Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okukkiriza Kwo Kunywevu Kwenkana Wa?

Okukkiriza Kwo Kunywevu Kwenkana Wa?

Okukkiriza Kwo Kunywevu Kwenkana Wa?

‘Okukkiriza kwammwe kwe kubayimiriza.’​—2 ABAKKOLINSO 1:24.

1, 2. Lwaki tuteekwa okuba n’okukkiriza, era kuyinza kutya okweyongera okunywera?

ABAWEEREZA ba Yakuwa bakimanyi nti bateekwa okuba n’okukkiriza. Mu butuufu, ‘awatali kukkiriza tekiyinzika kusiimibwa Katonda.’ (Abaebbulaniya 11:6) N’olwekyo, kiba kya magezi okusaba okufuna omwoyo omutukuvu n’okukkiriza, ekimu ku bibala byagwo. (Lukka 11:13; Abaggalatiya 5:22, 23) Okukoppa okukkiriza kwa bakkiriza bannaffe nakyo kiyinza okunyweza okukkiriza kwaffe.​—2 Timoseewo 1:5; Abaebbulaniya 13:7.

2 Okukkiriza kwaffe kujja kweyongera okunywera singa tutambulira mu kkubo Ekigambo kya Katonda kye liraga Abakristaayo bonna. Okukkiriza kwaffe kuyinza okweyongera singa tusoma Baibuli buli lunaku era ne tunyiikira okuyiga Ebyawandiikibwa nga tukozesa ebitabo ebituweebwa ‘omuwanika omwesigwa.’ (Lukka 12:42-44; Yoswa 1:7, 8) Buli omu ku ffe anyweza okukkiriza kwa munne bwe tutayosa kubaawo mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo era ne mu nkuŋŋaana ennene. (Abaruumi 1:11, 12; Abaebbulaniya 10:24, 25) Era okukkiriza kwaffe kunywezebwa bwe twogera n’abalala mu buweereza bw’ennimiro.​—Zabbuli 145:10-13; Abaruumi 10:11-15.

3. Ku bikwata ku kukkiriza, buyambi ki bwe tufuna okuva eri abakadde Abakristaayo abaagazi?

3 Abakadde Abakristaayo abaagazi batuyamba okuzimba okukkiriza kwaffe bwe batuzzaamu amaanyi era ne batubuulirira okuva mu Byawandiikibwa. Balina endowooza ng’eya omutume Pawulo eyagamba Abakkolinso: “Tuli bakozi bannammwe ab’essanyu lyammwe: kubanga okukkiriza [kwammwe] kwe kubayimiriza.” (2 Abakkolinso 1:23, 24) Enkyusa endala esoma bw’eti: “Tukola nammwe musobole okufuna essanyu, kubanga okukkiriza kwammwe kunywevu.” (Contemporary English Version) Abatuukirivu babaawo olw’okukkiriza. Kya lwatu, tewali n’omu ayinza kuba na kukkiriza ku lwaffe oba okutufuula abeesigwa. Ku nsonga eno, ‘tuteekwa okwetikka omugugu gwaffe.’​—Abaggalatiya 3:11; 6:5.

4. Ebyawandiikibwa ebyogera ku baweereza ba Katonda abaalina okukkiriza biyinza bitya okunyweza okukkiriza kwaffe?

4 Ebyawandiikibwa byogera ku bantu bangi abaalina okukkiriza. Tuyinza okuba tumanyi bingi ku bikolwa byabwe eby’ekitalo, naye tumanyi okukkiriza kwe baayoleka buli lunaku, oboolyawo mu bulamu bwabwe bwonna? Bwe tufumiitiriza kati ku ngeri gye baayolekamu okukkiriza mu mbeera ezifaananako ezaffe, kiyinza okutuyamba okunyweza okukkiriza kwaffe.

