Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abavubuka Abasanyusa Omutima gwa Yakuwa

Abavubuka Abasanyusa Omutima gwa Yakuwa

Abavubuka Abasanyusa Omutima gwa Yakuwa

Ebitundu bino eby’okusoma okusingira ddala byategekebwa okuganyula abavubuka Abajulirwa ba Yakuwa. N’olwekyo, tukubiriza abavubuka okubisoma n’obwegendereza era n’okuddamu emirundi mingi nga bwe kisoboka nga bikubaganyizibwako ebirowoozo mu kibiina mu lukuŋŋaana lw’Okusoma Omunaala gw’Omukuumi.

“Mwana wange, beeranga n’amagezi osanyusenga omutima gwange, ndyokenga nziremu oyo anvuma.”​—Engero 27:11.

1, 2. (a) Nnyonnyola ensonga lwaki okusikirizibwa ebintu ebiri mu nsi tekitegeeza nti tosaanidde kubeera Mukristaayo. (Abaruumi 7:21) (b) Kiki ky’oyiga okuva ku kyokulabirako kya Asafu? (Laba akasanduuko ku lupapula 7.)

KUBA ekifaananyi ng’oli mu dduuka ogula olugoye. Ng’okeberakebera, olaba olugoye olukusikiriza. Langi yaalwo, engeri gye lwatungibwamu n’ebbeeyi yaalwo, bisikiriza. Naye weeyongera okulwekenneenya. Kikwewuunyisa nnyo okulaba ng’olugoye olwo lukunjubuse ku mabbali gaalwo, ate era nga lwatungibwa bubi. Wadde ng’olugoye olwo lusikiriza, si lulungi. Wandyonoonye ssente zo n’ogula olugoye ng’olwo olutali lulungi?

2 Kino kigeraageranye ku mbeera gy’oyinza okwolekagana nayo ng’omuvubuka Omukristaayo. Okusookera ddala, bw’otunuulira ebintu ebiri mu nsi, okufaananako olugoye luli, biyinza okulabika ng’ebisikiriza. Ng’ekyokulabirako, basomi bano bayinza okugenda ku bubaga obunyuma, okunywa enjaga, okunywa omwenge, okubeera ne baganzi baabwe era n’okwenyigira mu bukaba. Oluusi osikirizibwa okwenyigira mu bulamu obw’ekika ng’ekyo? Weegomba okulegako ku eryo lye bayita eddembe? Bwe kiba bwe kityo, toyanguyiriza kugamba nti oli mubi era nti tosaanidde kubeera Mukristaayo. Amazima gali nti, Baibuli ekyoleka kaati nti ensi erina amaanyi agasikiriza, era esobola n’okusikiriza omuntu ayagala okusanyusa Katonda.​—2 Timoseewo 4:10.

3. (a) Lwaki kya kabi okuluubirira ebintu by’ensi? (b) Omukristaayo omu ayogera atya ku kuluubirira ebintu by’ensi ebitaliimu?

3 Kati nno weekenneenye bulungi ebintu ebiri mu nsi eno nga bwe wandyekenneenyezza olugoye lw’oyagala okugula. Weebuuze, ‘Enteekateeka y’ebintu eno nnungi kwenkana wa?’ Baibuli egamba nti “ensi eggwaawo.” (1 Yokaana 2:17) Amasanyu gonna agagirimu ga kaseera buseera. Okwongereza ku ekyo, empisa embi ezigirimu zivaamu eby’akabi bingi nnyo. Mazima ddala si birungi. Omukristaayo omu agumiikiriza ekyo ky’ayita “obulumi obuva mu kukozesa obubi obuvubuka bwe,” agamba: “Ensi eyinza okulabika ng’esikiriza. Era eyagala okukukkirizisa nti osobola okunyumirwa amasanyu gaayo nga tofunye bulumi bwonna. Naye ekyo tekisoboka n’akamu. Ensi ejja kukukozesa, era bw’eneeba ng’emaliriza, ejja kukusuula wala.” * Lwaki wandyonoonedde obuvubuka bwo ku bintu ng’ebyo ebitagasa bulamu?

