Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Endowooza ya Baibuli Etagudde Lubege ku Bukulembeze

Endowooza ya Baibuli Etagudde Lubege ku Bukulembeze

Endowooza ya Baibuli Etagudde Lubege ku Bukulembeze

OMUSINGI gw’obukulembeze gwajjawo abantu abaasooka bwe baatondebwa. Omuntu yatondebwa mu kifaananyi kya Katonda era nga wa ddembe okusalawo ekituufu n’ekikyamu. Bwe yandigondedde Omutonzi we mu ngeri ey’okwagala, yandisobodde okumuweesa ettendo n’ekitiibwa. Yandisobodde okutendereza Katonda olw’engeri Ze ennungi ennyo era n’awagira obufuzi Bwe obw’obutonde bwonna.

Naye eddembe lya Adamu ery’okwesalirawo lyaliko ekkomo. Yandyeyongedde okuba omulamu singa yakkiriza Yakuwa ng’omufuzi w’obutonde bwonna. Kino kyalagibwa omuti ogw’okumanya obulungi n’obubi Adamu gwe yagaanibwa okulyako. Okulya ku muti ogwo kyandibadde kikolwa eky’obujeemu oba obwewagguzi okuva ku bufuzi bwa Katonda obw’obutonde bwonna.​—Olubereberye 2:9, 16, 17.

Ne leero kikulu nnyo abasinza ba Katonda okutegeera engeri gy’atunuuliramu obukulembeze. Omusingi omukulu ogw’obukulembeze gusangibwa mu 1 Abakkolinso 11:3: “Omutwe gwa buli musajja ye Kristo; n’omutwe gw’omukazi ye musajja; n’omutwe gwa Kristo ye Katonda.”

Ekifo kya Yesu Kristo

Ng’omutwe gw’ekibiina Ekikristaayo, Yesu Kristo alina obuyinza okusalawo ku bikwata ku kibiina era n’okulaga nti akirinako obuyinza. (Abaefeso 5:23) Kyokka era obukulembeze bwe bumuleetera okukkiriza omulimu gw’okulabirira ekibiina era n’okuvunaanyizibwa ku ebyo byasalawo.

Bulijjo Yesu Kristo abadde akolera ku musingi gw’obukulembeze, ng’akkiriza mu bujjuvu obukulembeze bwa Kitaawe mu bigambo ne mu bikolwa. Ne bw’anaamala okufuga ensi okumala emyaka lukumi, ajja kukkiriza obukulembeze bwa Yakuwa obw’obutonde bwonna ng’awaayo Obwakabaka eri Yakuwa, naye yesse “wansi w’oyo eyassa byonna wansi we, Katonda alyoke abeere byonna mu byonna.”​—1 Abakkolinso 15:24-28; Abafiripi 2:5-8.

Ekifo ky’Omusajja

Wadde ng’omusajja y’atwala obukulembeze mu maka, teyeemalirira, era naye alina okugondera “omutwe.” Avunaanyizibwa okugoberera obulagirizi n’ekyokulabirako ekyateekebwawo omutwe gwe, Kristo. (1 Yokaana 2:6) Kino tekikwata ku bya ddiini ye byokka, naye era ne mu birala by’akola.

Ng’ekyokulabirako, olw’okussa ekitiibwa mu Kristo, omutwe gwe, omusajja bw’aba ssemaka, alina okukolera ku kubuulirira okukwata ku kubeera ne mukazi we mu ngeri ey’amagezi nga ‘amussangamu ekitiibwa ng’ekibya ekisinga obunafu.’ Ate era alina okufuba okutendeka obulungi abaana be.​—1 Peetero 3:7; Abaefeso 6:4.

Okuva omusajja bwe yasooka okutondebwa, ye mutwe gw’omukazi. (1 Timoseewo 2:12, 13) Omukazi yakolebwa mu lubiriizi olwaggyibwa mu musajja. (Olubereberye 2:22, 23) Omukazi yatondebwa ku lwa musajja so si musajja ku lw’omukazi. (1 Abakkolinso 11:9) N’olwekyo, omukazi mu nteekateeka ya Katonda ey’amaka, yali wa kubeeranga wansi wa bbaawe era teyali wa kweddiza buyinza bwa bba. (Abaefeso 5:22, 23) Era ne mu kibiina Ekikristaayo, omukazi talina kuyigiriza basajja abeewaddeyo oba okubabaako n’obuyinza.​—1 Timoseewo 2:12.

Mu Bayudaaya ab’edda, ekifo ekya waggulu eky’omusajja mu maka ne mu nteekateeka z’ebika kyali kikkirizibwa. Ssaala yali muwulize ng’ayita Ibulayimu nti “mukama wange,” era ayogerwako bulungi olw’okukkiriza obukulembeze bwa Ibulayimu.​—Olubereberye 18:12; 1 Peetero 3:5, 6.

