Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Gezaako Okutunuulira Abalala nga Yakuwa bw’Abatunuulira

Gezaako Okutunuulira Abalala nga Yakuwa bw’Abatunuulira

Gezaako Okutunuulira Abalala nga Yakuwa bw’Abatunuulira

“Mukama talaba ng’abantu bwe balaba.”​—1 SAMWIRI 16:7.

1, 2. Engeri Yakuwa gye yatunuuliramu Eriyaabu yayawukana etya ku ya Samwiri, era kiki kye tuyinza okuyigira ku kino?

MU KYASA ekya 11 B.C.E., Yakuwa alina omulimu gwe yawa nnabbi Samwiri okukola mu kyama. Yalagira nnabbi okugenda mu nnyumba y’omusajja ayitibwa Yese era afuke amafuta ku omu ku batabani be asobole okubeera kabaka wa Isiraeri mu biseera eby’omu maaso. Samwiri bwe yakuba ekimunye ku mutabani wa Yese omukulu, Eriyaabu, yali mukakafu nti yali asanze oyo Katonda gwe yali alonze. Naye Yakuwa yamugamba: “Totunuulira maaso ge newakubadde embala ye bw’eri empanvu; kubanga mugaanyi: kubanga Mukama talaba ng’abantu bwe balaba; kubanga abantu batunuulira okufaanana okw’okungulu, naye Mukama atunuulira mutima.” (1 Samwiri 16:6, 7) Samwiri yali alemereddwa okutunuulira Eriyaabu nga Yakuwa bwe yali amutunuulira. *

2 Nga kyangu nnyo abantu okufuna ekifaananyi ekikyamu ku bannaabwe! Ku luuyi olumu, tuyinza okusikirizibwa abantu abalabika ng’ab’empisa ennungi so ng’ate munda si kye bali. Ate ku luuyi olulala, tuyinza okutunuulira obubi abantu abeesimbu abalina engeri ezitatusikiriza.

3, 4. (a) Singa ekizibu kibalukawo wakati w’Abakristaayo babiri, buli omu ku bo yandibadde mumalirivu kukola ki? (b) Bibuuzo ki bye tulina okwebuuza singa tufuna obutategeeragana obw’amaanyi ne mukkiriza munnaffe?

3 Wayinza okubalukawo ebizibu ne twanguwa okusalira abalala omusango​—wadde n’abo be tumaze emyaka nga tubamanyi. Oboolyawo obadde n’oluyombo olw’amaanyi n’Omukristaayo eyali mukwano gwo ow’oku lusegere. Wandyagadde okuzaawo enkolagana ennungi? Kiki ekinaakuyamba okutuukiriza kino?

4 Lwaki muganda wo oba mwannyoko tomwetegereza bulungi? Era kino kikole ng’olowooza ku bigambo bya Yesu: “Tewali ayinza kujja gye ndi Kitange eyantuma [bw’atamusembeza].” (Yokaana 6:44) Oluvannyuma weebuuze: ‘Lwaki Yakuwa yasembeza omuntu ono eri Omwana We? Ngeri ki ennungi omuntu ono z’alina? Engeri ezo mbadde nzitwala ng’ezitali za muwendo oba nga nzibuusa amaaso? Kiki ekyali kitufudde ab’omukwano? Kiki ekyansikiriza okubeera mukwano gw’omuntu ono?’ Okusooka, kiyinza okukubeerera ekizibu okulowooza ku ngeri ennungi, naddala bw’oba ng’omuntu oyo obadde omusibidde ekiruyi okumala akabanga. Kyokka, kino kikulu nnyo okusobola okuzaawo enkolagana ennungi wakati wammwe. Okuwaayo ekyokulabirako ku ngeri kino gye kiyinza okukolebwamu, ka tulabe obanga tusobola okulaba engeri ennungi mu basajja ababiri oluusi abaatunuulirwa okusinziira ku nsobi ze baakola. Abasajja abo ye nnabbi Yona n’omutume Peetero.

