyo: ‘Buli ttabi eriri mu nze eritabala bibala, aliggyawo: na buli eribala ebibala alirongoosa, lyeyogerenga okubala.’ (Yokaana 15:2) Ng’anaatera okufundikira olugero olwo, Yesu yakubiriza abagoberezi be ‘okubalanga ebibala bingi.’ (Lunyiriri 8) Makulu ki agali mu bigambo ebyo? Ng’abayigirizwa, tetwandirowoozezza nti tukoze ekimala. (Okubikkulirwa 3:14, 15, 19) Wabula, tunoonyereze engeri gye tuyinza okweyongera okubala ebibala. Bibala ki bye twandyeyongedde okubala mu bungi? Ebibala bino bya mirundi ebiri (1) “ebibala by’omwoyo” ne (2) ebibala by’Obwakabaka.​—Abaggalatiya 5:22, 23; Matayo 24:14.

Ebibala eby’Engeri ez’Ekikristaayo

6. Yesu Kristo yaggumiza atya obukulu bw’ekibala ky’omwoyo ekisooka?

6 Ekibala ekisooka mu ‘bibala eby’omwoyo’ kwe kwagala. Omwoyo gwa Katonda gusobozesa Abakristaayo okubeera n’okwagala, olw’okubanga bagondera etteeka Yesu lye yawa nga tannagera lugero olukwata ku muzabbibu ogubala ebibala. Yagamba bw’ati abatume be: “Etteeka eriggya mbawa nti Mwagalanenga.” (Yokaana 13:34) Mu butuufu, ng’ayogera nabo mu kiro ekyasembayo ng’omuntu ku nsi, Yesu yajjukiza abatume be obwetaavu bw’okulaga okwagala.​—Yokaana 14:15, 21, 23, 24; 15:12, 13, 17.

7. Omutume Peetero yalaga atya nti okubala ebibala kirina akakwate n’okwoleka engeri ng’eza Kristo?

7 Peetero, eyaliwo mu kiro ekyo, yakitegeera nti okwagala ng’okwa Kristo awamu n’engeri endala ziteekwa okwolesebwa abayigirizwa ba Kristo ab’amazima. Oluvannyuma lw’emyaka, Peetero yakubiriza Abakristaayo okukulaakulanya engeri nga okwefuga, okufaayo ku b’oluganda, n’okwagala. Yagattako nti okukola ekyo kitukugira okubeera ‘abagayaavu oba abatabala bibala.’ (2 Peetero 1:5-8) Ka tubeere mu mbeera ki, tusobola okwoleka ebibala by’omwoyo. N’olwekyo, ka tufube okwoleka okwagala, ekisa, obuwoombeefu, n’engeri endala eza Kristo mu ngeri esingawo, kubanga “ku biri ng’ebyo tewali mateeka,” oba kkomo. (Abaggalatiya 5:23) Mazima ddala, ka ‘tweyongere okubala ebibala.’

Okubala Ebibala by’Obwakabaka

8. (a) Kakwate ki akaliwo wakati w’ebibala eby’omwoyo n’ebibala eby’Obwakabaka? (b) Kibuuzo ki kye tusaanidde okwekenneenya?

8 Ebibala ebyengevu obulungi birungiya omuti. Naye, omugaso gw’ebibala ng’ebyo tegukoma ku kulungiya muti kyokka. Ebibala bivaamu ensigo ezisobozesa okuvaamu emiti emirala. Mu ngeri y’emu, ebibala eby’omwoyo tebikoma bukomi ku kulungiya engeri zaffe ez’Ekikristaayo. Engeri nga okwagala n’okukkiriza nazo zitukubiriza okubunyisa obubaka bw’Obwakabaka obusangibwa mu Kigambo kya Katonda. Weetegereze engeri Pawulo gy’aggumizzaamu akakwate kano akaliwo. Agamba: ‘Naffe twoleka okukkiriza, ekimu ku bibala eby’omwoyo, era n’olwekyo kyetuva twogera.’ (2 Abakkolinso 4:13) Pawulo ayongera n’annyonnyola nti bwe tukola bwe tutyo, ‘tuwa Katonda ssaddaaka ez’emimwa gyaffe,’ kwe kugamba, ekibala eky’okubiri kye tulina okubala. (Abaebbulaniya 13:15) Waliwo engeri endala mu bulamu bwaffe mwe tuyinza ‘okweyongera okubala’ ng’abalangirizi bw’Obwakabaka bwa Katonda?