Okukkiriza Kutuwa Obuvumu

5. Bujulizi ki okuva mu Byawandiikibwa obulaga nti okukkiriza kutuyamba okulangirira ekigambo kya Katonda n’obuvumu?

5 Okukkiriza kutusobozesa okulangirira ekigambo kya Katonda n’obuvumu. N’obuvumu, Enoki yalagula okutuukirizibwa kw’omusango Katonda gwe yali asaze. Yagamba: “Laba, Mukama yajja n’abatukuvu be kakumi, okuleeta omusango ku bonna, n’okusinza omusango bonna abatatya Katonda olw’ebikolwa byabwe byonna bye bakoledde mu butatya Katonda, n’olw’ebigambo byabwe byonna ebikakanyavu aboonoonyi abatatya Katonda bye bamwogeddeko.” (Yuda 14, 15) Bwe baawulira ebigambo ng’ebyo, awatali kubuusabuusa abalabe ba Enoki baayagala okumutta. Wadde kyali kityo, n’obuvumu yalangirira ebigambo ebyo ng’alina okukkiriza, era Katonda ‘yamutwala,’ ng’akomya obulamu bwe, nga kirabika tayagala afe mu ngeri ey’obulumi. (Olubereberye 5:24; Abaebbulaniya 11:5) Tetukyafuna byamagero ng’ebyo, naye Yakuwa addamu okusaba kwaffe ne tusobola okulangirira ekigambo kye nga tulina okukkiriza n’obuvumu.​—Ebikolwa 4:24-31.

6. Okukkiriza n’obuvumu Katonda by’agaba byayamba bitya Nuuwa?

6 Olw’okukkiriza, Nuuwa ‘yazimba eryato ery’okulokola ennyumba ye.’ (Abaebbulaniya 11:7; Olubereberye 6:13-22) Ne Nuuwa yali ‘mubuulizi wa butuukirivu,’ era n’obuvumu yalabula abantu b’omu kiseera kye ku ekyo Katonda kye yali agenda okukola. (2 Peetero 2:5) Bateekwa okuba nga baanyooma obubaka bwe obwali bukwata ku Mataba agali gagenda okujja, era nga n’abamu leero bwe banyooma obubaka bwaffe okuva mu Byawandiikibwa obulaga nti embeera z’ebintu eziriwo mangu ddala zigenda kuggibwawo. (2 Peetero 3:3-12) Kyokka, okufaananako Enoki ne Nuuwa, naffe tuyinza okweyongera okulangirira obubaka ng’obwo, olw’okuba Katonda atuyamba okuba n’okukkiriza n’obuvumu.

Okukkiriza Kutusobozesa Okuba Abagumiikiriza

7. Ibulayimu n’abalala baayoleka batya okukkiriza n’obugumiikiriza?

7 Twetaaga okukkiriza n’obugumiikiriza, naddala nga tulindirira enkomerero y’embeera z’ebintu bino. Mu abo, ‘abalifuna ebyasuubizibwa olw’okukkiriza n’obugumiikiriza,’ mwe muli Ibulayimu eyatyanga Katonda. (Abaebbulaniya 6:11, 12) Olw’okukkiriza yaleka ekibuga kya Uli, ekyalimu ebintu ebingi ebirungi ennyo, era n’afuuka omugenyi mu nsi engwira Katonda gye yamusuubiza. Isaaka ne Yakobo baali basika b’ekisuubizo kye kimu. Kyokka, ‘mu kukkiriza bonna baafa, wadde nga tebaafuna ebyabasuubizibwa.’ Olw’okukkiriza ‘beegomba ekifo ekisingako obulungi, kwe kugamba, eggulu.’ N’olwekyo, Katonda ‘abateekeddeteekedde ekibuga.’ (Abaebbulaniya 11:8-16) Yee, Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo​—ne bakyala baabwe abatya Katonda​—n’obugumiikiriza baalindirira Obwakabaka bwa Katonda obw’omu ggulu, mwe bajja okuzuukizibwa ku nsi.

8. Ibulayimu, Isaaka ne Yakobo baayoleka obugumiikiriza n’okukkiriza wadde nga biki ebitaatuukirizibwa mu kiseera kyabwe?

8 Okukkiriza kwa Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo tekwakendeera. Mu kiseera kyabwe Ensi Ensuubize teyali mu buyinza bwabwe, era tebaalaba amawanga gonna nga gafuna omukisa okuyitira mu zadde lya Ibulayimu. (Olubereberye 15:5-7; 22:15-18) Wadde ‘ng’ekibuga ekyazimbibwa Katonda’ tekyanditeekeddwaawo okutuusa nga wayiseewo ebyasa n’ebyasa by’emyaka, abasajja bano beeyongera okwoleka okukkiriza n’obugumiikiriza mu bulamu bwabwe bwonna. Mazima ddala, naffe twandikoze kye kimu olw’okuba kati Obwakabaka obufugibwa Masiya bwateekebwawo dda mu ggulu.​—Zabbuli 42:5, 11; 43:5.