Okutunuulira Yona mu Ngeri Etagudde Lubege

5. Mulimu ki ogwaweebwa Yona, era kiki kye yakola?

5 Yona yaweereza nga nnabbi mu bwakabaka obw’omu bukiika ddyo bwa Isiraeri mu biseera bya Kabaka Yerobowaamu ow’okubiri mutabani wa Yowaasi. (2 Bassekabaka 14:23-25) Lumu, Yakuwa yalagira Yona okuva mu Isiraeri agende e Nineeve, ekibuga ekikulu eky’Obwakabaka kirimaanyi obwa Bwasuuli. Mulimu ki gwe yalina okukola? Yalina okulabula abantu baamu nti ekibuga kyabwe ekikulu kyali kigenda kuzikirizibwa. (Yona 1:1, 2) Mu kifo ky’okugoberera ekiragiro kya Katonda, Yona yadduka! Yalinnya ekyombo ekyali kigenda e Talusiisi, ekifo ekyali ewala ennyo okuva e Nineeve.​—Yona 1:3.

6. Lwaki Yakuwa yalonda Yona okugenda e Nineeve?

6 Kiki ekikujjira mu birowoozo bw’olowooza ku Yona? Omulowoozaako nga nnabbi omujeemu? Wandimutwala bw’otyo bw’oba teweetegerezza bulungi bimukwatako. Naye Yakuwa yalonda Yona okubeera nnabbi kubanga yali mujeemu? Si bwe kiri! Yona ateekwa okuba nga yalina engeri ennungi. Lowooza ku ebyo ebimukwatako nga nnabbi.

7. Mbeera ki Yona gye yaweererezaamu Yakuwa mu Isiraeri, era bw’omanya ekyo, kikuleetera kumutunuulira mu ngeri ki?

7 Mu butuufu, Yona yali aweerezza n’obwesigwa mu Isiraeri omwali abantu bangi abatafaayo. Nnabbi Amosi eyaliwo kumpi mu kiseera kye kimu ne Yona, yayogera ku Baisiraeri ng’abantu abaali baagala ennyo eby’obugagga awamu n’eby’amasanyu. * Ebintu ebibi byali bikolebwa mu nsi eyo, naye Abaisiraeri baali babibuusa amaaso. (Amosi 3:13-15; 4:4; 6:4-6) Kyokka, buli lunaku, Yona yakolanga omulimu gwe ogw’okubabuulira. Bw’oba ng’oli mulangirizi w’amawulire amalungi, omanyi nga bwe kiri ekizibu okwogera n’abantu abeewulira nti bamativu ne kye balina era abatafaayo. N’olwekyo, wadde nga tetulina kubuusa maaso obunafu bwa Yona, ka tuleme kwerabira engeri ze ez’obwesigwa n’obugumiikiriza bwe yalina ng’abuulira Abaisiraeri abataali beesigwa.

8. Bizibu ki nnabbi Omuisiraeri bye yandyolekaganye nabyo mu Nineeve?

8 Omulimu gwe yaweebwa ogw’okugenda e Nineeve, gwali muzibu nnyo n’okusingawo. Okusobola okutuuka mu kibuga ekyo, Yona yalina okutambuza ebigere olugendo lwa mayiro nga 500. Olugendo olwo lwali luzibu nnyo era nga lusobola okutwala omwezi mulamba. Ng’atuuseeyo, Yona yandibuulidde abantu b’omu Bwasuuli abaali bamanyiddwa olw’obukambwe bwabwe. Baatulugunyanga abantu nga balwana entalo zaabwe. Beewaananga n’okwewaana olw’ettemu lyabwe. N’olwekyo, tekyewuunyisa nti Nineeve kyali kiyitibwa “ekibuga eky’omusaayi”!​—Nakkumu 3:1, 7.

