Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

‘Mwagalanenga’

‘Mwagalanenga’

‘Mwagalanenga’

“Bonna kwe banaategeereranga nga muli bayigirizwa bange, bwe munaabanga n’okwagalana mwekka na mwekka.”​—Yokaana 13:35.

1. Ngeri ki Yesu gye yaggumiza ennyo ng’ebulayo akaseera katono afe?

“BAANA bange.” (Yokaana 13:33) Yesu yakozesa ebigambo ebyo ebyoleka okwagala okungi bwe yali ng’ayogera n’abatume be ekiro ekyasembayo nga tannaba kufa. Tewali kyawandiikibwa kirala kyonna mu Njiri ekiraga nti Yesu yali akozesezzaako ebigambo ebyo ng’ayogera nabo. Kyokka, mu kiro ekyo eky’enjawulo yakozesa ebigambo ebyo okulaga okwagala okw’amaanyi kwe yalina eri abagoberezi be. Mu butuufu, Yesu yayogera ku kwagala emirundi nga 30 ekiro ekyo. Lwaki yaggumiza nnyo engeri eyo?

2. Lwaki kikulu nnyo Abakristaayo okulaga okwagala?

2 Yesu yannyonnyola ensonga lwaki okwagala kukulu nnyo. Yagamba nti: Bonna kwe banaategeereranga nga muli bayigirizwa bange, bwe munaabanga n’okwagalana mwekka na mwekka.” (Yokaana 13:35; 15:12, 17) Omuntu bw’abeera omugoberezi wa Kristo, asaanidde okulaga okwagala. Ekyawulawo Abakristaayo ab’amazima si bye byambalo eby’enjawulo oba empisa ezitali za bulijjo, wabula kwe kwagala okungi kwe balaga bannaabwe. Okubeera n’okwagala okw’engeri eno, kye kimu ku bintu ebikulu ebisatu omuyigirizwa wa Kristo by’alina okutuukiriza ebyayogerwako ku ntandikwa y’ekitundu ekiwedde. Kiki ekinaatuyamba okweyongera okwoleka okwagala okwo?

‘Okukola Bwe Tutyo n’Okusingawo’

3. Kubuulirira ki okukwata ku kwagala omutume Pawulo kwe yawa?

3 Nga bwe kyali eri abagoberezi ba Kristo ab’omu kyasa ekyasooka, okwagala kuno okw’amaanyi kulabibwa leero mu bayigirizwa ba Kristo ab’amazima. Omutume Pawulo yawandiikira Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka: “Naye okuwandiikirwa ku by’okwagalananga ab’oluganda okwo temukwetaaga: kubanga mmwe mwekka mwayigirizibwa Katonda okwagalananga; kubanga n’okukola mukola bwe mutyo ab’oluganda bonna.” Pawulo era yagattako: “Mweyongerenga okukola bwe mutyo n’okusingawo.” (1 Abasessaloniika 3:12; 4:9, 10, NW) Naffe twetaaga okugoberera okubuulirira kwa Pawulo era tufube okulaga bannaffe okwagala mu ngeri ‘esingawo.’

4. Okusinziira ku Pawulo ne Yesu, baani be tulina okufaako mu ngeri ey’enjawulo?

4 Mu bbaluwa y’emu, Pawulo yakubiriza bakkiriza banne “okugumyanga abennyamivu” “n’okuyambanga abanafu.” (1 Abasessaloniika 5:14, NW) Olulala, yakubiriza Abakristaayo nti abo ‘abalina amaanyi bagwanidde okwetikkanga obunafu bw’abo abatalina maanyi.’ (Abaruumi 15:1) Yesu naye yawa obulagirizi obukwata ku kuyamba abo abatalina maanyi. Oluvannyuma lw’okulagula nti mu kiro eky’okukwatibwa kwe Peetero yandimwabulidde, Yesu yagamba Peetero: ‘Naawe bw’omalanga okukomawo, onywezanga baganda bo.’ Lwaki? Kubanga nabo bandyabulidde Yesu era nga bandyetaaze okuyambibwa. (Lukka 22:32; Yokaana 21:15-17) N’olwekyo, Ekigambo kya Katonda kitukubiriza okwoleka okwagala eri abo abanafuye mu by’omwoyo era abayinza okuba nga tebakyali wamu n’ekibiina Ekikristaayo. (Abaebbulaniya. 12:12) Lwaki tusaanidde okukola ekyo? Ebyokulabirako bibiri Yesu bye yawa bituwa eky’okuddamu.

