Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

‘Munywerere mu Kigambo Kyange’

‘Munywerere mu Kigambo Kyange’

‘Munywerere mu Kigambo Kyange’

“Bwe munywerera mu kigambo kyange, nga muli bayigirizwa bange ddala.”​—YOKAANA 8:31.

1. (a) Yesu bwe yaddayo mu ggulu, biki bye yaleka ku nsi? (b) Bibuuzo ki bye tujja okwekenneenya?

BWE yaddayo mu ggulu, Yesu Kristo, Eyatandikawo Obukristaayo, teyaleka ku nsi bitabo by’awandiise, ebizimbe eby’okumujjukirirako, oba eby’obugagga. Kyokka, yalekawo abayigirizwa awamu n’ebyo ebyali byetaagisa okubeera abayigirizwa be. Mu butuufu, mu Njiri ya Yokaana, Yesu yayogera ku bintu bisatu ebikulu buli yenna eyali ayagala okubeera omugoberezi we bye yalina okutuukiriza. Ebintu ebyo bye biruwa? Kiki kye tuyinza okukola okubituukiriza? Era naffe kinnoomu tuyinza tutya okukakasa nti tulina ebisaanyizo eby’okubeera abayigirizwa ba Kristo leero? *

2. Ekintu ekikulu ekyetaagisa okubeera omuyigirizwa ekiri mu Njiri ya Yokaana kye kiruwa?

2 Ng’ebulayo emyezi nga mukaaga attibwe, Yesu yagenda e Yerusaalemi n’abuulira ebibiina by’abantu abaali bakuŋŋaanye okukuza Embaga ey’Ensiisira eyamalanga wiiki nnamba. N’ekyavaamu, nga bali ku mbaga ‘bangi mu bibiina baamukkiriza.’ Yesu yeeyongera okubuulira, ne kiba nti ne ku lunaku olwasembayo olw’embaga ‘abantu bangi baamukkiriza.’ (Yokaana 7:10, 14, 31, 37; 8:30) Mu kiseera ekyo, Yesu yayolekeza ebigambo bye eri abakkiriza abappya era n’abategeeza ekintu ekikulu ekyali kyetaagisa okubeera abayigirizwa be, ekisangibwa mu Njiri ya Yokaana: ‘Bwe munywerera mu kigambo kyange, nga muli bayigirizwa bange ddala.’​—Yokaana 8:31.

3. Ngeri ki eyeetaagisa okusobola ‘okunywerera mu kigambo kya Yesu’?

3 Mu kwogera ebigambo ebyo, Yesu yali tagamba nti abakkiriza abo abappya tebaalina kukkiriza kumala. Wabula, yali abagamba nti baalina omukisa ogw’okufuuka abayigirizwa be aba nnamaddala​—bwe bandinyweredde mu kigambo kye, era ne booleka obugumiikiriza. Baali bakkirizza ekigambo kye, naye kaakano baali beetaaga okukinywererako. (Yokaana 4:34; Abaebbulaniya 3:14) Mazima ddala, Yesu yatwala obugumiikiriza ng’ekintu ekikulu ennyo eri abagoberezi be. N’olw’ensonga eyo, mu ebyo bye yayogera n’abatume be ebyasembayo ebiri mu Njiri ya Yokaana, emirundi ebiri yabakubiriza nti: ‘Mungobererenga.’ (Yokaana 21:19, 22) Abakristaayo bangi abaasooka baamugoberera. (2 Yokaana 4) Kiki ekyabayamba okugumiikiriza?

4. Kiki ekyasobozesa Abakristaayo abaasooka okugumiikiriza?

4 Omutume Yokaana, omuyigirizwa wa Kristo eyali omwesigwa okumala emyaka 70, yawa ensonga enkulu eyabayamba okugumiikiriza. Yasiima Abakristaayo abeesigwa ng’agamba: ‘Mulina amaanyi, munyweredde mu kigambo kya Katonda, era muwangudde omubi.’ Abayigirizwa ba Kristo abo baagumiikiriza, oba baanywerera mu Kigambo kya Katonda, kubanga kyasimba amakanda mu mitima gyabwe. Baakisiima okuviira ddala mu mitima gyabwe. (1 Yokaana 2:14, 24, NW) Mu ngeri y’emu leero, naffe okusobola ‘okugumiikiriza okutuuka ku nkomerero,’ tulina okukakasa nti ekigambo kya Katonda kisimba amakanda mu mitima gyaffe. (Matayo 24:13) Ekyo tuyinza kukikola tutya? Olugero Yesu lwe yagera, lutuwa eky’okuddamu.

