Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Wa w’Oyinza Okuzuula Obulagirizi Obutuufu mu by’Omwoyo?

Wa w’Oyinza Okuzuula Obulagirizi Obutuufu mu by’Omwoyo?

Wa w’Oyinza Okuzuula Obulagirizi Obutuufu mu by’Omwoyo?

“BW’OBA ogenda kubeera mu ddiini olw’okuba ab’omu maka go gye balimu, lwaki tolondayo eddiini bajjajja ffe ab’omu Bulaaya gye baagobereranga emyaka 2000 egiyise?” Bw’atyo Rodolphe bw’abuuza mu ngeri ekiina. Ekirowoozo ekyo kireetera omuvubuka amuwuliriza akamwenyumwenyu.

“Enkolagana yange ne Katonda nkulu nnyo,” bw’atyo Rodolphe bw’agamba. “Mpakannyiza ddala endowooza egamba nti nnina okukakibwa okugoberera eddiini olw’okuba abamu ku b’eŋŋanda zange abaaliwo emyaka kkumi oba kikumi emabega baagigobereranga.” Rodolphe yeekenneenya ebintu n’obwegendereza; teyatwala nsonga eno enkulu okubeera obubeezi ekintu kye yasikira.

Newakubadde ng’okusikira eddiini okuva ku mulembe ogumu okutuuka ku mulala kugenda kukendeera ennaku zino, bangi bakyagoberera eddiini y’abeŋŋanda zaabwe. Naye bulijjo kiba kituufu omuntu okunywerera mu ddiini y’abazadde be? Kiki Baibuli ky’egamba?

Oluvannyuma lw’okumala emyaka 40 mu ddungu, Yoswa omusika wa Musa yagamba bw’ati Abaisiraeri: “Oba nga mulowooza nga kibi okuweerezanga Mukama, mulondewo leero gwe munaaweerezanga; oba bakatonda ba bajjajjammwe, abaali emitala w’Omugga be baaweerezanga, oba bakatonda ab’Amoli, bannannyini nsi mwe muli, naye nze n’ennyumba yange tunaaweerezanga Mukama.”​—Yoswa 24:15.

Omu ku bajjajjaabwe Yoswa gwe yayogerako yali Teera, taata wa Ibulayimu, eyali abeera mu kibuga Uli mu kiseera ekyo ekyali kisangibwa ebuvanjuba w’Omugga Fulaati. Baibuli terina nnyo kyeyogera ku Teera okuggyako okugamba nti yali asinza bakatonda abalala. (Yoswa 24:2) Mutabani we Ibulayimu, wadde nga yali tamanyi kigendererwa kya Katonda mu bujjuvu, yali mwetegefu okuleka ekibuga ky’ewaabwe, Yakuwa bwe yamulagira. Yee, Ibulayimu yalondawo eddiini eyali ey’enjawulo ku ya kitaawe. Olw’okuba yakola bw’atyo, Ibulayimu yafuna emikisa Katonda gye yamusuubiza era n’afuuka omuntu amadiini mangi gwe gayita “jjajja wa bonna abakkiririza mu Katonda.”​—Abaruumi 4:11, Today’s English Version.

Baibuli era eyogera bulungi ku bikwata ku Luusi jjajja wa Yesu Kristo. Luusi omukazi Omumowaabu eyali afumbiddwa Omuisiraeri, yafuuka nnamwandu era n’ayolekagana n’okusalawo kuno: okusigala mu nsi ye oba okugenda ne nnazaala we mu Isiraeri. Olw’okutegeera nti okusinza Yakuwa kwali kusingira wala nnyo eddiini ey’okusinza ebifaananyi eyagobererwanga bazadde be, Luusi yagamba bw’ati nnazaala we: “Abantu bo be banaabanga abantu bange, era Katonda wo Katonda wange.”​—Luusi 1:16, 17.

Ng’eyogera ku makulu g’ebyafaayo bino mu Baibuli, enkuluze eyitibwa Dictionnaire de la Bible ennyonnyola nti ebyawandiikibwa bino biraga “engeri omukazi omugwira eyazaalibwa mu bantu abatasinza Katonda ow’amazima, abantu abaali ab’akabi era abataagalibwa Baisiraeri, . . . olw’okwagala eggwanga lya Yakuwa n’okusinza kwe, yafuna omukisa okuba jjajja wa Kabaka omutukuvu Dawudi.” Luusi teyalonzalonza kulondawo ddiini eyali ey’enjawulo ku y’abazadde be, era olw’okusalawo okwo yafuna emikisa gya Yakuwa.

Ebyawandiikibwa ebyogera ku ntandikwa y’Obukristaayo, biraga bulungi ensonga lwaki abagoberezi ba Yesu baayabulira eddiini ya bajjajjaabwe. Mu kwogera okusikiriza ennyo, omutume Peetero yakubiriza abaali bamuwuliriza ‘okulokolebwa okuva mu mirembe egyakyama’ nga beenenya ebibi byabwe era nga babatizibwa mu linnya lya Yesu Kristo. (Ebikolwa 2:37-41) Omu ku byokulabirako eby’enkukunala yali Sawulo, Omuyudaaya eyayigganyanga Abakristaayo. Bwe yali mu kkubo ng’agenda e Damasiko, yalaba Kristo mu kwolesebwa, era oluvannyuma yafuuka Omukristaayo eyamannyibwa ng’omutume Pawulo.​—Ebikolwa 9:1-9.

