Abakristaayo Abaasooka n’Amateeka ga Musa
Abakristaayo Abaasooka n’Amateeka ga Musa
“Amateeka yali mutwazi waffe eri Kristo.”—ABAGGALATIYA 3:24.
1, 2. Miganyulo ki egimu Abaisiraeri gye baafuna bwe baagondera Amateeka ga Musa?
MU 1513 B.C.E., Yakuwa yawa Abaisiraeri amateeka. Yabagamba nti bwe bandigondedde eddoboozi lye, yandibawadde emikisa era bandibadde basanyufu era abamativu mu bulamu.—Okuva 19:5, 6.
2 Amateeka ago, agayitibwa Amateeka ga Musa, oba “Amateeka,” gaali ‘matukuvu era malungi.’ (Abaruumi 7:12) Gaakubiriza ebintu ebirungi ng’ekisa, obwesigwa, empisa ennungi n’enkolagana ennungi ne muliraanwa okubaawo. (Okuva 23:4, 5; Eby’Abaleevi 19:14; Ekyamateeka 15:13-15; 22:10, 22) Era Amateeka gaakubiriza Abayudaaya okwagalana bokka na bokka. (Eby’Abaleevi 19:18) Ate era, baalagirwa obutakolagana wadde okuwasa Abakazi ab’Amawanga abaali batagondera Mateeka. (Ekyamateeka 7:3, 4) Okufaananako ‘ekisenge’ ekyayawula Abayudaaya n’Ab’amawanga, Amateeka ga Musa gaakuuma Abantu ba Katonda ne batayonoonebwa ndowooza n’ebikolwa by’ab’amawanga.—Abaefeso 2:14, 15; Yokaana 18:28.
3. Okuva bwe wataali n’omu eyali ayinza okukwata amateeka mu bujjuvu, ekyo kyayoleka ki?
3 Kyokka, n’Abayudaaya abaafubanga ennyo okukwata Amateeka baali tebasobola kugatuukiriza mu bujjuvu. Yakuwa yali abasuubiramu bingi nnyo? Nedda. Ensonga emu lwaki Amateeka gaweebwa Isiraeri yali, ‘okwonoona okusobola okumanyika.’ (Abaggalatiya 3:19) Amateeka gaasobozesa Abayudaaya abeesimbu okutegeera nti baali beetaaga nnyo Omununuzi. Bwe yajja, Abayudaaya abeesigwa basanyuka nnyo. Okununulibwa kwabwe okuva mu kibi n’okufa kwali kuli kumpi!—Yokaana 1:29.
4. Mu ngeri ki Amateeka gye gaali ‘omutwazi eri Kristo’?
4 Amateeka ga Musa tegaali ga lubeerera. Ng’awandiikira Bakristaayo banne, omutume Pawulo yagoogerako nga ‘omutwazi eri Kristo.’ (Abaggalatiya 3:24) Omutwazi ow’omu biseera eby’edda yatwalanga era n’akomyawo abaana okuva ku ssomero. Teyabanga musomesa; yatwalanga butwazi abaana eri omusomesa. Mu ngeri y’emu, Amateeka ga Musa, gassibwawo okutuusa Abayudaaya abatya Katonda eri Kristo. Yesu yasuubiza nti yandibadde n’abagoberezi be ‘ennaku zonna, okutuusa emirembe gino lwe gyandiweddewo.’ (Matayo 28:20) N’olwekyo, ekibiina Ekikristaayo bwe kyatandikibwawo, ‘omutwazi’, kwe kugamba, Amateeka, gaali tegakyalina kigendererwa. (Abaruumi 10:4; Abaggalatiya 3:25) Kyokka, Abayudaaya Abakristaayo abamu tebaategeererawo mazima gano. N’olwekyo, beeyongera okutuukiriza ebintu ebimu ebyali bibeetaagisibwa mu mateeka wadde n’oluvannyuma lw’okuzuukira kwa Yesu. Kyokka abalala baakyusa endowooza yaabwe. Mu kukola ekyo, baatuteerawo ekyokulabirako ekirungi leero. Ka tulabe mu ngeri ki.
