Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Weesige Yakuwa n’Omutima Gwo Gwonna

Weesige Yakuwa n’Omutima Gwo Gwonna

Weesige Yakuwa n’Omutima Gwo Gwonna

“Abo abamanyi erinnya lyo baneesiganga ggwe.”​—ZABBULI 9:10.

1, 2. Bintu ki ebitaliimu abantu abamu bye beesiga okufuna obukuumi?

LEERO, nga waliwo ebintu bingi ebiteeka obulamu bwaffe mu kabi, kya mu butonde okwesiga omuntu oba ekintu okutuwa obukuumi. Abamu balowooza nti okuba n’essente nnyingi kijja kubawa obukuumi mu biseera eby’omu maaso, naye amazima gali nti ssente tezeesigika. Baibuli egamba: “Eyeesiga obugagga bwe aligwa.” (Engero 11:28) Abalala beesiga abakulembeze. Naye n’abakulembeze abalungi bakola ensobi. Era oluvannyuma, nabo bafa. Mu ngeri ey’amagezi, Baibuli egamba: “Temwesiganga balangira, newakubadde omwana w’omuntu, omutali buyambi bwonna.” (Zabbuli 146:3) Era ebigambo ebyo ebyaluŋŋamizibwa bitulabula obuteesiga busobozi bwaffe. Naffe tuli bubeezi ‘baana b’abantu.’

2 Nnabbi Isaaya yanenya abakulembeze ba Isiraeri ab’omu kiseera kye kubanga ‘baafuula obulimba ekiddukiro’ kyabwe. (Isaaya 28:15-17) Nga bagezzaako okunoonya obukuumi, baakola omukago mu by’obufuzi n’amawanga ag’omuliraano. Omukago ng’ogwo gwali tegwesigika​—bwali bulimba bwereere. Mu ngeri y’emu, leero abakulembeze b’eddiini bangi batta omukago ne bannabyabufuzi. N’emikago egyo nagyo gijja kweraga okuba ‘obulimba.’ (Okubikkulirwa 17:16, 17) Tegijja kuvaamu bukuumi bwa lubeerera.

Ekyokulabirako Ekirungi Ekya Yoswa ne Kalebu

3, 4. Lipoota Yoswa ne Kalebu gye baawa yayawukana etya ku y’abakessi bali ekkumi?

3 Kati olwo, twesige ani okufuna obukuumi? Omuntu y’omu Yoswa ne Kalebu gwe beesiga mu biseera bya Musa. Oluvannyuma lw’Abaisiraeri okununulibwa okuva mu Misiri, eggwanga eryo lyali lyeteeseteese okuyingira mu Kanani, Ensi Ensuubize. Abasajja 12 baasindikibwa okuketta ensi, era oluvannyuma lw’ennaku 40, baakomawo okuwa lipoota ku bye baali bazudde. Babiri bokka, Yoswa ne Kalebu, be baayogera mu ngeri ezzaamu amaanyi ku busobozi bwa Isiraeri okutwala Kanani. Ne bali ekkumi nabo bakkiriza nti ensi nnungi naye ne bagamba: . . . “Abantu abatuula mu nsi ba maanyi, n’ebibuga biriko enkomera, binene nnyo: Tetuyinza kwambuka ku bantu abo; kubanga [batusinza] amaanyi.”​—Okubala 13:27, 28, 31.

4 Abaisiraeri baawuliriza abakessi ekkumi era ne batya nnyo, ne batandika n’okwemulugunyiza Musa. Mu nkomerero, Yoswa ne Kalebu, nga balina ebbugumu ery’amaanyi baagamba: “Ensi gye twayitamu okugiketta nsi nnungi nnyo. Mukama oba ng’atusanyukira, kale alituyingiza mu nsi omwo, n’agituwa; ensi ekulukuta n’amata n’omubisi gw’enjuki. Kyokka temujeemera Mukama, so temutya bantu ba mu nsi.” (Okubala 14: 6-9) Wadde baayogera batyo, Abaisiraeri baagana okuwuliriza, era n’ekyavaamu tebakkirizibwa kuyingira mu Nsi Ensuubize mu kiseera ekyo.

