Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abavubuka Mukulaakulana mu by’Omwoyo?

Abavubuka Mukulaakulana mu by’Omwoyo?

Abavubuka Mukulaakulana mu by’Omwoyo?

“WADDE nga nali ŋŋenda mu nkuŋŋaana ez’Ekikristaayo, nnali saagala kuweereza Yakuwa,” bw’atyo Hideo bwagamba, bw’ajjukira ekiseera ng’akyali mu ssomero lya sekendule. “Emirundi mingi nnakubanga ekifaananyi nga ndi mututumufu mu basomi bannange era nga ntambula ku luguudo ne muganzi wange. Saalina biruubirirwa bikakafu era seegomba kukulaakulana mu by’omwoyo.” Okufaananako Hideo, abavubuka bangi tebaagala kweteerawo biruubirirwa wadde okulaakulana mu by’omwoyo.

Bw’oba ng’oli muto, oboolyawo osanyuka bwe wenyigira mu mizannyo. Kyokka, bwe kituuka ku bintu eby’omwoyo, oyinza obutasanyuka. Kisoboka okufuna essanyu bwe kituuka ku biruubirirwa eby’omwoyo? Lowooza ku bigambo bino eby’omuwandiisi wa Zabbuli: “Etteeka lya Mukama lyatuukirira, likomyawo emmeeme, okutegeeza kwa Mukama kunywevu, okuwa abasirusiru [“abatalina bumanyirivu,” NW] amagezi. . . . Ekiragiro kya Mukama kirongoofu, ekyakira amaaso.” (Zabbuli 19:7, 8) Ekigambo kya Katonda kiyamba “abatalina bumanyirivu” okweyisa mu ngeri ey’amagezi ne ‘kitangaaza amaaso gaabwe.’ Yee, oyinza okufuna essanyu bwe wenyigira mu bintu eby’omwoyo. Naye kiki ekyetaagisa okufuna essanyu ng’eryo? Wanditandikidde wa?

Kubirizibwa Okuweereza Katonda

Okusooka, olina okubeera n’ekikukubiriza. Lowooza ku ebyo ebikwata ku Kabaka wa Yuda omuto Yosiya. Ekitabo ky’amateeka ga Yakuwa bwe kyazuulibwa mu yeekaalu, Yosiya yasaba kisomebwe era bye yawulira byamukwatako nnyo. N’ekyavaamu, “Yosiya [y]’aggya emizizo gyonna mu nsi zonna ez’abaana ba Isiraeri.” (2 Ebyomumirembe 34:14-21, 33) Okusoma Ekigambo kya Katonda kwakubiriza Yosiya okutumbula ennyo okusinza okulongoofu.

Naawe osobola okukulaakulanya okwagala okuweereza Yakuwa singa osoma Baibuli obutayosa era n’ofumiitiriza ku ebyo by’osoma. Ekyo kye kyakubiriza Hideo okubaako ky’akolawo. Hideo yatandika okukolagana ne payoniya omukulu mu myaka, Omujulirwa wa Yakuwa aweereza ekiseera kyonna. Payoniya yali musomi wa Baibuli omukuukuutivu era ng’afuba okusa mu nkola okuyigiriza kwayo mu bulamu bwe. Ng’azziddwamu nnyo amaanyi ekyokulabirako kya payoniya, Hideo yatandika okukola kye kimu, era n’afuna okwagala okw’amaanyi ennyo okuweereza Katonda n’abantu abalala. Okukulaakulana mu by’omwoyo kyamuviiramu okufuna amakulu mu bulamu.

Okusoma Baibuli buli lunaku kisobola okukubiriza abo abakyali abato. Takahiro annyonnyola: “Buli lwe nnagendanga okwebaka kyokka ne nzijjukira nti sinnasoma Baibuli olunaku olwo, nnagolokokanga ne ngisoma. N’ekyavaamu, nnawulira nti Yakuwa anuŋŋamya. Okusoma Baibuli buli lunaku kwakola kinene nnyo mu kukulaakulana kwange okw’eby’omwoyo. Nga mmaliridde okwenyigira mu buweereza bwa Yakuwa mu ngeri esingawo, nnatandika okuweereza nga payoniya owa bulijjo amangu ddala nga nnaakamaliriza emisomo gyange. Era nnyumirwa nnyo okuweereza nga payoniya.”

