Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Obuwombeefu—Ngeri Nnungi Nnyo ey’Ekikristaayo

Obuwombeefu—Ngeri Nnungi Nnyo ey’Ekikristaayo

Obuwombeefu​—Ngeri Nnungi Nnyo ey’Ekikristaayo

‘Mwambalenga obuwombeefu.’​—ABAKKOLOSAAYI 3:12.

1. Kiki ekifuula obuwombeefu engeri ey’enjawulo?

OMUNTU bw’abeera omuwombeefu, oba nga muteefu, aba mulungi okubeera naye. Kyokka, “olulimi olugonvu [“oluwombeefu,” NW] lumenya eggumba,” bw’atyo Kabaka Sulemaani bwe yeetegereza. (Engero 25:15) Obuwombeefu ngeri ya njawulo eyoleka obulungi n’amaanyi.

2, 3. Kakwate ki akaliwo wakati w’obuwombeefu n’omwoyo omutukuvu, era kiki kye tujja okwekenneenya mu kitundu kino?

2 Omutume Pawulo yagatta obuwombeefu ku lukalala ‘lw’ebibala by’omwoyo,’ oluli mu Abaggalatiya 5:22, 23. Ekigambo ky’Oluyonaani ekivvuunulwa “obuwombeefu” mu lunyiriri 23, mu New World Translation, kitera okuvvuunulwa nga “obuteefu” oba “obugonvu” mu nzivuunula za Baibuli endala. Kizibu okufuna ekigambo ekiggyayo amakulu gennyini ag’ekigambo kino eky’Oluyonaani mu nnimi ezisinga obungi olw’okubanga ekigambo ky’Oluyonaani ekyasooka okukozesebwa kitegeeza, si obugonvu oba obuteefu obw’okungulu, naye obuwombeefu obw’omunda; si ngeri omuntu gye yeeyisaamu, naye embeera y’ebirowoozo by’omuntu n’omutima.

3 Okusobola okutegeera obulungi amakulu n’omugaso gw’obuwombeefu, ka twekenneenye ebyokulabirako bina ebiri mu Baibuli. (Abaruumi 15:4) Bwe tunnaabyekenneenya, tetujja kukoma ku kuyiga ngeri eno ky’etegeeza kyokka, naye era tujja kulaba engeri gy’eyinza okufunibwamu era n’okwolesebwamu mu byonna bye tukola.

‘Bwa Muwendo Mungi mu Maaso ga Katonda’

4. Tumanya tutya nti Yakuwa atwala obuwombeefu nga bwa muwendo?

4 Okuva obuwombeefu bwe buli ekimu ku bibala by’omwoyo gwa Katonda, kiba kituukirawo okuba nti bulina akakwate n’engeri za Katonda ennungi. Omutume Peetero yawandiika nti ‘omwoyo omuwombeefu era omuteefu,’ ‘gwa muwendo mungi mu maaso ga Katonda.’ (1 Peetero 3:4) Mazima ddala, obuwombeefu ngeri eyolesebwa Yakuwa; era agitwala nga ya muwendo nnyo. N’olwekyo, eno ku bwayo nsonga nnungi nnyo ereetera abaweereza ba Katonda bonna okukulaakulanya obuwombeefu. Naye, Katonda omuyinza w’ebintu byonna, oyo Asingiridde obuyinza mu butonde bwonna, ayoleka atya obuwombeefu?

5. Olw’okuba Yakuwa muwombeefu, tulina ssuubi ki?

5 Abantu abaasooka, Adamu ne Kaawa, bwe baajeemera etteeka lya Katonda ery’obutalya ku muti ogw’okumanya obulungi n’obubi, baakikola mu bugenderevu. (Olubereberye 2:16, 17) Ekikolwa ekyo eky’obujeemu kyavaamu ekibi, okufa, n’okweyawula ku Katonda, eri bo bennyini era n’abaana be bandizadde. (Abaruumi 5:12) Wadde nga Yakuwa yalina ensonga ennungi okubawa ekibonerezo, teyayabulira lulyo lw’abantu nga gy’obeera terusobolera ddala kukola nkyukakyuka n’okununulibwa. (Zabbuli 130:3) Mu kifo ky’ekyo, olw’ekisa kye n’obutabeera mukambwe​—ebikolwa ebyoleka obuwombeefu​—Yakuwa yassaawo enteekateeka abantu aboonoonyi mwe bandiyitidde okumutuukirira era ne basiimibwa. Yee, okuyitira mu kirabo kya ssaddaaka y’Omwana we, Yesu Kristo, Yakuwa atusobozesa okumutuukirira mu kusaba nga tetulina kutya kwonna wadde okweraliikirira.​—Abaruumi 6:23; Abaebbulaniya 4:14-16; 1 Yokaana 4:9, 10, 18.