Okukuumibwa Okuva ku “Mubi”

4, 5. (a) Ng’ebulayo akaseera katono afe, kiki Yesu kye yasaba Yakuwa? (b) Lwaki okusaba okwo kwali kutuukirawo?

4 Bwe bamanya nti enteekateeka y’ebintu eno terina kalungi k’eyinza kubawa, abavubuka Abajulirwa ba Yakuwa bafuba okwewala okukola omukwano n’ensi eno. (Yakobo 4:4) Oli omu ku bavubuka abo abeesigwa? Bwe kiba kityo, osaanidde okwebazibwa. Kyo kituufu nti, si kyangu kuziyiza kupikirizibwa balala era n’okweraga ng’oli wa njawulo, naye waliwo asobola okukuyamba.

5 Ng’ebulayo akaseera katono afe, Yesu yasaba Yakuwa ‘akuume’ abayigirizwa be ‘olw’omubi.’ (Yokaana 17:15) Yesu yalina ensonga ennungi okusaba bw’atyo. Yamanya nti tekyandibeeredde kyangu bagoberezi be okubeera abeesigwa, ka babe nga bakulu oba nga bato. Lwaki? Nga Yesu bwe yagamba, ensonga emu eri nti, abayigirizwa be bandyolekaganye n’omulabe ow’amaanyi atalabika​—“omubi,” Setaani Omulyolyomi. Baibuli egamba nti ekitonde kino eky’omwoyo ‘kitambulatambula ng’empologoma ewuluguma, ng’anoonya gw’anaalya.’​—1 Peetero 5:8.

6. Tumanya tutya nti Setaani tayagala bavubuka?

6 Mu byafaayo byonna, Setaani abadde asanyukira okuyisa obubi abantu. Lowooza ku bizibu eby’amaanyi ennyo Setaani bye yatuusa ku Yobu n’ab’omu maka ge. (Yobu 1:13-19; 2:7) Oboolyawo oyinza okujjukirayo ebintu ebibaddewo mu bulamu bwo ebyoleka ebikolwa bya Setaani eby’obukambwe. Omulyolyomi atambulatambula ng’anoonya gw’anaalya, era tataliza na bavubuka. Ng’ekyokulabirako, mu ntandikwa y’ekyasa ekyasooka C.E., Kerode yakola olukwe okutta abaana ab’obulenzi bonna mu Besirekemu abaali baweza emyaka egy’obukulu ebiri n’okukka wansi. (Matayo 2:16) Kirabika Setaani ye yakubiriza Kerode okukola ekyo​—ng’ayagala okutta omwana eyandibadde Masiya, Katonda gwe yali asuubizza era gwe yandikozesezza okusalira Setaani omusango! (Olubereberye 3:15) Kya lwatu, Setaani tayagala bavubuka. Ekiruubirirwa kye kwe kusaanyawo abantu bangi nga bwe kisoboka. Ekyo bwe kiri naddala kaakano, kubanga Setaani yagobebwa okuva mu ggulu n’asuulibwa ku nsi “ng’alina obusungu bungi ng’amanyi ng’alina akaseera katono.”​—Okubikkulirwa 12:9, 12.

7. (a) Yakuwa ayawukana atya ku Setaani? (b) Kiki Yakuwa ky’akwagaliza ekikwata ku bulamu?