Endiga Eyabula ne Lupiya Eyabula

5, 6. (a) Byakulabirako ki ebibiri Yesu bye yawa? (b) Ebyokulabirako ebyo bitutegeeza ki ku Yakuwa?

5 Okusobola okuyigiriza abo abaali bamuwuliriza engeri Yakuwa gy’atunuuliramu abo ababuze, Yesu yawa ebyokulabirako bibiri. Ekimu kyali kikwata ku musumba. Yesu yagamba: “Muntu ki ku mmwe alina endiga ekikumi, bw’abulwako emu, ataleka ziri ekyenda mu omwenda ku ttale, n’agoberera eri eyabuze, okutuusa lw’aligiraba? Kale bw’agiraba, agissa ku kibegabega kye ng’asanyuka. Bw’atuuka eka, ayita mikwano gye ne baliraanwa be, n’abagamba nti Munsanyukireko, kubanga nzudde endiga yange eyabadde ebuze. Mbagamba nti Bwe kityo linaabanga ssanyu mu ggulu olw’oyo alina ebibi omu eyeenenya, okusinga abatuukirivu ekyenda mu omwenda, abateetaaga kwenenya.”​—Lukka 15:4-7.

6 Ekyokulabirako eky’okubiri kyali kikwata ku mukazi. Yesu yagamba: “Mukazi ki alina erupiya ekkumi, bw’abulwako erupiya emu, atakoleeza ttabaaza n’ayera ennyumba, n’anyiikira okunoonya okutuusa lw’agizuula? Bw’agiraba, ayita mikwano gye ne baliraanwa be n’agamba nti Munsanyukireko, kubanga nzudde erupiya eyabadde embuze. Mbagamba nti Bwe kityo liba ssanyu mu maaso ga bamalayika ba Katonda olw’oyo alina ebibi omu eyeenenya.”​—Lukka 15:8-10.

7. Bya kuyiga ki ebibiri bye tusobola okufuna mu kyokulabirako kya Yesu eky’endiga eyabula n’erupiya eyabula?

7 Kiki kye tuyinza okuyigira ku byokulabirako bino? Bitulaga engeri (1) gye tuyinza okufaayo ku abo abanafuye era ne (2) kye tuyinza okukola okubayamba. Ka twekenneenye ensonga zino.

Eyabula Wa Muwendo

8. (a) Omusumba n’omukazi baakola batya nga babuliddwako ebintu byabwe? (b) Kye baakola kitulaga nti baali batwala batya ekyo ekyali kibuze?

8 Mu byokulabirako byombi, waaliwo ekyali kibuze, naye weetegereze nnyini kintu ekyo kye yakola. Omusumba teyagamba: ‘Si kikulu nnyo endiga emu okubula, kasita nkyalina endala 99.’ Omukyala teyagamba: ‘Lupiya emu tennuma. Nkyalina endala mwenda.’ Okwawukana ku ekyo, omusumba yanoonya endiga ye eyali ebuze nga gy’obeera ye yokka gye yali alina. Era n’omukazi yalumwa nnyo olw’okubulwako erupiya ye nga gy’obeera ye yokka gye yali alina. Mu byokulabirako byombi, ekintu ekyali kibuze kyali kya muwendo eri nnanyini kyo. Kino kituyigiriza ki?

9. Okufaayo omusumba n’omukazi kwe baalaga kwoleka ki?

9 Weetegereze Yesu bye yayogera ng’afundikira ebyokulabirako byombi: “Bwe kityo linaabanga ssanyu mu ggulu olw’oyo alina ebibi omu eyeenenya” era “mbagamba nti Bwe kikyo liba ssanyu mu maaso ga bamalayika ba Katonda olw’oyo alina ebibi eyeenenya.” N’olwekyo, okufaayo omusumba n’omukazi kwe baalaga kwoleka ku kigero ekitono enneewulira ya Yakuwa n’ebitonde bye eby’omu ggulu. Ng’ekyo ekyali kibuze bwe kyasigala nga kikyali kya muwendo eri omusumba n’omukazi, mu ngeri y’emu n’abo abawabye ne baba nga tebakyali wamu n’abantu ba Katonda, basigala nga bakyali ba muwendo mu maaso ga Yakuwa. (Yeremiya 31:3) Abantu ng’abo bayinza okuba abanafu obunafu mu by’omwoyo, naye nga si bajeemu. Wadde nga banafuye, bayinza okuba nga bakyagezzaako okugoberera amateeka ga Yakuwa. (Zabbuli 119:176; Ebikolwa 15:29) N’olwekyo, nga bwe kyali mu biseera ebyayita, Yakuwa tayanguwa ‘kubagoba mu maaso ge.’​—2 Bassekabaka 13:23.

