Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Eky’Ekiro kya Mukama Waffe Kirina Amakulu Mangi gy’Oli

Eky’Ekiro kya Mukama Waffe Kirina Amakulu Mangi gy’Oli

Eky’Ekiro kya Mukama Waffe Kirina Amakulu Mangi gy’Oli

EKY’EKIRO kya Mukama waffe kirina amakulu gy’oli? Okusobola okuddamu ekibuuzo ekyo, ka tusooke tulabe amakulu Yesu Kristo kennyini ge yakwataganya n’omukolo guno ogw’enjawulo.

Mu kawungeezi aka Nisani 14, 33 C.E., Yesu Kristo awamu n’abatume be 12, baakuŋŋaanira mu Yerusaalemi mu kisenge ekya waggulu okukwata embaga ey’Okuyitako eyabangawo buli mwaka. Nga bamaze okulya ekijjulo ky’embaga ey’Okuyitako, kkalinkwe Yuda yafuluma ebweru okugenda okulyamu Yesu olukwe. (Yokaana 13:21, 26-30) Nga asigadde n’abatume 11, Yesu yatandikawo “Eky’Ekiro kya Mukama waffe.” (1 Abakkolinso 11:20, NW) Era kiyitibwa Ekijjukizo olw’okuba Yesu yalagira abagoberezi be nti: “Mukolenga kino ng’ekijjukizo kyange.” Guno gwe mukolo gwokka Abakristaayo gwe balagirwa okukwata.​—1 Abakkolinso 11:24, The Jerusalem Bible.

Okusinziira ku nkuluze eyitibwa Webster, ekijjukizo kye kintu ekiyamba “okujjukira” oba “ekitujjukiza.” Mu bitundu bingi abantu bazimba ebijjukizo, oba balondawo olunaku olw’okujjuukirirangako omuntu oba ekintu kyonna eky’enjawulo. Mu ngeri eno, Yesu yatandikawo ekijjukizo​—ekijjulo ekyandiyambye abagoberezi be obuteerabira bintu ebikulu ennyo ebyaliwo ku lunaku olwo olw’enjawulo. Mu mirembe egyandiddiridde, ekijjulo kino kyandijjukizza abandikibaddeko amakulu g’ebyo Yesu bye yakola ekiro ekyo, naddala obubonero bwe yakozesa. Bubonero ki Yesu bwe yakozesa era butegeeza ki? Ka twetegereze Baibuli ky’egamba ku ebyo ebyaliwo ekiro ekyo mu 33 C.E.

Obubonero Obukulu Ennyo

N’addira omugaati ne yeebaza n’agumenyamu, n’abawa ng’agamba nti Guno gwe [“gutegeeza,”NW”] mubiri gwange oguweebwayo ku lwammwe: mukolenga bwe mutyo okunjijukiranga nze.”​—Lukka 22:19.

Yesu bwe yatoola omugaati n’agamba nti, ‘kino kitegeeza mubiri gwange,’ yali ategeeza nti omugaati ogutaalimu kizimbulukusa gwali gukiikirira omubiri gwe ogutaalina kibi gwe yawaayo “olw’obulamu bw’ensi.” (Yokaana 6:51) Newakubadde ng’enzivuunula za Baibuli ezimu zigamba nti “guno gwe [mu Luyonaani, es·tin] mubiri gwange,” ekitabo kya Thayer ekiyitibwa Greek-English Lexicon of the New Testament kigamba nti, ekigambo kino emirundi mingi, kiba kitegeeza “okukiikirira.”​—Matayo 26:26.

Era bw’atyo bwe yayogera ne ku kikompe ky’enviinyo. Yesu yagamba: “Ekikompe kino ye [“kitegeeza,” “NW”] ndagaano empya mu musaayi gwange, oguyiika ku lwammwe.”​—Lukka 22:20.

Mu Njiri ya Matayo, Yesu yagamba bw’ati ku bikwata ku kikompe: “Kino gwe [“kitegeeza,NW] musaayi gwange ogw’endagaano, oguyiika ku lw’abangi olw’okuggyawo ebibi.” (Matayo 26:28) Yesu yali akozesa enviinyo eyali mu kikompe ng’akabonero akakiikirira omusaayi gwe kennyini. Omusaayi gwa Yesu gwe gwandibadde gusinziirwako okuteekawo “endagaano empya” eri abagoberezi be abaafukibwako amafuta, abandifuze nga bakabaka era bakabona wamu naye mu ggulu.​—Yeremiya 31:31-33; Yokaana 14:2, 3; 2 Abakkolinso 5:5; Okubikkulirwa 1:5, 6; 5:9, 10; 20:4, 6.