‘Okuwulira Ekigambo’

5. (a) Bika ki eby’ettaka ebitali bimu Yesu bye yayogerako mu lugero lwe? (b) Ensigo n’ettaka mu lugero lwa Yesu bikiikirira ki?

5 Yesu yagera olugero lw’omusizi olusangibwa mu Njiri ya Matayo, Makko ne Lukka. (Matayo 13:1-9, 18-23; Makko 4:1-9, 14-20; Lukka 8:4-8, 11-15) Ng’osoma ebyawandiikibwa ebyo, ojja kukiraba nti ekintu ekikulu mu lugero olwo kiri nti ensigo ez’ekika ekimu zigwa ku bika by’ettaka eby’enjawulo, ne zikula mu ngeri ey’enjawulo. Ekika ky’ettaka ekisooka kikalubo, eky’okubiri kirimu ettaka ttono, n’eky’okusatu kyameramu amaggwa. Eky’okuna, okwawukana ku bisatu ebisoose, kya ‘ttaka ddungi.’ Okusinziira ku nnyinnyonnyola ya Yesu, ensigo ge mawulire g’Obwakabaka agasangibwa mu Kigambo kya Katonda, ate ettaka likiikirira embeera z’abantu ezitali zimu ez’omutima. Wadde ng’abantu abakiikirirwa ebika by’ettaka ebitali bimu balina bye bafaanaganya, abo abakiikirirwa ettaka eddungi balina ekintu ekibaawula ku balala.

6. (a) Ekika ky’ettaka eky’okuna mu lugero lwa Yesu, kyawukana kitya ku bika ebirala ebisatu, era ekyo kitegeeza ki? (b) Kiki ekyetaagisa okusobola okwoleka obugumiikiriza ng’abayigirizwa ba Kristo?

6 Ebiri mu Lukka 8:12-15 biraga nti mu mbeera ez’emirundi ena, abantu ‘bawulira ekigambo.’ Kyokka, abo abalina ‘omutima omulungi’ tebakoma ku ‘kukiwulira buwulizi.’ ‘Bakinywererako era ne babala ebibala n’obugumiikiriza.’ Olw’okuba ettaka eddungi ggonvu ate nga lingi, likkiriza emirandira okukka wansi, n’ekivaamu, ensigo emeruka era n’ebala ebibala. (Lukka 8:8) Mu ngeri y’emu, abo abalina omutima omulungi bategeera, basiima era ne bakkiriza ekigambo kya Katonda. (Abaruumi 10:10; 2 Timoseewo 2:7) Banywerera ku kigambo kya Katonda. N’ekivaamu, babala ebibala n’obugumiikiriza. N’olwekyo, kikulu nnyo okusiima Ekigambo kya Katonda bwe tuba ab’okugumiikiriza ng’abayigirizwa ba Kristo. (1 Timoseewo 4:15) Naye, tuyinza tutya okukulaakulanya okusiima eri Ekigambo kya Katonda?

Embeera y’Omutima n’Okufumiitiriza okw’Omuganyulo

7. Kiki ekikwataganyizibwa ennyo n’omutima omulungi?

7 Weetegereze ekyo enfunda n’enfunda, Baibuli ky’ekwataganya n’omutima omulungi. ‘Omutima gw’omutuukirivu gufumiitiriza okwanukula.’ (Engero 15:28) “Ebigambo eby’omu kamwa kange n’okulowooza [“okufumiitiriza,” NW] okw’omu mutima gwange bisiimibwe mu maaso go, Ai Mukama.” (Zabbuli 19:14) “Akamwa kange kanaayogera amagezi; n’omutima gwange gunaalowooza [“gunaafumiitiriza,” NW] eby’okumanya.”​—Zabbuli 49:3.

8. (a) Nga tusoma Baibuli, kiki kye twandyewaze naye ate kiki kye twandikoze? (b) Miganyulo ki gye tufuna mu kufumiitiriza ku Kigambo kya Katonda? (Weeyambise akasanduuko “Banyweredde mu Mazima.”)

