Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Lwaki Tukuza eky’Ekiro kya Mukama Waffe?

Lwaki Tukuza eky’Ekiro kya Mukama Waffe?

Lwaki Tukuza eky’Ekiro kya Mukama Waffe?

“Nze nnaweebwa [okuva] eri Mukama waffe era ekyo kye nnabawa mmwe.”​—1 Abakkolinso 11:23.

1, 2. Kiki Yesu kye yakola mu kiro eky’Embaga ey’Okuyitako mu mwaka 33 C.E.?

OMWANA wa Yakuwa eyazaalibwa omu yekka yali wamu n’abasajja 11 abaali ‘bagumiikiriza awamu naye mu kukemebwa kwe.’ (Lukka 22:28) Lwali Lwakuna akawungeezi, nga Maaki 31, omwaka 33 C.E., era kirabika omwezi gwali gwa ggabogabo. Yesu Kristo n’abatume be baali baakamaliriza okukwata embaga ey’Okuyitako. Kkalinkwe Yuda Isukalyoti yali amaze okufuluma, naye si kye kyali ekiseera abalala bonna okugenda. Lwaki? Kubanga Yesu yali anaatera okukola ekintu ekikulu ennyo. Kyali ki?

2 Okuva Matayo omuwandiisi w’Enjiri bwe yaliyo, k’atubuulire. Yawandiika bw’ati: “Yesu n’atoola omugaati, ne yeebaza, n’agumenyamu; n’awa abayigirizwa, n’agamba nti Mutoole, mulye; guno gwe mubiri gwange. N’atoola ekikompe, ne yeebaza, n’abawa, ng’agamba nti Munywe ku kino mwenna; kubanga kino gwe musaayi gwange ogw’endagaano, oguyiika ku lw’abangi olw’okuggyawo ebibi.” (Matayo 26:26-28) Omukolo guno gwali gwa kubaawo omulundi gumu gwokka? Gwalina makulu ki? Gulina amakulu gonna gye tuli leero?

“Mukolenga Kino”

3. Lwaki Yesu kye yakola mu kiro ekya Nisani 14, 33 C.E., kyali kikulu nnyo?

3 Yesu Kristo kye yakola ekiro ekyo ekya Nisani 14, 33 C.E., kyali kikulu nnyo mu bulamu bwe. Omutume Pawulo yakyogerako bwe yawandiikira Abakristaayo abaafukibwako amafuta ab’omu Kkolinso abaali bakyakwata omukolo ogwo Yesu gwe yali atandisewo emyaka 20 emabega. Wadde nga Pawulo teyali wamu ne Yesu era n’abatume 11 mu 33 C.E., awatali kubuusabuusa, abatume abamu baamutegeeza ebyaliwo ku mukolo ogwo. Okwongereza ku ekyo, kya lwatu nti Pawulo yategeezebwa ebyaliwo ebikwata ku mukolo ogwo okuyitira mu kwolesebwa. Pawulo yagamba: “Kubanga nze nnaweebwa [okuva] eri Mukama waffe era ekyo kye nnabawa mmwe, nga Mukama waffe Yesu mu kiro kiri kye yaliirwamu olukwe yatoola omugaati; ne yeebaza, n’agumenyamu, n’ayogera nti Guno gwe mubiri gwange oguli ku lwammwe: mukolenga bwe mutyo olw’okunjijukiranga nze. Era n’ekikompe bw’atyo bwe baamala okulya, ng’ayogera nti Ekikompe kino ye ndagaano empya mu musaayi gwange: mukolenga bwe mutyo buli lwe munaanywangako, olw’okunjijukiranga nze.”​—1 Abakkolinso 11:23-25.

4. Lwaki Abakristaayo balina okukuza Eky’Ekiro kya Mukama Waffe?

4 Lukka, omuwandiisi w’Enjiri, akakasa nti Yesu yalagira: “Mukolenga kino okunjijukiranga nze.” (Lukka 22:19) Ebigambo bino era bivvuunuddwa : “Mukolenga bwe mutyo nga munzijukira” (Today’s English Version) era “Mukikolenga ng’Ekijjukizo kyange.” (The Jerusalem Bible) Mu butuufu, omukolo guno gutera okuyitibwa Ekijjukizo ky’okufa kwa Kristo. Ate Pawulo aguyita Eky’Ekiro kya Mukama waffe era nga kino kituukirawo bulungi, kubanga omukolo ogwo gwatandikibwawo kiro. (1 Abakkolinso 11:20, NW) Abakristaayo balagirwa okukuza eky’Ekiro kya Mukama Waffe. Naye lwaki omukolo guno gwatandikibwawo?