Enviinyo mu kikompe era ekola nga akabonero akatujjukiza nti omusaayi gwa Yesu ogwayiibwa gwe gwandibadde gusinziirwako ‘okusonyiyibwa ebibi,’ bwe kityo ne kisobozesa abo abalyaako okuyitibwa mu bulamu obw’omu ggulu okufugira wamu ne Kristo. Kitegeerekeka bulungi nti abo abalina okuyitibwa kuno okw’omu ggulu​—omuwendo omugereke​—be bokka abalya ku mugaati, n’okunywa ku nviinyo ku mukolo gw’Ekijjukizo.​—Lukka 12:32; Abaefeso 1:13, 14; Abaebbulaniya 9:22; 1 Peetero 1:3, 4.

Ate kiri kitya eri abagoberezi ba Yesu abatali mu ndagaano mpya? Bano ze ‘ndiga endala’ eza Mukama waffe abatajja kufugira wamu ne Kristo mu ggulu, kyokka nga bajja kunyumirwa obulamu obutaggwaawo mu lusuku lwa Katonda ku nsi. (Yokaana 10:16; Lukka 23:43; Okubikkulirwa 21:3, 4) Nga “ekibiina ekinene” eky’Abakristaayo abeesigwa ‘abaweereza Katonda emisana n’ekiro,’ basanyufu nnyo okubeerawo ku ky’Ekiro kya Mukama Waffe ng’abatunuulizi. Okuyitira mu bigambo n’ebikolwa byabwe bagamba nti: “Obulokozi buba bwa Katonda waffe atudde ku ntebe n’eri Omwana gw’endiga.”​—Okubikkulirwa 7:9, 10, 14, 15.

Buli Ddi?

“Mukolenga bwe mutyo okunjijukiranga nze.”​—Lukka 22:19.

Ekijjukizo kirina kukuzibwa buli ddi okusobola okujjukira okufa kwa Kristo? Yesu talina kye yagamba ku nsonga eno. Kyokka, olw’okuba yatandikawo omukolo gw’Eky’Ekiro kya Mukama waffe nga Nisaani 14, akawungeezi akaalirwangako embaga ey’Okuyitako Abaisiraeri gye baakuzanga buli mwaka, kirabika nti Yesu yayagala ekijjukizo kikuzibwenga mu ngeri y’emu. Buli mwaka Abaisiraeri baakuzanga okununulibwa kwabwe okuva mu buddu e Misiri, ate Abakristaayo bo bakuza okununulibwa kwabwe okuva mu buddu bw’ekibi n’okufa.​—Okuva 12:11, 17; Abaruumi 5:20, 21.

Okubeera n’omukolo ogw’okujjukirirangako ekintu ekikulu buli mwaka, si kippya n’akamu. Ng’ekyokulabirako, abafumbo bakuza olunaku lw’embaga yaabwe, eggwanga likuza ebintu ebikulu ebibaawo mu byafaayo byalyo. Emikolo egy’engeri ng’eyo gitera okubaawo omulundi gumu mu mwaka ku lunaku ekintu ekyo lwe kyabeererawo. Ekyewuunyisa, okumala ebyasa ebiwerako nga Kristo avuddewo, bangi abeeyitanga Abakristaayo baali bayitibwa Quartodecimans ekitegeeza “Ab’olw’Ekkumi n’ennya,” kubanga baakuzanga okufa kwa Yesu omulundi gumu mu mwaka nga Nisaani 14.

Mwangu Kyokka Gulina Amakulu Mangi

Omutume Pawulo yannyonnyola nti okukuzanga Eky’Ekiro kya Mukama waffe kwandisobozesezza abagoberezi ba Yesu ‘okwolesanga okufa kwe.’ (1 Abakkolinso 11:26) N’olwekyo omukolo guno gwanditadde essira ku kintu ekikulu ennyo Yesu kye yakola okuyitira mu kufa kwe ng’atuukiriza ekigendererwa kya Katonda.