5. Lwaki Yoswa ne Kalebu baawa lipoota ennungi?

5 Lwaki Yoswa ne Kalebu baawa lipoota ennungi, ate abakessi ekkumi ne bawa lipoota embi? Abakessi bonna 12 baalaba ebibuga eby’amaanyi ebiriko enkomera n’amawanga ggaamu. Era abakessi ekkumi baali batuufu okugamba nti Isiraeri teyalina maanyi gamala okusobola okuwamba ensi eyo. Yoswa ne Kalebu nabo ekyo baali bakimanyi. Kyokka, abakessi ekkumi baatunuulira ebintu mu ndaba ey’obuntu. Ku luuyi olulala, Yoswa ne Kalebu baalina obwesige mu Yakuwa. Baali balabye ebikolwa bye eby’amaanyi mu Misiri, ku Nnyanja Emmyufu, era ne ku Lusozi Sinaayi. Emyaka mingi oluvannyuma lipoota ezaali zikwata ku bikolwa ebyo zaaviirako Lakabu ow’omu Yeriko okuteeka obulamu bwe mu kabi ku lw’abantu ba Yakuwa. (Yoswa 2:1-24; 6:22-25) Yoswa ne Kalebu, abeerabirako n’agaabwe ebikolwa bya Yakuwa eby’amaanyi, baalina obwesige obujjuvu nti ajja kwongera okulwanirira abantu be. Oluvannyuma lw’emyaka 40, obwesige bwabwe bwavaamu emiganyulo, omulembe gwa Baisiraeri ogwaddako wansi w’obukulembeze bwa Yoswa, bwe baayingira mu Kanani ne bagiwamba.

Ensonga Lwaki Tulina Okwesiga Yakuwa mu Bujjuvu

6. Lwaki leero Abakristaayo bagezesebwa, era ani gwe bandyesize?

6 Mu ‘biro bino eby’okulaba ennaku,’ okufaananako n’Abaisiraeri, naffe twolekagganye n’abalabe abatusinga amaanyi. (2 Timoseewo 3:1) Tugezesebwa mu by’empisa, mu by’omwoyo, era n’emirundi egimu mu mubiri. Ku lwaffe, tetusobola kwaŋŋanga kugezesebwa ng’okwo okuva bwe kuva eri Setaani Omulyolyomi, asinga abantu amaanyi. (Abaefeso 6:12; 1 Yokaana 5:19) Kati olwo obuyambi tuyinza kubuggya wa? Ng’asaba eri Yakuwa, omusajja omwesigwa ow’edda yagamba: “Abo abamanyi erinnya lyo baneesiganga ggwe.” (Zabbuli 9:10) Bwe tuba nga ddala tumanyi Yakuwa era nga tutegeerera ddala amakulu g’erinnya lye, tujja kumwesiga nga Yoswa ne Kalebu.​—Yokaana 17:3.

7, 8. (a) Obutonde butuwa nsonga ki okwesiga Yakuwa? (b) Baibuli etuwa nsonga ki lwaki twandyesize Yakuwa?

7 Lwaki twandyesize Yakuwa? Ensonga emu lwaki Yoswa ne Kalebu beesiga Yakuwa eri nti baali balabye ebikolwa ebyoleka amaanyi ge. Naffe tubirabye. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku bintu Yakuwa bye yatonda nga mw’otwalidde n’obwengula obulimu obuwumbi n’obuwumbi bw’ebibinja by’emmunyeenye. Amaanyi g’obutonde, Yakuwa gaalinako obuyinza, galaga nti ye Muyinza w’Ebintu Byonna. Bwe tufumiitiriza ku bye yatonda ebyewuunyisa, naffe tukkiriziganya ne Yobu eyayogera bw’ati ku Yakuwa: “Ani ayinza okumuziyiza? Ani anaamugamba nti Okola ki?” (Yobu 9:12) Mu butuufu, Yakuwa bw’aba ku ludda lwaffe, tetulina kutya kitonde kyonna, mu ggulu oba ku nsi.​—Abaruumi 8:31.