Ensonga Lwaki Kyatandikibwawo

5, 6. (a) Ensonga emu lwaki Yesu yatandikawo Ekijjukizo y’eruwa? (b) Waayo ensonga endala lwaki Eky’Ekiro kya Mukama Waffe kyatandikibwawo.

5 Ensonga emu lwaki omukolo gw’Ekijjukizo gwatandikibwawo yali ekwata ku kigendererwa ekimu eky’okufa kwa Yesu. Yafa ng’akyawagira obufuzi bwa Kitaawe ow’omu ggulu. Mu ngeri eyo, Kristo yalaga nti Setaani Omulyolyomi yali mulimba, bwe yagamba nti abantu baweereza Katonda olw’okuba balina bye bafuna okuva gy’ali. (Yobu 2:1-5) Yesu bwe yakuuma obwesigwa bwe okutuukira ddala ku kufa, kyalaga nti Setaani kye yayogera kyali kya bulimba era n’asanyusa omutima gwa Yakuwa.​—Engero 27:11.

6 Ensonga endala lwaki eky’Ekiro kya Mukama Waffe kyatandikibwawo, kwali okutujjukiza nti okuyitira mu kufa kwe ng’omuntu atuukiridde, Yesu ‘yawaayo obulamu bwe ng’ekinunulo ku lw’abangi.’ (Matayo 20:28) Omuntu eyasooka bwe yayonoona mu maaso ga Katonda, yafiirwa obulamu obutuukiridde n’emikisa emirala gyonna gye yandifunye. Kyokka Yesu yagamba: “Kubanga Katonda bwe yayagala ensi bw’ati, n’okuwaayo n’awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka, buli muntu yenna amukkiriza aleme okubula, naye abeere n’obulamu obutaggwaawo.” (Yokaana 3:16) Mazima ddala, “empeera y’ekibi kwe kufa; naye ekirabo kya Katonda bwe bulamu obutaggwaawo mu Kristo Yesu Mukama waffe.” (Abaruumi 6:23) Okukuza Eky’Ekiro kya Mukama Waffe kutujjukiza okwagala okw’amaanyi ennyo Yakuwa n’Omwana we kwe baalaga, Yesu bwe yawaayo obulamu bwe nga ssaddaaka. Nga tusaanidde okusiima ennyo okwagala okwo!

Ddi lwe Kirina Okujjukirwa?

7. Mu ngeri ki gye kiri nti, buli Abakristaayo abaafukibwako amafuta lwe balya ku bubonero bw’ekijjukizo baba boolesa okufa kwa Mukama waffe?

7 Pawulo yagamba bw’ati ku bikwata ku Ky’Ekiro kya Mukama Waffe: “Buli lwe munaalyanga ku mugaati guno ne lwe munaanywanga ku kikompe, munaayolesanga okufa kwa Mukama waffe okutuusa lw’alijja.” (1 Abakkolinso 11:26) Buli omu ku Bakristaayo abaafukibwako amafuta yandiridde ku bubonero bw’Ekijjukizo okutuukira ddala ku kufa. N’olwekyo, mu maaso ga Yakuwa Katonda n’ensi, bandyolesezzanga okukkiriza kwabwe mu nteekateeka ya Katonda ekwata ku ssaddaaka ya Yesu.

8. Abakristaayo abaafukibwako amafuta baali ba kukuza Eky’Ekiro kya Mukama Waffe kutuusa ddi?

8 Abakristaayo abaafukibwako amafuta bandikuzizza Ekijjukizo ky’okufa kwa Kristo kutuusa ddi? Pawulo yagamba nti “okutuusa lw’alijja,” ekyo nga kitegeeza nti omukolo guno gwandikuziddwa okutuukira ddala ku kujja kwa Yesu okutwala abagoberezi be abaafukibwako amafuta mu ggulu okuyitira mu kuzuukira kw’omu kiseera ‘eky’okubeerawo’ kwe. (1 Abasessaloniika 4:14-17) Kino kituukagana bulungi n’ekyo Yesu kye yagamba abatume be 11 abeesigwa: “Oba nga ŋŋenda okubateekerateekera ekifo, ndikomawo nate ne mbatwala gye ndi; nze gye ndi, nammwe mubeere eyo.”​—Yokaana 14:3.

