Kiki Ekituuse ku Bibiina Ebigaba Obuyambi?
Kiki Ekituuse ku Bibiina Ebigaba Obuyambi?
OLUVANNYUMA lw’obulumbaganyi ku Kibuga New York ne Washington, D.C., nga Ssebutemba 11, 2001, kyewuunyisa nnyo engeri abantu okutwalira awamu gye baayambamu abo abaakosebwa akatyabaga. Ebibiina ebigaba obuyambi byawuniikirira olw’essente ezaabiweebwa eziwerera ddala doola obuwumbi 2.7 zibiyambe okulabirira ab’omu maka g’abo abaakosebwa. Olw’okuba abantu bangi baakwatibwako olw’ebintu bingi ebyayonoonebwa, abantu okuva ebule n’ebweya baayagala okuyamba.
Kyokka, abantu abamu baanakuwala bwe kyazuulibwa nti ebibiina ebimu ebyatiikirivu byali tebikozesa ssente ezo okutuukiriza ekyo ekyali kigendereddwa. Waaliwo okwemulugunya kwa maanyi nnyo olwa alipoota eyagamba nti ekibiina ekimu ekigaba obuyambi kyali kiteekateeka okwezza kumpi kimu kya kubiri ekya doola obukadde 546 ze kyafuna, era kizikozese ku bintu ebirala. Wadde ng’ekibiina ekyo oluvannyuma tekyakola bwe kityo era ne kyetonda, omukuŋŋaanya w’amawulire omu yagamba: “Ekikolwa kino abantu abeekenneenya ebikoleddwa n’ebyogeddwa bakitwala ng’ekitakyasobozesa kuzzaawo bwesigwa bwe baalina mu kibiina ekyo” ng’obulumbaganyi tebunnabaawo. Ate ggwe? Obwesige bw’obadde olina mu bibiina ebigaba obuyambi bukendedde?
Kigasa Okuwa Ebibiina Ebigaba Obuyambi Ensimbi oba Kuba Kuzidiibuuda?
Okutwalira awamu, okuwa ebibiina ebigaba obuyambi ensimbi kitwalibwa okuba empisa ennungi. Kyokka, abantu bonna tebakkiriziganya n’ekyo. Emyaka egisukka mu 200 egiyise, Samuel Johnson, Omungereza omuwandiisi w’ebitabo, yawandiika: “Obeera mumativu nti okola kirungi bw’osasula abakozi ssente, olw’emirimu gye baba bakoze, okusinga okuwa ebibiina ebigaba obuyambi ssente.” Ne leero, abantu abamu tekibanguyira kuwa bibiina ebigaba obuyambi ssente, era alipoota ezikwata ku bibiina ebikozesa obubi ssente eziba zibiweereddwa, zireetera abantu okubiggyamu obwesige. Lowooza ku byokulabirako bibiri ebyakabaawo.
Dayirekita w’ekibiina ky’eddiini ekigaba obuyambi ekiri mu San Francisco yagobebwa olw’okukozesa ssente z’ekibiina okusasulira ebisale eby’okutereeza olususu lwe era ne doola 500 ze yalyanga mu wooteeri buli wiiki okumala emyaka ebiri. Mu Bungereza, abateesiteesi ba programu ku ttivi ey’okugaba obuyambi kyababuukako bwe
baakizuula nti ku paawunda obukadde 6.5 (ze doola za Amerika obukadde nga 10) ezaaweerezebwa okuyamba okuzimba ebisulo bya bamulekwa mu Romania, ebizimbe 12 byokka ebitali ku mutindo bye byazimbibwa, era doola mitwalo na mitwalo tezaamanyibwako mayitere gaazo. Lipoota nga zino embi zireetedde abagaba obuyambi okwekengera ssente mmeka ze bandiwaddeyo, era baziwe ani.Omuntu Agabe oba Aleme Kugaba
Kyokka, kyandibadde kya nnaku okuleka ebikolwa by’abantu abamu oba ebibiina ebimu okutuleetera obutafaayo ku balala. Baibuli egamba: “Okusinza okulongoofu mu maaso ga Katonda Kitaffe kwe kuno, okulabiriranga abafuuzi ne bannamwandu mu bunaku bwabwe.” (Yakobo 1:27, NW) Yee, okufaayo ku baavu n’abanaku kikulu nnyo mu Bukristaayo.
Wadde kiri kityo, okyayinza okwebuuza, ‘Nneeyongere okuwaayo eri ebibiina ebigaba obuyambi, oba mpe bantu kinnoomu?’ Kugaba kwa ngeri ki Katonda kw’asiima? Ekitundu ekiddako kijja kuddamu ebibuuzo ebyo.