Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Eky’Ekiro Ekyasembayo Kye Ki?

Eky’Ekiro Ekyasembayo Kye Ki?

Eky’Ekiro Ekyasembayo Kye Ki?

EKY’EKIRO ekyasembayo kye ki, era kirina makulu ki eri abantu abaliwo leero mu kyasa ekya 21? Ebitabo ebinnyonnyola amakulu g’ebigambo bijja kukutegeeza nti, Eky’Ekiro Ekyasembayo era ekiyitibwa Eky’Ekiro kya Mukama waffe, kye kijjulo Yesu kye yaliira awamu n’abatume be akawungeezi ako nga tannaba kuwaayo bulamu bwe nga ssaddaaka. Olw’okuba kye ky’ekiro Yesu kye yasembayo okuliira awamu n’abagoberezi be abeesigwa, kimanyiddwa ng’Eky’Ekiro Ekyasembayo. Ate era olw’okuba kyatandikibwawo Mukama waffe Yesu Kristo kennyini, erinnya Eky’Ekiro kya Mukama Waffe lituukirawo bulungi.

Okumala ebyasa bingi, bangi bawaddeyo obulamu bwabwe olw’ebyo bye batwala okuba ebikulu ennyo. Okufa kw’abamu ku abo kulina be kwaganyula okumala ekiseera. Kyokka tewaliiwo kufa kwonna okw’engeri eyo, ka kube nti kutenderezebwa kutya, kuyinza kugeraageranyizibwa ku kufa kwa Yesu Kristo. Ate era tewaliwo kufa kwa muntu yenna mu byafaayo by’olulyo lw’omuntu okuyinza okubaako eky’amaanyi kye kukola ku bantu mu nsi yonna. Lwaki?

Okusobola okuddamu ekibuuzo ekyo, n’okukuyamba okutegeera Eky’Ekiro kya Mukama Waffe kye kitegeeza gy’oli, tukukubiriza okusoma ekitundu ekiddako.