Ng’oggyeko okusoma Baibuli, kiki ekirala ekiyinza okukuyamba okweyongera okutendereza Yakuwa? Tomohiro yayigirizibwa maama we amazima ga Baibuli. Agamba: “Bwe nnamaliriza okusoma akatabo, Life Does Have a Purpose ku myaka 19 nnawulira nga nkwatiddwako nnyo okwagala kwa Yakuwa n’ekinunulo kya Yesu. Okusiima okwagala kwa Katonda kyankubiriza okukola ekisingawo mu buweereza bwa Yakuwa.” (2 Abakkolinso 5:14, 15) Okufaananako Tomohiro, abavubuka bangi bakubirizibwa okukulaakulana mu by’omwoyo nga banyiikirira okwesomesa Baibuli.

Wadde ng’okoze ekyo, kiba kitya singa era owulira nga toyagala kuweereza Yakuwa? Waliwo gw’oyinza okukyukira okufuna obuyambi? Omutume Pawulo yawandiika: ‘Katonda yakolera mu mmwe okubaagazisa n’okubasobozesa okukola by’ayagala.’ (Abafiripi 2:13) Bw’osaba Yakuwa obuyambi, ajja kukuwa omwoyo omutukuvu gukuyambe, si “okukola” kyokka, naye era ‘n’okwagala okukola by’ayagala.’ Kino kitegeeza nti omwoyo gwa Katonda gujja kusobozesa okwagala okukola ekisingawo mu buweereza bwa Yakuwa n’okukulaakulana mu by’omwoyo. Fuba nga bw’osobola okwesiga amaanyi ga Yakuwa era nnyweza omutima gwo!

Weeteerewo Ebiruubirirwa

Bw’oba omaliridde okuweereza Yakuwa mu ngeri esingawo, weetaaga okuteekawo ebiruubirirwa okusobola okukulaakulana mu by’omwoyo. Mana, omuwala omuto Omukristaayo, yagamba: “Okuteekawo ebiruubirirwa kyannyamba nnyo. Mu kifo ky’okudda emabega nnasobola okweyongera mu maaso n’obuvumu. Nga nnina ebiruubirirwa byange mu birowoozo, nnasaba Yakuwa okumpa obulagirizi, era nnasobola okukulaakulana nga tewali kimpugula.”

Ebiruubirirwa byo birina okuba ebyo ebisaanira era ebisobola okutuukibwako. Okusoma essuula emu buli lunaku kiyinza okuba ekiruubirirwa ekisoboka. Era osobola okutandika okunoonyereza ku bintu. Okuwa ekyokulabirako ku kino nga tukozesa ebyo ebiriwo mu Lungereza, oyinza okusoma ku ngeri za Yakuwa wansi w’omutwe omutono “Qualities by Name” wansi w’omutwe “Jehovah” mu Watch Tower Publications Index. Mulimu emitwe nga 40 gy’oyinza okunoonyerezaako, era tewali kubuusabuusa okunoonyereza okwo kujja kukusembeza kumpi ne Yakuwa, era kukubirize okumukolera ekisingawo. Ebiruubirirwa ebirala ebiyinza okutuukibwako bizingiramu okubaako ky’oddamu wadde omulundi gumu mu buli lukuŋŋaana olw’Ekikristaayo, okumanya ekisingawo waakiri omuntu omu mu kibiina mu buli lukuŋŋaana, era n’olunaku obutaggwaako nga tosabye Yakuwa oba okumwogerako eri abalala.

Bw’oba nga tonaaba kwewandiisa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda, ekyo kyandibadde ekiruubirirwa ekirungi gy’oli. Obadde wenyigira mu buweereza? Bw’oba obadde tonnaba oyinza okutandika okukolerera okufuuka omubuulizi atali mubatize. Okulowooza ennyo ku nkolagana yo ne Yakuwa era ne weewaayo gy’ali bye bintu bye wandizeeko okukola. Abavubuka bangi bafuba okutuukagana n’okwewaayo kwabwe nga baluubirira okwenyigira mu buweereza obw’ekiseera kyonna.