8 Ate lowooza ku Kigambo kya Katonda, Baibuli. Ekitabo kino ekirimu amagezi ga Katonda agatakoma, kituyamba okuvvuunuka ebikolwa ebibi era n’okutuukanya obulamu bwaffe n’ebyo Yakuwa by’ayagala. (Abaebbulaniya 4:12) Okuyitira mu Baibuli, tutegeera erinnya lya Yakuwa n’amakulu gaalyo. (Okuva 3:14) Tukitegeera nti Yakuwa asobola okutuukana ne kyonna ky’aba ayagadde, kwe kugamba ayinza okuba Taata omwagazi, Omulamuzi ow’obutuukirivu, Omulwanyi omuwanguzi okusobola okutuukiriza ebigendererwa. Era tulaba engeri byonna by’ayogera bwe bituukirira. Nga tweyongera okuyiga Ekigambo kya Katonda, twogera ng’omuwandiisi wa Zabbuli eyagamba: “[N]neesiga ekigambo kyo.”​—Zabbuli 119:42; Isaaya 40:8.

9. Ekinunulo n’okuzuukira kwa Yesu binyweza bitya obwesige bwaffe mu Yakuwa?

9 Ensonga endala etuleetera okwesiga Yakuwa ye nteekateeka ey’ekinunulo. (Matayo 20:28) Nga kirungi nnyo nti Katonda yasindika Omwana we okuwaayo obulamu bwe ng’ekinunulo ku lwaffe! Era mazima ddala ekinunulo kya maanyi nnyo. Kitangirira ebibi by’abantu bonna abeenenya mu bwesimbu ne badda eri Yakuwa. (Yokaana 3:16; Abaebbulaniya 6:10; 1 Yokaana 4:16, 19) Engeri emu ey’okusasula ekinunulo kwali okuzuukira kwa Yesu. Ekyamagero ekyo, abantu bikumi na bikumi kye bawaako obujulizi, nsonga ndala lwaki twandyesize Yakuwa. Kitukakasa nti bye yasuubiza byonna bijja kutuukirizibwa.​—Ebikolwa 17:31; Abaruumi 5:5; 1 Abakkolinso 15:3-8.

10. Nsonga ki ze tulina kinnoomu okwesiga Yakuwa?

10 Ezo ze zimu ku nsonga eziraga lwaki tulina okwesiga Yakuwa mu bujjuvu. Waliwo n’ensonga endala nnyingi, naye ng’ezimu ku zo zikwata ku ffe kinnoomu. Ng’ekyokulabirako, emirundi egimu ffenna twolekagana n’ebizibu mu bulamu bwaffe. Nga tunoonya obulagirizi bwa Yakuwa okusobola okubikolako, tukiraba nti obulagirizi bwe bwa mugaso. (Yakobo 1:5-8) Gye tunaakoma okwesiga Yakuwa mu bulamu bwaffe obwa bulijjo era ne tulaba ebirungi ebivaamu, gye tukoma okumussaamu obwesige.

Dawudi Yeesiga Yakuwa

11. Dawudi yeesiga Yakuwa wadde nga waaliwo mbeera ki?

11 Dawudi owa Isiraeri ey’edda, muntu eyeesiga Yakuwa. Dawudi yatiisibwatiisibwa Kabaka Sawulo, eyali ayagala okumutta, era n’ayolekagana n’eggye ly’Abafirisuuti abaali bagezaako okuwamba Isiraeri. Wadde kyali kityo, yawonawo era n’atuuka ne ku buwanguzi. Lwaki? Dawudi kennyini annyonnyola: “Mukama gwe musana gwange n’obulokozi bwange; gwe nnaatyanga ye ani? Mukama ge maanyi ag’obulamu bwange; anankankanyanga ye ani?” (Zabbuli 27:1) Naffe tujja kutuuka ku buwanguzi singa tuneesiga Yakuwa mu ngeri y’emu.

12, 13. Dawudi yalaga atya nti twandyesize Yakuwa ka kibe nti abatuziyiza bakozesa olulimi lwabwe okutulwanyisa?