6. Obuwombeefu bweyoleka butya mu ngeri Katonda gye yakolaganamu ne Kayini?

6 Dda nnyo nga Yesu tannajja ku nsi, obuwombeefu bwa Yakuwa bweyoleka Kayini ne Abbeeri, batabani ba Adamu, bwe baawaayo ebiweebwayo eri Katonda. Ng’ategedde ekiri mu mitima gyabwe, Yakuwa teyakkiriza kiweebwayo kya Kayini, naye ‘yasiima’ Abbeeri n’ekiweebwayo kye. Olw’okuba Katonda yasanyukira Abbeeri omwesigwa n’ekiweebwayo kye, Kayini yanyiiga nnyo. Baibuli egamba: “Kayini n’asunguwala nnyo, amaaso ge ne goonooneka.” Yakuwa yakolawo ki? Yasunguwala olw’okuba Kayini yalina endowooza embi? Nedda. N’obuwombeefu, yabuuza Kayini ensonga lwaki yali munyiivu nnyo. Yakuwa yategeeza Kayini kyateekeddwa okukola okusobola ‘okusiimibwa.’ (Olubereberye 4:3-7) Mazima ddala, Yakuwa kye kyokulabirako ekisingiridde eky’obuwombeefu.​—Okuva 34:6.

Obuwombeefu Busikiriza era Buweweeza

7, 8. (a) Tusobola tutya okutegeera obuwombeefu bwa Yakuwa? (b) Ebigambo ebiri mu Matayo 11:27-29 bitutegeeza ki ku Yakuwa ne Yesu?

7 Emu ku ngeri ezisingayo obulungi okutegeeramu engeri za Yakuwa ezitenkanika kwe kusoma ebikwata ku bulamu bwa Yesu Kristo n’obuweereza bwe. (Yokaana 1:18; 14:6-9) Ng’ali e Ggaliraaya mu mwaka ogw’okubiri ogw’okubuulira kwe, Yesu yakola ebyamagero bingi mu Kolaziini, Besusayida, Kaperunawumu, ne mu bitundu ebiriraanyewo. Kyokka, abantu abasinga obungi baali ba malala era tebaafaayo ku bubaka bwe, wadde okubukkiriza. Yesu yakola ki? Wadde nga yabajjukiza ebyandivudde mu butakkiriza bwabwe, yakwatibwako nnyo embeera embi ey’eby’omwoyo ey’abantu aba bulijjo.​—Matayo 9:35, 36; 11:20-24.

8 Ebyo Yesu bye yakola oluvannyuma byalaga nti yali ‘amanyi bulungi Kitaawe’ era ng’amukoppa. Yesu yayaniriza abantu aba bulijjo n’ebbugumu: “Mujje gye ndi, mmwe mwenna abakooye era abazitoowereddwa, nange nnaabawummuza. Mwetikke ekikoligo kyange, muyigire ku nze; kubanga ndi muteefu era omuwombeefu mu mutima: nammwe muliraba ekiwummulo eky’omu myoyo gyammwe.” Nga ebigambo ebyo biteekwa okuba nga byazzaamu nnyo amaanyi abo abaali banyigirizibwa! Naffe bituzzaamu nnyo amaanyi leero. N’olwekyo, bwe tunaabeera abawombeefu, tujja kuba abamu ku abo ‘Omwana baayagala okubikkulira’ ebikwata ku Kitaawe.​—Matayo 11:27-29.

9. Ngeri ki erina akakwate n’obuwombeefu, era mu ngeri ki Yesu gy’ali ekyokulabirako ekirungi mu kino?

9 Ekigambo ekirina akakwate n’obuwombeefu bwe bwetoowaaze, okubeera ‘omuteefu mu mutima.’ Ku luuyi olulala, amalala galeetera omuntu okwegulumiza era emirundi mingi gayinza okumuviiramu okuyisa obubi abalala nga tafaayo ku nneewulira yaabwe. (Engero 16:18, 19) Yesu yayoleka obuwombeefu mu buweereza bwe bwonna obw’oku nsi. Ne bwe yeebagala omwana gw’endogoyi okuyingira mu Yerusaalemi ng’ebulayo ennaku mukaaga attibwe, era n’ayitibwa Kabaka w’Abayudaaya, Yesu yali mwawufu nnyo ku bafuzi b’ensi. Yatuukiriza obunnabbi bwa Zekkaliya obukwata ku Masiya: “Laba, Kabaka wo ajja gy’oli. Omuteefu, nga yeebagadde endogoyi, n’akayana omwana gw’endogoyi.” (Matayo 21:5, NW; Zekkaliya 9:9) Danyeri, nnabbi omwesigwa yalaba mu kwolesebwa nga Yakuwa awa Omwana we obuyinza obw’okufuga. Kyokka, mu bunnabbi obw’emabegako, yayogera ku Yesu ‘ng’asinga abantu bonna okuba omwetoowaze.’ Mazima ddala, obuwombeefu bulina akakwate n’obwetoowaze.​—Danyeri 4:17; 7:13, 14.