Ekifo ky’Omukazi

Mu biseera eby’edda, waabangawo embeera omukazi mwe yabikkiranga ku mutwe gwe okulaga nti yali wansi w’enteekateeka ey’obukulembeze. (Olubereberye 24:65) Ng’ayogera ku nteekateeka y’obukulembeze mu kibiina Ekikristaayo, Pawulo yannyonnyola nti singa omukazi mu kibiina asaba oba abuulira, kwe kugamba, ng’ali mu kifo Katonda kye yawa omusajja, alina okubikka ku mutwe gwe.

Mu kukola ebintu bino olw’okuba tewali musajja Mukristaayo eyeewaddeyo asobola okubikola, omukazi k’abe ng’alina enviiri nnyingi, talina kugamba nti enviiri ze empanvu zimumala okulaga nti ali wansi w’enteekateeka ey’obukulembeze. Mu kifo ky’ekyo, alina okuleka ebikolwa bye okwoleka nti muwulize, era nti akkiriziganya n’obukulembeze bw’omusajja. Omukazi Omukristaayo akola kino nga yeebikka ku mutwe nga “akabonero akalaga obuyinza.”​—1 Abakkolinso 11:5-16.

Kino kirina okukolebwa “olwa bamalayika” abatunuulira ebikolwa by’Omukrisitaayo, era abaweereza ekibiina Ekikristaayo olw’okuba bakifaako. Bw’abikka ku mutwe gwe olw’ensonga ez’eby’omwoyo, Omukazi omukristaayo aba akkiriza enteekateeka ya Katonda ey’obukulembeze.​—Abaebbulaniya 1:14.

Enteekateeka ya Katonda eno ennungi mu kibiina ne mu maka, tekugira mukazi kuweereza Katonda, era temukaluubiriza kukola mirimu gy’omu maka, oba okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe. Emuwa eddembe mu Byawandiikibwa okuweereza Katonda mu kifo kye ng’omukazi, ng’ate bw’asanyusa Katonda, era ng’atuukagana n’omusingi guno: “Katonda yassaawo ebitundu buli kinnakimu mu mubiri nga bwe yayagala.”​—1 Abakkolinso 12:18.

Abakazi bangi mu biseera ebyayita baalinanga enkizo ng’ate bagondera obukulembeze bw’omwami era baanyumirwa obulamu obw’essanyu ate nga bumatiza. Abamu ku bakazi bano be ba, Ssaala, Lebbeeka, Abbigayiri, n’abakazi abakristaayo nga Pulisikira ne Foyibe.

Emiganyulo egy’Obukulembeze

Okutwala obukulembeze kuwa enkizo ezitali zimu naye era kuzingiramu obuvunaanyizibwa. Ng’ekyokulabirako, omusajja bw’aba atuukiriza obukulembeze bwe, alina obuyinza okusalawo eky’enkomerero era n’okuwa ­obulagirizi. Okugatta ku ekyo, alina okutuukiriza obuvunaanyizibwa bw’amaka ge. Okusingira ddala, y’alina okulabirira ab’omu maka ge mu by’omubiri ne mu by’omwoyo.​—1 Timoseewo 5:8.

Omusajja Omukristaayo alina okukulembera mu ngeri ey’amagezi ng’ayagala mukazi we nga bwe yeeyagala. (Abaefeso 5:33) Yesu Kristo akulembera ekibiina Ekikristaayo mu ngeri eno. (Abaefeso 5:28, 29) Ng’omutwe gw’abaana be, taata talina kubasunguwaza, naye alina okubakuza mu ‘kukangavvula ne mu kubuuliriranga kwa Yakuwa.’—Abaefeso 6:4.

Ng’abasumba abalabirira ekisibo kya Katonda, “abakadde” mu kibiina Ekikristaayo tebalina kukajjala ku “ndiga” za Katonda, naye balina okujjukira nti bali wansi wa bukulembeze bwa Yesu Kristo ne Yakuwa Katonda. (1 Peetero 5:1-4) Abakristaayo abagoberezi ba Yesu Kristo era bakkiriza obufuzi bwa Yakuwa obusingiridde, nga boolekeza essaala zaabwe gy’ali era nga bamukkiriza nga Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna.​—Matayo 6:9; Okubikkulirwa 1:8.

Kya lwatu, okutuukiriza obulungi obukulembeze bw’omu Byawandiikibwa kireeta emiganyulo eri olulyo lw’omuntu. Emirembe ­n’obumu ebivaamu bireetera Omutonzi ekitiibwa.