Okutegeera Okuppya mu Njigiriza y’Ekikristaayo
5. Peetero yafuna biragiro ki mu kwolesebwa, era lwaki yeesisiwala?
5 Mu 36 C.E., Peetero, omutume Omukristaayo yafuna okwolesebwa okw’ekitalo. Mu kiseera ekyo, eddoboozi okuva mu ggulu lyamulagira okutta n’okulya ebinnyonnyi n’ebisolo ebitaali biyonjo wansi w’Amateeka. Peetero yeesisiwala! Yali ‘talyanga kya muzizo wadde ekibi.’ Naye eddoboozi lyamugamba: ‘Katonda bye yalongoosa tobifuulanga bya muzizo.’ (Ebikolwa 10:9-15) Mu kifo ky’okugugubira ku Mateeka, Peetero yakyusa endowooza ye. Kino kyamuleetera okuzuula ekintu eky’ekitalo ekikwata ku bigendererwa bya Katonda.
6, 7. Kiki ekyayamba Peetero okutegeera nti yali asobola okubuulira Ab’amawanga, era biki ebirala bye yategeera?
6 Kino kye kyaliwo. Abasajja basatu baagenda mu nnyumba Peetero gye yali abeeramu, okumusaba okugenda nabo mu maka ga Koluneeriyo, Munnaggwanga eyali atya Katonda atali mukomole. Peetero yasembeza abasajja abo mu nnyumba. Ng’amaze okutegeera amakulu g’okwolesebwa okwo, Peetero yagenda n’abasajja abo olunaku olwaddako mu maka ga Koluneeriyo. Ng’ali eyo Peetero yabawa obujulirwa obukwata ku Yesu Kristo. Mu kiseera ekyo, Peetero yagamba: “Mazima ntegedde nga Katonda tasosola mu bantu: naye mu ggwanga lyonna amutya n’akola obutuukirivu amukkiriza.” Koluneeriyo wamu n’ab’eŋŋanda ze n’ab’emikwano bakkiriza Yesu, era ‘omwoyo omutukuvu gwakka ku bonna abaali bawulira ekigambo.’ Ng’akitegedde nti Yakuwa ye yali akoze ekyo, Peetero ‘yalagira babatizibwe mu linnya lya Yesu Kristo.’—Ebikolwa 10:17-48.
7 Kiki ekyayamba Peetero okusalawo nti Ab’amawanga
abaali batagondera Mateeka ga Musa baali basobola okufuuka abagoberezi ba Kristo? Okutegeera okw’eby’omwoyo. Okuva Katonda bwe yali asiimye Ab’amawanga abataali bakomole ng’abafukako omwoyo omutukuvu, Peetero yakitegeera nti baali bayinza okubatizibwa. Mu kiseera kye kimu, Peetero yakitegeera nti Katonda yali teyeetaaza Bakristaayo Ab’amawanga okugoberera Amateeka ga Musa balyoke babatizibwe. Singa waliwo mu kiseera ekyo, wandibadde mwetegefu okukyusa endowooza yo nga Peetero bwe yakola?Abamu Beeyongera Okugoberera ‘Omutwazi’
8. Ndowooza ki ekwata ku kukomolebwa eyali eyawukana ku ya Peetero eyatumbulwa Abakristaayo abamu abaali babeera mu Yerusaalemi, era lwaki?