10. Lwaki Abakristaayo okubeera abawombeefu tekitegeeza bunafu?

10 Obuwombeefu Yakuwa ne Yesu bwe balaga butuyamba okufuna enkolagana ennungi nabo. (Yakobo 4:8) Kya lwatu, okubeera omuwombeefu tekitegeeza bunafu. Mazima ddala si bwe kiri! Yakuwa, Katonda asingiridde ayoleka amanyi mangi n’obuyinza. Tasanyukira butali butuukirivu. (Isaaya 30:27; 40:26) Mu ngeri y’emu ne Yesu yalaga obuvumu n’atekiriranya, ne bwe yali ng’alumbiddwa Setaani Omulyolyomi. Teyattira liiso ebikolwa ebikyamu eby’obusuubuzi ebya bannaddiini ab’omu kiseera kye. (Matayo 4:1-11; 21:12, 13; Yokaana 2:13-17) Kyokka, yafuga obusungu bwe ng’akolagana n’abayigirizwa be era n’agumiikiriza obunafu bwabwe. (Matayo 20:20-28) Omwekenneenya omu owa Baibuli yayogera bw’ati ku buwombeefu: “Bwoleka amaanyi agalinga ag’ekyuma.” Ka naffe twoleke obuwombeefu nga Kristo.

Ye Yasingayo Obuwombeefu mu Kiseera Kye

11, 12. Olw’engeri gye yakuzibwamu, kiki ekyafuula obuwombeefu bwa Musa okuba obw’enjawulo?

11 Ekyokulabirako eky’okusatu kye tujja okwekenneenya kye kya Musa. Baibuli emwogerako nga ‘omusajja omuwombeefu ennyo, okusinga abantu bonna abaali ku nsi yonna.’ (Okubala 12:3) Ebigambo ebyo byawandiikibwa wansi w’obulagirizi bwa Katonda. Obuwombeefu bwa Musa bwamuleetera okugondera obulagirizi bwa Yakuwa.

12 Engeri Musa gye yakuzibwamu yali ya njawulo. Yakuwa yakakasa nti omwana ono eyazaalibwa Abebbulaniya abeesigwa akuumibwa mu kiseera eky’okuliibwamu olukwe n’okutirimbula abaana. Musa yalabirirwa nnyina mu myaka egy’obuto bwe, era yamuyigiriza ebikwata ku Katonda ow’amazima, Yakuwa. Oluvannyuma, Musa yaggibwa mu maka g’ewaabwe n’atwalibwa okubeera mu mbeera ez’enjawulo. Suteefano, Omukristaayo eyasooka okuttibwa yagamba: “Musa n’ayigirizibwa mu magezi gonna ag’e Misiri; n’abeera wa maanyi mu bigambo bye ne mu bikolwa bye.” (Ebikolwa 7:22) Okukkiriza kwe kweyoleka bwe yalaba bannampala ba Falaawo nga bayisa baganda be mu ngeri etali ya bwenkanya. Olw’okutta Omumisiri gwe yalaba ng’akuba Omwebbulaniya, Musa yalina okuva e Misiri n’addukira e Midiyani.​—Okuva 1:15, 16; 2:1-15; Abaebbulaniya 11:24, 25.

13. Emyaka 40 Musa gye yamala mu Midiyani gy’amukolako ki?

13 Ku myaka 40, Musa yalina okwerabirira mu ddungu. Ng’ali e Midiyani, yasisinkana bawala ba Leweri omusanvu era n’abayamba okusenera ekisibo kya kitaabwe ekinene amazzi. Bwe baddayo eka, abakazi abo baategeeza kitaabwe Leweri n’essanyu nti ‘omusajja Omumisiri’ yali abawonyezza abasumba abaali babasumbuwa. Ng’asabiddwa Leweri, Musa yabeera mu maka ago. Embeera enzibu gye yali ayiseemu teyamuleetera kusiba kiruyi; era teyamulemesa kukola nkyukakyuka mu bulamu bwe okutuukana n’embeera empya. Okwagala kwe yalina okw’okukola Katonda by’ayagala tekwakendeera. Mu myaka 40 gye yamala ng’alabirira endiga za Leweri, n’awasizzaamu Zipola, era n’akulizaamu n’abaana be, Musa yakulaakulanya era n’alongoosa engeri gye yamanyibwa okuba nayo. Yee, mu mbeera enzibu gye yayitamu, Musa yayiga obuwombeefu.​—Okuva 2:16-22; Ebikolwa 7:29, 30.