8 Okufaananako abawandiisi ba Baibuli bano, naffe twetaaga okufumiitiriza ku Kigambo kya Katonda n’emirimu gye. Bwe tuba tusoma Baibuli oba ebitabo ebigyesigamiziddwako, tetwandibadde ng’abalambuzi abali mu bwangu, abava mu kifo ekimu ne badda mu kirala nga bakuba ebifaananyi buli kintu kyonna, kyokka nga tebeetegereza wadde okunyumirwa bye bakuba bifaananyi. Mu kifo ky’ekyo, bwe tuba tuyiga Baibuli, tulina okuwaayo ebiseera okugyetegereza n’okuginyumirwa. * Bwe tufumiitiriza ku bye tusoma, ekigambo kya Katonda kituukira ddala ku mutima gwaffe era ne kitereeza endowooza zaffe. Era kituleetera okweyabiza Katonda mu kusaba. N’ekivaamu, enkolagana yaffe ne Yakuwa yeeyongera okunywera, era okwagala kwe tulina eri Katonda kutukubiriza okweyongera okugoberera Yesu wadde mu mbeera enzibu. (Matayo 10:22) N’olwekyo, kikulu nnyo okufumiitiriza ku ekyo Katonda ky’agamba bwe tuba ab’okusigala nga tuli banywevu okutuukira ddala ku nkomerero.​—Lukka 21:19.

9. Tuyinza tutya okukakasa nti omutima gwaffe gujja kweyongera okukkiriza ekigambo kya Katonda?

9 Olugero lwa Yesu era lulaga nti waliwo ebiremesa okukula kw’ensigo, kwe kugamba, ekigambo kya Katonda. N’olwekyo, okusigala nga tuli bayigirizwa abeesigwa, tusaanidde (1) okumanya ebiremesa ebikiikirirwa ettaka ebbi eryogerwako mu lugero ne (2) okubaako kye tukolawo okubivvuunuka. Mu ngeri eyo, tujja kukakasa nti omutima gwaffe gujja kusigala nga gukkiriza ensigo z’Obwakabaka era n’okubala ebibala.

‘Emabbali g’Ekkubo’​—Beebo Abawuguliddwa

10. Nnyonnyola ekika ky’ettaka ekisooka mu lugero lwa Yesu, era n’amakulu gaalyo.

10 Ekika ky’ettaka ekisooka ensigo kwe zigwa kiri ku “mabbali g’ekkubo,” ensigo gye “zirinnyiririrwa.” (Lukka 8:5) Ettaka eriri ku mabbali g’ekkubo erigenda mu nnimiro liba kkalubo nnyo olw’okulinnyirirwalinyirirwa. (Makko 2:23) Mu ngeri y’emu, abo abakkiriza ebiri mu nsi okubamalira ebiseera n’amaanyi gaabwe bayinza okukisanga nti kizibu okusiima ekigambo kya Katonda. Bakiwulira, naye balemererwa okukifumiitirizaako. N’olwekyo tebakisiima. Nga tebannaba na kukikkiriza, “Setaani ajja n’akwakkula ekigambo mu mitima gyabwe baleme okukkiriza n’okulokolebwa.” (Lukka 8:12) Ekyo kiyinza okwewalibwa?

11. Tuyinza tutya okuziyiza omutima gwaffe okubeera ng’ettaka ekkalubo?

11 Waliwo bingi ebiyinza okukolebwa okuziyiza omutima okufuuka ng’ettaka eritabaza nsigo eriba ku mabbali g’ekkubo. Ettaka eririnnyiriddwa liyinza okugonda, ne liba ddungi singa likabalwa era ne balekera awo okulirinnyirira. Mu ngeri y’emu, okuwaayo ebiseera okuyiga n’okufumiitiriza ku Kigambo kya Katonda kiyinza okuviirako omutima okufuuka ng’ettaka eddungi, eribaza ebintu. Ekyo okusobola okubaawo, tulina okwewala okumalira biseera byaffe ku bintu by’omu bulamu buno. (Lukka 12:13-15) Mu kifo ky’ekyo, fuba okulaba nti owaayo ebiseera okufumiitiriza ‘ku bintu ebisinga obukulu’ mu bulamu.​—Abafiripi 1:9-11.