8 Oluvannyuma lw’okuva mu maka ga Koluneeriyo, Peetero yagenda e Yerusaalemi. Amawulire gaali gatuuse mu kibiina ky’omu kibuga ekyo nti yali akkiriza ab’Amawanga okubatizibwa era ekyo tekyasanyusa abamu ku bayigirizwa Abayudaaya. (Ebikolwa 11:1-3) Wadde baali bakkiriza nti ab’Amawanga baali basobola okufuuka abagoberezi ba Yesu, ‘abasemba okukomolebwa’ baagamba nti abantu bano ab’amawanga baali bateekwa okukwata amateeka okusobola okulokolebwa. Ku luuyi olulala, mu bifo omwali ab’Amawanga abangi, ng’ate Abakristaayo Abayudaaya batono, okukomolebwa teyali nsonga ewakanirwako. Endowooza zino ez’emirundi ebiri zaaliwo okumala emyaka 13. (1 Abakkolinso 1:10) Nga kiteekwa okuba nga kyali kigezo kya maanyi nnyo eri Abakristaayo abo abaasooka—naddala ab’Amawanga abaali babeera mu bifo omwali Abayudaaya abangi!
9. Lwaki kyali kikulu nnyo okugonjoola ensonga y’okukomolebwa?
9 Ensonga eyo yamala n’etuuka ku ntikko mu 49 C.E., Abakristaayo okuva mu Yerusaalemi bwe bajja mu Antiyokiya eky’omu Busuuli, Pawulo gye yali abuulira. Baatandika okuyigiriza nti Ab’Amawanga abaakyuka baalina okukomolebwa nga Amateeka bwe gaali gagamba. Era waaliwo empaka nnyingi wakati waabwe ne Pawulo ne Balunabba! Singa ensonga teyagonjoolwa, Abakristaayo abamu, ka babe Abayudaaya oba Ab’amawanga, bandyesitadde. Bwe kityo, enteekateeka zaakolebwa Pawulo n’abalala batonotono okugenda e Yerusaalemi basabe Akakiiko Akafuzi okugonjoolera ddala ensonga eyo.—Ebikolwa 15:1, 2, 24.
Enjawukana mu Ndowooza—Naye Oluvannyuma Obumu!
10. Bintu ki ebimu akakiiko akafuzi bye kaasinziirako nga tebannasalawo bikwata ku b’Amawanga?
10 Mu lukuŋŋaana olwaliwo abamu bawagira okukomolebwa, ate abalala baalina endowooza ey’enjawulo. Naye tebeesigama ku nneewulira yaabwe yokka. Oluvannyuma lw’empaka nnyingi, abatume Peetero ne Pawulo baayogera obubonero Yakuwa bwe yakola mu bataali bakomole. Bannyonnyola nti Katonda yali afuse omwoyo omutukuvu ku b’Amawanga abataali bakomole. Babuuza, ‘Ekibiina Ekikristaayo kiyinza okugaana abo Katonda bakkiriza?’ Awo omuyigirizwa Yakobo n’asoma Ekyawandiikibwa ekyayamba buli Ebikolwa 15:4-17.
omu eyaliwo okutegeera Katonda kye yali ayagala ku nsonga eyo.—11. Kiki ekitaasinziirwako mu kusalawo ku kukomolebwa, era kiki ekiraga nti Yakuwa yasiima okusalawo okwo?
11 Bonna kati baali balindiridde ekyo akakiiko akafuzi kye kandisazeewo. Bandiwagidde okukomolebwa olw’okuba baali Bayudaaya? Nedda. Abasajja bano abeesigwa baali bamalirivu okugoberera Ebyawandiikibwa n’okwesigama ku bulagirizi bw’omwoyo gwa Katonda omutukuvu. Oluvannyuma lw’okuwulira obujulizi bwonna, bonna ku kakiiko akafuzi bakkiriza nti kyali tekyetaagisa Abakristaayo Ab’amawanga okukomolebwa n’okugoberera Amateeka ga Musa. Ab’oluganda bwe baawulira ekyali kisaliddwawo, baasanyuka, era ebibiina byatandika ‘okweyongera buli lunaku.’ Ab’oluganda abo abakkiriza obulagirizi bwa Katonda baafuna eky’okuddamu ekyesigamiziddwa ku Byawandiikibwa. (Ebikolwa 15:19-23, 28, 29; 16:1-5) Kyokka, waaliwo ekibuuzo ekikulu ekyalina okuddibwamu.
