Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Yoleka ‘Obuwombeefu eri Abantu Bonna’

Yoleka ‘Obuwombeefu eri Abantu Bonna’

Yoleka ‘Obuwombeefu eri Abantu Bonna’

‘Weeyongere okubajjukiza babeere bategeevu, nga booleka obuwombeefu bwonna eri abantu bonna.’​—TITO 3:1, 2, NW.

1. Lwaki tekitera kubeera kyangu okwoleka obuwombeefu bulijjo?

“MUNKOPPENGA nga nange bwe nkoppa Kristo,” bw’atyo omutume Pawulo bwe yawandiika. (1 Abakkolinso 11:1, NW) Leero, abaweereza ba Katonda bonna bafuba nnyo okugoberera okubuulirira okwo. Kyokka, ekyo si kyangu, kubanga twasikira okuva ku bazadde baffe abaasooka okwegomba okubi n’endowooza ezitatuukana na kyakulabirako kya Kristo. (Abaruumi 3:23; 7:21-25) Wadde kiri bwe kityo, ffenna tusobola okwoleka obuwombeefu singa tufuba. Naye, tekimala okwesigama ku busobozi bwaffe. Kiki ekirala ekyetaagisa?

2. Tusobola tutya ‘okwoleka obuwombeefu eri abantu bonna’?

2 Obuwombeefu kibala eky’omwoyo omutukuvu. Gye tukoma okukkiriza obulagirizi bw’amaanyi ga Katonda, ebibala byago gye bijja okukoma okweyoleka mu bulamu bwaffe. Olwo nno, lwe tujja okusobola okwoleka ‘obuwombeefu bwonna’ eri buli muntu. (Tito 3:2) Ka twekenneenye engeri gye tuyinza okukoppamu ekyokulabirako kya Yesu era tusobozese abo be tukolagana nabo ‘okufuna ekiwummulo.’​—Matayo 11:29; Abaggalatiya 5:22, 23.

Mu Maka

3. Mbeera ki eri mu maka eyoleka omwoyo gw’ensi?

3 Ekifo ekimu obuwombeefu gye bwetaagisa ennyo ge maka. Ekibiina ky’eby’Obulamu eky’Ensi Yonna kiteebereza nti ettemu ly’omu maka likosa nnyo obulamu bw’abakyala okusinga obubenje n’obulwadde bw’omusujja ng’obigasse wamu. Ng’ekyokulabirako, mu London, ekya Bungereza, ekitundu kimu kya kuna eky’ebikolwa by’ettemu ebiroopebwa bibaawo mu maka. Emirundi mingi abapoliisi basisinkana abantu abooleka enneewulira yaabwe nga “bakaayana era nga bavumagana.” N’eky’akabi okusingawo, abafumbo abamu bakkirizza “obusungu n’obukambwe” okusensera enkolagana yaabwe. Bino byonna mbeera ekwasa ennaku eyoleka ‘omwoyo gw’ensi,’ era ebintu ng’ebyo tebirina kifo mu maka g’Abakristaayo.​—Abaefeso 4:31; 1 Abakkolinso 2:12.

4. Obuwombeefu buyinza kukwata butya ku maka?

4 Okusobola okuziyiza engeri z’ensi, twetaaga omwoyo gwa Katonda. “Awaba omwoyo gwa Yakuwa wabaawo eddembe.” (2 Abakkolinso 3:17, NW) Okwagala, ekisa, okwefuga, n’okugumiikiriza binyweza obumu bw’abaami n’abakyala abafumbo. (Abaefeso 5:33) Obuwombeefu buleetera awaka okuba ekifo ekirungi okubeeramu era busikiriza, nga kino kyawukana ku nnyombo n’okukaayana ebyonoonye amaka mangi. Ekintu omuntu kyayogera kikulu, naye engeri gy’akyogeramu eyoleka enneewulira ye ey’omunda. Okwogerwa mu buwombeefu ebintu ebibaluma n’ebibeeraliikiriza, kiwewula embeera. Kabaka Sulemaani ow’amagezi yawandiika: “Okuddamu n’eggonjebwa kukyusa ekiruyi: naye ekigambo eky’ekkayu kisaanuula obusungu.”​—Engero 15:1.