Okukkiriza Kutusobozesa Okuba n’Ebiruubirirwa Ebisingayo Obulungi

9. Okukkiriza kulina kakwate ki n’ebiruubirirwa?

9 Abasajja abeesigwa eb’edda tebaatwalirizibwa nneeyisa y’Abakanani ey’obugwenyufu, kubanga baalina ebiruubirirwa ebisingira ewala obulungi. Mu ngeri y’emu, okukkiriza kutusobozesa okuba n’ebiruubirirwa eby’omwoyo ebitusobozesa obutatwalirizibwa ensi eno eri mu buyinza bw’omubi, Setaani Omulyolyomi.​—1 Yokaana 2:15-17; 5:19.

10. Tumanya tutya nti Yusufu yalina ebiruubirirwa ebisingira ewala ettuttumu ly’omu nsi?

10 Olw’obulagirizi bwa Katonda, Yusufu, mutabani wa Yakobo, ye yali avunaanyizibwa ku kugaba emmere mu Misiri, naye tekyali kiruubirirwa kye okuba omuntu omututumufu mu nsi eno. Ng’alina okukkiriza mu kutuukirizibwa kw’ebisuubizo bya Yakuwa, Yusufu eyalina emyaka 110 yagamba bw’ati baganda be: “Nfa: naye Katonda talirema kubajjira n’okubaggya mu nsi eno okubatwala mu nsi gye yalayirira Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo.” Yusufu yasaba aziikibwe mu nsi ensuubize. Bwe yafa, omulambo gwe gwakolwako guleme okuvunda, era ne guteekebwa mu ssanduuko y’abafu mu Misiri. Abaisiraeri bwe baanunulwa okuva mu buddu mu Misiri, nnabbi Musa yatwala amagumba ga Yusufu okugaziika mu Nsi Ensuubize. (Olubereberye 50:22-26; Okuva 13:19) Okukkiriza ng’okwa Yusufu kwandituleetedde okuba n’ebiruubirirwa ebisingira ewala ettutumu ly’omu nsi eno.​—1 Abakkolinso 7:29-31.

11. Mu ngeri ki Musa gye yalaga nti alina ebiruubirirwa eby’omwoyo?

11 Wadde yali musajja muyivu mu maka g’olulyo olufuzi mu Misiri, Musa ‘yasalawo okuyisibwa obubi ng’ali wamu n’abantu ba Katonda okukira okubanga n’okwesiima okw’ekibi okuggwaawo amangu.’ (Abaebbulaniya 11:23-26; Ebikolwa 7:20-22) Kino kyamuviirako okwefiiriza ettuttumu ly’omu nsi era oboolyawo n’okuziikibwa mu ngeri ey’ekitiibwa mu kifo ekimanyifu mu Misiri. Naye ekyo kyandibadde na mugaso ki bw’okigeraageranya n’enkizo ey’okubeera ‘omusajja wa Katonda ow’amazima,’ omutabaganya w’endagaano y’Amateeka, nnabbi wa Yakuwa era omuwandiisi wa Baibuli? (Ezera 3:2) Oyagala omulimu ogw’ekitiibwa mu nsi oba okukkiriza kukusobozesezza okuba n’ebiruubirirwa eby’omwoyo ebisingira ewala?

Okukkiriza Kuviirako Obulamu obw’Omuganyulo

12. Okukkiriza kwakola ki ku bulamu bwa Lakabu?

12 Okukkiriza tekusobozesa bantu kuba na biruubirirwa birungi kyokka, naye era kufuula obulamu bwabwe okuba obw’omuganyulo. Lakabu ow’omu Yeriko ateekwa okuba yalaba nti obulamu bwe obw’obwenzi tebwalina makulu. Kyokka, bwe yalaga okukkiriza obulamu bwe bwafuna amakulu! ‘Yaweebwa obutuukirivu olw’okukkiriza kubanga yasembeza ababaka n’abayisa mu kkubo eddala,’ ne basobola okudduka abalabe baabwe Abakanani. (Yakobo 2:24-26) Ng’ategedde nti Yakuwa ye Katonda ow’amazima, Lakabu yalaga okukkiriza ng’ayabulira obulamu bwe obw’obw’enzi. (Yoswa 2:9-11; Abaebbulaniya 11:30, 31) Yafumbirwa omuweereza wa Yakuwa, so si Omukanani atali mukkiriza. (Ekyamateeka 7:3, 4; 1 Abakkolinso 7:39) Lakabu yafuna enkizo ey’ekitalo ey’okubeera jjajja wa Masiya. (1 Ebyomumirembe 2:3-15; Luusi 4:20-22; Matayo 1:5, 6) Okufaananako abalala abaabulidde obulamu obw’obugwenyufu, ajja kufuna empeera endala, kwe kugamba, okuzuukizibwa mu lusuku lwa Katonda ku nsi.