9. Okubala ebibala kitegeeza kufuula abayigirizwa? Nnyonnyola.

9 Okusobola okukiddamu obulungi, twetaaga okusooka okutegeera ebizingirwa mu bibala by’Obwakabaka. Kyandibadde kituufu okugamba nti okubala ebibala kitegeeza okufuula abalala abayigirizwa? (Matayo 28:19) Ebibala bye tubala bitegeeza abantu be tuyamba okufuuka abaweereza ba Yakuwa ababatize? Nedda. Singa kyali bwe kityo, kyandibadde kimalamu amaanyi Abajulirwa ba Yakuwa abaagalwa abalangiridde obubaka bw’Obwakabaka n’obwesigwa okumala emyaka mingi mu bitundu abantu gye bataagala bubaka bwaffe. Mazima ddala, singa ebibala by’Obwakabaka bye tubala byali bikiikirirwa abayigirizwa abappya, Abajulirwa ng’abo abakola ennyo bandibadde bafaananako n’amatabi agatabala agoogerwako mu lugero lwa Yesu! Naye, si bwe kityo bwe kiri. Kati olwo, ebibala by’Obwakabaka okusingira ddala bitegeeza ki?

Tubala Bwe Tusaasaanya Ensigo z’Obwakabaka

10. Olugero lwa Yesu olw’omusizi n’ebika by’ettaka ebitali bimu lulaga lutya ebibala by’Obwakabaka kye biri ne kye bitali?

10 Olugero lwa Yesu olukwata ku musizi n’ebika by’ettaka ebitali bimu luwa eky’okuddamu ekizzaamu amaanyi abo ababuulira mu bitundu abantu gye batagaala nnyo bubaka bwaffe. Yesu yagamba nti ensigo bwe bubaka bw’Obwakabaka obuli mu Kigambo kya Katonda, ate ettaka likiikirira emitima gy’abantu egy’akabonero. Ensigo ezimu ‘zaagwa ku ttaka eddungi, ne zimera, era ne zibala.’ (Lukka 8:8) Zaabalako bibala bya ngeri ki? Lowooza ku kino: Oluvannyuma lw’eŋŋaano okumera era n’ekkula, tebalako bikolo bya ŋŋaano, wabula nsigo ez’eŋŋaano. Mu ngeri y’emu, Omukristaayo tabala bibala ng’afuna abayigirizwa abappya kyokka, wabula ensigo z’Obwakabaka empya.

11. Ebibala by’Obwakabaka biyinza kunnyonnyolwa bitya?

11 Mu ngeri eno, ebibala tebitegeeza bayigirizwa bappya wadde engeri z’Ekikristaayo ennungi. Okuva ensigo ezisigibwa bwe ziri ekigambo ky’Obwakabaka, n’olwekyo ebibala biteekwa kuba ensigo endala ezivaamu. Okubala ebibala mu ngeri eno kiba kitegeeza okwogera ebigambo ebikwata ku Bwakabaka. (Matayo 24:14) Tusobola okubala ebibala by’Obwakabaka, kwe kugamba, okulangirira amawulire amalungi ag’Obwakabaka, ka tubeere nga tuli mu mbeera ki? Mazima ddala tusobola! Mu lugero lwe lumu, Yesu annyonnyola ensonga lwaki tusobola.

Okuwaayo Ekisingiridde olw’Okugulumiza Katonda

12. Abakristaayo bonna basobola okubala ebibala by’Obwakabaka? Nnyonnyola.

12 “N’oyo eyasigibwa ku ttaka eddungi,” Yesu bw’atyo bw’annyonnyola, “abala ebibala, omulala aleeta kikumi, omulala nkaaga, omulala makumi asatu.” (Matayo 13:23) Ensigo ezisigibwa mu nnimiro zibala mu ngeri ya njawulo okusinziira ku mbeera. Mu ngeri y’emu, ebyo bye tusobola okukola nga tulangirira amawulire amalungi byawukana okusinziira ku mbeera zaffe, era ne Yesu yalaga nti ekyo yali akimanyi. Abamu bayinza okuba n’emikisa mingi egy’okubuulira; abalala bayinza okuba n’obulamu obulungi, ate abalala nga bo balina amaanyi mangi. N’olwekyo, ebyo bye tusobola okukola biyinza okuba nga bisingako eby’abalala oba biyinza okuba ebitonoko. Naye kasita kiba ng’obusobozi bwaffe awo we bukoma, Yakuwa abeera musanyufu n’ekyo kye tukoze. (Abaggalatiya 6:4) Ne bwe kiba nti obukadde oba obulwadde tebutusobozesa kukola kinene mu mulimu gw’okubuulira, Kitaffe ow’ekisa, Yakuwa, awatali kubuusabuusa atutwala ng’abo ‘abeeyongera okubala ebibala bingi.’ Lwaki? Olw’okuba tumuwa ekyo ‘kyonna kye tulina,’ kwe kugamba, tumuweereza n’emmeeme yaffe yonna. *​—Makko 12:43, 44; Lukka 10:27.