10, 11. (a) Abo abawabye okuva mu kibiina twandibatunuulidde tutya? (b) Okusinziira ku byokulabirako bya Yesu ebibiri, tusobola tutya okulaga nti tubafaako?

10 Okufaananako Yakuwa ne Yesu, naffe tufaayo nnyo ku abo abanafuye era abatakyalabikako mu kibiina. (Ezeekyeri 34:16; Lukka 19:10) Abo abanafuye mu by’omwoyo tubatwala ng’endiga eyabula esobola okuyambibwa. Tetugamba nti: ‘Lwaki tufaayo ku munafu? Ekibiina kikola bulungi wadde nga taliimu.’ Mu kifo ky’ekyo, okufaananako Yakuwa, abo abanafuye kyokka nga baagala okukomawo tubatwala nga ba muwendo.

11 Naye tuyinza tutya okulaga nti tufaayo? Ebyokulabirako bya Yesu ebibiri biraga nti tusobola okukikola (1) nga tubaako kye tukolawo, (2) nga tuba ba kisa, era (3) nga tufuba okubayamba. Ka twekenneenye ebintu bino kinnakimu.

Baako ky’Okolawo

12. Ebigambo “agoberera eri eyabuze” bitulaga ki ku ndowooza y’omusumba?

12 Mu kyokulabirako ekisooka, Yesu agamba nti omusumba “agoberera [“anoonya,” NW] eri eyabuze.” Omusumba abaako ky’akola era n’afuba okunoonya endiga eyabula. Olugendo oba obuzibu obulala bwonna tebumulobera kuginoonya. Wabula, afuba nnyo ‘okutuusa lw’agiraba.”​—Lukka 15:4.

13. Abasajja abeesigwa ab’edda baayamba batya abo abaali banafuye, era tusobola tutya okukoppa ebyokulabirako ng’ebyo ebiri mu Baibuli?

13 Mu ngeri y’emu, okusobola okuyamba omuntu aweddemu amaanyi, kiba kyetaagisa oyo alina amaanyi okubaako ky’akolawo okumuyamba. Abasajja abeesigwa abaaliwo mu biseera eby’edda kino baali bakitegeera. Ng’ekyokulabirako, Yonasaani, mutabani wa Kabaka Sawulo bwe yalaba nti Dawudi mukwano gwe nfiirabulago yali yeetaaga okuzzibwamu amaanyi, Yonasaani ‘yagenda eri Dawudi n’anyweza omukono gwe mu Katonda.’ (1 Samwiri 23:15, 16) Nga wayiseewo ebyasa bingi, Gavana Nekkemiya bwe yalaba nga baganda be abamu Abayudaaya baweddemu amaanyi, ‘yagolokoka mangu’ n’abakubiriza ‘okujjukira Yakuwa.’ (Nekkemiya 4:14) Naffe leero twandisitukiddemu ne tubaako kye tukolawo okunyweza abo abanafuye. Naye baani mu kibiina abasaanidde okukola ekyo?

14. Baani abasaanidde okuyamba abo abanafuye mu kibiina?

14 Okusingira ddala, abakadde Abakristaayo, be balina obuvunaanyizibwa ‘okunyweza emikono eminafu n’amaviivi agajugumira’ era ‘n’okugamba abo abalina omutima omuti nti mubeere n’amaanyi, temutya.’ (Isaaya 35:3, 4; 1 Peetero 5:1, 2) Kyokka, weetegereze nti Pawulo teyagamba bakadde bokka ‘okugumya abo abalina omwoyo omunafu’ ‘n’okuyamba abatalina maanyi.’ Wabula, yagamba ekibiina kyonna ‘eky’omu Ssessaloniika.’ (1 Abasessaloniika 1:1; 5:14) N’olwekyo, okuyamba abanafu buvunaanyizibwa bw’Abakristaayo bonna. Okufaananako omusumba mu kyokulabirako kya Yesu, buli Mukristaayo alina ‘okunoonya abo ababuze.’ Kya lwatu, kino twandikikoze nga tugoberera obulagirizi bw’abakadde. Oyinza okubaako ky’okolawo okuyamba omunafu mu kibiina kyo?

