Kristo Ayogera eri Ebibiina
Kristo Ayogera eri Ebibiina
“Bw’ati bw’ayogera oyo akwata emmunyeenye omusanvu mu mukono gwe ogwa ddyo.”—OKUBIKKULIRWA 2:1.
1, 2. Lwaki twandifuddeyo ku ebyo Kristo bye yategeeza ebibiina omusanvu eby’omu Asiya Omutono?
OMWANA wa Yakuwa eyazaalibwa omu yekka, Yesu Kristo, ye Mutwe gw’ekibiina Ekikristaayo. Okusobola okukuuma ekibiina ky’abagoberezi be abaafukibwako amafuta nga tekiriiko kya kunenyezebwa, Kristo akozesa obukulembeze bwe ng’abasiima era ng’abawabula. (Abaefeso 5:21-27) Waliwo ebyokulabirako ebikwata ku kino mu Okubikkulirwa essuula 2 ne 3, we tusanga obubaka bwa Yesu obukulu era obw’okwagala eri ebibiina omusanvu eby’omu Asiya Omutono.
2 Ng’omutume Yokaana tannaba kuwulira bigambo bya Yesu eri ebibiina omusanvu, yasooka kufuna kwolesebwa okukwata ku “lunaku lwa Mukama.” (Okubikkulirwa 1:10) “Olunaku” olwo lwatandika Obwakabaka bwa Masiya bwe bwassibwawo mu 1914. N’olwekyo, Kristo bye yategeeza ebibiina ebyo, bikulu nnyo ne mu nnaku zino ez’oluvannyuma. Okukubiriza kwe n’okubuulirira bituyamba okwolekagana n’embeera ze tusanga mu biro bino eby’okulaba ennaku.—2 Timoseewo 3:1-5.
3. “Emmunyeenye,” “bamalayika,” ‘n’ettabaaza eza zaabu’ omutume Yokaana bye yalaba birina makulu ki ag’akabonero?
3 Yokaana yalaba Yesu Kristo agulumiziddwa ‘ng’alina emmunyeenye musanvu mu mukono gwe ogwa ddyo’ era “ng’atambulira wakati w’ettabaaza omusanvu eza zaabu,” oba ebibiina. “Emmunyeenye” be bamalayika ‘b’ebibiina omusanvu.’ (Okubikkulirwa 1:20; 2:1) Oluusi emmunyeenye zikiikirira ebitonde eby’omwoyo, naye Kristo teyandikozesezza muntu okuwandiikira ebitonde eby’omwoyo obubaka. N’olwekyo, “emmunyeenye” zino ziteekwa okuba nga zikiikirira abalabirizi abaafukibwako amafuta oba ekibiina ky’abakadde. Ekigambo “bamalayika” kitegeeza omulimu gwabwe ng’ababaka. Olw’okuba ekibiina kya Katonda kyeyongedde okugaziwa, “omuwanika omwesigwa” alonze n’abasajja abalina ebisaanyizo okuva mu abo ‘ab’endiga endala’ eza Yesu okubeera abalabirizi.—Lukka 12:42-44; Yokaana 10:16.
4. Abakadde baganyulwa batya bwe bassaayo omwoyo ku ebyo Kristo by’ategeeza ebibiina?
4 “Emmunyeenye” ziri mu mukono gwa Yesu ogwa ddyo, kwe kugamba, wansi w’obuyinza bwe, obulagirizi n’obukuumi bwe. N’olwekyo, bavunaanyizibwa gy’ali. Bwe bagoberera ebigambo bye yategeeza buli kimu ku bibiina omusanvu, abakadde ab’omu kiseera kino bafuna engeri gye basobola okugonjoolamu embeera ezizifaananako eziyinza okubaawo. Kya lwatu, Abakristaayo bonna beetaaga okuwuliriza Omwana wa Katonda. (Makko 9:7) N’olwekyo, kiki kye tuyinza okuyiga bwe tussaayo omwoyo nga Kristo ayogera eri ebibiina?
Eri Malayika ow’Omu Efeso
5. Efeso kyali kibuga kya ngeri ki?
5 Yesu yasiima era n’akangavvula ekibiina ky’omu Efeso. (Soma Okubikkulirwa 2:1-7) Yeekaalu gagadde eya katonda omukazi Atemi yali esangibwa mu kibuga ekyo ekyali ekigagga ennyo era ekifo eky’okusinzizzaamu, ekyali ebugwanjuba bwa Asiya Omutono. Wadde nga Efeso kyali kijjuddemu ebikolwa eby’obukaba, okusinza okw’obulimba n’obulogo, Katonda yawa omukisa obuweereza bw’omutume Pawulo awamu n’obw’abalala abaali mu kibuga ekyo.—Ebikolwa essuula 19.