‘Ku Lwazi’​—Ekitegeeza Okutya

12. Nsonga ki eviirako ekimera okuwotoka mu kika ky’ettaka eky’okubiri ekyogerwako mu lugero lwa Yesu?

12 Ensigo bw’egwa ku kika ky’ettaka eky’okubiri, tesigala ku ngulu, nga bwe kiri ku nsigo eyasooka. Esimba emirandira n’emeruka. Naye enjuba bw’evaayo, ekimera kiwotoka. Kyokka, weetegereze ekintu kino ekikulu. Ekiviirako ekimera okuwotoka si ke kasana akeememula, kubanga n’ekimera mu ttaka eddungi nakyo kyokebwa akasana, naye kyo tekiwotoka​—mu butuufu kyo kikula bulungi. Kati olwo, lwaki kino kiwotoka? Yesu annyonnyola nti kiwotoka ‘olw’obutaba na ttaka lingi n’amazzi.’ (Matayo 13:5, 6; Lukka 8:6) ‘Olwazi’ oluli wansi w’ettaka, lulemesa ensigo okusimba emirandira wansi mu ttaka esobole okufuna amazzi n’okunywera. Ekimera kiwotoka olw’okuba ettaka ttono.

13. Bantu ba ngeri ki abalinga ettaka ettono, era nsonga ki yennyininnyini ebaviirako okweyisa bwe batyo?

13 Ekitundu kino eky’olugero kikwata ku bantu ‘abawulira ekigambo ne bakikkiriza n’essanyu’ era ne banyiikira okugoberera Yesu ‘okumala akaseera.’ (Lukka 8:13) Bwe boolekagana n’akasana ak’amaanyi akakiikirira ‘okuyigganyizibwa,’ batya ne bafiirwa essanyu lyabwe, ne baggwaamu amaanyi era ne balekera awo okugoberera Kristo. (Matayo 13:21) Kyokka, ensonga enkulu ebaleetera okutya si kwe kuyigganyizibwa. Abayigirizwa ba Kristo bangi nnyo boolekagana n’okubonaabona okutali kumu, naye basigala nga beesigwa. (2 Abakkolinso 2:4; 7:5) Ensonga yennyini ebaviirako okutya n’okuva mu mazima eri nti omutima gwabwe ogulinga olwazi gubalemesa okufumiitiriza ku bintu eby’omwoyo n’ebizimba. N’ekivaamu, okusiima kwabwe eri Yakuwa n’ekigambo kye kuba kwa kungulu era kunafu ne batasobola kugumira kuyigganyizibwa. Omuntu ayinza atya okuziyiza ekyo okubaawo?

14. Biki omuntu by’ayinza okukola okuziyiza omutima gwe okufuuka ng’ettaka ettono?

14 Omuntu alina okukakasa nti tewali bintu biremesa ebiringa olwazi, gamba ng’obukyayi, okwenoonyeza ebibye ku bubwe, oba enneewulira endala ng’ezo ezisimbye amakanda mu mutima. Singa ebintu ng’ebyo ebiremesa biba byasimba dda amakanda mu mutima gwaffe, amaanyi g’ekigambo kya Katonda gayinza okubisimbulamu. (Yeremiya 23:29; Abaefeso 4:22; Abaebbulaniya 4:12) Oluvannyuma lw’ekyo, okusaba awamu n’okufumiitiriza bisobozesa ekigambo ‘okumera’ mu mutima gw’omuntu. (Yakobo 1:21) Ekyo kijja kutusobozesa okuvvuunuka embeera ezimalamu amaanyi era n’okusigala nga tuli beesigwa wadde nga tugezesebwa.

‘Mu Maggwa’​—Okuba n’Omutima Ogutali Wamu

15. (a) Lwaki ekika ky’ettaka eky’okusatu Yesu kye yayogerako naddala tusaanidde okukissaako omwoyo? (b) Mu nkomerero kiki ekituuka ku kika ky’ettaka eky’okusatu, era lwaki?