Ate Bo Abakristaayo Abayudaaya?
12. Kibuuzo ki ekyalekebwa nga tekigonjoddwa?
12 Akakiiko akafuzi kaakiraga bulungi nti Ab’amawanga Abakristaayo kyali tekibeetaagisa kukomolebwa. Naye ate bo Abakristaayo Abayudaaya? Ekyo akakiiko akafuzi kye kaasalawo tekyazingiramu nsonga eyo.
13. Lwaki kyali kikyamu okugamba nti kyali kyetaagisa okukwata Amateeka ga Musa okusobola okulokolebwa?
13 Abayudaaya Abakristaayo abamu ‘abanyiikirira okukwata Amateeka’ beeyongera okukomola abaana baabwe era n’okukwata ebintu ebimu mu Mateeka. (Ebikolwa 21:20) Abalala baakola n’ekisingawo, ne batuuka n’okugamba nti kyali kyetaagisa Abayudaaya Abakristaayo okukwata Amateeka okusobola okulokolebwa. Mu kino, baali bakyamu. Ng’ekyokulabirako, Omukristaayo yandiyinzizza atya okuwaayo ssaddaaka y’ebisolo ebibi bye bisobole okusonyiyibwa? Ssaddaaka ya Kristo yali eddibiza ssaddaaka ng’ezo. Ate Etteeka eryali lyetaagisa Abayudaaya obutakolagana na Bamawanga? Kyandizibuwalidde nnyo Abakristaayo abanyiikivu mu kubuulira enjiri okugoberera etteeka eryo ate ne batuukiriza omulimu gwabwe ogw’okuyigiriza Ab’amawanga byonna Yesu bye yabayigiriza. (Matayo 28:19, 20; Ebikolwa 1:8; 10:28) * Tewaliwo bujulizi bulaga nti ensonga eyo yagonjoolebwa ku zimu ku nkuŋŋaana z’akakiiko akafuzi. Wadde kyali kityo, ekibiina kyalina obuyambi.
14. Bulagirizi ki obukwata ku Mateeka obwali mu bbaluwa za Pawulo ezaaluŋŋamizibwa?
14 Obulagirizi, tebwajjira mu bbaluwa okuva eri akakiiko akafuzi, naye okuyitira mu bbaluwa endala ezaaluŋŋamizibwa okuva eri abatume. Ng’ekyokulabirako, omutume Pawulo yaweereza obubaka obw’amaanyi eri Abayudaaya n’Ab’amawanga abaali mu Rooma. Mu bbaluwa gye yabawandiikira, yabannyonnyola nti Omuyudaaya yennyini ‘ye w’omunda, n’okukomolebwa kwe kwa mu mutima mu mwoyo.’ (Abaruumi 2:28, 29) Mu bbaluwa y’emu, Pawulo yakozesa ekyokulabirako okulaga nti Abakristaayo baali tebakyali wansi w’Amateeka. Yagamba nti omukazi yali tasobola kufumbirwa basajja babiri mulundi gumu. Naye, singa bbaawe yafa, yali wa ddembe okufumbirwa. Awo Pawulo yakozesa ekyokulabirako ekyo okulaga nti Abakristaayo abaafukibwako amafuta baali tebasobola kugondera Mateeka ga Musa ate mu kiseera kye kimu ne baba ba Kristo. Baalina ‘okufa ku bikwata ku Mateeka’ basobole okugattibwa awamu ne Kristo.—Abaruumi 7:1-5.
Baalwawo Okutegeera Ensonga
15, 16. Lwaki Abakristaayo Abayudaaya abamu baalemererwa okutegeera ensonga ekwata ku Mateeka, era ekyo kiraga ki ku bwetaavu bw’okwettanira eby’omwoyo?