Beera wa Kisa

15. Lwaki omusumba yeeyisa mu ngeri eyo?

15 Omusumba akola ki ng’azudde endiga ebadde ebuze? “Agissa ku kibegabega kye.” (Lukka 15:5) Ekyo nga kyoleka okufaayo okw’amaanyi! Endiga eyinza okuba ng’emaze ekiseera ekiwerako ng’ebuungeetera mu kitundu ky’etamanyi oboolyawo n’empologoma mwe zandigiriridde. (Yobu 38:39, 40) Awatali kubuusabuusa, endiga eyo eba terina maanyi olw’okuba emaze ebbanga nga terya. Enafuye nnyo n’eba nga tekyasobola kwetambuza yokka kuddayo mu kisibo. N’olwekyo, omusumba akutama n’agisitula n’agiyamba okugizzaayo mu kisibo. Tusobola tutya okukoppa okufaayo kw’omusumba oyo?

16. Lwaki tusaanidde okukoppa ekisa omusumba kye yayoleka eri endiga eyali ebuze?

16 Omuntu atakyali wamu na kibiina ayinza okuba ng’aweddemu amaanyi mu by’omwoyo. Okufaananako endiga ebadde ebuze, omuntu ng’oyo ayinza okuba ng’abadde abuungeetera mu nsi. Nga tali mu kisibo, kwe kugamba, ekibiina Ekikristaayo, aba mu kabi ka maanyi nnyo ak’okulumbibwa Omulyolyomi “atambulatambula ng’empologoma ewuluguma, ng’anoonya gw’anaalya.” (1 Peetero 5:8) Ate era, aba anafuye olw’obutalya mmere ya bya mwoyo. N’olwekyo, ku lulwe ayinza okulemererwa okuvvuunuka emisanvu gy’asanga ng’akomawo mu kibiina. N’olwekyo, mu ngeri ey’okugereesa, tulina okukutama tusitule omunafu oyo mu ngeri ey’ekisa, era tumuyambe okudda mu kibiina. (Abaggalatiya 6:2) Kino tusobola kukikola tutya?

17. Tusobola tutya okukoppa omutume Pawulo nga tukyalidde omuntu anafuye?

17 Omutume Pawulo yagamba: “Omuntu bw’anafuwa, sirumirwa wamu naye mu bunafu bwe?” (2 Abakkolinso 11:29, The New English Bible; 1 Abakkolinso 9:22) Pawulo yafangayo nnyo ku balala. Twagala okwoleka okufaayo kwe kumu eri abanafu. Bw’okyalira Omukristaayo anafuye mu by’omwoyo, mukakase nti akyali wa muwendo mu maaso ga Yakuwa era nti Bajulirwa banne bamusubwa nnyo. (1 Abasessaloniika 2:17) Mutegeeze nti beetegefu okumuyamba era n’okubeera gy’ali ‘ng’ow’oluganda eyazaalibwa okuyamba abali mu buyinike.’ (Engero 17:17; Zabbuli 34:18) Ebikolwa byaffe eby’ekisa bisobola okumuzzaamu amaanyi n’asobola okukomawo mu kibiina. Kiki kye tusaanidde okukola oluvannyuma? Ekyokulabirako ky’omukazi eyabulwako lupiya, kituwa obulagirizi.

Teekamu Amaanyi

18. (a) Lwaki omukazi ayogerwako mu kyokulabirako kya Yesu yalina essuubi? (b) Omukazi oyo yafuba mu ngeri ki, era kiki ekyavaamu?