6. Abakristaayo abeesigwa leero bafaanagana batya n’ab’omu Efeso eky’edda?
6 Kristo yasiima ekibiina ky’omu Efeso ng’agamba: “Mmanyi ebikolwa byo, n’okufuba kwo n’okugumiikiriza kwo, era nga toyinza kugumiikiriza babi, era wabakema abeeyita abatume so nga si bo, era wabalaba nga balimba.” Leero, n’ebibiina by’abagoberezi ba Kristo ab’amazima birina ebikolwa ebirungi ebibifaananako, gamba nga, okukola n’amaanyi n’obugumiikiriza. Tebattira liiso ab’oluganda ab’obulimba abaagala okutwalibwa ng’abatume. (2 Abakkolinso 11:13, 26) Okufaananako Abaefeso, Abakristaayo abeesigwa leero tebasobola ‘kugumiikiriza bantu babi.’ N’olwekyo, okusobola okukuuma okusinza kwa Yakuwa nga kulongoofu era n’ekibiina obutatuukibwako kabi, tebatabagana na bakyewaggula.—Abaggalatiya 2:4, 5; 2 Yokaana 8-11.
7, 8. Kizibu ki eky’amaanyi ekyaliwo mu kibiina ky’omu Efeso, era tusobola tutya okukola ku kizibu eky’engeri eyo?
7 Kyokka, Abakristaayo ab’omu Efeso baalina ekizibu eky’amaanyi. Yesu yagamba: “Nnina ensonga ku ggwe, kubanga waleka okwagala kwo okw’olubereberye.” Abo abaali mu kibiina kyali kibeetaagisa okuzza obugya okwagala kwabwe okw’olubereberye kwe baalina eri Yakuwa. (Makko 12:28-30; Abaefeso 2:4; 5:1, 2) Ffenna tuteekwa okwekuuma tuleme okuggwamu okwagala kwaffe okw’olubereberye kwe twalina eri Katonda. (3 Yokaana 3) Naye kiba kitya singa ebintu ng’okwagala eby’obugagga oba okuluubirira eby’amasanyu bitandika okutwala ekifo ekisooka mu bulamu bwaffe? (1 Timoseewo 4:8; 6:9, 10) Bwe kiba bwe kityo, tusaanidde okunyiikira okusaba Katonda atuyambe okweggyamu endowooza ng’ezo era tubeere n’okwagala okw’amaanyi ennyo eri Yakuwa awamu n’okusiima byonna ye n’Omwana we bye batukolera.—1 Yokaana 4:10, 16.
8 Kristo yakubiriza Abaefeso: “Jjukira gye wagwa, weenenye, okolenga ebikolwa eby’olubereberye.” Kiki ekyandibaddewo singa tebaakola bwe batyo? Yesu yagamba: “Bw’otalikola bw’otyo, njija gy’oli, era ndiggyawo ettabaaza yo mu kifo kyayo.” Singa endiga zonna zirekera awo okuba n’okwagala kwazo okw’olubereberye, “ettabaaza,” oba ekibiina, tekyandyeyongedde kubeerawo. N’olwekyo, ng’Abakristaayo abanyiikivu, ka tukole nnyo okukuuma ekibiina nga kyakaayakana mu by’omwoyo.—Matayo 5:14-16.
9. Obubiinabiina bulina kutunuulirwa butya?
9 Abaefeso baasiimibwa olw’okuba baali bakyawa “ebikolwa by’Abanikolayiti.” Ng’oggyeko ebyo ebyogerwa mu kitabo ky’Okubikkulirwa, tewali birala bimanyiddwa ku nsibuko, enjigiriza n’ebikolwa by’akadiinidiini ako. Kyokka, olw’okuba Yesu yavumirira ekikolwa eky’okugoberera abantu, tusaanidde okweyongera okukyawa obubiinabiina ng’Abakristaayo ab’omu Efeso bwe baakola.—Matayo 23:10.