13. Dawudi yakola kibi ki ne Basuseba, kyokka yayoleka ndowooza ki?

13 Oluvannyuma lw’okwabulira obulamu bwe obw’obwenzi, kirabika Lakabu yatambulira mu kkubo eggolokofu. Kyokka, abamu abeewaddeyo eri Katonda okumala ebbanga ggwanvu bakoze ebibi eby’amaanyi. Kabaka Dawudi yayenda ne Basuseba, n’attisa bbaawe mu lutalo, ate oluvannyuma n’atwala Basuseba. (2 Samwiri 11:1-27) Olw’ennaku ey’amaanyi Dawudi yeenenya era n’asaba Yakuwa nti: “Tonzi[ggya]ko omwoyo gwo omutukuvu.” Dawudi teyafiirwa mwoyo gwa Katonda. Yalina okukkiriza nti Yakuwa yali wa kisa era nti teyandinyoomye “mutima ogumenyese era oguboneredde” olw’ekibi. (Zabbuli 51:11, 17; 103:10-14) Olw’okukkiriza kwabwe, Dawudi ne Basuseba baasasulwa bwe baafuuka bajjajja ba Masiya.​—1 Ebyomumirembe 3:5; Matayo 1:6, 16; Lukka 3:23, 31.

Okukkiriza Kunywezebwa Obukakafu Obuva eri Katonda

14. Bukakafu ki Gidyoni bwe yafuna, era ekyo kiyinza kukwata kitya ku kukkiriza kwaffe?

14 Wadde nga tutambula olw’okukkiriza, emirundi egimu tuyinza okwetaaga Katonda okutukakasa nti ajja kutuyamba. Bwe kityo bwe kyali ku bikwata ku Mulamuzi Gidyoni, ‘olw’okukkiriza eyawangula obwakabaka.’ (Abaebbulaniya 11:32, 33) Abamidiyaani ne bannaabwe bwe baalumba Isiraeri, omwoyo gwa Katonda gwajja ku Gidyoni. Ng’ayagala obukakafu obulaga nti Yakuwa ali naye, yaleeta ekirowoozo eky’ebigezo omwali okuteeka ebyoya by’endiga mu gguuliro ekiro. Mu kigezo ekisooka, omusulo gwajja ku byoya, kyokka ettaka ne lisigala nga kalu. Mu kigezo eky’okubiri ebyoya byasigala bikalu naye ettaka ne lijjako omusulo. Ng’aziddwamu amaanyi obukakafu buno, Gidyoni yanywera mu kukkiriza era n’awangula abalabe ba Isiraeri. (Ekyabalamuzi 6:33-40; 7:19-25) Bwe twagala okukakasibwa nga twolekaganye n’eky’okusalawo, tekitegeeza nti tetulina kukkiriza. Tulaga okukkiriza nga tusoma Baibuli n’ebitabo eby’Ekikristaayo era nga tusaba obulagirizi bw’omwoyo omutukuvu nga tusalawo.​—Abaruumi 8:26, 27.

15. Tuyinza tutya okuyambibwa bwe tulowooza ku kukkiriza kwa Balaki?

15 Okukkiriza kw’Omulamuzi Balaki kwanywezebwa bwe yazzibwamu amaanyi. Nnabbi omukazi Debola yamukubiriza okubaako kyakolawo okununula Abaisiraeri mu buddu bwa Kabaka Yabini, Omukanani. Ng’alina okukkiriza era nga mukakafu nti Katonda ajja kumuyamba, Balaki yakulembera eggye ery’abantu 10,000 abataalina byakulwanyisa bimala era n’awangula eggye lya Yabini ery’amaanyi ennyo eryali likulemberwa Sisera. Debola ne Balaki baajaguza olw’obuwanguzi obwo nga bayimba oluyimba. (Ekyabalamuzi 4:1–5:31) Debola yakubiriza Balaki okutwala obuvunaanyizibwa obw’okubeera omukulembeze wa Isiraeri alondeddwa Katonda, era yali omu ku baweereza ba Yakuwa ‘abaagoba amagye g’ab’amawanga’ olw’okukkiriza. (Abaebbulaniya 11:34) Bwe tulowooza ku ngeri Katonda gye yawaamu Balaki omukisa olw’okukkiriza kwe yalaga, kiyinza okutuyamba okubaako kye tukola singa tuba tulonzalonza okukola omulimu ogusoomooza mu buweereza bwa Yakuwa.