9. Ngeri ki Yona ze yayoleka ng’omuyaga ogw’amaanyi gutadde obulamu bw’abalunnyanja mu kabi?

9 Nga tayagala kugondera kiragiro kya Yakuwa, Yona yalinnya ekyombo ekyamutwala ewala ennyo okuva mu kifo kye yali alina okubuuliramu. Wadde kyali kityo, Yakuwa teyalekera awo kwesiga nnabbi we era teyalonda muntu mulala okumuddira mu bigere. Wabula, Yakuwa yafuba okuyamba Yona okutegeera obukulu bw’omulimu gwe. Okusooka, Katonda yaleeta omuyaga ogw’amaanyi ku nnyanja. Omuyaga gwayuuzayuuza ekyombo ekyali kitwala Yona. Abasajja abataalina musango gwonna baali bali kumpi okufa olwa Yona! (Yona 1:4) Yona yandikoze atya? Olw’okuba yali tayagala abalunnyanja abaali mu kyombo okufa, yabagamba: “Munsitule munsuule mu nnyanja; kale ennyanja eneebateekera.” (Yona 1:12) Ku nkomerero abavuzi b’ekyombo bwe baamusuula mu nnyanja, Yona teyalina nsonga yonna kw’asinziira okulowooza nti Yakuwa yali asobola okumununula okuva mu nnyanja. (Yona 1:15) Kyokka, Yona yali mwetegefu okufa abalunnyanja bo basobole okuwonawo. Mu ebyo tetulaba nga Yona yayoleka obuvumu, obuwombeefu n’okwagala?

10. Kiki ekyabaawo oluvannyuma nga Yakuwa azzeemu okutuma Yona?

10 Ku nkomerero, Yakuwa yanunula Yona. Engeri Yona gye yali yeeyisizzaamu yamuleetera obutaba na bisaanyizo bya kuddamu kuweereza ng’omubaka wa Katonda? Nedda. Wabula mu ngeri ey’ekisa era ey’okwagala, Yakuwa yaddamu okutuma nnabbi oyo okubuulira abantu b’omu Nineeve. Yona bwe yatuuka mu Nineeve, mu ngeri ey’obuvumu yagamba abantu b’omu kibuga ekyo nti Katonda yali amanyi ebibi byabwe eby’amaanyi era nti ekibuga kyabwe kyali kigenda kuzikirizibwa mu nnaku 40. (Yona 1:2; 3:4) Oluvannyuma lw’okuwulira obubaka bwa Yona, abantu b’omu Nineeve beenenya era ekibuga kyabwe tekyazikirizibwa.

11. Kiki ekiraga nti Yona yafuna eky’okuyiga eky’amaanyi?

11 Wadde kyali kityo, Yona yali tannafuna ndowooza nnuŋŋamu. Kyokka, ng’akozesa ekyokulabirako ekirungi, Yakuwa yayamba Yona okutegeera nti Ye tatunuulira ndabika ya kungulu yokka, wabula akebera mitima. (Yona 4:5-11) Ekiraga nti Yona yafuna eky’okuyiga ekirungi, kirabikira ku ebyo ye kennyini bye yawandiika. Olw’okuba yasobola okuwandiika ensobi gye yakola mu bujjuvu, bukakafu bulala obulaga nti yali muwombeefu. Ate era, kyetaagisa obuvumu omuntu okukkiriza ensobi ze.

12. (a) Tumanya tutya nti Yesu atunuulira abantu nga Yakuwa bw’abatunuulira? (b) Tukubirizibwa kutunuulira tutya abantu be tubuulira amawulire amalungi? (Laba akasanduuko ku lupapula 9.)

12 Nga wayiseewo ebyasa bingi, Yesu Kristo yayogera bulungi ku ebyo ebyatuuka ku Yona. Yagamba: “Nga Yona bwe yamala ennaku essatu emisana n’ekiro, mu lubuto lwa lukwata; bw’atyo n’Omwana w’omuntu bwalimala ennaku essatu, emisana n’ekiro mu mutima gw’ettaka.” (Matayo 12:40) Yona bw’anaaba ng’amaze okuzuukizibwa, ajja kumanya nti Yesu yageraageranya ekiseera Kye ng’ali mu ttaka ku ebyo ebyamutuukako ng’ali mu mbeera enzibu. Tetuli basanyufu okuweereza Katonda atalekulira baweereza be bwe baba bakoze ensobi? Omuwandiisi wa Zabbuli yawandiika: “Nga kitaabwe bw’asaasira abaana be, ne Mukama bw’asaasira bw’atyo abamutya. Kubanga amanyi omubiri gwaffe; ajjukira nga ffe tuli nfuufu. (Zabbuli 103:13, 14) Mazima ddala, “enfuufu” eno​—nga mw’otwalidde n’abantu abatatuukiridde leero​—bayinza okutuukiriza ebintu bingi nga bayambibwako omwoyo gwa Katonda omutukuvu!