10. Kiki ekinaatuuka ku abo abagondera omwoyo kye gugamba?
10 Kristo yagamba: “Alina okutu awulire omwoyo kye gugamba ekkanisa.” Bwe yali ku nsi, Yesu yayogeranga ng’akulemberwa omwoyo gwa Katonda. (Isaaya 61:1; Lukka 4:16-21) N’olwekyo, tusaanidde okussaayo omwoyo ku ebyo Katonda by’ayogera okuyitira mu Yesu ng’akozesa omwoyo omutukuvu. Ng’akulemberwa omwoyo omutukuvu, Yesu yasuubiza: “Awangula ndimuwa okulya ku muti ogw’obulamu, oguli wakati mu lusuku lwa Katonda.” Eri abaafukibwako amafuta abagondera omwoyo kye gugamba, kino kitegeeza okufuna obulamu obw’olubeerera mu ‘lusuku lwa Katonda olw’omu ggulu,’ oba mu maaso ga Yakuwa. ‘N’ab’ekibiina ekinene’ abagondera omwoyo kye gwogera, bajja kubeera mu lusuku lwa Katonda olw’oku nsi gye bajja okunywa amazzi mu “mugga ogw’amazzi ag’obulamu” era bawonyezebwe ‘amalagala g’emiti’ egiri eruuyi n’eruuyi waagwo.—Okubikkulirwa 7:9; 22:1, 2; Lukka 23:43.
11. Tusobola tutya okwoleka okwagala kwe tulina eri Yakuwa?
11 Abaefeso baali baweddemu okwagala kwe baalina olubereberye, naye kitya singa embeera y’emu etandika okubaawo mu kibiina leero? Ka buli omu ku ffe ayoleke okwagala kw’alina eri Yakuwa nga ayogera ku makubo ge ag’okwagala. Tusobola Yokaana 3:16; Abaruumi 5:8) Bwe kiba kituukirawo, tusobola okwogera ku kwagala kwa Katonda mu bye tuddamu ne mu mboozi ze tuba nazo mu nkuŋŋaana. Tusobola okwoleka okwagala kwe tulina eri Yakuwa nga tutendereza erinnya lye mu buweereza obw’Ekikristaayo. (Zabbuli 145:10-13) Yee, ebigambo byaffe n’enneeyisa bisobola okubaako eky’amaanyi kye bikola mu kuzza obuggya oba okunyweza okwagala kw’ekibiina okw’olubereberye.
okulaga nti tusiima okwagala Katonda kwe yalaga ng’atuteerawo ekinunulo okuyitira mu Mwana we gw’ayagala ennyo. (Eri Malayika ow’Omu Sumuna
12. Ebyafaayo byoleka ki ebikwata ku Sumuna n’okusinza okwakirimu?
12 Ekibiina ky’omu Sumuna kyasiimibwa Kristo “ow’olubereberye era ow’enkomerero, eyali afudde n’aba omulamu” okuyitira mu kuzuukira. (Soma Okubikkulirwa 2:8-11.) Sumuna (kati ekiyitibwa Izmir, Butuluki) kyali kizimbiddwa ebugwanjuba bw’olubalama lwa Asiya Omutono. Abayonaani be baazimba ekibuga ekyo, naye Abalidiya ne bakizikiriza mu 580 B.C.E. Abaddira Alekizanda Omukulu mu bigere baddamu okuzimba Sumuna mu kifo ekippya. Kyafuuka ekimu ku matwale g’Abaruumi mu Asiya era kyali kikulaakulana mu by’obusuubuzi ng’ate kimanyiddwa olw’ebizimbe byakyo ebirungi. Yeekaalu ya Kayisaali Tiberiyo eyali mu kibuga ekyo, yakifuula ekifo ekikulu eky’okusinzizaamu kabaka. Abaasinzanga kyali kibeetaagisa okwotereza obubaane ng’eno bwe bagamba nti “Kayisaali ye Mukama.” Abakristaayo baali tebayinza kubeegattako kubanga baali bakimanyi nti “Yesu ye Mukama.” N’olwekyo, baabonyaabonyezebwa.—Abaruumi 10:9.
13. Wadde nga baali baavu, mu ngeri ki Abakristaayo ab’omu Sumuna gye baali abagagga?
13 Ng’oggyeko okubonaabona, Abakristaayo mu Sumuna baali baavu, oboolyawo eby’enfuna byabwe byali bissiddwako envumbo olw’okuba baali tebayinza kusinza kabaka. Abaweereza ba Yakuwa ab’omu kiseera kino nabo batuukibwako ebizibu ng’ebyo. (Okubikkulirwa 13:16, 17) Wadde nga baavu, abo abalinga Abakristaayo ab’omu Sumuna bagagga mu by’omwoyo era ng’ekyo kye kisinga obukulu!—Engero 10:22; 3 Yokaana 2.