14. Nnyonnyola ekintu ekyaliwo mu kiseera ky’obukulembeze bwa Musa mu Isiraeri ekyayoleka obuwombeefu bwe.

14 Oluvannyuma lwa Yakuwa okumulonda ng’omukulembeze w’eggwanga lya Isiraeri, Musa yali akyayoleka engeri eno ey’obuwombeefu. Omuvubuka yategeeza Musa nti Eridaadi ne Medadi baali baweereza nga bannabbi mu lusiisira, wadde nga tebaaliwo Yakuwa bwe yafuka omwoyo omutukuvu ku bakadde 70 okuyamba ku Musa. Yoswa yagamba: “Mukama wange Musa, bagaane.” Musa yaddamu n’obuwombeefu: “Obuggya bukukutte ku lwange? [A]bantu bonna aba Mukama singa bannabbi, Mukama singa abateekako omwoyo gwe!” (Okubala 11:26-29) Obuwombeefu bwayamba okumalawo akagulumbo akaaliwo.

15. Wadde nga Musa yali tatuukiridde, lwaki twandikoppye ekyokulabirako kye?

15 Lumu Musa yalabika ng’ataali muwombeefu ekimala. Nga bali e Meriba, okumpi ne Kadesi, yalagajjalira okuwa Yakuwa ekitiibwa, oyo Akola Ebyamagero. (Okubala 20:1, 9-13) Wadde nga Musa yali tatuukiridde, okukkiriza kwe okutasagaasagana kwamuwanirira mu bulamu bwe bwonna, era obuwombeefu bwe butusikiriza naffe leero.​—Abaebbulaniya 11:23-28.

Obukambwe n’Obuwombeefu

16, 17. Kiki kye tuyigira ku Nabali ne Abbigayiri?

16 Ekyokulabirako ekirabula kisangibwa mu kiseera kya Dawudi, nga waakayitawo akabanga katono nga nnabbi wa Katonda Samwiri amaze okufa. Ekyokulabirako kino kikwata ku bafumbo, Nabali ne mukazi we Abbigayiri. Ng’abantu bano ababiri baali baawufu nnyo! Wadde nga Abbigayiri yali “mutegeevu,” ate ye omwami we yali ‘wa kkabyo era nga wa mpisa mbi.’ Abasajja ba Dawudi, abaali bakuumye ebisibo bya Nabali, bwe baasaba Nabali eby’okulya yagaanira ddala. Ng’alina ensonga ennungi okunyiiga, Dawudi n’abamu ku basajja be baakwata ebitala byabwe ne bagenda okugwisanya obwenyi ne Nabali.​—1 Samwiri 25:2-13.

17 Amawulire agakwata ku ekyo ekyali kibaddewo bwe gaagwa Abbigayiri mu matu, yateekateeka bunnambiro emigaati, omwenge, ennyama, keeke ezikoleddwa mu mizabbibu n’ettiini n’agenda okusisinkana Dawudi. Yamwegayirira: “Obutali butuukirivu obwo bubeere ku nze, mukama wange, ku nze: era [leka o]muzaana wo ayogere mu matu go, nkwegayiridde, era wulira ebigambo by’omuzaana wo.” Dawudi yakkakkana olw’ebigambo bya Abbigayiri ebirungi. Oluvannyuma lw’okuwuliriza Abbigayiri, Dawudi yagamba: “Atenderezebwe Mukama, Katonda wa Isiraeri, akutumye leero okusisinkana nange: era gatenderezebwe n’amagezi go, naawe otenderezebwe ankuumye leero, obutabaako musango gwa musaayi.” (1 Samwiri 25:18, 24, 32, 33) Obukambwe bwa Nabali bwamuviirako okufa. Engeri za Abbigayiri ennungi zaamuleetera essanyu bwe yafuuka mukazi wa Dawudi. Obuwombeefu bwe kyakulabirako eri abo bonna abaweereza Yakuwa leero.​—1 Samwiri 25:36-42.

Goberera Obuwombeefu

18, 19. (a) Nkyukakyuka ki ezeeyoleka bwe twambala obuwombeefu? (b) Kiki ekiyinza okutuyamba okwekebera obulungi?