15 Naddala twetaaga okussa omwoyo ku kika ky’ettaka eky’okusatu omuli amaggwa, kubanga mu ngeri emu kifaananako ettaka eddungi. Okufaananako ettaka eddungi, ettaka ery’amaggwa lireka ensigo okusimba emirandira era n’emeruka. Mu kusooka, tewaba njawulo mu kukula kw’ebimera ebito mu bika by’ettaka bino ebibiri. Kyokka, oluvannyuma lw’ekiseera, wajjawo embeera ezizisa ekimera ekimu. Okwawukana ku ttaka eddungi, ettaka lino limeramu amaggwa. Ekimera ekito bwe kimeruka okuva mu ttaka, kivuganya ‘n’amaggwa agakulira awamu nakyo.’ Okumala akaseera ekimera kivuganya n’amaggwa okufuna emmere, n’ekitangaala, naye mu nkomerero amaggwa gabuutikira ekimera era ne ‘gakizisa.’​—Lukka 8:7.

16. (a) Bantu ki abafaanana ettaka ery’amaggwa? (b) Okusinziira ku Njiri esatu, amaggwa gakiikirira ki?​—Laba obugambo obutono wansi.

16 Bantu ba ngeri ki abafaanana ettaka ery’amaggwa? Yesu annyonnyola: “Be bawulira, awo bwe bagenda ne baziyizibwa n’okweraliikirira n’obugagga n’essanyu ery’omu bulamu buno ne batatuukiriza kukuza mmere.” (Lukka 8:14) Ng’ensigo z’omusizi n’amaggwa bwe bikulira mu kiseera kye kimu, n’abantu abamu bagezaako okuyiga ekigambo kya Katonda ate ng’eno bwe beenyigira ‘mu masanyu g’omu bulamu buno’ mu kiseera kye kimu. Amazima g’ekigambo kya Katonda gasigibwa mu mutima gwabwe, naye gavuganya n’ebiruubirirwa ebirala mu bulamu. Omutima gwabwe ogw’akabonero guba tegukyali wamu. (Lukka 9:57-62) Kino kibalemesa okuwaayo ebiseera ebimala okusaba n’okufumiitiriza ku kigambo kya Katonda. Tebakkiriza kigambo kya Katonda mu bujjuvu era bwe kityo tebaba na kusiima okubasobozesa okugumiikiriza. Mpolampola, ebiruubirirwa byabwe eby’omwoyo bibuutikirwa ebitali bya mwoyo ne batuuka ‘n’okuzika’ mu by’omwoyo. * Ng’eba nkomerero mbi nnyo eri abo abataweereza Yakuwa na mutima gwabwe gwonna!​—Matayo 6:24; 22:37.

17. Biki bye tulina okukola amaggwa agoogerwako mu lugero lwa Yesu galeme okutuzisa mu by’omwoyo?

17 Bwe tukulembeza eby’omwoyo mu kifo ky’eby’omubiri, twewala okulumizibwa amasanyu g’ensi eno. (Matayo 6:31-33; Lukka 21:34-36) Tetusaanidde kulagajjalira kusoma Baibuli n’okufumiitiriza ku bye tusoma. Tujja kufuna ebiseera ebisingawo okusaba n’okufumiitiriza singa tugonza obulamu bwaffe. (1 Timoseewo 6:6-8) Abaweereza ba Katonda abakoze ekyo​—kwe kugamba, mu ngeri ey’akabonero abasimbulizza amaggwa mu ttaka ekimera kisobole okufuna emmere, n’ekitangaala ebimala​—bafunye emikisa gya Yakuwa. Sandra, ow’emyaka 26 agamba bw’ati: “Bwe nfumiitiriza ku mikisa gye nfunye mu mazima, nkiraba nti ensi teyinza kumpa kisingawo!”​—Zabbuli 84:11.

18. Tuyinza tutya okunywerera mu kigambo kya Katonda era ne tugumiikiriza ng’Abakristaayo?

18 Kya lwatu, ffenna abato n’abakulu, tujja kunywerera mu kigambo kya Katonda era tugumiikirize ng’abayigirizwa ba Kristo kasita ekigambo kya Katonda kisimba amakanda mu mitima gyaffe. N’olwekyo, ka tukakase nti ettaka ery’emitima gyaffe egy’akabonero terifuuka kkalubo, ttono oba okukulamu ebintu ebiteetaagisa, wabula lisigale nga ggonvu era nga lingi. Mu ngeri eyo, tujja kutegeera ekigambo kya Katonda mu bujjuvu, era ‘tubale ebibala n’obugumiikiriza.’​—Lukka 8:15.