9. Ebigambo bya Yesu ebiri mu Makko 14:25 bitegeeza ki?

9 Yesu bwe yatandikawo omukolo gw’Ekijjukizo, yayogera ku kikompe ky’enviinyo era n’agamba abatume be abeesigwa: “Sirinywa nate ku bibala ku muzabbibu, okutuusa ku lunaku luli lwe ndigunywa omuggya mu bwakabaka bwa Katonda.” (Makko 14:25) Okuva Yesu bwe yali tagenda kunywa nviinyo yennyini mu ggulu, kya lwatu yali ayogera ku ssanyu eritera okukiikirirwa enviinyo. (Zabbuli 104:15; Omubuulizi 10:19) Okubeera awamu mu Bwakabaka kye kintu eky’essanyu Yesu n’abagoberezi be kye baali beesunga ennyo.​—Abaruumi 8:23; 2 Abakkolinso 5:2.

10. Ekijjukizo kirina kukwatibwa buli ddi?

10 Okufa kwa Yesu kwandikuziddwa buli mwezi, buli wiiki, oba buli lunaku? Nedda. Yesu yatandikawo omukolo ogw’Eky’Ekiro kya Mukama Waffe era yattibwa ku lunaku lw’Embaga ey’Okuyitako eyakwatibwanga ‘ng’ekijjukizo’ olw’okununulibwa kw’Abaisiraeri okuva mu buddu e Misiri mu 1513 B.C.E. (Okuva 12:14) Embaga ey’Okuyitako yakwatibwanga omulundi gumu gwokka buli mwaka, ku lunaku olw’e 14 olw’omwezi gw’Abayudaaya oguyitibwa Nisaani. (Okuva 12:1-6; Eby’Abaleevi 23:5) Kino kiraga nti okufa kwa Yesu kulina okukuzibwa omulundi gumu gwokka buli mwaka ng’Embaga ey’Okuyitako bwe yakuzibwanga, so si buli mwezi, buli wiiki oba buli lunaku.

11, 12. Ebyafaayo biraga ki ku kukuzibwa kw’Ekijjukizo mu biseera eby’edda?

11 N’olwekyo, kituukirawo okukwata Ekijjukizo buli mwaka nga Nisaani 14. Ekitabo ekimu kigamba bwe kiti: “Abakristaayo ab’omu Asiya Omutono baali bayitibwa Quartodecimans [Ab’olw’Ekkumi n’Ennya] olw’empisa yaabwe ey’okukuza pascha [Eky’Ekiro kya Mukama Waffe] nga Nisani 14.  . . Olunaku olwo luyinza okuba Olw’okutaano oba olunaku olulala lwonna olwa wiiki.”​—The New Schaff-Herzog Encyclopedia of Religious Knowledge, Omuzingo IV, olupapula 44.

12 Ng’ayogera ku ebyo ebyakolebwanga mu kyasa eky’okubiri C.E., munnabyafaayo J. L. von Mosheim agamba nti, Ab’olw’Ekkumi n’Ennya baakwatanga Ekijjukizo nga Nisani 14 kubanga “baatwala ekyokulabirako kya Kristo okuba ekyo kye bateekwa okugoberera.” Munnabyafaayo omulala agamba: “Enkola y’amakanisa ag’Ab’olw’ekkumi n’ennya yali emu n’eyo ey’ekkanisa ey’omu Yerusaalemi. Mu kyasa eky’okubiri, amakanisa gano gaakuzanga okununulibwa okwaleetebwawo okufa kwa Kristo nga Nisani 14.”​—Studia Patristica, Omuzingo V, 1962, olupapula 8.