Okukkiriza Kutumbula Emirembe

16. Kyakulabirako ki ekirungi Ibulayimu kye yassaawo mu kutabagana ne Lutti?

16 Ng’okukkiriza bwe kutuyamba okukola emirimu emizibu mu buweereza bwa Katonda, era kutumbula n’emirembe. Ibulayimu yaleka Lutti omwana wa muganda we, eyali omuto mu myaka, okulonda ekifo ekisinga obulungi abalunzi baabwe bwe baatandika okuyomba ne kiba nga kyetaagisa okwawukana. (Olubereberye 13:7-12) Ng’alina okukkiriza, Ibulayimu ateekwa okuba yasaba Katonda okumuyamba okugonjoola ekizibu kino. Mu kifo ky’okukulembeza by’ayagala, yagonjoola ensonga eyo mu mirembe. Bwe tuba n’obutategeeragana ne Mukristaayo munnaffe, tusabe Katonda mu kukkiriza era ‘tunoonye emirembe,’ nga tujjukira ekyokulabirako kya Ibulayimu ekirungi.​—1 Peetero 3:10-12.

17. Lwaki tuyinza okugamba nti obutategeeragana wakati wa Pawulo, Balunabba, ne Makko bwakolwako mu mirembe?

17 Lowooza ku ngeri okussa mu nkola emisingi gy’Ekikristaayo ng’olina okukkiriza gye kiyinza okutuyamba okutumbula emirembe. Pawulo bwe yali anaatera okutandika olugendo lwe olw’okubiri olw’obuminsani, Balunabba yakkiriza ekiteeso eky’okuddamu okukyalira ebibiina mu Kupulo ne Asiya Omutono. Kyokka, Balunabba yali ayagala okutwala kizibwe we Makko. Pawulo ekyo teyakikkiriza kubanga Makko yali abaabulidde mu Panfuliya. “Wa[a]baawo empaka nnyingi” era ne baawukana. Balunabba yatwala Makko ne bagenda e Kupulo, ate ye Pawulo n’atwala Siira era ne ‘bayita mu Busuuli ne Kirukiya nga bagumya ekkanisa.’ (Ebikolwa 15:36-41) Oluvannyuma lw’ekiseera obutategeeragana obwo bwaggwaawo, kubanga Makko yali ne Pawulo mu Rooma era n’amwogerako bulungi. (Abakkolosaayi 4:10; Firemooni 23, 24) Pawulo bwe yali omusibe mu Rooma awo nga mu 65 C.E., yagamba Timoseewo: “Twala Makko, omuleete waamu naawe; kubanga angasa olw’okuweereza.” (2 Timoseewo 4:11) Kirabika Pawulo yateeka mu kusaba kwe enkolagana ye ne Balunabba era ne Makko, era kino kyavaamu okutegeeragana okukwataganyizibwa ‘n’emirembe gya Katonda.’​—Abafiripi 4:6, 7.

18. Kirabika kiki ekyaliwo wakati wa Ewodiya ne Suntuke?

18 Kya lwatu, olw’okuba tetutuukiridde, “tusobya fenna.” (Yakobo 3:2) Obutategeeragana bwajjawo wakati w’abakazi Abakristaayo babiri, Pawulo be yawandiikako bw’ati: “Mbuulirira Ewodiya, era mbuulirira Suntuke, balowoozenga bumu mu Mukama waffe. . . . [Yambanga] abakazi abo, kubanga baakolanga emirimu wamu nange mu njiri.” (Abafiripi 4:1-3) Kirabika abakazi bano abaali batya Katonda baagonjoola ekizibu kyabwe mu mirembe nga bassa mu nkola okubuulirira okuli mu Matayo 5:23, 24. Okussa mu nkola emisingi egy’omu Byawandiikibwa nga tulina okukkiriza kirina kinene kye kikola mu kutumbula emirembe leero.