5. Obuwombeefu buyinza butya okuyamba mu maka agatali bumu mu nzikiriza?

5 Naddala, obuwombeefu bukulu nnyo mu maka agatali bumu mu nzikiriza. Obuwombeefu bwe bugattibwako ebikolwa eby’ekisa, buyinza okuleetera abo ababadde tebaagala mazima okudda eri Yakuwa. Peetero yabuulirira abakazi Abakristaayo: “Mugonderenga babbammwe bennyini; era bwe wabangawo abatakkiriza kigambo, balyoke bafunibwenga awatali kigambo olw’empisa z’abakazi baabwe; bwe balaba empisa zammwe ennongoofu ez’okutya. Obuyonjo bwammwe tebubanga bwa kungulu, obw’okuluka enviiri n’okunaanika ezaabu n’okwambala engoye; naye omuntu ow’omwoyo atalabika, mu kyambalo ekitayonooneka, gwe mwoyo omuwombeefu omuteefu, gwe gw’omuwendo omungi mu maaso ga Katonda.”​—1 Peetero 3:1-4.

6. Okwoleka obuwombeefu kiyinza kitya okunyweza enkolagana wakati w’abazadde n’abaana?

6 Enkolagana wakati w’abazadde n’abaana eyinza okuba embi ennyo, naddala singa tewabaawo kwagala Yakuwa. Naye mu maka gonna ag’Abakristaayo, kyetaagisa okwoleka obuwombeefu. Pawulo yabuulirira bataata: “Temusunguwazanga baana bammwe: naye mubalerenga mu kukangavvulanga ne mu kubuuliriranga kwa Mukama waffe.” (Abaefeso 6:4) Bwe wabaawo obuwombeefu mu maka, enkolagana ey’oku lusegere wakati w’abazadde n’abaana enywezebwa. Dean, omu ku baana abataano, ajjukira bw’ati ku kitaawe: “Taata yali muwombeefu. Sijjukirayo mulundi n’ogumu nga tuyomba naye​—ne bwe nnali omutiini. Yalinga muwombeefu, ne bwe yabanga anyiize. Emirundi egimu yaŋŋambanga ŋŋende mu kisenge kyange ng’ekibonerezo, oba n’atanzikiriza kukola ebintu ebimu ebinnyumira, naye tetwayombanga. Teyali kitaffe kyokka, wabula era yali mukwano gwaffe nga tetwagala kumunyiiza.” Mazima ddala, obuwombeefu buyamba okunyweza enkolagana wakati w’abazadde n’abaana.

Mu Buweereza Bwaffe

7, 8. Lwaki kikulu okwoleka obuwombeefu mu buweereza bw’ennimiro?

7 Awalala obuwombeefu we bwetaagisa ennyo bwe buweereza bw’ennimiro. Nga tulangirira amawulire amalungi ag’Obwakabaka, tusisinkana abantu abalina endowooza ezitali zimu. Abamu bawuliriza n’essanyu obubaka obw’essuubi bwe tubatwalira. Ate abalala, olw’ensonga ezitali zimu bayinza obutabusanyukira. Wano nno obuwombeefu we butuyambira ennyo okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwaffe obw’okuwa obujulirwa okutuukira ddala ku nkomerero y’ensi.​—Ebikolwa 1:8; 2 Timoseewo 4:5.

8 Omutume Peetero yawandiika: “Mutukuzenga Kristo mu mitima gyammwe okubeera Mukama wammwe: nga mweteekateeka bulijjo okuddamu buli muntu ababuuzanga ensonga ey’okusuubira okuli mu mmwe, naye n’obuwombeefu n’okutya [“n’okuwa ekitiibwa,” NW].” (1 Peetero 3:15) Olw’okuba tutwala Kristo ng’ekyokulabirako kyaffe, tufaayo okwoleka obuwombeefu era n’okuwa abo aboogera n’obukambwe ekitiibwa nga tubuulira. Enneeyisa bw’etyo, emirundi mingi evaamu ebirungi ebitalojjeka.

9, 10. Waayo ekyokulabirako ekiraga omugaso gw’obuwombeefu mu buweereza bw’ennimiro.

9 Mukyala we bwe yagenda okulaba akonkona ku luggi lwabwe, Keith ye yasigala munda. Bwe yakitegeera nti omugenyi oyo yali omu ku Bajulirwa ba Yakuwa, mukyala wa Keith n’obusungu obungi yavunaana Abajulirwa olw’okuyisa obubi abaana. Ow’oluganda yasigala mukkakkamu. N’obuwombeefu yamuddamu: “Kya nnaku nnyo nti owulira bw’otyo. Nkusaba nkulage ekyo Abajulirwa ba Yakuwa kye bakkiriza.” Keith yali awuliriza bye boogera era kati yajja ku luggi okufuumuula ow’oluganda.

