Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Baasigala Beesigwa nga Bayigganyizibwa

Baasigala Beesigwa nga Bayigganyizibwa

Baasigala Beesigwa nga Bayigganyizibwa

FRIEDA JESS yazaalibwa mu 1911 mu Denmark, era eyo gye yava ne bazadde be ne badda mu kibuga Husum, ekiri mu mambuka ga Bugirimaani. Nga wayiseewo emyaka yafuna omulimu mu Magdeburg, era mu 1930 yabatizibwa ng’omu ku Bayizi ba Baibuli, ng’Abajulirwa ba Yakuwa bwe baali bayitibwa mu kiseera ekyo. Hitler yatandika okufuga mu 1933, era eri Frieda ekyo kyamuviirako okuyigganyizibwa gavumenti za bannaakyemalira bbiri nnambirira okumala emyaka 23.

Mu Maaki 1933, gavumenti ya Bugirimaani yalangirira okulonda mu ggwanga lyonna. Munnabyafaayo Detlef Garbe, akulira ekifo ekiyitibwa Neuengamme Concentration Camp Memorial, ekiri okumpi n’ekibuga Hamburg, annyonnyola: “Bannaakyemalira baagezaako okukaka abantu bangi okuwagira omukulembeze waabwe, Adolf Hitler.” Kyokka, Abajulirwa ba Yakuwa baagoberera okubuulirira kwa Yesu okw’obuteenyigira mu bya bufuzi era ‘n’obutaba ba nsi,’ n’olwekyo tebaakuba kalulu. Kiki ekyavaamu? Abajulirwa baawerebwa.​—Yokaana 17:16.

Frieda yeeyongera okuweereza ng’Omukristaayo mu nkukutu era n’ayamba ne mu kukuba mu kyapa obutabo bwa Omunaala gw’Omukuumi. Agamba bw’ati: “Ezimu ku magazini zaakukusibwanga eri bakkiriza bannaffe mu nkambi z’abasibe.” Frieda yakwatibwa mu 1940 era abapoliisi ne bamusokaasoka ebibuuzo. Oluvannyuma lw’ekyo yamala emyezi mingi ng’asibiddwa yekka mu kisenge ky’ekkomera. Yasobola atya okugumiikiriza? Agamba: “Okusaba kye kyali ekigo kyange. Nnasabanga ku nkya era ne nsabanga emirundi egiwerako mu lunaku. Okusaba kwampa amaanyi era ne kunnyamba obuteeraliikirira nnyo.”​—Abafiripi 4:6, 7.

Frieda yasumululwa, naye ate mu 1944 abapoliisi baddamu okumukwata. Ku luno yasalirwa ekibonerezo kya kusibibwa emyaka musanvu mu kkomera ly’e Waldheim. Frieda ayongera okunnyonnyola: “Abakuumi b’ekkomera baanteeka wamu n’abakyala abalala nga tulongoosa ebinaabiro ne kaabuyonjo. Nnateranga okukola ne musibe munnange okuva mu Czechoslovakia, bwe kityo nnayogeranga naye ebikwata ku Yakuwa era n’enzikiriza yange. Emboozi ze twannyumyanga zansobozesa okusigala nga ndi munywevu mu kukkiriza.”

Yasumululwa Okumala Akaseera Katono

Ekkomera ly’e Waldheim lyanunulwa amagye g’ensi eyayitibwanga Soviet Union mu Maayi 1945, era Frieda yali wa ddembe okuddayo mu Magdeburg era n’okwenyigira mu buweereza bwe. Naye ekyo kyaliwo kumala akaseera katono. Abajulirwa baddamu okuyigganyizibwa, ku luno nga kuva eri ab’obuyinza abaali batwala ekitundu ekiwambiddwa Soviet Union. Gerald Hacke, ow’Ettendekero Hannah-Arendt Erinoonyereza ku Bufuzi bwa Bannakyemalira awandiika bw’ati: “Abajulirwa ba Yakuwa be bamu ku bibiina ebitono ebyayigganyizibwanga gavumenti za bannaakyemalira ez’emirundi ebiri mu Bugirimaani.”

Lwaki baddamu okuyigganyizibwa? Nate, ensonga enkulu yali Abakristaayo obutabaako ludda lwe bawagira mu by’obufuzi. Mu 1948, Bugirimaani ow’Ebuvanjuba yakuba akalulu, era nga Hacke bw’annyonnyola, “ekyaviirako [Abajulirwa ba Yakuwa okuyigganyizibwa] kyali lwa kuba nti tebeenyigira mu kulonda.” Mu Agusito 1950, Abajulirwa ba Yakuwa baawerebwa mu Bugirimaani ow’Ebugwanjuba. Bikumi na bikumi baakwatibwa, nga mw’otwalidde ne Frieda.