Wadde nga kirungi okubeera n’ebiruubirirwa mu bulamu bwo, weewale omwoyo ogw’okuvuganya. Ojja kufuna essanyu erisingawo singa teweegeraageranya ku balala.​—Abaggalatiya 5:26; 6:4.

Oboolyawo oyinza okwewulira nti tolina bumanyirivu era ne kikuzibuwalira okweteerawo ebiruubirirwa ebisaanira. Kati goberera okubuulirira kwa Baibuli: “Tega okutu kwo owulire ebigambo eby’ab’amagezi.” (Engero 22:17) Saba bazadde bo oba Abakristaayo abalala abakuze mu by’omwoyo okukuyamba. Abazadde n’abantu abalala beetaaga okuba n’endowooza ennuŋŋamu era nga bazzaamu amaanyi ku nsonga eno. Singa abavubuka beewulira nga bakakibwa okutuukiriza ebiruubirirwa abalala bye babateereddewo kiyinza okubamalako essanyu ne kiremesa n’ekigendererwa eky’okuteekawo ebiruubirirwa. Kino kyatuuka ku muwala omu, era agamba bw’ati: “Bazadde bange banteerawo ebiruubirirwa bingi nga, okwewandiisa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda, okwenyigira mu buweereza, okubatizibwa, n’okufuuka payoniya. Nnafuba nnyo okutuuka ku buli kiruubirirwa. Bwe nnatuukanga ku kiruubirirwa ekimu bazadde bange tebansiimanga wabula banteerawo buteezi ekiruubirirwa ekirala. N’ekyavaamu, nnawulira ng’akakibwa okutuuka ku biruubirirwa ebyo. Nnawulira nga nkooye era nga siri mumativu.” Kiki ekyasoba? Ebiruubirirwa byonna byali birungi, naye tebyavanga ku mutima gwe. Okutuuka ku buwanguzi gwe kennyini oteekwa okwekubiriza nga weeteekerawo ebiruubirirwa!

Lowooza ku Yesu Kristo. Bwe yajja ku nsi, yamanya Kitaawe, Yakuwa, kye yali omusuubiramu. Eri Yesu, okukola Yakuwa by’ayagala tekyali kiruubirirwa buluubirirwa, naye era omulimu ogwalina okutuukirizibwa. Yesu yatunuulira atya omulimu guno? Yagamba: “Eky’okulya kyange kwe kukolanga eyantuma by’ayagala n’okutuukiriza omulimu gwe.” (Yokaana 4:34) Yesu yasanyukira okukola Yakuwa by’ayagala era n’atuukana n’ekyo Kitaawe kye yali amusuubiramu. Okukola Kitaawe by’ayagala Yesu yakitwala ng’okulya emmere​—yafuna essanyu n’obumativu mu kumaliriza omulimu gwe yalina okutuukiriza. (Abaebbulaniya 10:5-10) Naawe osobola okufuna essanyu bw’otuukiriza ekyo bazadde bo kye bakukubiriza okukola.

Toddiriranga mu Kukola Ebirungi

Bw’oba olina ekiruubirirwa mu birowoozo, kola nnyo okukituukako. Abaggalatiya 6:9 wagamba: “Tuleme okuddiriranga mu kukola obulungi, kubanga ebiro bwe birituuka tulikungula, nga tetuzirise.” Teweesigama ku maanyi go. Oyinza okufuna ebizibu oba emirundi egimu n’okulemererwa. Naye Baibuli etukakasa: “Mwatulenga mu makubo go gonna, kale anaaluŋŋamyanga olugendo lwo.” (Engero 3:6) Yakuwa ajja kubeera naawe ng’ofuba okutuuka ku biruubirirwa byo eby’omwoyo.

Yee, bw’okulaakulanya okwagala okuweereza Yakuwa era n’otuuka ku biruubirirwa byo eby’omwoyo, ‘okukulaakulana kwo kujja kulabika eri bonna.’ (1 Timoseewo 4:15) Awo ojja kuba n’obulamu obw’amakulu ng’oweereza Katonda.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 31]

Okusoma Baibuli era n’okufumiitiriza ku ebyo bye tusomye kijja kukukubiriza okuweereza Yakuwa

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 32]

Yesu yatuukiriza ekyo Kitaawe kye yali amusuubiramu