13. (a) Nsonga ki esingayo obukulu lwaki ‘twandyeyongedde’ okubala ebibala by’Obwakabaka? (b) Kiki ekinaatuyamba okweyongera okubala ebibala mu bitundu gye bataagala nnyo bubaka bwaffe? (Laba akasanduuko ku lupapula 29.)

13 Ka tubeere nga tusobola kubala bibala byenkana wa eby’Obwakabaka, tujja ‘kweyongera okubala ebibala’ singa tulowooza ku nsonga lwaki tubala. (Yokaana 15:16) Yesu yannyonnyola ensonga esingayo obukulu lwaki tubala ebibala: “Mu kino Kitange agulumizibwa, mubalenga, ebibala bingi.” (Yokaana 15:8) Yee, omulimu gwaffe ogw’okubuulira gugulumiza erinnya lya Yakuwa mu maaso g’abantu. (Zabbuli 109:30) Omujulirwa omwesigwa ayitibwa Honor ng’atemera mu myaka 70, agamba: “Ne mu bitundu gye batagaala nnyo bubaka bwaffe, nkizo y’amaanyi okukiikirira oyo Ali Waggulu Ennyo.” Claudio, abadde Omujulirwa omwesigwa okuva 1974, bwe yabuuzibwa ensonga lwaki yeeyongera okubuulira wadde nga batono abafaayo mu kitundu ky’abuuliramu, yajuliza Yokaana 4:34, we tusoma ebigambo bya Yesu bino: “Eky’okulya kyange kwe kukolanga eyantuma by’ayagala n’okutuukiriza omulimu gwe.” Claudio yagattako: “Okufaananako Yesu, saagala kutandika butandisi mulimu gwange kyokka, naye era njagala n’okugumaliriza ng’omulangirizi w’Obwakabaka.” (Yokaana 17:4) Abajulirwa ba Yakuwa okwetooloola ensi yonna bakkiriziganya naye.​—Laba akasanduuko “Engeri ‘y’Okubalamu Ebibala n’Okugumiikiriza, ’” ku lupapula 29.

Okubuulira n’Okuyigiriza

14. (a) Omulimu gwa Yokaana Omubatiza ne Yesu gw’alina kigendererwa ki eby’emirundi ebiri? (b) Wandinnyonnyodde otya omulimu gw’Abakristaayo leero?

14 Omulangirizi w’Obwakabaka asooka okwogerebwako mu Njiri ye Yokaana Omubatiza. (Matayo 3:1, 2; Lukka 3:18) Ekigendererwa kye ekikulu kyali ‘okuwa obujulirwa,’ era ekyo yakikola ng’alina okukkiriza okw’amaanyi awamu n’essuubi nti ‘abantu aba buli kika bayinza okukkiriza.’ (Yokaana 1:6, 7) Mu butuufu, abamu ku abo Yokaana be yabuulira bafuuka bayigirizwa ba Kristo. (Yokaana 1:35-37) N’olwekyo, Yokaana yali mubuulizi era nga afuula abalala abayigirizwa. Ne Yesu naye yali mubuulizi era nga muyigiriza. (Matayo 4:23; 11:1) N’olw’ensonga eyo, tekyewuunyisa nti Yesu yalagira abagoberezi be okubuulira obubaka bw’Obwakabaka era n’okuyamba abo ababukkiriza okufuuka abayigirizwa be. (Matayo 28:19, 20) Bwe kityo nno, omulimu gwaffe leero guzingiramu okubuulira era n’okuyigiriza.

15. Kufaanagana ki okuliwo mu ngeri abantu gye batwalamu obubaka bwaffe leero n’engeri gye baabutwalamu mu kyasa ekyasooka C.E.?