Kyokka, bangi ku Bakristaayo abaasooka tebaafuna kwolesebwa ng’okwo. Wadde kyali kityo, bonna baalina okwabulira eddiini ey’Ekiyudaaya oba okusinza bakatonda ab’obulimba. Abo abakkiriza Obukristaayo baakikola oluvannyuma lw’okwetegereza n’obwegendereza ekifo kya Yesu nga Masiya. (Ebikolwa 8:26-40; 13:16-43; 17:22-34) Abakristaayo abo abaasooka baategeezebwa obwetaavu bw’okukola enkyukakyuka mu bulamu bwabwe. Bonna baategeezebwa, Abayudaaya n’ab’Amawanga, kyokka obubaka bwasigala nga bwe bumu. Okusobola okusanyusa Katonda kyali kyetaagisa okugoberera ensinza empya, ey’Obukristaayo.

Okusalawo Okukulu eri Bonna

Mazima ddala, kyali kyetaagisa obuvumu mu kyasa ekyasooka okwesamba eddiini eyagobererwanga ab’omu maka, kwe kugamba, eddiini y’Ekiyudaaya, okusinza kabaka, n’okusinza ebifaananyi, era ne beegatta ku ddiini eyali ennyoomebwa Abayudaaya n’Abaruumi. Okusalawo kuno kwaviirako okuyigganyizibwa okw’amaanyi. Leero, kyetaagisa obuvumu bwe bumu okusobola okwewala okugoberera ekyo ekiba kiriwo, nga Hippolyte Simon, bisopu Omukatuliki ow’e Clermont-Ferrand, bw’ayogera mu kitabo kye ekiyitibwa Vers une France païenne? (Okufuula Bufalansa Enkaafiiri) Kyetaagisa obuvumu okuba mu kibiina ky’eddiini ekitono oluusi ekivumibwa, kwe kugamba eky’Abajulirwa ba Yakuwa.

Pawulo, omuvubuka okuva mu Bastia, Corsica, eyakuzibwa mu ddiini y’Abakatuliki, era ng’emirundi mingi yenyigiranga mu bintu ebyakolebwanga mu kkanisa gamba ng’okutunda keeke okusobola okukuŋŋaanya sente ez’ekibiina ky’Abakatuliki ekigaba obuyambi. Olw’okwagala okumanya ekisingawo, yakkiriza okukubaganya ebirowoozo ku Baibuli obutayosa n’Abajulirwa ba Yakuwa. Bwe waayitawo ekiseera, yakiraba nti bye yali ayiga byandimuleetedde emiganyulo egy’olubeerera. N’ekyavaamu, Pawulo yakkiriza emitindo gya Baibuli era n’afuuka omu ku Bajulirwa ba Yakuwa. Bazadde be bakkiriza okusalawo kwe, era okusalawo kwe tekwayonoona nkolagana yaabwe ey’oku lusegere mu maka.

Amélie abeera mu bukiika kkono bwa Bufalansa. Ab’omu maka ge babadde Bajulirwa ba Yakuwa okutuukira ddala ku mulembe ogw’okuna. Lwaki yasalawo okugoberera emitindo gy’eddiini y’abazadde be? Agamba bw’ati: “Tobeera omu ku Bajulirwa ba Yakuwa olw’okuba bazadde bo oba bajjajja bo baali Bajulirwa ba Yakuwa. Naye olumu, gwe kennyini otuuka n’ogamba nti, ‘Ddiini yange kubanga nzikiriza enjigiriza zaayo.’” Okufaananako Abajulirwa ba Yakuwa abalala bangi abato, Amélie amanyi nti enzikiriza ze ez’eddiini zimuwa ekigendererwa mu bulamu era n’essanyu ery’olubeerera.

Ensonga Lwaki Wandikkiriza Obulagirizi bwa Katonda

Ekitabo ky’Engero, essuula 6 olunyiriri 20 kikubiriza abo abaagala okusanyusa Katonda: “Mwana wange, okwatanga ekiragiro kya kitaawo, so tolekanga tteeka lya nnyoko.” Mu kifo ky’okumala gagoberera eddiini yonna, okubuulirira ng’okwo kukubiriza abavubuka okugondera emitindo gya Katonda nga banyweza okukkiriza kwabwe, era nga bo bennyini banywerera ku Katonda. Omutume Pawulo yakubiriza banne ‘okwekenneenya ebigambo byonna,’ okukebera obanga ebyo ebyali bibayigirizibwa byali bikwatagana n’Ekigambo kya Katonda awamu n’ebyo by’ayagala era babikolereko.​—1 Abasessaloniika 5:21.

Ka babe nti baakuzibwa mu maka Amakristaayo oba nedda, Abajulirwa ba Yakuwa, abato n’abakulu, abasukka mu bukadde 6 bakoze okusalawo ng’okwo. Okuyitira mu kusoma Baibuli n’obwegendereza, bazudde eby’okuddamu ebyesigika mu bibuuzo byabwe ebikwata ku kigendererwa ky’obulamu era ne Katonda ky’ayagala abantu bakole. Oluvannyuma lw’okufuna okumanya kuno, bakkirizza emitindo gya Katonda era bakola kyonna kye basobola okutuukiriza Katonda by’ayagala.

K’obe ng’osoma magazini eno obutayosa oba nedda, lwaki tokkiriza Abajulirwa ba Yakuwa okukuyamba okusoma Baibuli yo weekenneenye emitindo gyayo egy’eby’omwoyo. Mu ngeri eno ojja kusobola ‘okulega otegeere nga Mukama mulungi’ ofune okumanya okukulembera okutuuka mu bulamu obutaggwaawo bw’onooba okukoleddeko.​—Zabbuli 34:8; Yokaana 17:3.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 3]

Emirembe ena egy’amaka g’Abajulirwa ba Yakuwa mu Bufalansa

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 5]

Luusi yasalawo okuweereza Yakuwa mu kifo kya bakatonda ba bajjajja be