7 Okwawukana ku Setaani alina “obusungu obungi,” Yakuwa alina ‘ekisa kingi.’ (Lukka 1:78) Yakuwa kye kyokulabirako ekisingayo obulungi eky’okwagala. Mazima ddala, Omutonzi waffe ayoleka engeri eno ku kigero eky’amaanyi ennyo ne kiba nti ne Baibuli egamba bw’eti: “Katonda kwagala.” (1 Yokaana 4:8) Nga waliwo enjawulo ya maanyi nnyo wakati wa katonda ow’emirembe gino ne Katonda gw’osinza! Wadde nga Setaani anoonya gw’anaalya, ‘Yakuwa ye tayagala muntu yenna kuzikirira.’ (2 Peetero 3:9) Obulamu bw’abantu bonna abutwala nga bwa muwendo nnyo​—nga mwe muli n’obubwo. Yakuwa bw’akukubiriza mu Kigambo kye obutaba kitundu kya nsi, aba tagezaako kukulemesa kunyumirwa bulamu oba okukumalako eddembe. (Yokaana 15:19) Okwawukana ku ekyo, aba akukuuma okuva ku mubi. Kitaawo ow’omu ggulu akwagaliza okufuna ekintu ekisinga obulungi amasanyu g’omu nsi eno ag’akaseera obuseera. Akwagaliza okufuna ‘obulamu obwa nnamaddala’​—obulamu obutaggwaawo mu lusuku lwa Katonda ku nsi. (1 Timoseewo 6:17-19) Yakuwa akwagaliza okutuuka ku buwanguzi, era ekyo ky’akukubiriza okuluubirira. (1 Timoseewo 2:4) Okugatta ku ekyo, Yakuwa akwaniriza mu ngeri ey’enjawulo. Ngeri ki eyo?

‘Sanyusa Omutima Gwange’

8, 9. (a) Kirabo ki ky’oyinza okuwa Yakuwa? (b) Setaani avuma atya Yakuwa nga bwe kyeyolekera mu ebyo ebyatuuka ku Yobu?

8 Wali oguliddeko mukwano gwo ow’oku lusegere ekirabo era n’omulaba ng’amwenyamwenyamu olw’okuba awuniikiridde era akisiimye? Oyinza okuba nga wafumiitiriza nnyo ku kirabo ekisaanira okuweebwa omuntu oyo. Kati lowooza ku kibuuzo kino: Kirabo kya ngeri ki ky’oyinza okuwa Omutonzi wo, Yakuwa Katonda? Okusooka, ekirowoozo ekyo kiyinza okulabika ng’ekitali kya magezi. Kiki Omuyinza w’ebintu byonna kye yeetaaga okuva eri abantu? Kiki ky’oyinza okumuwa ky’atalina? Baibuli eddamu mu Engero 27:11: “Mwana wange, beeranga n’amagezi osanyusenga omutima gwange, ndyokenga nziremu oyo anvuma.”

9 Nga bw’okimanyi okuva mu kuyiga kwo okwa Baibuli, Setaani Omulyolyomi y’avuma Yakuwa. Agamba nti abantu tebaweereza Katonda olw’okuba bamwagala, wabula olw’okuba nti waliwo bye baagala okumufunako. Setaani agamba nti singa babonaabona, basobola okulekulira okusinza okw’amazima. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ebyo Setaani bye yagamba Yakuwa ku nsonga eyali ekwata ku musajja omutuukirivu Yobu: “Tomukomedde lukomera okumwetooloola ye n’ennyumba ye ne byonna by’alina, enjuyi zonna? Owadde omukisa omulimu gw’engalo ze, n’ebintu bye byaze mu nsi. Naye kaakano golola omukono gwo okome ku byonna by’alina, kale, alikwegaanira mu maaso go.”​—Yobu 1:10, 11.

10. (a) Tumanya tutya nti Setaani teyabuusabuusa bwesigwa bwa Yobu bwokka? (b) Okwatibwako otya ensonga y’obutonde bwonna?