18 Omukazi oyo abuliddwako lupiya akimanyi nti kiyinza obutaba kyangu okugizuula naye era alina essuubi. Singa lupiya eyo yali egudde mu nsiko oba mu nnyanja, oboolyawo teyanditawaanye kuginoonya. Naye olw’okuba amanyi nti lupiya eyo egudde mu nnyumba mw’asobola okuginoonya, atandika okunoonya n’obunyiikivu. (Lukka 15:8) Okusooka, akoleeza ettaala okusobola okumulisa mu nju. Ate oluvannyuma n’ayeramu ng’asuubira okuwulira ekivuga. Ku nkomerero anoonya mu buli kanyomero okutuusa lw’agiraba. Okufuba kw’omukazi oyo kuvaamu ebirungi!

19. Kya kuyiga ki eky’okuyamba abanafu kye tuyinza okufuna okuva mu kyokulabirako ky’omukazi eyali abuliddwako lupiya ye?

19 Ng’akatundu kano ak’olugero lwa Yesu bwe katulaga, kisoboka okuyamba Omukristaayo anafuye mu by’omwoyo. Mu kiseera kye kimu, tumanyi nti kyetaagisa okufuba kwa maanyi. Mazima ddala, omutume Pawulo yagamba abakadde b’omu Efeso: ‘Muteekwa okufuba okuyamba abatalina maanyi.’ (Ebikolwa 20:35, NW) Jjukira nti omukazi ono okusobola okuzuula lupiya eyo, tanoonyaako katono ng’atunula mu bifo bimu na bimu, wabula anoonya buli wamu “okutuusa lw’agizuula.” Mu ngeri y’emu, nga tugezaako okuyamba omuntu anafuye mu by’omwoyo, naffe twandiraze obunyiikivu n’obumalirivu ng’obwo. Kiki kye tuyinza okukola?

20. Kiki ekiyinza okukolebwa okuyamba abanafuye mu by’omwoyo?

20 Tusobola tutya okuyamba omunafu okukulaakulanya okukkiriza n’okusiima? Kiyinza okuba kyetaagisa okuyiga naye Baibuli mu kitabo ekituukirawo. Mazima ddala, okusoma Baibuli n’omuntu anafuye ngeri nnungi ey’okumuwa obuyambi bwe yeetaaga obutayosa. Omulabirizi w’obuweereza asobola bulungi okumanya ani ayinza okuyamba omunafu oyo. Asobola okuwa amagezi ku ebyo ebirina okusomebwa era na kitabo ki ekiyinza okuyamba omuntu oyo mu ngeri esingawo obulungi. Ng’omukazi mu kyokulabirako kya Yesu bw’akozesa ebintu eby’omugaso okusobola okuzuula ekibuze, naffe leero tulina bye tuyinza okukozesa okusobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa Katonda bw’atuwadde obw’okuyamba abanafu. Eby’okukozesa ebippya bibiri, bijja kutuyamba nnyo mu mulimu ogwo. Bye bitabo Sinza Katonda Omu ow’Amazima ne Draw Close to Jehovah. *

21. Okuyamba abanafu kuleeta kutya essanyu eri bonna?

21 Okuyamba abanafu kireetera bonna essanyu. Oyo ayambibwa afuna essanyu olw’okuddamu okubeera n’emikwano egya nnamaddala. Tufuna essanyu lya nsusso eriva mu kugaba. (Lukka 15:6, 9; Ebikolwa 20:35b) Ekibiina kyonna kibeeramu ebbugumu singa buli omu ku abo abakirimu afaayo ku balala. N’ekisinga byonna, ettendo lidda eri Abasumba baffe abafaayo ennyo, Yakuwa ne Yesu, kubanga okwagala kwe balina okuyamba abanafu kulabikira mu baweereza baabwe ab’oku nsi. (Zabbuli 72:12-14; Matayo 11:28-30; 1 Abakkolinso 11:1; Abaefeso 5:1) Nga tulina ensonga ennungi ennyo okweyongera ‘okwagalana’!

[Obugambo obuli wansi]

^ lup. 20 Byakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

Osobola Okunnyonnyola?

• Lwaki kukulu ffenna okulaga okwagala?

• Lwaki twandyolesezza okwagala eri abanafu?

• Kiki kye tuyiga mu kyokulabirako ky’endiga eyabula n’ekya lupiya eyabula?

• Biki bye tuyinza okukola okuyamba omunafu?

[Ebibuuzo]

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 24, 25]

Mu kuyamba abanafu, ffe tusooka okubaako ne kye tukolawo, tuba ba kisa era tuteekamu amaanyi

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 24, 25]

Okuyamba abanafu kuleetera bonna essanyu