15 Ennyinnyonnyola ya Pawulo ekwata ku 2 Abakkolinso 4:18.
Mateeka yali teyinza kubuusibwabuusibwa. Kati olwo lwaki Abayudaaya abamu Abakristaayo baalemererwa okutegeera nti baali tebakyali wansi w’Amateeka? Ensonga emu yali nti, tebaalina kutegeera kwa bya mwoyo. Ng’ekyokulabirako, baalagajjalira okulya emmere enkalubo ey’eby’omwoyo. (Abaebbulaniya 5:11-14) Era baayosanga okugenda mu nkuŋŋaana. (Abaebbulaniya 10:23-25) Ensonga endala eyinza okuba yali ekwata ku Mateeka gennyini. Gaali geesigamye ku bintu ebyali biyinza okulabibwa n’okukwatibwako, gamba nga yeekaalu n’obwakabona. Omuntu atettanira bya mwoyo kyandimwanguyidde okukkiriza Amateeka okusinga emisingi gy’Ekikristaayo egyesigamizibwa ku bintu ebitalabika.—16 Ensonga endala lwaki Abakristaayo abamu baali baagala okukwata Amateeka yayogerwako Pawulo mu bbaluwa gye yawandiikira Abaggalatiya. Yannyonnyola nti abasajja bano baali baagala okutwalibwa ng’abantu ab’ekitiibwa, abali mu ddiini ezigobererwa abantu abasinga obungi. Mu kifo ky’okubeera ab’enjawulo mu bantu, baali beetegefu okukola kyonna okusobola okukkirizibwa abantu. Baali baagala kusiimibwa abantu okusinga Katonda.—Abaggalatiya 6:12.
17. Endowooza entuufu ekwata ku Mateeka yategeerekeka ddi?
17 Abakristaayo abaalina okutegeera, abaasoma Pawulo bye yawandiika ebyaluŋŋamizibwa n’ebirala, baasalawo ekituufu ku bikwata ku Mateeka. Kyokka, ekituufu ekikwata ku Mateeka ga Musa kyategeerekeka eri Abakristaayo Abayudaaya bonna okutandikira mu 70 C.E. Ekyo kyaliwo Katonda bwe yakkiriza Yerusaalemi, yeekaalu yaakyo, n’obuwandiike obukwata ku bwakabona okuzikirizibwa. N’olwekyo, tewali n’omu yali ayinza kutuukiriza byonna ebyali mu Mateeka.
Engeri Gye Kitukwatako Leero
18, 19. (a) Twandibadde na ndowooza ki era twandyewaze ndowooza ki okusobola okubeera abalamu mu by’omwoyo? (b) Ekyokulabirako kya Pawulo kituyigiriza ki ku kugoberera obulagirizi bw’ab’oluganda abalina obuvunaanyizibwa? (Laba akasanduuko ku lupapula 16.)
18 Oluvannyuma lw’okwetegereza bino ebyaliwo edda ennyo, oboolyawo weebuuza: ‘Singa nnaliwo mu kiseera ekyo, kiki kye nandikoze nga Katonda by’ayagala bigenda bibikkulwa mpolampola? Nandiremedde ku Mateeka oba nandibadde mugumiikiriza okutuusa ng’ekituufu ku mateeka kyeyolese? Bwe kyandyeyolese, nandikyusizza endowooza yange?’
19 Kyo kituufu tetuyinza kumanya ngeri gye twandyeyisizzaamu singa twaliwo mu kiseera ekyo. Naye tuyinza okwebuuza: ‘Neeyisa ntya bwe wabaawo okutegeera okuppya ku njigiriza y’omu Baibuli? (Matayo 24:45) Bwe tufuna obulagirizi okuva mu Byawandiikibwa, ngezaako okubugoberera, ne si gugubira ku buwandiike bw’ekyo ekitutegeezeddwa kyokka ne ngoberera emisingi egibulimu? (1 Abakkolinso 14:20) Nnindirira Yakuwa singa ebimu ku bibuuzo byange biba tebiddiddwamu?’ Kikulu okukozesa obulungi emmere ey’eby’omwoyo eriwo leero, tuleme ‘okuwaba ne tubivaako.’ (Abaebbulaniya 2:1) Yakuwa bw’atuwa obulagirizi okuyitira mu Kigambo kye, omwoyo gwe n’entegeka ye ey’oku nsi, tuwulirize n’obwegendereza. Bwe tunaakola bwe tutyo, Yakuwa ajja kutuwa obulamu obutaggwaawo obw’essanyu era obumatiza.