10 Nga bwe kiragibwa mu Baibuli, Setaani teyabuusabuusa bwesigwa bwa Yobu yekka, naye era n’obw’abalala bonna abaweereza Katonda​—nga mw’otwalidde naawe. Mu butuufu, bwe yali ayogera ku bantu bonna, Setaani yagamba Yakuwa: “Byonna omuntu by’alina [si Yobu yekka, wabula buli muntu] alibiwaayo olw’obulamu bwe.” (Yobu 2:4) Olaba engeri gy’okwatibwako ku nsonga eno enkulu ennyo? Nga bwe kiri mu Engero 27:11, Yakuwa agamba nti waliwo ekintu ky’oyinza okumuwa​—ky’ayinza okusinziirako okuddamu oyo amuvuma, Setaani. Kifumiitirizeeko​—Omufuzi w’Obutonde Bwonna akukubiriza okubaako ky’okolawo mu kuddamu ensonga enkulu ebaddewo okumala ebbanga lyonna. Obwo nga buvunaanyizibwa bwa maanyi era nkizo ey’enjawulo gy’olina! Oyinza okutuukiriza Yakuwa ky’akusaba? Yobu yakituukiriza. (Yobu 2:9, 10) Yesu naye bw’atyo bwe yakola awamu n’abalala bangi nnyo mu byafaayo byonna, nga mw’otwalidde n’abavubuka bangi. (Abafiripi 2:8; Okubikkulirwa 6:9) Naawe osobola okukola ekintu kye kimu. Naye ekintu kimu kikakafu: Oteekwa okubaako n’oludda lw’ogwako. Okusinziira ku ngeri gye weeyisaamu, ojja kulaga obanga osemba Setaani okweyongera okuvuma Yakuwa oba nti oyagala okuwa Yakuwa eky’okuddamu Setaani. Kiki ky’onoolondawo okukola?

Yakuwa Akufaako!

11, 12. Kikulu eri Yakuwa okulondawo okumuweereza oba obutamuweereza? Nnyonnyola.

11 Yakuwa akitwala nga kikulu ludda ki lw’oba osazeewo okubeerako? Tewaliwo bantu bangi ababadde abeesigwa gy’ali abamusobozesezza okuddamu Setaani? Kituufu nti Omulyolyomi yagamba nti tewali muntu n’omu aweereza Yakuwa olw’okuba amwagala, ekyo kye yayogera kimaze okukakasibwa nga kikyamu. Wadde kiri kityo, Yakuwa ayagala obeere ku ludda lwe ku nsonga ey’obutonde bwonna kubanga akufaako ggwe nga kinnoomu. Yesu yagamba: “Tekyagalibwa mu maaso ga Kitammwe ali mu ggulu, omu ku abo abato bano okuzikirira.”​—Matayo 18:14.

12 Kya lwatu, Yakuwa afaayo nnyo ku ekyo ky’oba osazeewo okukola. N’ekisingawo n’obukulu, ky’oba osazeewo kirina kinene kye kimukolako. Baibuli ekiraga kaati nti Yakuwa alina enneewulira ekwatibwako ebintu ebirungi oba ebibi abantu bye bakola. Ng’ekyokulabirako, Abaisiraeri bwe baajeema enfunda n’enfunda, Yakuwa ‘yalumizibwa.’ (Zabbuli 78:40, 41) Ng’Amataba g’omu kiseera kya Nuuwa tegannabaawo, ‘obubi bw’omuntu bwe bwali obungi ku nsi,’ Yakuwa ‘yanakuwala mu mutima gwe.’ (Olubereberye 6:5, 6) Lowooza kino kye kitegeeza. Singa weeyisa bubi, oyinza okuleetera Omutonzi wo okunakuwala. Kino tekitegeeza nti Katonda munafu oba nti afugibwa enneewulira. Wabula, ekyo kitegeeza nti akwagala era akufaako. Ku ludda olulala, bw’okola ekirungi, omutima gwa Yakuwa gusanyuka. Ekimusanyusa, si kwe kuba nti alina ekirala eky’okuddamu Setaani kyokka, naye n’okuba nti kati asobola okukuwa Empeera. Era ekyo ky’ayagala okukola. (Abaebbulaniya 11:6) Nga Yakuwa Katonda, Kitaffe ow’okwagala ennyo!