12 Olumu Dawudi yasaba: “Owulirenga eddoboozi lyange, ai Katonda, mu kwemulugunya kwange: okuumenga obulamu bwange nnemenga okutya omulabe. Onkweke eri abakozi b’obubi abateesa mu kyama; n’eri okuyoogaana kw’abo abakola ebitali bya butuukirivu: abawagadde olulimi lwabwe ng’ekitala, abateebye obusaale bwabwe bye bigambo eby’obukambwe: balasize oyo eyatuukirira mu bifo eby’ekyama.” (Zabbuli 64:1-4) Tetumanyi kyaviirako ddala Dawudi okuwandiika ebigambo bino. Naye tumanyi nti leero abalabe mu ngeri y’emu ‘bawagala olulimi lwabwe,’ nga bakozesa ebigambo ng’eby’okulwanyisa byabwe. ‘Balasa’ Abakristaayo abatalina musango nga bakozesa ebiwandiiko oba ebigambo ‘ng’obusaale’ obutatuwaako kifaananyi kituufu. Singa tuneesigira ddala Yakuwa, kiki ekinaavaamu?

13 Dawudi yeeyongera okugamba: “Katonda alibalasa; balifumitibwa n’akasaale nga tebalowooza. Bwe batyo bwe baneesittazibwanga, olulimi lwabwe bennyini nga lubagwisa. . . . Omutuukirivu anaasanyukiranga Mukama, era anaamwesiganga.” (Zabbuli 64:7-10) Yee, wadde nga abalabe baffe batuwagalira olulimi lwabwe, oluvannyuma ‘olulimi lwabwe lwennyini lubagwisa.’ Mu nkomerero Yakuwa akyusa embeera ne muvaamu ebirungi, abo abamwesiga ne basobola okumwenyumirizzaamu.

Obwesige bwa Keezeekiya Bwavaamu Emiganyulo

14. (a) Keezeekiya yeesiga Yakuwa ng’ayolekaganye na mbeera ki enzibu ennyo? (b) Keezeekiya yalaga atya nti teyakkiriza bulimba bwa Bwasuli?

14 Kabaka Keezeekiya ye muntu omulala eyaganyulwa mu kwesiga Yakuwa. Mu kiseera ky’obufuzi bwa Keezeekiya, eggye lya Bwasuli ery’amaanyi lyatiisatiisa okuwamba Yerusaalemi. Eggye eryo lyali liwangudde amawanga amalala mangi. Lyali liwangudde n’ebibuga ebirala ebya Yuda ne kiba nti Yerusaalemi kye kyokka ekyali kibulayo, era Sennakeribu yeewaana nti nakyo yali agenda kukiwamba. Ng’ayitira mu Labusake, yabategeeza nti okwesiga Misiri tekyandivuddemu kalungi konna, era nga ddala yali mutuufu. Kyokka, era yagamba: “Katonda wo gwe weesiga takulimbanga ng’ayogera nti Yerusaalemi tekirigabulwa mu mukono gwa kabaka w’e Bwasuli.” (Isaaya 37:10) Kyokka, Keezeekiya yali akimanyi nti Yakuwa talimba. N’olwekyo, yasaba ng’agamba: “Ai Mukama Katonda waffe, tulokole mu mukono gwe, obwakabaka bwonna obw’omu nsi butegeere nga ggwe Mukama, ggwe wekka.” (Isaaya 37:20) Yakuwa yawuliriza okusaba kwa Keezeekiya. Mu kiro kimu, malayika yatta abaserikale ba Bwasuli 185,000. Yerusaalemi tekyawambibwa, era Sennakeribu n’ava mu Yuda. Abo bonna abaawulira ku kikolwa kino baategeera obuyinza bwa Yakuwa.