[Obugambo obuli wansi]

^ lup. 1 Mu kitundu kino, tujja kwetegereza ekintu ekisooka ku ebyo bye tulina okutuukiriza. Ebirala ebibiri bijja kwogerwako mu bitundu ebinaddirira.

^ lup. 8 Mu kufumiitiriza ku kitundu kya Baibuli ky’osoma, oyinza okwebuuza: ‘Kyoleka engeri emu eya Yakuwa oba nnyingi? Kikwatagana kitya n’omutwe gwa Baibuli? Nnyinza ntya okukikozesa mu bulamu bwange oba okuyamba abalala?’

^ lup. 16 Okusinziira ku biri mu Njiri esatu ezirimu olugero lwa Yesu, ensigo ezika olw’okweraliikirira n’amasanyu g’ensi eno: “Okweraliikirira kw’ensi,” “obulimba bw’obugagga,” “okwegomba kw’ebirala byonna,” “n’essanyu ery’omu bulamu buno.”​—Makko 4:19; Matayo 13:22; Lukka 8:14; Yeremiya 4:3,  4.

Biki by’Oddamu?

• Lwaki twetaaga ‘okunywerera mu kigambo kya Yesu’?

• Tuyinza tutya okuleka ekigambo kya Katonda okusimba amakanda mu mitima gyaffe?

• Bantu ba ngeri ki abakiikirirwa ebika by’ettaka ebisatu Yesu bye yayogerako?

• Oyinza otya okufuna ebiseera okufumiitiriza ku kigambo kya Katonda?

[Ebibuuzo]

[Akasanduuko/Ekifaananyi ekiri ku lupapula 19]

“BANYWEREDDE MU MAZIMA”

ABAYIGIRIZWA ba Kristo bangi abamuweerezza okumala ebbanga eggwanvu bakiraga buli mwaka nti ‘banyweredde mu mazima.’ (2 Peetero 1:12) Kiki ekibasobozesa okunywera? Weetegereze ebimu ku ebyo bye boogera.

“Nkomekkereza buli lunaku nga nsoma Baibuli awamu n’okusaba. Oluvannyuma nfumiitiriza ku bye nsomye.”​—Jean, yabatizibwa mu 1939.

“Okufumiitiriza ku ngeri omuntu nga Yakuwa, ow’ekitiibwa ennyo, gy’atwagala ennyo kiŋŋumya era ne kinsobozesa okubeera omwesigwa.”​—Patricia, yabatizibwa mu 1946.

“Okwesomesa Baibuli obutayosa n’okwemalira ku ‘bintu bya Katonda eby’omunda,’ kinsobozesezza okweyongera okuweereza Yakuwa.”​—1 Abakkolinso 2:10; Anna, yabatizibwa mu 1939.

“Nsoma Baibuli n’ebitabo byaffe ebigyesigamiziddwako nga nnina ekigendererwa eky’okukebera omutima gwange n’ebiruubirirwa.”​—Zelda, yabatizibwa mu 1943.

“Ebiseera ebinsingira obulungi by’ebyo nga ntambulatambula ng’eno bwe njogera ne Yakuwa mu kusaba nga mutegeeza engeri gye mpuliramu.”​—Ralph, yabatizibwa mu 1947.

“Ntandika olunaku nga nsoma ekyawandiikibwa eky’olunaku awamu ne Baibuli. Kino kimpa ekintu ekippya eky’okufumiitirizaako mu lunaku.”​—Marie, yabatizibwa mu 1935.

“Kinzizzaamu nnyo amaanyi bwe nneekeneenya Baibuli lunyiriri ku lunyiriri.”​—Daniel, yabatizibwa mu 1946.

Ddi lw’owaayo ebiseera okufumiitiriza ku kigambo kya Katonda?​—Danyeri 6:10b; Makko 1:35; Ebikolwa 10:9.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 22]

Bwe tukulembeza eby’omwoyo, tuyinza ‘okubala ebibala n’obugumiikiriza’