14, 15. Kubudaabudibwa ki abaafukibwako amafuta kwe basobola okufuna okuva mu Okubikkulirwa 2:10?
14 Abayudaaya abasinga obungi mu Sumuna baali “kkuŋŋaaniro lya Setaani” kubanga baagobereranga obulombolombo obukontana n’ebyawandiikibwa, baagaana Omwana wa Katonda, era ne batyoboola abagoberezi be abaafukibwako amafuta. (Abaruumi 2:28, 29) Naye, nga abaafukibwako amafuta basobola okufuna okubudaabudibwa okw’amaanyi ennyo mu bigambo bya Yesu ebiddirira! Agamba: “Totya by’ogenda okubonaabona: laba, omulyolyomi oyo agenda okusuula abamu ku mmwe mu kkomera, mukemebwe; era mulibonaabonera ennaku kkumi. Beeranga mwesigwa okutuusa okufa, nange ndikuwa engule ey’obulamu.”—Okubikkulirwa 2:10.
15 Yesu teyatya kufa olw’okuwagira obufuzi bwa Yakuwa. (Abafiripi 2:5-8) Wadde nga Setaani kati alwanyisa ensigalira y’abaafukibwako amafuta, tebatya kubonaabona kwe bayinza okuyitamu ng’ekibiina, kwe kugamba, ennaku, okusibibwa oba okuttibwa mu ngeri ey’obukambwe. (Okubikkulirwa 12:17) Bajja kuwangula ensi. Ate era mu kifo ky’okwambala engule ey’ebimuli eyonooneka eyayambalwanga abawanguzi mu mizannyo gy’abakaafiiri, Kristo asuubiza abaafukibwako amafuta abazuukiziddwa okubawa “engule ey’obulamu” okubeera ebitonde ebitafa mu ggulu. Kino nga kirabo kya kitalo!
16. Bwe tubeera mu kibiina ekifaananako eky’omu Sumuna eky’edda, ebirowoozo byaffe tusaanidde kubissa ku ki?
16 Kiba kitya singa essuubi lyaffe liba lya kugenda mu ggulu oba lya kusigala ku nsi, naye nga tuli mu kibiina ekifaananako eky’omu Sumuna eky’edda? Bwe kiba bwe kityo, ka tuyambe bakkiriza bannaffe okussa ebirowoozo byabwe ku nsonga enkulu lwaki Katonda akkiriza okuyigganyizibwa okubaawo, kwe kugamba ensonga ekwata ku bufuzi obw’obutonde bwonna. Buli Mujulirwa wa Yakuwa omwesigwa akakasa nti Setaani mulimba era alaga nti n’omuntu ayigganyizibwa asobola okuwagira obwannannyini Katonda bw’alina okufuga Obutonde Bwonna. (Engero 27:11) Ka tukubirize Bakristaayo bannaffe okugumira okuyigganyizibwa, era ekinaavaamu bajja kweyongera ‘okuweereza Yakuwa nga tebaliiko kye batya mu butukuvu ne mu butuukirivu mu maaso ge ennaku zaabwe zonna.’—Lukka 1:68, 69, 74, 75.
Eri Malayika ow’Omu Perugamo
17, 18. Perugamo kyali kitebe kya kusinza kwa ngeri ki, era kiki ekyali kiyinza okuvaamu olw’okugaana okwenyigira mu kusinza ng’okwo?
17 Ekibiina ky’omu Perugamo kyasiimibwa era ne kiwabulwa. (Soma Okubikkulirwa 2:12-17.) Perugamo ekyali mayiro nga 50 mu bukiika kkono bwa Sumuna, kyali kyenyigidde nnyo mu kusinza okw’ekikaafiiri. Kirabika Abakaludaaya abalaguza emmunyeenye baddukira eyo okuva e Babulooni. Abalwadde bangi beekuluumuliranga e Perugamo mu yeekaalu eyali emanyiddwa ennyo eya Sikeropisi, katonda ow’obulimba ow’eddagala n’okuwonya. Ekibuga Perugamo ne yeekaalu yaakyo eyali eweereddwayo okusinzizaamu Kayisaali Agusito, kiyitiddwa “ekitebe ekikulu eky’okusinzizzaamu bakabaka ab’edda.”—Encyclopædia Britannica, 1959, Omuzingo 17, olupapula 507.