Emikisa egy’Ekitalo Kaakano

13. Okuweereza Yakuwa kuvaamu kutya emikisa kaakano?

13 Emikisa egiva mu kuweereza Yakuwa si gya kufunibwa mu biseera eby’omu maaso byokka. Abavubuka bangi Abajulirwa ba Yakuwa bafuna essanyu n’obumativu kaakano, era balina ensonga ennungi kwe basinziira. Omuwandiisi wa Zabbuli yagamba: “Okuyigiriza kwa Mukama kwa butuukirivu, okusanyusa omutima.” (Zabbuli 19:8) Yakuwa amanyi bulungi ekitugwanira okusinga omuntu omulala yenna. Yakuwa yagamba bw’ati okuyitira mu nnabbi Isaaya: “Nze Mukama Katonda wo, akuyigiriza okugasa, akukulembera mu kkubo ly’oba oyitamu. Singa wawulira amateeka gange! [K]ale emirembe gyo gyandibadde ng’omugga, n’obutuukirivu bwo ng’amayengo g’ennyanja.”​—Isaaya 48:17, 18.

14. Emisingi gya Baibuli giyinza gitya okukuyamba okwewala obulumi obuva mu kubeera n’amabanja?

14 Okugoberera emisingi gya Baibuli kujja kukuyamba okwewala obulumi bungi. Ng’ekyokulabirako, Baibuli egamba nti abo abaagala essente “beefumitira ddala n’ennaku ennyingi.” (1 Timoseewo 6:9, 10) Waliwo abamu ku bavubuka banno abatuukiddwako ebintu ebyo ebibi ebiva mu kwagala essente ebyogerwako mu kyawandiikibwa kino? Abavubuka abamu balina amabanja ag’amaanyi olw’okuba balowooza nti bateekwa okufuna engoye awamu n’ebintu ebirala ebiri ku mulembe. Ebeera ngeri ya buddu obw’obulumi ennyo singa obeera n’ebbanja eddene ennyo ery’okusasulira ebintu by’otasobola!​—Engero 22:7.

15. Mu ngeri ki emisingi gya Baibuli gye gikukuumamu okuva ku bulumi obuva mu bugwenyufu?

15 Era lowooza ne ku nsonga ekwata ku bugwenyufu. Buli mwaka mu nsi yonna, abavubuka bangi nnyo abatali bafumbo bafuna embuto. Abamu bazaala abaana be bateeyagalidde oba be batasobola kulabirira. Abalala baggyamu embuto era ne batawaanyizibwa omuntu waabwe ow’omunda. Ate waliwo n’abavubuka abafuna endwadde eziva mu bukaba, gamba nga siriimu. Kya lwatu, eri oyo amanyi Yakuwa, ekintu ekisingayo obubi ky’ayinza okufuna kwe kwonoona enkolagana ye ne Yakuwa. * (Abaggalatiya 5:19-21) N’olwekyo, Baibuli egamba: “Mwewalenga obwenzi.”​—1 Abakkolinso 6:18.

Okuweereza ‘Katonda Omusanyufu’

16. (a) Tumanya tutya nti Yakuwa akwagaliza okunyumirwa obuvubuka bwo? (b) Lwaki Yakuwa akuteekerawo obulagirizi obw’okugoberera?

16 Baibuli eyogera ku Yakuwa nga Katonda “omusanyufu.” (1 Timoseewo 1:11, NW) Naawe ayagala obeere musanyufu. Mu butuufu, Ekigambo kye kigamba: “Sanyukiranga obuvubuka bwo, ggwe omulenzi.” (Omubuulizi 11:9) Naye Yakuwa talaba bibaawo mu kiseera ekyo kyokka, wabula asobola n’okumanya ebiyinza okuva mu nneeyisa ennungi oba embi mu biseera eby’omu maaso. Eyo ye nsonga lwaki akubuulirira: “Jjukira kati, Omutonzi wo ow’Ekitalo mu nnaku ez’obuvubuka bwo, ennaku embi nga tezinnajja n’emyaka nga teginnasembera bw’olyogera nti: Sigisanyukira n’akamu.”​—Omubuulizi 12:1, NW.