10 Oluvannyuma, abafumbo abo baatandika okwejjusa olw’okuba baali bayisizza bubi omugenyi. Obuwombeefu bwe yalaga bwali bubakutteko nnyo. Ekyabeewuunyisa ennyo, oluvannyuma lwa wiiki ow’oluganda yakomawo, era Keith ne mukyala we ne bamuleka abannyonnyole ky’akkiriza okuva mu Byawandiikibwa. “Emyaka ebiri egyaddirira twawulirizanga Abajulirwa abalala,” bwe batyo bwe baayogera oluvannyuma. Bakkiriza okuyiga Baibuli, era oluvannyuma bombi baabatizibwa ng’akabonero akooleka okwewaayo kwabwe eri Yakuwa. Nga Omujulirwa eyasooka okukyalira Keith ne mukyala we kyamuviiramu emiganyulo mingi nnyo! Omujulirwa oyo yasisinkana abafumbo abo oluvannyuma lw’emyaka era n’akitegeera nti kati baali baganda be mu by’omwoyo. Obuwombeefu butuusa ku buwanguzi.

11. Mu ngeri ki obuwombeefu gye buyinza okutemera omuntu oluwenda okukkiriza amazima?

11 Harold bye yayitamu ng’omuserikale, byamuleetera ennyiike n’okubuusabuusa obanga Katonda gyali. Akabenje akaaletebwawo omugoba atamidde kaamuleka alemadde, era ekyo ne kisajjula ebizibu bye. Abajulirwa ba Yakuwa bwe baamukyalira awaka we, Harold yabagamba baleme kuddamu kumukyalira. Naye lumu, Omujulirwa ayitibwa Bill yeeteekateeka okukyalira omuntu eyali ayagala okumanya ebisingawo ku Baibuli eyali abeera ennyumba nga bbiri okuva ku ya Harold. Kyokka mu butanwa, Bill yakonkona ku luggi lwa Harold. Harold eyali atambulira ku miggo gy’abalema bwe yaggulawo, Bill yamwetondera n’amugamba nti yali agenderedde kukyalira maka malala agaliraanyewo. Harold yakola ki? Bill kyataamanya, Harold yali alabye amawulire ku ttivi kwe baalagira Abajulirwa nga bakolera wamu okuzimba Ekizimbe ky’Obwakabaka ekippya mu kaseera mpawe kaaga. Kyamwewuunyisa nnyo okulaba abantu bangi nga bakolera wamu, era ekyo kyakyusa endowooza ye ku Bajulirwa. Ng’akwatiddwako okwetonda kwa Bill n’obuwombeefu bwe, Harold yasalawo okukkiriza Abajulirwa okumukyalira. Yayiga Baibuli, n’akulaakulana, era n’afuuka omuweereza wa Yakuwa omubatize.

Mu Kibiina

12. Ngeri ki ez’ensi abali mu kibiina Ekikristaayo ze bandyewaze?

12 Embeera ey’okusatu obuwombeefu we bwetaagisiza ennyo kye kibiina Ekikristaayo. Obukuubagano kintu ekya bulijjo mu nsi ya kakyo kano. Okukuba empaka, okuyomba n’obutakaanya, bintu ebisangibwa mu abo abatunuulira obulamu okusinziira ku ndaba ey’obuntu. Emirundi egimu, engeri bwe zityo ez’ensi ziyingira mu kibiina Ekikristaayo era ne zeeyolekera mu butakaanya ne mu kuyomba. Ab’oluganda ab’obuvunaanyizibwa tekibasanyusa bwe baba nga balina okutereeza embeera bw’etyo. Kyokka, okwagala kwe balina eri Yakuwa ne baganda baabwe kubaleetera okuyamba aboonoonyi okwenenya era n’okukola enkyukakyuka.​—Abaggalatiya 5:25, 26.

13, 14. Kiki ekiyinza okuva mu ‘kubuulira n’obuwombeefu abawakanyi’?