Amakulu g’Omugaati

13. Mugaati gwa ngeri ki Yesu gwe yakozesa ng’atandikawo omukolo gw’Eky’Ekiro kya Mukama Waffe?

13 Yesu bwe yatandikawo omukolo gw’Ekijjukizo, “[y]atoola omugaati, awo bwe yamala okwebaza n’agumenyamu, n’abawa [abatume].” (Makko 14:22) Omugaati gwe yakozesa, gwegwo gwe baali baakamala okukozesa ku mbaga ey’Okuyitako. (Okuva 13:6-10) Okuva bwe gutaalimu kizimbulukusa, gwali mubaabaatavu ate nga mukalambavu era yalina okugumenyaamenyamu okubagabira. Yesu bwe yaliisa enkumi n’enkumi z’abantu emigaati mu ngeri ey’ekyamagero, emigaati egyo nagyo gyali mikalambavu era nga gisobola okumenyebwamenyebwamu, kubanga yagimenyamu ne giryoka gigabibwa. (Matayo 14:19; 15:36) N’olwekyo, kirabika nga okumenyaamenyamu omugaati gw’Ekijjukizo tekulina makulu gonna ga bya mwoyo.

14. (a) Lwaki kituukirawo omugaati ogukozesebwa ku Kijjukizo okuba nga si muzimbulukuse? (b) Mugaati gwa ngeri ki oguyinza okufunibwa oba okufumbibwa gusobole okukozesebwa ku ky’Ekiro kya Mukama Waffe?

14 Yesu yayogera bw’ati ku mugaati ogwakozesebwa ng’atandikawo omukolo gw’Ekijjukizo: “Guno gwe mubiri gwange oguli ku lwammwe.” (1 Abakkolinso 11:24; Makko 14:22) Omugaati ogutali muzimbulukuse gwali gutuukirawo bulungi. Lwaki? Kubanga ekizimbulukusa kisobola okukiikirira obubi oba ekibi. (1 Abakkolinso 5:6- 8) Omugaati gwali gukiikirira omubiri gwa Yesu ogw’obuntu ogutuukiridde ogwaweebwayo ng’ekinunulo. (Abaebbulaniya 7:26; 10:5-10) Abajulirwa ba Yakuwa bajjukira ekyo era bagoberera ekyokulabirako kya Yesu nga bakozesa omugaati ogutali muzimbulukuse ku mukolo gw’Ekijjukizo. Oluusi bakozesa emigaati emibaabaatavu egitali mizimbulukuse Abayudaaya gye bakozesa ku mbaga zaabwe egitaliimu birungo birala gamba ng’obutungulu oba amagi. Bwe kitaba ekyo, omugaati ogutaliimu kizimbulukusa gusobola okukolebwa nga weeyambisa obuwunga (bwe kiba kisoboka, obw’eŋŋaano) n’otabulamu amazzi matono. Ng’obuwunga bumaze okukandibwa, omugaati gulina okukolebwa nga gwa kabiri katono era guyinza okufumbibwa ku lusaniya oluteekeddwako buto mutono okutuusa lwe gukala ne gukalambala.

Amakulu g’Enviinyo

15. Kiki ekyali mu kikompe Kristo kye yakozesa bwe yali atandikawo Ekijjukizo ky’okufa kwe?

15 Oluvannyuma lw’okuyisa omugaati ogutali muzimbulukuse, Yesu yatoola ekikompe, ‘ne yeebaza n’akiwa abatume be, bonna ne banywako.’ Yesu yannyonnyola: “guno gwe musaayi gwange ogw’endagaano, oguyiika olw’abangi.” (Makko 14:23, 24) Kiki ekyali mu kikompe? Enviinyo ensiwe, so si mubisi gw’emizabbibu ogutali musiwe. Ebyawandiikibwa bwe biba byogera ku nviinyo, biba tebitegeeza mubisi gw’emizabbibu ogutali musiwe. Ng’ekyokulabirako, enviinyo ensiwe, so si omubisi gw’emizabbibu, ye yandibadde esobola ‘okwabya ensawo ey’amaliba,’ nga Yesu bwe yagamba. Ate era abalabe ba Yesu baagamba nti yali “mutamiivu.” Ekyo kyandibadde tekiwa makulu okumuwaayiriza bwe batyo singa enviinyo yali mubisi bubisi ogw’emizabbibu. (Matayo 9:17; 11:19) Enviinyo yanywebwanga ku mbaga ey’Okuyitako, era ne Kristo yagikozesa bwe yali atandikawo Ekijjukizo ky’okufa kwe.