15. Kintu ki ekinaatuyamba okweteekerateekera ekizibu kyonna kye tuyinza okwesangamu mu nsi eno eringa amayengo?

15 Leero, okufaananako Keezeekiya, twenyigidde mu lutalo. Kyokka, olutalo lwaffe lwa bya mwoyo. Wadde kiri kityo, ng’abalwanyi mu by’omwoyo twetaaga okuyiga obukodyo obunaatusobozesa okusigala nga tuli balamu mu by’omwoyo. Twetaaga okumanya obulumbaganyi obuyinza okubaawo era ne tweteekateeka okubuziyiza. (Abaefeso 6:11, 12, 17) Mu nsi eno eringa amayengo, ebintu biyinza okukyuka mu ngeri etasuubirwa. Obutabanguko buyinza okubalukawo mangu nnyo. Ensi ezibadde teziyigganya madiini ziyinza okutandika okugayigganya. Singa tweteekateeka era ne twesigira ddala Yakuwa mu bujjuvu nga Keezeekiya, tujja kubeera beetegefu okugumiikiriza kyonna ekiyinza okubaawo.

Kitegeeza Ki Okwesiga Yakuwa?

16, 17. Tulaga tutya nti twesiga Yakuwa?

16 Okwesiga Yakuwa tekukoma mu bigambo. Kutwaliramu omutima gwaffe era ne kulagibwa mu bikolwa. Bwe tuba nga ddala twesiga Yakuwa, tujja kwesiga Ekigambo kye, Baibuli. Tujja kukisoma buli lunaku, tukifumiitirizzeeko, era tukireke kiruŋŋamye obulamu bwaffe. (Zabbuli 119:105) Okwesiga Yakuwa era kutwaliramu okwesiga obusobozi bw’omwoyo omutukuvu. N’obuyambi bw’omwoyo omutukuvu, tusobola okubala ebibala ebisanyusa Yakuwa era ne twekutula ne ku mize emibi egiba gisimbye amakanda. (1 Abakkolinso 6:11; Abaggalatiya 5:22-24) Mu ngeri eyo, n’obuyambi bw’omwoyo omutukuvu, bangi basobodde okuva ku sigala oba enjaga. Abalala baleseeyo empisa ez’obugwenyufu. Yee, bwe twesiga Yakuwa, tukola mu maanyi ge, so si mu gaffe.​—Abaefeso 3:14-18.

17 Okwongerezaako, okwesiga Yakuwa kitegeeza okussa obwesige mu abo b’awadde obuvunaanyizibwa. Ng’ekyokulabirako, Yakuwa alonze ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi,’ okulabirira ebintu by’Obwakabaka ebiri ku nsi. (Matayo 24:45-47) Tetugezaako kukola bintu ku lwaffe, era tetuwakanya muddu oyo kubanga twesiga enteekateeka ya Yakuwa. N’ekirala, abakadde baweereza mu bibiina Ebikristaayo, era okusinziira ku mutume Pawulo balondebwa omwoyo omutukuvu. (Ebikolwa 20:28) Bwe tukolaganira awamu n’abakadde mu bibiina, tuba tulaga nti twesiga Yakuwa.​—Abaebbulaniya 13:17.

Goberera Ekyokulabirako kya Pawulo

18. Abakristaayo bagoberera batya ekyokulabirako kya Pawulo leero, naye mu ki mwe batateeka bwesige bwabwe?

18 Omutume Pawulo yayolekagana n’ebigezo bingi mu buweereza bwe, nga naffe bwe twolekagana nabyo. Mu kiseera kye Obukristaayo bwasiigibwa enziro mu maaso g’ab’obuyinza, era emirundu egimu yafubanga okulaga nti ebyayogerwa tebyali bituufu, oba okulaba nti omulimu gw’okubuulira gukkirizibwa mu mateeka. (Ebikolwa 28:19-22; Abafiripi 1:7) Leero, Abakristaayo bagoberera ekyokulabirako kye. Buli we kisoboka, tuyamba abalala okutegeera omulimu gwaffe nga tukozesa kyonna ekisoboka. Era tufuba okulwanirira n’okuwandiisa omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi mu mateeka. Kyokka, tetuteeka bwesige bwaffe obujjuvu mu kufuba ng’okwo olw’okuba tumanyi nti obuwanguzi tebwesigamye ku kusinga misango mu kkooti oba okwogerwako obulungi. Wabula, twesiga Yakuwa. Tujjukira okubuulirira kwe eri Isiraeri ey’edda: “Mu kutereera ne mu kwesiga mwe muliba amaanyi gammwe.”​—Isaaya 30:15.