13 Mu kyasa ekyasooka, Pawulo ne mukozi munne Timoseewo baayolekagana n’ebizibu ebyaleetebwawo abamu mu kibiina. Pawulo yalabula Timoseewo okwekuuma ab’oluganda abalinga ‘ebibya ebitalina kitiibwa.’ “Omuddu wa Mukama waffe tekimugwanira kulwananga, wabula okubeeranga omukkakkamu eri bonna, omuyigiriza, omugumiikiriza, abuulirira n’obuwombeefu abawakanyi,” bw’atyo Pawulo bwe yagamba. Bwe tusigala nga tuli bawombeefu ne bwe tuba nga tusosonkerezeddwa, abo abatakkiriziganya naffe batera okweddamu. N’ekivaamu, Yakuwa asobola okubawa “okwenenya olw’okutegeerera ddala amazima” nga Pawulo bwe yeeyongera okuwandiika. (2 Timoseewo 2:20, 21, 24, 25) Weetegereze nti Pawulo agatta obukkakkamu n’okwefuga ku buwombeefu.

14 Pawulo yakoleranga ku bye yabuuliranga. Bwe yali ng’ayogera ku “batume abeetwala okuba aba waggulu” mu kibiina ky’e Kkolinso, yakubiriza bw’ati ab’oluganda: “Nze kennyini Pawulo mbeegayirira olw’obukkakkamu n’obuwombeefu bwa Kristo, nze gwe mutoowaza bwe mba ssiriiwo mpitibwa muzira.” (2 Abakkolinso 10:1; 11:5, NW) Mazima ddala, Pawulo yakoppa Kristo. Weetegereze nti yakubiriza ab’oluganda bano ng’asinziira ku ‘buwombeefu’ bwa Kristo. N’olwekyo, yeewala okukaka n’okufuga abalala. Awatali kubuusabuusa okubuulirira kwe kwasikiriza abo abaali mu kibiina abaalina emitima emiwombeefu. Yatereeza embeera eyali eyonoonese n’ateekawo omusingi ogusinziirwako okuleetawo emirembe n’obumu mu kibiina. Kino ffenna si kye twandifubye okukola? Naddala abakadde basaanidde okukoppa Kristo ne Pawulo mu bikolwa byabwe.

15. Lwaki obuwombeefu bukulu mu kuwabula?

15 Obuvunaanyizibwa obw’okuyamba abalala tebukoma ku kiseera emirembe n’obumu mu kibiina we bibeerera nga biri mu kabi. Ng’enkolagana tennayonooneka, ab’oluganda baba beetaaga obulagirizi. Pawulo yakubiriza: “Ab’oluganda, omuntu bw’alabibwanga ng’akutte ekkubo ekyamu, mmwe abalina ebisaanyizo eby’eby’omwoyo mumutereeze.” Mu ngeri ki? “Mu mwoyo ogw’obuwombeefu; nga mmwekuuma mmwekka nammwe mulemenga okukemebwa.” (Abaggalatiya 6:1, NW) Okubeera ‘n’omwoyo omuwombeefu’ si kyangu, naddala okuva Abakristaayo, nga mw’otwalidde n’abasajja abalondeddwa bwe baasikira ekibi. Wadde kiri kityo, awabula bw’aba omuwombeefu, kiviirako ayonoonye okukola enkyukakyuka ezeetaagisa.

16, 17. Kiki ekiyinza okuyamba omuntu okuteeka mu nkola okuwabula?

16 Mu Luyonaani olwasooka, ekigambo ekivvuunulwa “okutereeza” era kirina amakulu g’okutereeza amagumba agamanyese, ekintu ekireeta obulumi obw’amaanyi. Omusawo atereeza amagumba agamenyese ayogera bulungi ku miganyulo egiva mu kukola ekintu ekyo. Omulwadde abudaabudibwa nnyo omusawo bw’abeera omukkakkamu. Ebigambo ebitono byayogera nga tannaba kugatereeza biyamba nnyo mu kiseera eky’obulumi. Mu ngeri y’emu okutereezebwa mu by’omwoyo kiyinza okuba eky’obulumi. Naye bwe kukolebwa mu buwombeefu, kiviirako omuntu okukkiriza okuwabulibwa, enkolagana ennungi n’eddawo, era omwonoonyi n’akyusa amakubo ge. Ne bwe kiba nti gwe bawabula tasoose kukkiriza kuwabulibwa, awabula bw’aba omuwombeefu, kiviirako awabulibwa okukolera ku kubuulirira kw’omu Byawandiikibwa.​—Engero 25:15.