16, 17. Nviinyo ya ngeri ki esaanira okukozesebwa ku Kijjukizo era lwaki?

16 Enviinyo emmyufu yokka y’esobola okukozesebwa ng’akabonero akakiikirira ekyali mu kikompe, kwe kugamba, omusaayi gwa Yesu ogwayiibwa. Ye kennyini yagamba: “Guno gwe musaayi gwange Olw’endagaano empya, oguyiibwa ku lw’abangi.” Ate ye omutume Peetero yawandiika: “Mmwe [abaafukibwako amafuta] nga mumanyi nga temwanunulibwa na bintu ebiggwaawo, ffeeza oba zaabu, mu mpisa zammwe ezitaliimu ze mwaweebwa bajjajjammwe; wabula n’omusaayi ogw’omuwendo omungi, ng’ogw’omwana gw’endiga ogutaliiko bulema newakubadde ebbala, ye Kristo.”​—1 Peetero 1:18, 19.

17 Awatali kubuusabuusa, nviinyo mmyufu ekoleddwa mu mizabbibu Yesu gye yakozesa ng’atandikawo Ekijjukizo. Kyokka, ebika ebimu eby’enviinyo emmyufu eby’ennaku zino, tebisaanira kubanga bitabulwamu ebirungo ebirala. Omusaayi gwa Yesu gwali gutuukiridde nga tegwetaaga kwongerwako kintu kyonna. N’olwekyo, wayini nga port, sherry, ne vermouth aba tasaana kukozesebwa. Ekikompe ekikozesebwa ku Kijjukizo kirina kubeeramu nviinyo etetabuddwamu ekintu ekirala kyonna. Enviinyo emmyufu esogoleddwa awaka nga tetabuddwamu bigiwoomereza esobola okukozesebwa era n’ebika bya wayini ebirala nga red burgundy ne claret.

18. Lwaki Yesu teyakola kyamagero ekikwata ku mugaati n’enviinyo eby’Ekijjukizo?

18 Bwe yali agabula ekijjulo ekyo, Yesu teyakola kyamagero ng’akyusa omugaati okuba omubiri gwe gwennyini n’enviinyo okuba omusaayi gwe. Okulya ennyama y’omuntu n’okunywa omusaayi kya kivve era kyandibadde kimenya amateeka ga Katonda. (Olubereberye 9:3, 4; Eby’Abaleevi 17:10) Yesu yali akyalina omubiri gwe mu bulambalamba era n’omusaayi gwe gwonna. Omubiri gwe gwaweebwayo nga ssaddaaka etuukiridde era omusaayi gwe gwayiibwa enkeera olweggulo ku lunaku lwe lumu olwo olw’Ekiyudaaya olwa Nisaani 14. N’olwekyo, omugaati n’enviinyo ebikozesebwa ku Kijjukizo bubonero bubonero obukiikirira omubiri n’omusaayi gwa Kristo. *

Ekijjukizo​—Kijjulo Ekyoleka Okussa Ekimu

19. Lwaki ekikompe n’essowaani ebisukka mu kimu biyinza okukozesebwa ku mukolo gw’Eky’Ekiro kya Mukama Waffe?

19 Yesu bwe yali ng’atandikawo Ekijjukizo, yasaba abatume be abeesigwa okunywera mu kikompe kimu. Enjiri ya Matayo egamba: “[Yesu] n’atoola ekikompe, ne yeebaza, n’abawa, ng’agamba nti Munywe ku kino mwenna.” (Matayo 26:27) Tewaaliwo buzibu bwonna okukozesa “ekikompe” ekimu kyokka kubanga abo abaali bagenda okunywaako baali 11 bokka ku mmeeza era nga buli omu asobola bulungi okuweereza munne ekikompe ekyo. Omwaka guno, obukadde n’obukadde bajja kukuŋŋaanira mu bibiina by’Abajulirwa ba Yakuwa ebisukka mu 94,000 okwetooloola ensi yonna okukuza Eky’Ekiro kya Mukama Waffe. Olw’okuba bangi nnyo bajja kubaawo ku mukolo guno akawungeezi ako, ekikompe ekimu kyokka tekiyinza kukozesebwa. Naye omusingi gwe gumu gugobererwa mu bibiina ebinene nga bakozesa ebikompe ebiwerako okuyisa akabonero ako mu bantu ababa bakuŋŋaanye awatali kukozesa kiseera kiwanvu. Mu ngeri y’emu, essowaani ezisukka mu emu zisobola okukozesebwa okuyisa omugaati. Ebyawandiikibwa tebiraga engeri ki ekikompe oba egiraasi gye birina okufaananamu. Kyokka, bisaanidde okuba nga biweesa omukolo ogwo ekitiibwa. Kyandibadde kya magezi obutajjuza nnyo kikompe enviinyo ereme kuyiika ng’eyisibwa.