19. Obwesige bwa baganda baffe mu Yakuwa buvuddemu butya emiganyulo nga bayigganyizibwa?

19 Emirundi egimu mu kiseera kyaffe, omulimu gwaffe guwereddwa oba ne gukugirwa mu Bulaaya ow’Ebuvanjuba n’Ebugwanjuba, mu bitundu ebimu eby’omu Asiya ne Afirika, ne mu nsi ezimu eziri mu Amereka ow’omu Maserengeta n’ow’omu Mambuka. Kino kitegeeza nti obwesige bwaffe mu Yakuwa bwa bwereere? Nedda. Wadde ng’emirundi egimu akkiriza okuyigganyizibwa okw’amaanyi okubaawo olw’ekigendererwa, Yakuwa anywezezza abo aboolekaganye n’okuyigganyizibwa okwo. Nga bayigganyizibwa, Abakristaayo bangi basigadde banywevu mu kukkiriza era ne beesiga Katonda okumala ebbanga ggwanvu.

20. Wadde nga tuyinza okuganyulwa olw’okuwandiisibwa mu mateeka, bintu ki bye tutayinza kwekkiriranya?

20 Ku luuyi olulala, mu nsi nnyingi twawandiisibwa mu mateeka, era emirundi egimu twogerwako bulungi mu mawulire. Tuli basanyufu olw’ekyo era tukitegeera nti nakyo kituukiriza ebigendererwa bya Yakuwa. Nga tulina emikisa gye, tukozesa eddembe lye tulina okuweereza Yakuwa mu lujjudde era mu bujjuvu, so si okulongoosa embeera y’obulamu bwaffe. Kyokka, tetuyinza kwenyigira mu byabufuzi, mu ntalo, oba okuddirira mu buweereza bwa Yakuwa olw’okwagala okwogerwako obulungi ab’obuyinza. Tuli wansi w’Obwakabaka bwa Masiya era tuli ku ludda olw’obufuzi bwa Yakuwa. Essuubi lyaffe tetulitadde mu nteekateeka eno ey’ebintu, wabula liri mu nsi empya, Obwakabaka bwa Masiya gye bunaabeera nga ye gavumenti yokka efuga ensi eno. Ka zibeere bbomu, ebikompola, oba eby’okulwanyisa ebirina amaanyi ga nukiriya tebiyinza kukankanya gavumenti eyo oba okugisaanyawo okuyima mu nsi. Tesobola kuwangulibwa era ejja kutuukiriza ebigendererwa bya Yakuwa ebyagiteekesaawo.​—Danyeri 2:44; Abaebbulaniya 12:28; Okubikkulirwa 6:2.

21. Tumaliridde kukola ki?

21 Pawulo agamba: “Tetuli ba kudda nnyuma mu kuzikirira, naye tuli ba kukkiriza olw’okulokola obulamu.” (Abaebbulaniya 10:39) N’olwekyo, ka ffenna tuweereze Yakuwa n’obwesigwa okutuukira ku nkomerero. Tulina buli nsonga okussa obwesige bwaffe mu Yakuwa kaakano ne mu biseera byonna ebijja.​—Zabbuli 37:3; 125:1.

Kiki ky’Oyize?

• Lwaki Yoswa ne Kalebu baawa lipoota ennungi?

• Ezimu ku nsonga lwaki twandyesigidde ddala Yakuwa ze ziruwa?

• Kitegeeza okwesiga Yakuwa?

• Nga twesiga Yakuwa, tumaliridde kukola ki?

[Ebibuuzo]

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 28]

Lwaki Yoswa ne Kalebu baawa lipoota ennungi?

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 29]

Obutonde butuwa ensonga enkulu okwesiga Yakuwa

[Ensibuko y’ekifaananyi]

All three images: Courtesy of Anglo-Australian Observatory, photograph by David Malin

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 31]

Okwesiga Yakuwa kitegeeza okwesiga abo b’awa obuvunaanyizibwa