Lwaki Abantu Bayigganyizibwa olw’Eddiini Yaabwe?
Lwaki Abantu Bayigganyizibwa olw’Eddiini Yaabwe?
OLOWOOZA abantu bandiyigganyiziddwa olw’eddiini yaabwe? Oboolyawo nedda, naddala singa tebayingirira ddembe ly’abalala. Kyokka, okuyigganyizibwa kw’eddiini kubaddewo okumala ekiseera kiwanvu era kukyaliwo. Ng’ekyokulabirako, Abajulirwa ba Yakuwa bangi mu Bulaaya ne mu bitundu ebirala eby’ensi baggibwako eddembe lyabwe era ne bayigganyizibwa nnyo mu myaka 50 egiyise.
Mu kiseera ekyo Abajulirwa ba Yakuwa baayigganyizibwa era ne batulugunyizibwa okumala ebbanga ddene wansi w’obufuzi bwa bannaakyemalira mu Bulaaya. Bye baayitamu bituyigiriza ki ku kuyigganyizibwa kw’eddiini? Era kiki kye tuyigira ku ngeri gye beeyisaamu nga bayigganyizibwa?
“Si Ba Nsi”
Abajulirwa ba Yakuwa bafuba okukwata amateeka g’ensi, ba emirembe, era bantu ba mpisa nnungi. Tebawakanya gavumenti era tebaleetera balala kubayigganya basobole okufiirira eddiini yaabwe. Abakristaayo bano tebeenyigira mu bya bufuzi. Kino kituukagana n’ebigambo bya Yesu: “Si ba nsi, nga nze bwe siri wa nsi.” (Yokaana 17:16) Gavumenti nnyingi zimanyi nti Abajulirwa tebeenyigira mu bya bufuzi. Naye abafuzi bannaakyemalira tebassa kitiibwa mu kiragiro ky’omu Baibuli ekyetaaza Abakristaayo obutaba ba nsi.
Ensonga lwaki kiri bwe kityo yannyonnyolwa mu lukuŋŋaana olwaliwo mu Yunivaasite ya Heidelberg, Bugirimaani, mu Noovemba 2000. Olukuŋŋaana luno lwalina omutwe ogugamba nti “Okunyigirizibwa n’Eddembe ly’Abantu: Abajulirwa ba Yakuwa Wansi w’Obufuzi bwa Bannaakyemalira.” Munnabyafaayo Clemens Vollnhals ow’e Hannah-Arendt mu Ttendekero Erinoonyereza ku Bufuzi bwa Bannakyemalira yagamba nti: “Gavumenti za bannaakyemalira tezikoma ku kukugira bantu mu by’obufuzi kyokka. Zaagala abantu okuzigondera mu buli kintu.”
Abakristaayo ab’amazima tebayinza kugondera gavumenti z’abantu “mu buli kintu” okuva lwe balina okugondera Yakuwa Katonda mu bujjuvu. Abajulirwa ababeera wansi w’obufuzi bwa bannaakyemalira bakisanze nti ebyo Eggwanga bye libeetaaza emirundi egimu bikontana n’okukkiriza kwabwe. Bakoze ki mu mbeera ng’ezo? Emirundi mingi mu biseera ebiyise Abajulirwa ba Yakuwa batadde mu nkola omusingi ogwalagibwa abayigirizwa ba Yesu Kristo: “Kigwana okuwulira Katonda okusinga abantu.”—Ebikolwa 5:29.
Abajulirwa ba Yakuwa nkumi na nkumi baasigala beesigwa era nga tebalina ludda lwe bawagira mu by’obufuzi, ne wansi w’okuyigganyizibwa okutagambika. Baasobola batya okugumiikiriza? Baggya wa amaanyi okugumiikiriza? Ka Abajulirwa abo batuddemu bo bennyini. Era ka tulabe ffenna Abajulirwa n’abatali Bajulirwa kye tuyinza okuyigira ku ebyo bye baayitamu.
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ku lupapula 4]
Abajulirwa ba Yakuwa mu Bugirimaani baayigganyizibwa era ne batulugunyizibwa okumala ekiseera kiwanvu mu kyasa ekya 20 wansi w’obufuzi bwa bannaakyemalira
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ku lupapula 4]
“Gavumenti za bannaakyemalira tezikoma ku kukugira bantu mu by’obufuzi kyokka. Zaagala abantu okuzigondera mu buli kintu.”
Munnabyafaayo Clemens Vollnhals
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 4]
Ab’omu maka ga Kusserow baggibwako eddembe lyabwe olw’okubanga tebekkiriranya kukkiriza kwabwe
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 4]
Johannes Harms yattibwa mu kkomera ly’Abanazi olw’enzikiriza ze