17 Mu kuyamba abalala okutereera, wayinza okubaawo akabi ak’okutwala okuwabula ng’okukolokota. Omuwandiisi omu yakiteeka bw’ati: “Bwe tuba tuwabula tuyinza okwesanga nga tukikoze mu ngeri ey’obukambwe, n’olwekyo kikulu nnyo okubeera abawombeefu.” Okukulaakulanya obuwombeefu kijja kuyamba Omukristaayo awabula okwewala akabi ako.

“Eri Abantu Bonna”

18, 19. (a) Lwaki Abakristaayo bayinza okukisanga nga kizibu okwoleka obuwombeefu nga bakolagana n’ab’obuyinza? (b) Kiki ekinaayamba Abakristaayo okwoleka obuwombeefu nga bakolagana n’ab’obuyinza, era biki ebiyinza okuvaamu?

18 Abantu bangi bakisanga nga kizibu nnyo okubeera abawombeefu nga bakolagana n’ab’obuyinza. Kituufu nti engeri ab’obuyinza gye beeyisaamu eyoleka obukambwe n’obutalumirirwa balala. (Omubuulizi 4:1; 8:9) Kyokka, okwagala kwe tulina eri Yakuwa kujja kutuyamba okukkiriza obuyinza bwe obw’oku ntikko era ne tugondera ne gavumenti nga bwe kyetaagisa. (Abaruumi 13:1, 4; 1 Timoseewo 2:1, 2) Ne bwe kiba nti ab’obuyinza bagezaako okutukugira okubuulira, tugezaako okunoonya engeri endala eziba zikyasoboka ne tusobola okutendereza Yakuwa.​—Abaebbulaniya 13:15.

19 Tetuyinza n’akamu okweyisa mu ngeri ey’obukambwe. Tugezaako obutaguguba kyokka ate nga tetwekkiriranya misingi gya Baibuli. Mu ngeri eno, baganda baffe basobola okutuukiriza obuweereza bwabwe mu nsi 234 okwetooloola ensi. Tugoberera okubuulirira kwa Pawulo ‘okugonderanga abafuga n’abalina obuyinza, okuwuliranga, okweteekerateekeranga buli kikolwa kyonna ekirungi, obutavumanga muntu yenna, obutalwananga, okwewombeekanga, nga tulaga obuwombeefu eri abantu bonna.’​—Tito 3:1, 2.

20. Mikisa ki egirindiridde abo abooleka obuwombeefu?

20 Emikisa mingi nnyo girindiridde abo abooleka obuwombeefu. “Balina omukisa abateefu,” bw’atyo Yesu bwe yagamba, “kubanga abo balisikira ensi.” (Matayo 5:5) Eri baganda ba Kristo abaafukibwako amafuta, okubeera abawombeefu kibakkakkasa nti bajja kufuna essanyu n’enkizo ey’okufuga ensi. Ate bo ‘ab’ekibiina ekinene’ ‘eky’endiga endala,’ beeyongera okubeera abawombeefu era beesunga okubeera abalamu mu Lusuku lwa Katonda ku nsi. (Okubikkulirwa 7:9; Yokaana 10:16; Zabbuli 37:11) Nga ssuubi lya kitalo eriri mu biseera eby’omu maaso! N’olwekyo, ka tuleme kulagajjalira ebyo Pawulo bye yajjukiza Abakristaayo b’omu Efeso: ‘Kyenva mbeegayirira nze omusibe mu Mukama waffe okutambulanga nga bwe kusaanira okuyitibwa kwe mwayitibwa, n’obukkakkamu bwonna n’obuwombeefu.’​—Abaefeso 4:1, 2.

Okwejjukanya

• Mikisa ki egiva mu kwoleka obuwombeefu

• mu maka?

• mu buweereza bw’ennimiro?

• mu kibiina?

• Mikisa ki egisuubizibwa abawombeefu?

[Ebibuuzo]

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 25]

Obuwombeefu bwetaagisa naddala mu maka agatali bumu mu nzikiriza

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 25]

Obuwombeefu bunyweza enkolagana y’ab’omu maka

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 27]

Nnyonnyola mu ngeri ey’obuwombeefu era ng’owa ekitiibwa

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 28]

Obuwombeefu bw’oyo awabula buyinza okuyamba omwonoonyi