Frieda yeesanga nate ng’azziddwayo mu kkooti era n’asalirwa ekibonerezo eky’okusibibwa emyaka mukaaga. “Ku luno nnali wamu ne bakkiriza bannange, era okubeera awamu nabo kyannyamba nnyo.” Bwe yasumululwa mu 1956, yasengukira mu Bugirimaani ow’Ebugwanjuba. Nga kati aweza emyaka 90 egy’obukulu, Frieda abeera mu Husum era ng’akyeyongera okuweereza Katonda ow’amazima, Yakuwa.

Frieda yayigganyizibwa gavumenti za bannaakyemalira za mirundi ebiri okumala emyaka 23. “Abanazi baagezaako okunzita; Abakomunisiti baagezaako okumalamu amaanyi. Wa gye n’aggya amaanyi? Okweyigiriza Baibuli nga waliwo akalembereza, okusaba olutatadde nga nsibiddwa nzekka mu kisenge ky’ekkomera, okukuŋŋaana awamu ne bakkiriza bannange buli lwe kyasoboka, era n’okubuulira abalala enzikiriza zange buli lwe nnafuna akakisa bye byampa amaanyi.”

Obwannaakyemalira mu Hungary

Ensi endala Abajulirwa ba Yakuwa gye baagumiikiriza okuyigganyizibwa okumala emyaka mingi yali Hungary. Abamu baayigganyizibwa gavumenti za bannaakyemalira si bbiri zokka, naye satu. Omu ku abo ye Ádám Szinger. Ádám yazaalibwa mu 1922 mu kabuga Paks, akali mu Hungary, era n’akuzibwa ng’Omuprotestanti. Mu 1937, Abayizi ba Baibuli abamu baakyalira Ádám ewuwe, era amangu ago n’ayagala okumanya ebisingawo ku bubaka bwabwe. Bye yayiga mu Baibuli byamukakasa nti enjigiriza z’eddiini ye zaali tezeesiggamiziddwa ku Baibuli. Bw’atyo yaleka eddiini ye ey’Ekiprotestanti era ne yeegatta ku Bayizi ba Baibuli mu buweereza bwabwe.

Obwannakyemalira bweyongera okusimba amakanda mu Hungary. Emirundi mingi, abapoliisi baalabanga Ádám ng’abuulira okuva nnyumba ku nnyumba era ne bamutwala ku poliisi okumubuuza akaana n’akataano. Okuyigganya Abajulirwa kwannyinnyitira, era mu 1939 emirimu gyabwe gyawerebwa. Mu 1942, Ádám yakwatibwa, n’atwalibwa mu kkomera, era n’akubibwa nnyo. Kiki ekyamuyamba okugumiikiriza okubonaabona n’okusibibwa mu kkomera okumala emyezi mingi ku myaka 19? “Bwe nnali nga si nnasibibwa, nnasoma Baibuli n’obwegendereza era ne ntegeera bulungi ebigendererwa bya Yakuwa.” Lwali luvannyuma lwa kusumululwa okuva mu kkomera Ádám n’alyoka abatizibwa ng’Omujulirwa wa Yakuwa. Ekyo kyaliwo ekiro mu kizikiza nga Agusito 1942, mu mugga ogwali okumpi n’ewuwe.

Okusibibwa mu Kkomera mu Hungary, era ne mu Nkambi mu Serbia

Mu ssematalo ow’okubiri, Hungary yeegatta ku Bugirimaani okulwanyisa Soviet Union, era ng’omwaka 1942 gunaatera okuggwaako, Ádám yayitibwa okuweereza mu magye. Agamba: “Nnabategeeza nti nnali sisobola kuweereza mu magye olw’ebyo bye nnali njize mu Baibuli. Nnabannyonnyola nti sirina ludda lwe mpagira mu by’entalo.” Yasalirwa ekibonerezo eky’okumala emyaka 11 mu kkomera. Naye Ádám teyamala bbanga ddene mu Hungary.

Mu 1943, Abajulirwa ba Yakuwa nga 160 baakuŋŋaanyizibwa, ne bateekebwa ku maato, era ne batwalibwa mu Serbia nga babayisa ku Mugga Danube. Ádám yali omu ku bo. Nga bali mu Serbia, abasibe bano baali wansi w’obufuzi bwa Hitler. Baateekebwa mu nkambi z’abasibe mu Bor era ne bakakibwa okukola mu kirombe ky’ekikomo. Oluvannyuma lw’omwaka nga gumu bazzibwayo mu Hungary, Ádám gye yanunulwa amagye ga Soviet Union mu 1945.