Olw’okubeera omwesigwa okutuukira ddala ku kufa, Yesu Kristo yagulumiza Yakuwa Katonda ng’Omutonzi ow’amagezi era ow’okwagala ate era Omufuzi omutuukirivu ow’Obutonde Bwonna. Nga kimenyawo ekyo Setaani kye yagamba, Yesu, obutafaananako Adamu yalaga nti kisoboka omuntu okusigala nga mwesigwa eri Katonda, wadde ng’ali mu kugezesebwa okw’amaanyi ennyo.​—Yobu 2:4, 5.

Ate era, Eky’ekiro kya Mukama waffe kituyamba obuteerabira kwagala kwa Yesu okw’okwerekereza. Newakubadde nga yagezesebwa nnyo, Yesu yasigala nga muwulize eri Kitaawe. N’olwekyo, yali asobola okuwaayo obulamu bwe ng’omuntu atuukiridde okutununula okuva mu kibi kya Adamu. Nga Yesu kennyini bwe yannyonnyola, yajja “okuwaayo obulamu bwe ekinunulo eky’abangi.” (Matayo 20:28) N’olwekyo, abo bonna abakkiririza mu Yesu basobola okusonyiyibwa ebibi byabwe ne bafuna obulamu obutaggwaawo ng’ekigendererwa kya Katonda eri olulyo lw’omuntu bwe kyali olubereberye.​—Abaruumi 5:6, 8, 12, 18, 19; 6:23; 1 Timoseewo 2:5, 6. *

Bino byonna era biraga obulungi bwa Yakuwa obw’ensusso n’ekisa kye ekingi ennyo mu kukolera abantu enteekateeka ey’obulokozi. Baibuli egamba bw’eti: “Ku kino okwagala kwa Katonda kwe kwalabisibwa gye tuli, kubanga Katonda yatuma mu nsi Omwana we eyazaalibwa omu tulyoke tube abalamu ku bw’oyo. Mu kino mwe muli okwagala, so si nga ffe twayagala Katonda, naye nga ye yatwagala ffe, n’atuma omwana we okuba omutango olw’ebibi byaffe.”​—1 Yokaana 4:9, 10.

Yee, ng’Ekijjukizo mukolo mukulu nnyo! Mwangu ate era gusobola okukolebwa okwetooloola ensi mu mbeera ez’enjawulo, kyokka nga gulina amakulu mangi ag’akabonero okusobola okubeera ekijjukizo okumala ebbanga ggwanvu.

Amakulu Gaakyo gy’Oli

Mukama waffe Yesu Kristo okuwaayo obulamu bwe nga ssaddaaka, kwali kwefiiriza kwa maanyi nnyo ku ludda lwe ne ku lwa Yakuwa Katonda. Ng’omuntu atuukiridde, Yesu teyalina kibi kisikire nga ffe. (Abaruumi 5:12; Abaebbulaniya 7:26) Yandibadde asobola okubaawo emirembe gyonna. Era n’obulamu bwe bwali tebuyinza kumuggibwako lwa mpaka nga takkirizza. Yagamba nti: “tewali abunzi[g]yako, naye nze nzekka mbuwaayo.”​—Yokaana 10:18.

Kyokka, kyeyagalire, Yesu, yawaayo obulamu bwe obutuukiridde nga ssaddaaka okusobola ‘okuzikiriza oyo aleeta okufa, Setaani; era alyoke abawe eddembe abo bonna abali mu buddu obulamu bwabwe bwonna olw’entiisa y’okufa.’ (Abaebbulaniya 2:14, 15) Okwagala kwa Yesu okw’okwerekereza era kweyoleka bulungi mu ngeri gye yafaamu. Yali amanyi bulungi engeri gye yali agenda okubonaabonamu n’okufa.​—Matayo 17:22; 20:17-19.

Ekijjukizo era kitujjukiza ekikolwa ekisingirayo ddala okwoleka okwagala Kitaffe ow’omu ggulu Yakuwa Katonda kye yalaga. Nga kyamunakuwaza nnyo oyo ‘ow’ekisa ekingi n’okusaasira,’ okuwulira era n’okulaba ‘nga Yesu akaaba amaziga’ mu nnimiro ey’e Gesusemane, ng’akubibwa embooko mu ngeri ey’obukambwe, ng’akomererwa era ng’afa empolampola mu bulumi obungi. (Yakobo 5:11; Abaebbulaniya 5:7; Yokaana 3:16; 1 Yokaana 4:7, 8) Okulowooza obulowooza ku nfa eyo kati nga wayise ebyasa bingi, kuleetera bangi okunyolwa.