Okutunuulira Peetero mu Ngeri Etagudde Lubege

13. Ngeri ki Peetero ze yalina ze tuyinza okulowoozaako, naye lwaki Yesu yamulonda okubeera omutume?

13 Kati, ka twekenneenye mu bimpimpi ekyokulabirako eky’okubiri ekikwata ku Peetero. Singa osabiddwa okwogera ku ngeri za Peetero, wandirowoozezza mangu ago ku ngeri gamba nga okubeera kipaku, eyeeyanguyiriza, oba eyeetulinkiriza? Ebiseera ebimu, Peetero yayolekanga engeri ng’ezo. Naye, Yesu yandironze Peetero okuba omu ku batume be 12 singa ddala Peetero yali kipaku, eyeeyanguyiriza, oba eyeetulinkiriza? (Lukka 6:12-14) Kya lwatu nedda! Yesu teyatunuulira bunafu bwa Peetero wabula engeri ennungi ze yalina.

14. (a) Kiki ekiyinza okutuyamba okutegeera ensonga lwaki Peetero yayogeranga mangu? (b) Lwaki twandibadde basanyufu olw’okuba Peetero yabuuzanga ebibuuzo?

14 Ebiseera ebimu Peetero yakola ng’omwogezi w’abatume abalala. Abamu kino bayinza okukitwala okuba obutali buwombeefu. Naye bwe kityo bwe kiri? Abantu abamu bagamba nti kiyinzika okuba nti Peetero yali mukulu mu myaka okusinga abatume abalala​—oboolyawo n’okusinga Yesu kennyini. Ekyo bwe kiba nga kituufu, kiyinza okutuyamba okutegeera ensonga lwaki Peetero ye yasookanga okwogera. (Matayo 16:22) Kyokka, waliwo n’ensonga endala gye tulina okwetegereza. Peetero yali musajja afaayo ku by’omwoyo. Olw’okuba yali ayagala nnyo okumanya, kyamuleetera okubuuzanga ebibuuzo. Ebibuuzo bye yabuuzanga, naffe bituganyula. Yesu yayogera ebigambo bingi eby’omuwendo ng’addamu ebibuuzo bya Peetero, era bye yayogera bisangibwa mu Baibuli. Ng’ekyokulabirako, Yesu yali addamu ebigambo bya Peetero n’alyoka ayogera ku “omuwanika omwesigwa.” (Lukka 12:41-44) Era lowooza ku kibuuzo kya Peetero kino: “Ffe twaleka byonna, ne tukugoberera; kale tuliba na ki?” Ekyo kyaleetera Yesu okwogera ku kisuubizo ekizzaamu amaanyi: “Buli muntu yenna aleka ennyumba, oba baluganda, oba bannyina, oba kitaawe, oba nnyina, oba baana, oba byalo, olw’erinnya lyange, aliweebwa emirundi kikumi, era alisikira obulamu obutaggwaawo.”​—Matayo 15:15; 18:21, 22; 19:27-29.

15. Lwaki kiyinza okugambibwa nti Peetero yali mwesigwa?

15 Peetero yalina engeri endala ennungi​—yali mwesigwa. Bangi ku bayigirizwa bwe baalekera awo okugoberera Yesu olw’okuba baali tebategedde emu ku njigiriza ze, Peetero ye yayogera ku lw’abatume 12 era n’agamba: “Mukama waffe, tunaagenda eri ani? Olina ebigambo eby’obulamu obutaggwaawo.” (Yokaana 6:66-68) Ebigambo ebyo nga biteekwa okuba nga byasanyusa nnyo omutima gwa Yesu! Oluvannyuma, ekibiina ky’abantu bwe kyajja okukwata Yesu, abasinga obungi ku batume be badduka. Kyokka, Peetero yagoberera ekibiina ky’abantu abo ng’agenda akivaako emabega era n’ayingirira ddala mu luggya lwa kabona omukulu. Obuvumu, so si butiitiizi bwe bwamukubiriza okugendayo. Yesu bwe yali ng’abuuzibwa ebibuuzo, Peetero yeegatta ku kibiina ky’Abayudaaya abaali bayotta omuliro. Omu ku baddu ba kabona omukulu yamutegeera era n’agamba nti yali wamu ne Yesu. Kyo kituufu nti, Peetero yeegaana Mukama we, naye tuleme kwerabira nti bwali bwesigwa n’okufaayo ebyaleetera Peetero okubeera mu mbeera eyo ey’akabi, embeera abatume abalala bonna gye baali batasobola kwaŋŋanga.​—Yokaana 18:15-27.