[Obugambo obuli wansi]
^ lup. 13 Peetero bwe yakyalira Antiyokiya eky’omu Busuuli, yakolagana bulungi n’abakkiriza Ab’amawanga. Kyokka, Abakristaayo Abayudaaya bwe bajja okuva e Yerusaalemi, Peetero “yeeyawula n’abawukanako, ng’atya abakomole.” Tuyinza okuteebereza engeri Ab’amawanga abo abaakyuka gye baayisibwamu omutume eyali assibwamu ekitiibwa bwe yagaana okulya nabo.—Abaggalatiya 2:11-13.
Wandizzeemu Otya?
• Amateeka ga Musa gaali ‘mutwazi eri Kristo’ mu ngeri ki?
• Wandinnyonnyodde otya enjawulo wakati wa Peetero ‘n’abaasemba okukomolebwa’ bwe waaliwo enkyukakyuka mu kutegeera amazima?
• Kiki ky’oyize ku ngeri Yakuwa gy’abikkulamu amazima leero?
[Ebibuuzo]
[Akasanduuko/Ekifaananyi ku lupapula 16]
Mu Bwetoowaze Pawulo Ayolekagana n’Ekigezo
Oluvannyuma lw’olugendo lw’obuminsani, Pawulo yatuuka mu Yerusaalemi mu 56 C.E. Ng’ali eyo yayolekagana n’ekigezo. Bye yali ayigiriza nti Amateeka gaali tegakyabafuga, byali bituuse mu kibiina. Abakadde baali beeraliikirivu nti Abayudaaya abaali baakafuuka Abakristaayo bandyesitadde olw’ebyo Pawulo bye yayogera ku Mateeka era bandibadde bayinza n’okusalawo nti Abakristaayo baali tebassa kitiibwa mu nteekateeka ya Yakuwa. Mu kibiina mwalimu Abayudaaya Abakristaayo bana abaali beeyamye, oboolyawo obutanywa mwenge. Baalinanga okugenda mu yeekaalu okutuukiriza ebyali byetaagisibwa olw’okweyama okwo.
Abakadde baasaba Pawulo okuwerekera abana abo mu yeekaalu n’okusasulira bye baali beetaaga. Pawulo yali awandiise ebbaluwa bbiri mwe yagambira nti kyali tekyetaagisa kukwata Mateeka okusobola okufuna obulokozi. Kyokka, yali afaayo ku muntu ow’omunda ow’abalala. Emabegako yali awandiise nti: ‘Eri abali wansi w’Amateeka nnafuuka ng’atalina mateeka nsobole okufuna abali wansi w’amateeka.’ (1 Abakkolinso 9:20-23) Nga teyekkiriranyizza misingi mikulu egy’omu Byawandiikibwa, yakitwala nti yali asobola okukkiriza ebirowoozo by’abakadde. (Ebikolwa 21:15-26) Tekyali kikyamu kukola bw’atyo. Tewaliwo kikontana na byawandiikibwa ku nteekateeka y’okweyama, era yeekaalu yali ekozesebwa mu kusinza okulongoofu so si kusinza bifaananyi. Nga tayagala kwesittaza balala, Pawulo yakola nga bwe yagambibwa. (1 Abakkolinso 8:13) Awatali kubuusabuusa kino kyali kyetaagisa Pawulo okubeera omwetoowaze, ekintu ekituleetera okweyongera okumussaamu ekitiibwa.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]
Okumala emyaka, Abakristaayo baalina endowooza ezaawukana ku Mateeka ga Musa