Kale teebereza omuwendo omunene bwe gutyo Yakuwa Katonda ne Yesu Kristo gwe baasasulira ffe aboonoonyi! (Abaruumi 3:23) Buli lunaku twolekagana n’obulumi obuva mu bwonoonyi bwaffe era n’obutali butuukirivu. Kyokka, olw’okukkiririza mu ssaddaaka ya Yesu, tusobola okwegayirira Katonda okutusonyiwa. (1 Yokaana 2:1, 2) Kino kituwa eddembe okwogera ne Katonda era n’omuntu ow’omunda omuyonjo. (Abaebbulaniya 4:14-16; 9:13, 14) Ate era, tulina essuubi ery’okuba abalamu emirembe gyonna mu lusuku lwa Katonda ku nsi. (Yokaana 17:3; Okubikkulirwa 21:3, 4) Gino n’emikisa emirala mingi gye giva mu kikolwa kya Yesu ekikulu ennyo eky’okwewaayo.

Okusiima eky’Ekiro kya Mukama Waffe

Awatali kubuusabuusa Eky’Ekiro kya Mukama Waffe kabonero kakulu akooleka ‘ekisa kya Katonda eky’ensusso ekitaatugwanira.’ Era n’enteekateeka ya Yakuwa Katonda ey’ekinunulo eyasobola okubaawo olw’okwagala kwa Yesu okw’okwerekereza, ddala “kirabo kye ekitayogerekeka.” (2 Abakkolinso 9:14, 15) Ebikolwa bino ebiraga obulungi bwa Katonda okuyitira mu Yesu Kristo tebikuleetera kuba n’okusiima okw’amaanyi ennyo?

Tuli bakakafu nti ddala bikuleetera okusiima ng’okwo. N’olwekyo tukwaniriza n’essanyu okukuŋŋaanira awamu n’Abajulirwa ba Yakuwa nga bajjukira okufa kwa Yesu. Omwaka guno ekijjukizo kijja kubaawo ku Lw’okusatu nga Apuli 16, oluvannyuma lw’enjuba okugwa. Abajulirwa ba Yakuwa mu kitundu kyo bajja kusanyuka okukutegeeza ekiseera kyennyini n’ekifo awanaabeera omukolo guno omukulu ennyo.

[Obugambo obuli wansi]

^ lup. 19 Okumanya ebisingawo ebikwata ku kinunulo, laba akatabo Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo, akakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

[Akasanduuko/Ebifaananyi ebiri ku lupapula 6]

“GUNO GWE MUBIRI GWANGE” OBA “KINO KITEGEEZA MUBIRI GWANGE” EKITUUFU KYE KIRUWA?

Yesu bwe yagamba nti, “Nze mulyango” era nti “Nze muzabbibu ogw’amazima,” tewali n’omu yalowooza nti Yesu yali mulyango oba omuzabbibu gwennyini. (Yokaana 10:7; 15:1) Mu ngeri y’emu, enkyusa ya Baibuli eya The New Jerusalem Bible bw’ejuliza bw’eti ebigambo bya Yesu: “Ekikompe kino ye ndagaano empya,” tetuyinza kugamba nti ekikompe kyennyini kye kyali endagaano empya. N’olwekyo Yesu bwe yagamba nti omugaati gwe ‘gwali’ omubiri gwe, awatali kubuusabuusa omugaati gwali gutegeeza oba gwali gukiikirira omubiri gwe. Nolw’ekyo, enzivuunula ya Charles B. Williams egamba: “Kino kikiikirira omubiri gwange.”​—Lukka 22:19, 20.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 5]

Omugaati ogutali muzimbulukuse n’enviinyo bubonero obukiikirira omubiri gwa Yesu ogutaalina kibi n’omusaayi gwe ogwayiibwa

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 7]

Omukolo gw’Ekijjukizo gutujjukiza okwagala okw’amaanyi Yakuwa Katonda ne Yesu Kristo kwe baalaga