15 Mu abo abaawulira Pawulo ng’abuulira era ng’ayigiriza mu kyasa ekyasooka C.E., “abamu bakkiriza bye yayogera, abamu ne batakkiriza.” (Ebikolwa 28:24) Ne leero, abantu bwe batyo bwe bali. Eky’ennaku kiri nti, ensigo nnyingi ez’Obwakabaka zigwa ku ttaka eritali ddungi. Wadde kiri kityo, ensigo ezimu zigwa ku ttaka eddungi, ne zisimba emirandira, era ne zimera nga Yesu bwe yalagula. Mu butuufu, okwetooloola ensi yonna, abantu abasukka mu 5,000, bafuuka abayigirizwa ba Yesu buli wiiki! Abayigirizwa bano abappya ‘bakkiriza ebyogerwa,’ wadde ng’abantu abalala bangi tebabikkiriza. Kiki ekyabayamba okukkiriza obubaka bw’Obwakabaka? Emirundi egisinga, okufaayo okubalagibwa Abajulirwa, kwe kugamba, nga babafukirira n’amazzi mu ngeri ey’akabonero, kye kibayambye. (1 Abakkolinso 3:6) Lowooza ku byokulabirako bibiri byokka.

Okufaayo ku Balala Kulina Kye Kubakolako

16, 17. Lwaki kikulu okufaayo ku bantu be tusanga mu buweereza bwaffe?

16 Karolien, omuvubuka Omujulirwa abeera mu Bubirigi, yakyalira nnamukadde omu omukazi ataasiima bubaka bwaffe obw’Obwakabaka. Okuva omukono gwa nnamukadde oyo bwe gwali gusibiddwako bandeegi, Karolien ne munne baayagala okubaako ne bye bamuyamba, kyokka n’agaana. Nga wayiseewo ennaku bbiri, Abajulirwa abo baddayo ewa nnamukadde ne bamubuuza bwe yali awulira. “Ekyo kirina kye kyamukolako,” bw’atyo Karorien bw’agamba. “Kyamwewuunyisa nnyo okulaba nti twali tumufaako ye ng’omuntu. Yatwaniriza mu nnyumba ye, era ne tutandika okumuyigiriza Baibuli.”

17 Ne Sandi, Omujulirwa abeera mu Amereka, naye afaayo ku abo baabuulira. Akebera mu lupapula lw’amawulire olw’omu kitundu kye n’alaba abaana abaakazaalibwa, oluvannyuma nnaakyalira abazadde abappya ng’alina Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli. * Okuva maama w’omwana bw’atera okubeera awaka era ng’ayagala nnyo okulaga buli mugenyi omwana we, emboozi etandikibwawo. Sandi agamba: “Njogera n’abazadde ku bukulu bw’okubeera n’enkolagana ennungi n’omwana eyaakazaalibwa nga babaako bye bamusomera. Oluvannyuma, njogera ku bizibu ebiri mu kukuza abaana mu mulembe guno.” Gye buvuddeko awo, maama omu n’abaana mukaaga baatandika okuweereza Yakuwa olw’okuba nnabakyalira. Singa tubaako kye tukolawo era ne tufaayo ku bantu, kiyinza okutuleetera essanyu ng’eryo mu buweereza bwaffe.

18. (a) Lwaki ffenna tusobola ‘okubala ebibala bingi’? (b) Bintu ki ebisatu eby’okubeera omuyigirizwa ebyogerwako mu Njiri ya Yokaana by’oli omwetegefu okutuukiriza?

18 Nga kizzaamu nnyo amaanyi okumanya nti ffenna tusobola ‘okweyongera okubala ebibala bingi’! Ka tubeere bato oba bakulu, ka tubeere balwadde oba balamu bulungi, ka tubeere nga tubuulira mu bitundu gye bafaayo ku bubaka bwaffe oba gye bafaayo ekitono, ffenna tusobola okubala ebibala. Tutya? Nga twolesa ebibala eby’omwoyo mu ngeri esingawo era nga tulangirira obubaka bw’Obwakabaka bwa Katonda ng’obusobozi bwaffe bwe buli. Era mu kiseera kye kimu, tufuba ‘okunywerera mu kigambo kya Yesu,’ awamu ‘n’okwagalana.’ Yee, bwe tutuukiriza ebintu bino ebisatu eby’okubeera omuyigirizwa ebyogerwako mu Njiri ya Yokaana, tulaga nti ‘ddala tuli bayigirizwa ba Kristo.’​—Yokaana 8:31; 13:35.