18 Mu Perugamo mwalimu ekyoto ekyali kiweereddwayo eri Zewusi. Era ekibuga ekyo kyali kitebe eky’okusinzizaamu abantu okwali kukubirizibwa Omulyolyomi. N’olwekyo, tekyewuunyisa nti ekibiina ekyo kyali kigambibwa okuba awaali “entebe ya Setaani”! Okugaana okusinza kabaka kyali kiyinza okuttisa omuntu agamba nti awagira obufuzi bwa Yakuwa. Ensi ekyali mu buyinza bw’Omulyolyomi era waliwo obubonero bw’amawanga obutali bumu obusinzibwa. (1 Yokaana 5:19) Okuviira ddala mu kyasa ekyasooka n’okutuusa leero, Abakristaayo abeesigwa bangi battiddwa okufaananako n’oyo Kristo gwe yayita “Antipa, omujulirwa wange omusajja wange omwesigwa, eyattirwa ewammwe.” Mazima ddala, Yakuwa Katonda ne Yesu Kristo bajjukira abaweereza abeesigwa ng’oyo.—1 Yokaana 5:21.
19. Kiki Balamu kye yakola, era Abakristaayo bonna bateekwa kwewala ki?
19 Kristo era yayogera ku “kuyigiriza kwa Balamu.” Olw’okululunkanira eby’obugagga, Balamu, nnabbi ow’obulimba yagezaako okukolimira Abaisiraeri. Katonda bwe yafuula ekikolimo kye okuba omukisa, Balamu yeekobaana ne Kabaka w’Abamowaabu Balaki ne basendasenda Abaisiraeri bangi okusinza ebifaananyi n’okwenyigira mu bukaba. Abakadde Abakristaayo balina okunywerera ku Okubala 22:1–25:15; 2 Peetero 2:15, 16; Yuda 11) Mu butuufu, Abakristaayo bonna bateekwa okwewala okusinza ebifaananyi n’obutakkiriza bikolwa by’obukaba okuyingira mu kibiina.—Yuda 3, 4.
butuukirivu nga Finekaasi bwe yali, atakkiriza bikolwa bya Balamu. (20. Singa Omukristaayo yenna atandika okufuna endowooza za bakyewaggula, kiki ky’asaanidde okukola?
20 Ekibiina ky’omu Perugamo kyali mu buzibu bwa maanyi olw’okuba kyalimu “abakwata okuyigiriza kwa Banikolayiti.” Kristo yagamba ekibiina ekyo: “Kale weenenye; naye bw’otalyenenya, njija gy’oli mangu, era ndirwana nabo n’ekitala eky’omu kamwa kange.” Abo abassaawo obubiinabiina baagala kuleetera Bakristaayo bizibu mu by’omwoyo, era abo abagugubira mu kuwagira obubiinabiina n’okuleetawo enjawukana tebajja kusikira Bwakabaka bwa Katonda. (Abaruumi 16:17, 18; 1 Abakkolinso 1:10; Abaggalatiya 5:19-21) Singa Omukristaayo yenna atandika okukkiriza endowooza za bakyewaggula era ng’ayagala okuzibunyisa, asaanidde okutwala okulabula kwa Kristo! Okusobola okwewonya ekibambulira, asaanidde okwenenya era afune obuyambi mu by’omwoyo okuva eri abakadde mu kibiina. (Yakobo 5:13-18) Kyetaagisa okukolerawo mu bwangu, kubanga Yesu ajja mangu okutuukiriza omusango Katonda gw’asaze.
21, 22. Baani abalya ku “mmaanu eyakwekebwa,” era ekyo kikiikirira ki?
21 Abakristaayo abaafukibwako amafuta abeesigwa ne bannaabwe, tekibeetaagisa kutya kusala musango okujja. Bonna abagoberera okubuulirira kwa Yesu okuweebwa okuyitira mu bulagirizi bw’omwoyo gwa Katonda omutukuvu, bajja kufuna emikisa. Ng’ekyokulabirako, abaafukibwako amafuta abawangula ensi bajja kuyitibwa balye “ku mmaanu eyakwekebwa,” era bajja kuweebwa ‘ejjinja eryeru’ eriwandiikiddwako “erinnya eriggya.”