Hungary ng’Efugibwa Abakomunisiti

Naye akalembereza kaamala ekiseera mpawe kaaga. Omwaka 1940 bwe gwali gunaatera okuggwaako, Abakomunisiti abaali mu buyinza mu Hungary baakugira emirimu by’Abajulirwa ba Yakuwa nga Bannaakyemalira bwe baali bakoze ng’olutalo terunnabaawo. Mu 1952, Ádám, kati eyali aweza emyaka 29 ng’alina omukyala n’abaana babiri, yakwatibwa era n’avunaanibwa bwe yaddamu okugaana okuweereza mu magye. Ádám yannyonnyola bw’ati kkooti: “Guno si gwe mulundi ogusoose okugaana okuweereza mu magye. Mu kiseera ky’olutalo nnasibibwa mu kkomera era ne ntwalibwa mu Serbia olw’ensonga y’emu. Ŋŋaana okuyingira mu magye olw’omuntu wange ow’omunda. Ndi Mujulirwa wa Yakuwa era sseenyigira mu bya bufuzi.” Ekibonerezo kya Ádám kyali okusibibwa mu kkomera okumala emyaka munaana, naye oluvannyuma gyakendeezebwa ne gibeera ena.

Ádám yeeyongera okuyigganyizibwa okutuusa mu makkati ga 1970, gy’emyaka egissuka mu 35 bukya Abayizi ba Baibuli bamukyalira mu maka ga bazadde be. Mu bbanga lino lyonna, kkooti mukaaga zaamusalira ebibonerezo byonna awamu bya kusibibwa emyaka 23, era n’asibibwa mu makomera nga kkumi n’enkambi. Yayigganyizibwa gavumenti satu, kwe kugamba, Bannaakyemalira mu Hungary nga ssematalo ow’okubiri tannabawo, Bannaakyemalira Abagirimaani mu Serbia, n’Abakomunisiti mu kiseera ky’olutalo olw’ekimugunyu mu Hungary.

Ádám akyabeera mu kabuga Paks ak’ewaabwe ng’aweereza Katonda n’obwesigwa. Alina obusobozi obw’enjawulo obwamusobozesa okugumiikiriza ebizibu era n’asigala nga mwesigwa? Nedda. Annyonnyola bw’ati:

“Okwesomesa Baibuli, okusaba, n’okukuŋŋaana awamu ne bakkiriza bannange byali bikulu nnyo. Naye njagala okukaatirizaayo ebintu ebirala bibiri ebyali ebikulu. Ekisooka, Yakuwa ye Nsibuko y’amaanyi. Okubeera n’enkolagana ennungi naye obulamu bwange kwe bwali bwesigamye. Eky’okubiri, nnalowoozanga ku Abaruumi essuula 12, egamba bw’eti: ‘Temuwooleranga ggwanga.’ N’olwekyo saalina kkonda lyonna. Emirundi mingi nnafuna omukisa okwesasuza abo abampisa obubi, naye saakikola. Tetwandikozesezza maanyi Yakuwa g’atuwa okusasula ekibi olw’ekibi.”

Okuyigganya Kwonna Kujja Kukoma

Kaakano Frieda ne Ádám basobola okusinza Yakuwa nga tewali abakuba ku mukono. Naye, ebyokulabirako nga bino biraga ki ku bikwata ku kuyigganya abantu olw’eddiini yaabwe? Biraga nti okuyigganya ng’okwo tekusobola kutuuka ku buwanguzi naddala singa abayigganyizibwa babeera Bakristaayo ab’amazima. Wadde ng’okuyigganya Abajulirwa ba Yakuwa kyatwala essente nnyingi era ne kiviirako bangi okulumizibwa, tekwatuukiriza kigendererwa kyakwo. Leero, Abajulirwa ba Yakuwa beeyongedde nnyo mu Bulaaya bannakyemalira gye baali nga teri abakuba ku mukono.

Abajulirwa ba Yakuwa beeyisa batya nga bayigganyizibwa? Ng’ekyokulabirako kya Frieda ne Ádám bwe biraze, baateeka mu nkola okubuulira kwa Baibuli: “Towangulwanga bubi, naye wangulanga obubi olw’obulungi.” (Abaruumi 12:21) Ddala obulungi busobola okuwangula obubi? Yee busobola bwe buba nga bwesigamiziddwa ku kukkiriza okunywevu mu Katonda. Abajulirwa ba Yakuwa okusigala nga beesigwa nga bayigganyizibwa mu Bulaaya bwali buwanguzi obw’omwoyo gwa Katonda, ekyoleka ebirungi ebiva mu kukkiriza, omwoyo omutukuvu kwe kusobozesa Abakristaayo okuba nakwo. (Abaggalatiya 5:22, 23) Mu nsi eno erimu ettemu, ekyo kya kuyiga ffenna kye twandirowoozezaako kye bandirowoozezzaako.

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 5]

Frieda Jess (kati ayitibwa Thiele) mu kiseera we yakwatirwa ne kati

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 7]

Ádám Szinger mu kiseera we yasibirwa ne kati