[Obugambo obuli wansi]

^ lup. 3 Wadde ng’amatabi g’omuzabbibu agoogerwako mu lugero gakiikirira abatume n’Abakristaayo abalala abanaabeera mu Bwakabaka bwa Katonda obw’omu ggulu, olugero olwo lulimu amazima abagoberezi ba Kristo bonna leero ge basobola okuganyulwamu.​—Yokaana 3:16; 10:16.

^ lup. 12 Abo abatasobola kuva waka waabwe olw’okuba bakaddiye oba olw’obulwadde basobola okubuulira okuyitira mu kuwandiika amabaluwa, oba gye kikkirizibwa nga bakozesa amasimu, oba bayinza okubuulira abo ababakyalira.

^ lup. 17 Kikubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

Ebibuuzo eby’Okwejjukanya

• Kibala ki kye tulina okweyongera okubala mu bungi?

• Lwaki ffenna tusobola ‘okubala ebibala bingi’?

• Bintu ki ebisatu eby’okubeera omuyigirizwa ebyogerwako mu Njiri ya Yokaana bye twekenneenyeza?

[Ebibuuzo]

[Akasanduuko/Ekifaananyi ekiri ku lupapula 29]

ENGERI ‘Y’OKUBALAMU EBIBALA N’OKUGUMIIKIRIZA’

KIKI ekikuyamba okweyongera okubuulira obubaka bw’Obwakabaka mu bitundu gye batagaala nnyo bubaka bwaffe? Bino ebiddirira bye bimu ku by’okuddamu mu kibuuzo ekyo ebiyinza okukuyamba.

“Okumanya nti Yesu atuwagira kinkubiriza okusuubira ebirungi era ne ngumiikiriza, ka kibeere nti abantu batwala batya obubaka bwaffe.”​—Harry, ow’emyaka 72; yabatizibwa 1946.

“Ekyawandiikibwa ekiri mu 2 Abakkolinso 2:17 kinzizaamu amaanyi bulijjo. Kiraga nti twenyigira mu buweereza ‘wansi w’obulagirizi bwa Katonda awamu ne Kristo.’ Bwe mbeera mu buweereza, nkolera wamu ne mikwano gyange egyo egy’oku lusegere ennyo.”​—Claudio, ow’emyaka 43; yabatizibwa 1974.

“Okwogera amazima, nfuba bufubi okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira. Naye, ndaba obutuufu bw’ebigambo ebiri mu Zabbuli 18:29: ‘Olw’obuyambi bwa Katonda wange mbuuka ekigo.’”​—Gerard, ow’emyaka 79; yabatizibwa 1955.

“Singa nsomayo ekyawandiikibwa kimu kyokka mu buweereza, mba mumativu nti waliwo omutima gw’omuntu ogukebeddwa Baibuli.”​—Eleanor, ow’emyaka 26; yabatizibwa 1989.

“Nfuba okukozesa ennyanjula ezitali zimu. Waliwo ennyanjula nnyingi nnyo ne kiba nti sijja na kusobola kuzikozesa zonna mu kiseera ekisigaddeyo eky’obulamu bwange.”​—Paul, ow’emyaka 79; yabatizibwa 1940.

“Sinyiiga abantu bwe batasanyukira bubaka bwe mba mbatwalidde. Ngezaako okubeera omukkakamu, ne nnyumya n’abantu era ne mpuliriza endowooza zaabwe.”​—Daniel, ow’emyaka 75; yabatizibwa 1946.

“Nsanze abaakabatizibwa abaŋŋambye nti okubuulira kwange kulina kye kwakola mu kubasobozesa okufuuka Abajulirwa. Nga si kimanyi, waliwo omuntu eyayiga nabo Baibuli oluvannyuma era n’abayamba okukulaakulana. Kimpa essanyu okumanya nti obuweereza bwaffe tebukolebwa muntu omu.”​—Joan, ow’emyaka 66; yabatizibwa 1954.

Kiki ekikuyamba ‘okubala ebibala n’okugumiikiriza.’​—Lukka 8:15.

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 28]

Bwe twoleka ebibala by’omwoyo era bwe tulangirira obubaka bw’Obwakabaka, tubala ebibala bingi

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 31]

Yesu yali ategeeza ki bwe yagamba abatume be nti: “Mubalenga, ebibala bingi”?