Okukkiriza Kutusobozesa Okugumiikiriza

19. Mbeera ki enzibu etaaleetera kukkiriza kwa Isaaka ne Lebbeeka kuddirira?

19 Bwe tubeera n’okukkiriza tuyinza okugumiikiriza ebizibu. Oboolyawo tunnakuwadde olw’okuba omuntu omu mu maka gaffe omubatize ajeemedde amateeka ga Katonda n’awasa atali mukkiriza. (1 Abakkolinso 7:39) Isaaka ne Lebbeeka baanakuwala kubanga mutabani waabwe Esawu yawasa abakazi abatatya Katonda. Abakazi be Abakiiti ‘babanakuwaza’ nnyo Lebbeeka n’atuuka n’okugamba: “Obulamu bwange bunkooyesezza olw’abawala ba Keesi: Yakobo bw’aliwasa omukazi ku bawala ba Keesi, abali nga abo, ku bawala ab’omu nsi eno, obulamu bwange bulingasa butya?” (Olubereberye 26:34, 35; 27:46) Yee, embeera eno enzibu ennyo teyaleetera Isaaka ne Lebbeeka okuddirira mu kukkiriza. Ka tusigale nga tuli banywevu mu kukkiriza bwe tubeera mu mbeera enzibu okugonjoola.

20. Nawomi ne Luusi batuteerawo byakulabirako ki eby’okukkiriza?

20 Nnamwandu Nawomi eyali akaddiye yali Muyudaaya era ng’amanyi nti abakazi abamu okuva mu Yuda bandizadde abaana abandifuuse bajjajja ba Masiya. Olw’okuba batabani be baafa nga tebazadde ate nga naye takyayinza kuzaala, waaliwo omukisa mutono nnyo ddala amaka ge okuvaamu omuntu ali mu lunyiriri lwa Masiya. Wadde kyali kityo, muka mwana we Luusi, yafuuka mukyala wa Bowaazi eyali akaddiye, n’amuzaalira omwana, era bwe kityo n’afuuka jjajja wa Yesu, Masiya! (Olubereberye 49:10, 33; Luusi 1:3-5; 4:13-22; Matayo 1:1, 5) Okukkiriza kwa Nawomi ne Luusi kwabayamba okugumira ennaku era ne kibaviirako okufuna essanyu. Naffe tujja kufuna essanyu ppitirivu singa tuba n’okukkiriza nga twolekaganye n’ebizibu.

21. Okukkiriza kutukolera ki, era twandibadde bamalirivu kukola ki?

21 Wadde tetuyinza kumanya kinaabaawo nkeera, bwe tuba n’okukkiriza tuyinza okwaŋŋanga ekizibu kyonna ekiyinza okujjawo. Okukkiriza kutusobozesa okuba abavumu era abagumiikiriza. Kutusobozesa okuba n’ebiruubirirwa ebirungi era n’obulamu obuganyula. Okukkiriza kutusobozesa okuba n’enkolagana ennungi n’abalala era ne kutuyamba okugumira ebizibu. N’olwekyo, ka tubeere abo ‘abalina okukkiriza okulokola obulamu.’ (Abaebbulaniya 10:39) Mu maanyi ga Katonda waffe omwagazi, Yakuwa, era n’olw’okumuweesa ekitiibwa, ka tweyongere okwoleka okukkiriza okunywevu.

Wandizzeemu Otya?

• Bukakafu ki okuva mu Byawandiikibwa obulaga nti okukkiriza kuyinza okutufuula abavumu?

• Lwaki tuyinza okugamba nti okukkiriza kutusobozesa okuba n’obulamu obw’omuganyulo

• Okukkiriza kutumbula kutya emirembe?

• Bukakafu ki obuliwo obulaga nti okukkiriza kutusobozesa okugumira ebizibu?

[Ebibuuzo]

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 12]

Okukkiriza kwasobozesa Nuuwa ne Enoki okulangirira obubaka bwa Yakuwa n’obuvumu

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 13]

Okukkiriza ng’okwa Musa kutukubiriza okuluubirira ebintu eby’omwoyo

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 14]

Okuba abakakafu nti Katonda ajja kubayamba, kyanyweza okukkiriza kwa Balaki, Debola, ne Gidyoni