20, 21. Lwaki tuyinza okugamba nti Ekijjukizo kijjulo ekyoleka okussa ekimu?

20 Wadde ng’essowaani z’omugaati ezisukka mu emu n’ebikompe by’enviinyo ebisukka mu kimu biyinza okukozesebwa, Ekijjukizo kiba kijjulo ekyoleka okussa ekimu. Mu Isiraeri ey’edda, omuntu yawangayo ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe, oba ekijjulo ekyoleka okussa ekimu, ng’aleeta ensolo awaali weema ya Katonda okugisala. Ekitundu ekimu eky’ensolo eyo kyayokebwanga ku kyoto, ekitundu ekirala kyaweebwanga kabona n’ekirala kyaweebwanga batabani ba Alooni. Ate oyo eyawangayo ssaddaaka n’ab’omu maka ge nabo baalyanga ku kijjulo ekyo. (Eby’Abaleevi 3:1-16; 7:28-36) Ekijjukizo nakyo kijjulo ekyoleka okussa ekimu kubanga mubaamu okugabana.

21 Yakuwa akwatibwako mu kijjulo kino kubanga ye Yatandikawo enteekateeka eno. Yesu ye ssaddaaka, ate Abakristaayo abaafukibwako amafuta be balyako ku bubonero. Okuliira ku mmeeza ya Yakuwa kiraga nti abo abalyaako balina emirembe naye. Mu ngeri etuukirawo, Pawulo yawandiika: “Ekikompe eky’omukisa, kye tusabira omukisa, si kwe kusseekimu omusaayi gwa Kristo? Omugaati gwe tumenyaamenya si kwe kusseekimu omubiri gwa Kristo? Kubanga ffe abangi tuli mugaati gumu, omubiri gumu: kubanga fenna tugabana omugaati gumu.” 1 Abakkolinso 10:16, 17.

22. Bibuuzo ki ebikwata ku Kijjukizo bye tujja okukubaganyaako ebirowoozo?

22 Eky’Ekiro kya Mukama Waffe gwe mukolo gwokka ogw’eddiini Abajulirwa ba Yakuwa gwe bakwata buli mwaka. Kino kituukirawo kubanga Yesu yalagira abagoberezi be: “Mukolenga kino olw’okunjijukiranga nze.” Ku Kijjukizo, tujjukira okufa kwa Yesu, okufa okwagulumiza obufuzi bwa Yakuwa. Nga bwe tumaze okulaba, ku kijjulo kino ekyoleka okussa ekimu, omugaati gukiikirira omubiri gwa Kristo ogw’obuntu ogwaweebwayo, ate enviinyo n’ekiikirira omusaayi gwe ogwayiibwa. Kyokka, batono nnyo abalyaako ku mugaati n’enviinyo. Lwaki kiri bwe kityo? Ddala Ekijjukizo kirina amakulu gonna eri obukadde n’obukadde abatalyaako? Mazima ddala, Eky’Ekiro kya Mukama Waffe kisaanidde kubeera na makulu ki gy’oli?

[Obugambo obuli wansi]

^ lup. 18 Laba ekitabo Insight on the Scriptures, omuzingo 2, olupapula 271, ekikubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

Oddamu Otya?

• Lwaki Yesu yatandikawo omukolo gw’Eky’Ekiro kya Mukama Waffe?

• Ekijjukizo kirina kukwatibwa buli ddi?

• Omugaati ogutali muzimbulukuse gulina makulu ki?

• Enviinyo ekozesebwa ku Kijjukizo ekiikirira ki?

[Ebibuuzo]

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 11]

Yesu yatandikawo omukolo gw’Eky’Ekiro kya Mukama waffe