16. Lwaki twekenneenyeza engeri ennungi eza Yona ne Peetero?

16 Peetero yalina engeri ennungi nnyingi okusinga ensobi ze yakola. Era ne Yona bw’atyo. Nga bwe tusobodde okwekenneenya engeri ennungi Yona ne Peetero ze baalina okusinga bwe tutera okubalowoozaako, tuteekwa okufuba mu ngeri y’emu okwetegereza baganda baffe ne bannyinaffe mu by’omwoyo. Bwe tukola bwe tutyo, kijja kutuleetera okubeera n’enkolagana ennungi nabo. Lwaki kitwetaagisa okukola bwe tutyo?

Okussa mu Nkola eky’Okuyiga Ekyo Leero

17, 18. (a) Lwaki obutategeeragana buyinza okubaawo wakati w’Abakristaayo? (b) Kubuulirira ki okw’omu Baibuli okuyinza okutuyamba okugonjoola ebizibu ne baganda baffe?

17 Abasajja, abakazi n’abaana ab’ebiti eby’enjawulo, bonna baweerereza wamu Yakuwa. (Okubikkulirwa 7:9, 10) Mu kibiina Ekikristaayo nga tulabamu abantu abalina engeri ez’enjawulo bangi! Okuva bwe tuweereza Katonda nga tuli wamu, ebiseera ebimu obukuubagano bujja kujjawo.​—Abaruumi 12:10; Abafiripi 2:3.

18 Wadde nga tulaba obutali butuukirivu bwa baganda baffe, si bwe tussaako essira. Tufuba okukoppa Yakuwa, omuwandiisi wa Zabbuli gwe yayogerako bw’ati: ‘Mukama, bw’onoolabanga ebitali bya butuukirivu, Ai Mukama, aliyimirira aluwa?’ (Zabbuli 130:3) Mu kifo ky’okussa ennyo essira ku ngeri ezitali nnungi eziyinza okutwawulayawulamu, “tugobererenga eby’emirembe, n’eby’okuzimbagananga ffeka na ffeka.” (Abaruumi 14:19) Tugezeeko okutunuulira abalala nga Yakuwa bw’abatunuulira nga tubuusa amaaso ensobi zaabwe, naye nga tulaba engeri zaabwe ennungi. Bwe tukola bwe tutyo, kituyamba okweyongera ‘okuzibiikirizagananga ffekka na ffekka.’​—Abakkolosaayi 3:13.

19. Yogera emitendera Omukristaayo gy’ayinza okugoberera okusobola okugonjoola obutategeeragana obw’amaanyi.

19 Kiba kitya singa obutategeeragana bubaawo bwe tutasobola kugonjoola mu mitima gyaffe? (Zabbuli 4:4) Olina obutategeeragana nga buno ne mukkiriza munno? Lwaki temugezaako kugonjoola nsonga eyo? (Olubereberye 32:13-15) Okusooka, tuukirira Yakuwa omusabe akuwe obulagirizi. Kati ng’olowooza ku ngeri z’omuntu oyo ennungi, mutuukirire mu ngeri ‘ey’amagezi era ey’obuwombeefu.’ (Yakobo 3:13) Mutegeeze nti oyagala okuzzaawo enkolagana yammwe. Jjukira okubuulira okwaluŋŋamizibwa: “Beeranga mwangu wa kuwulira, alwengawo okwogera, alwengawo okusunguwala.” (Yakobo 1:19) Amagezi agaweereddwa nti ‘buli muntu alwengawo okusunguwala’ galaga nti omuntu oli omulala ayinza okukola oba okwogera ekintu ekiyinza okukunyiiza. Singa ekyo kibaawo, saba Yakuwa akuwe obuyambi osobole okwefuga. (Abaggalatiya 5:22, 23) Leka muganda wo ayogere ekimuluma era wuliriza bulungi. Tomusala kirimi, ne bw’oba nga tokkiriziganya na buli kimu ky’ayogera. Endowooza ye eyinza okuba enkyamu, naye olina okugikkiriza kubanga eyo ye nneewulira ye era bw’atyo bw’alowooza. Gezaako okutunuulira ekizibu ekyo nga ye bw’akiraba. Ekyo kiyinza okuzingiramu okwetunuulira nga muganda wo bw’akulaba.​—Engero 18:17.