22 Katonda yawa Abaisiraeri emmaanu okumala emyaka 40 gye baamala nga bali mu ddungu. Emu ku ‘mmaanu’ eyo yaterekebwanga mu kibya ekya zaabu ekyalinga mu ssanduuko y’endagaano eyalinga mu kifo Awasinga Obutukuvu mu weema, awaali ekitangaala eky’ekyamagero ekyakiikiriranga okubeerawo kwa Yakuwa. (Okuva 16:14, 15, 23, 26, 33; 26:34; Abaebbulaniya 9:3, 4) Tewali muntu n’omu eyakkirizibwa okulya emmaanu eyo eyali eterekeddwa. Kyokka, bwe bazuukizibwa, abagoberezi ba Yesu abaafukibwako amafuta bambala obutafa, obukiikirirwa okulya “emmaanu eyakwekebwa.”—1 Abakkolinso 15:53-57.
23. ‘Ejjinja eryeru’ “n’erinnya eriggya” birina makulu ki?
23 Ejjinja eriddugavu lyasingisanga omuntu omusango mu kkooti z’amateeka ez’Abaruumi ate lyo eryeru lyabeggyerezanga. Yesu okuwa Abakristaayo abaafukibwako amafuta abawangula ‘ejjinja eryeru,’ kitegeeza nti abatwala okuba abataliiko musango gwonna era abayonjo. Era okuva Abaruumi bwe baakozesanga amayinja nga tikiti ekkiriza omuntu okuyingira mu kifo awaabanga omukolo omukulu, ‘ejjinja eryeru’ liyinza okuba likiikirira okukkiriza abaafukibwako amafuta okuyingira mu ggulu okubeera ku mbaga y’Omwana gw’endiga. (Okubikkulirwa 19:7-9) “Erinnya eriggya” likiikirira enkizo ey’okubeera awamu ne Yesu nga basika banne abafugira awamu naye mu Bwakabaka obw’omu ggulu. Mazima ddala, nga bino byonna bizzaamu nnyo amaanyi abaafukibwako amafuta ne bannaabwe bwe baweerereza awamu Yakuwa abalina essuubi ery’okubeera mu Lusuku lwa Katonda ku nsi!
24. Kiki kye tusaanidde okukola ku bwewagguzi?
Yokaana 8:32, 44; 3 Yokaana 4) Okuva abayigiriza ab’obulimba oba abantu abawagira obwewagguzi bwe basobola okubuzaabuza ekibiina, tulina okubwewalira ddala, tuleme kukkiriza kusendebwasendebwa okubi okutulemesa okugondera amazima.—Abaggalatiya 5:7-12; 2 Yokaana 8-11.
24 Kiba kirungi okujjukira nti bakyewaggula baateeka ekibiina ky’omu Perugamo mu kabi. Singa embeera y’emu ey’eby’omwoyo ebeera mu kibiina kye tulimu, kyandibadde kirungi twesambire ddala obwewagguzi ng’obwo era tweyongere okutambulira mu mazima. (25. Bibiina ki Yesu bye yaweereza obubaka ebijja okukubaganyizibwako ebirowoozo mu kitundu ekiddako?
25 Ebyo nga byali bigambo bya maanyi nnyo eby’okusiima n’okuwabula, Yesu Kristo agulumiziddwa bye yategeeza ebibiina ebisatu ku ebyo omusanvu ebiri mu Asiya Omutono bye twekenneenyezza! Kyokka, ng’aluŋŋamizibwa omwoyo omutukuvu, era alina bingi eby’okutegeeza ebibiina ebina ebisigaddeyo. Obubaka obwo obukwata ku Suwatira, Saadi, Firaderufiya ne Lawodikiya, bujja kukubaganyizibwako ebirowoozo mu kitundu ekiddako.
Wandizzeemu Otya?
• Lwaki twandisizaayo omwoyo ku ebyo Kristo by’ategeeza ebibiina?
• Tuyinza tutya okuyamba ekibiina okuzza obuggya okwagala kwakyo okw’olubereberye?
• Lwaki kiyinza okugambibwa nti Abakristaayo ab’omu Sumuna abaali abaavu nti baali bagagga?
• Bwe tujjukira embeera eyali mu kibiina ky’omu Perugamo, twanditunuulidde tutya endowooza za bakyewaggula?
[Ebibuuzo]
[Mmaapu eri ku lupapula 8]
(Bw’oba oyagala okulaba bwe bifaananira ddala, genda mu magazini)
BUYONAANI
ASIYA OMUTONO
Sumuna
Efeso
Perugamo
Suwatira
Saadi
Firaderufiya
Lawodikiya
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 10]
“Ekibiina ekinene” kijja kubeera mu lusuku lwa Katonda ku nsi
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 11]
Abakristaayo abayigganyizibwa bawangula ensi