17, 18. Omuvubuka omu Omukristaayo yayoleka atya essanyu lye mu kuweereza Yakuwa, era naawe osobola otya okufuna essanyu lye limu?

17 Leero, abavubuka bangi bafunye essanyu lingi nnyo mu kuweereza Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, Lina ow’emyaka 15 agamba: “Ndi mumativu era nnina ekitiibwa. Nnina omubiri omulungi olw’okuba sifuuweeta sigala oba okunywa enjaga. Nfuna obulagirizi obw’omuwendo okuyitira mu kibiina obunyamba okwaŋŋanga okupikirizibwa kwa Setaani. Ndi musanyufu olw’emikwano emirungi gye nsanga mu Kizimbe ky’Obwakabaka. N’ekisinga byonna, nnina essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo wano ku nsi.”

18 Okufaananako Lina, abavubuka bangi Abakristaayo bafuba okubeera abeesigwa, era ekyo kibaleetera essanyu. Bakimanyi nti wadde ng’ebiseera ebimu bafuna ebizibu n’okupikirizibwa, obulamu bwabwe bulina ekigendererwa era balina ebiseera eby’omu maaso ebikakafu. N’olwekyo, weeyongere okuweereza Katonda akufaako ennyo. Sanyusa omutima gwe era naye ajja kukusanyusa kaakano n’emirembe gyonna!​—Zabbuli 5:11.

[Obugambo obuli wansi]

^ lup. 3 Laba ekitundu “Amazima Gaawonya Obulamu Bwange,” ekiri mu Awake! aka Okitobba 22, 1996.

^ lup. 15 Kizzaamu amaanyi okumanya nti omuntu bwe yeenenya, n’alekera awo okukola ebibi, era n’ayatula ebibi bye, Yakuwa ‘amusonyiyira ddala.’​—Isaaya 55:7.

Ojjukira?

• Kabi ki k’ofuna okuva eri ‘omubi,’ Setaani?

• Osobola otya okusanyusa omutima gwa Yakuwa?

• Baibuli ekiraga etya nti Yakuwa akufaako?

• Mikisa ki egimu egiva mu kuweereza Yakuwa?

[Ebibuuzo]

[Akasanduuko/Ekifaananyi akali ku lupapula 7]

Omusajja Omutuukirivu Katono Agwe

Asafu yali muyimbi Omuleevi omumanyifu ennyo mu yeekaalu ya Yakuwa mu Isiraeri ey’edda. Yayiiya n’ennyimba ezaakozesebwanga mu kusinza Yakuwa. Wadde nga yalina enkizo ez’enjawulo, okumala akabanga, Asafu yasikirizibwa empisa embi eza mikwano gye abaali bamenya amateeka ga Katonda nga balowooza nti tebasobola kubonerezebwa. Asafu yagamba bw’ati oluvannyuma: “Ebigere byange byali kumpi n’okugwa; okutambula kwange kwabulako katono [o]kuseerera. Kubanga ab’amalala bankwasa obuggya, bwe nnalaba ababi bwe balina omukisa.”​—Zabbuli 73:2, 3.

Oluvannyuma, Asafu yagenda awatukuvu wa Katonda era n’asaba ku nsonga eyo. Bwe yaddamu okutunuulira ensonga mu ngeri ey’eby’omwoyo, yakitegeera nti Yakuwa akyawa obubi era nti ekiseera kijja kutuuka ababi n’abatali batuukirivu bakungule bye basiga. (Zabbuli 73:17-20; Abaggalatiya 6:7, 8) Mazima ddala, ababi bali mu bifo eby’obuseerezi. Ku nkomerero ya byonna, bajja kugwa Yakuwa bw’anaaba azikiriza omulembe guno omubi.​—Okubikkulirwa 21:8.

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 9]

Yakuwa akufaako, kyokka ekiruubirirwa kya Setaani kwe kukulya

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 10]

Abavubuka bangi bafuna essanyu nga baweerereza wamu Yakuwa ne Bakristaayo bannaabwe