18 N’olwekyo, obuwombeefu ngeri gye tulina okubeera nayo. Busingawo ku kubeera omuntu mulamu; ngeri esikiriza era eweweeza abalala. Tuyinza okuba nga twayogeranga n’obukambwe era nga tetufaayo ku balala. Kyokka, bwe twayiga amazima ga Baibuli, twakola enkyukakyuka era ne tuba nga tusikiriza. Pawulo yayogera ku nkyukakyuka eno bwe yakubiriza Bakristaayo banne: “Mwambalenga . . . omwoyo ogw’ekisa, obulungi, okwewombeeka, obuteefu, okugumiikiriza.” (Abakkolosaayi 3:12) Baibuli egeraageranya enkyukakyuka eno ku bisolo ebikambwe nga ekibe, engo, empologoma n’enswera​—okufuuka ebisolo eby’emirembe nga endiga, embuzi n’ente. (Isaaya 11:6-9; 65:25) Enkyukakyuka ezo ziba za maanyi nnyo ne zeewuunyisa n’abalabi. Kyokka, ffe tukimanyi nti enkyukakyuka ezo zibaawo lwa mwoyo gwa Katonda, kubanga ekimu ku bibala byagwo ekikulu bwe buwombeefu.

19 Kino kitegeeza nti bwe tukola enkyukakyuka ezeetaagisa era ne twewaayo eri Yakuwa, kiba tekikyetaagisa kufuba kubeera bawombeefu? Si bwe kiri. Ng’ekyokulabirako, engoye empya zeetaaga okulabirirwa buli kiseera okusobola okusigala nga nnyonjo era nga zisaanira. Okusoma Ekigambo kya Katonda n’okufumiitiriza ku byokulabirako ebikirimu kituyamba okwetunuulira mu ngeri ey’obwesimbu. Bwe weetunuulira mu Kigambo kya Katonda ekiringa endabirwamu kiki ky’ozuula?​—Yakobo 1:23-25.

20. Tusobola tutya okwoleka obuwombeefu?

20 Mu butonde, buli omu wa njawulo ku muntu omulala. Abamu ku baweereza ba Katonda bakisanga nga kyangu okubeera abawombeefu okusinga abalala. Wadde kiri kityo, Abakristaayo bonna beetaaga okukulaakulanya ebibala by’omwoyo gwa Katonda, nga mw’otwalidde n’obuwombeefu. Pawulo yakubiriza Timoseewo mu ngeri ey’okwagala: “[G]obererenga obutuukirivu, okutya Katonda, okukkiriza, okwagala, okugumiikiriza, obuwombeefu.” (1 Timoseewo 6:11) Ekigambo ‘goberera’ kirina amakulu ag’okufuba. Enzivuunula emu eya Baibuli ekigambo kino ekiteeka bw’eti, ‘ssa omutima gwo ku kintu.’ (New Testament in Modern English, eya J. B. Phillips) Bw’ofuba okufumiitiriza ku byokulabirako ebirungi ebiri mu Kigambo kya Katonda, bisimba amakanda mu birowoozo byo nga gy’obeera biri kitundu kyo eky’omubiri. Bijja ku kukyusa era bikuwe obulagirizi.​—Yakobo 1:21.

21. (a) Lwaki twandigoberedde obuwombeefu? (b) Kiki ekijja okwogerwako mu kitundu ekiddako?

21 Engeri gye tuyisaamu abalala eraga obanga tuli bawombeefu. “Ani alina amagezi n’okutegeera mu mmwe?” bw’atyo omuyigirizwa Yakobo bw’abuuza. ‘Abiragirenga mu mpisa ze ennungi, mu bikolwa bye ebirungi by’akola n’obwetoowaze era n’amagezi.’ (Yakobo 3:13) Tusobola tutya okwoleka engeri eno ey’Ekikristaayo awaka, mu buweereza obw’Ekikristaayo, ne mu kibiina? Ekitundu ekiddako kiraga engeri gye tuyinza okugyolekamu.

Okwejjukanya

• Kiki ky’oyize ku buwombeefu okuva ku kyokulabirako kya

• Yakuwa?

• Yesu?

• Musa?

• Abbigayiri?

• Lwaki twandigoberedde obuwombeefu?

[Ebibuuzo]

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 20]

Lwaki Yakuwa yasiima ekiweebwayo kya Abbeeri?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 21]

Yesu yalaga nti obuwombeefu n’obwetoowaze birina akakwate

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 22]

Musa yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi eky’obuwombeefu