20. Bwe tuba nga tugonjoola obutategeeragana, biki ebirala ebiyinza okukolebwa okuzzaawo emirembe?

20 Ekiseera kyo eky’okwogera bwe kituuka, ebigambo byo bibeere bya kisa. (Abakkolosaayi 4:6) Muganda wo mutegeeze engeri ennungi z’omulabamu. Weetonde olw’ekintu kyonna kye wakola ekyaleetawo obutategeeragana. Singa okufuba kwo kubaleetera okutabagana, weebaze Yakuwa. Singa kugwa butaka, weeyongere okusaba Yakuwa akuwe obulagirizi era nga bwe weeyongera okunoonyereza ekiseera ekituufu eky’okuzzaawo emirembe.​—Abaruumi 12:18.

21. Bino bye twogeddeko bikuyambye bitya okutunuulira abalala nga Yakuwa bw’abatunuulira?

21 Yakuwa ayagala abaweereza be bonna. Ayagala nnyo okutukozesa ffenna mu buweereza bwe wadde nga tetuukiridde. Nga tweyongera okuyiga engeri gy’atunuuliramu abalala, okwagala kwe tulina eri baganda baffe ne bannyinaffe kujja kweyongera okukula. Okwagala kwe tulina eri Mukristaayo munnaffe bwe kuba nga kukendedde, kuyinza okuzzibwa obuggya. Nga tunaafuna emikisa mingi nnyo singa tufuba okutunuulira abalala mu ngeri ennuŋŋamu​—yee, nga tubatunuulira nga Yakuwa bw’abatunuulira!

[Obugambo obuli wansi]

^ lup. 1 Oluvannyuma kyategeerekeka nti Eriyaabu eyali alabika obulungi teyalina ngeri nnungi ez’okubeera kabaka wa Isiraeri. Goliyaasi Omufirisuuti bwe yasoomooza Abaisiraeri mu lutalo, Eriyaabu n’abasajja abalala baatiitiira.​—1 Samwiri 17:11, 28-30.

^ lup. 7 Awatali kubuusabuusa, Yerobowaamu II yakola kinene ku kwongera ku bugagga mu bwakabaka obw’omu bukiika ddyo, olw’obuwanguzi obumu bwe yatuukako, era n’okununula ebitundu ebyali biwambiddwa ssaako n’okusolooza emisolo.​—2 Samwiri 8:6; 2 Bassekabaka 14:23-28; 2 Ebyomumirembe 8:3, 4; Amosi 6:2.

Wandizzeemu Otya?

• Yakuwa atunuulira atya ensobi z’abaweereza be abeesigwa?

• Ngeri ki ennungi Peetero ne Yona ze baalina z’oyinza okwogerako?

• Oli mumalirivu kutunuulira otya baganda bo Abakristaayo?

[Ebibuuzo]

[Akasanduuko akali ku lupapula 9]

Lowooza ku Ngeri Katonda gy’Atunuuliramu Abalala

Bw’ofumiitiriza ku ebyo Baibuli by’eyogera ku Yona, olaba nga kikwetaagisa okukyusa mu ngeri gy’otunuuliramu abantu be tubuulira bulijjo amawulire amalungi? Bayinza okulabika ng’abateefiirayo okufaananako Abaisiraeri, oba bayinza okuba nga baziyiza obubaka bwa Katonda. Wadde kiri kityo, Yakuwa Katonda abatunuulira atya? Wadde n’abantu abamu abaatiikirivu ennyo mu nteekateeka eno ey’ebintu, lumu bayinza okutandika okunoonya Yakuwa okufaananako kabaka w’e Nineeve eyeenenya olw’okubuulira kwa Yona.​—Yona 3:6, 7

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 8]

Otunuulira abalala nga Yakuwa bw’abatunuulira?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 10]

Yesu yayogera bulungi ku ebyo ebyatuuka ku Yona