Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Muyimirire Butengerera Mulabe Obulokozi bwa Yakuwa!

Muyimirire Butengerera Mulabe Obulokozi bwa Yakuwa!

Muyimirire Butengerera Mulabe Obulokozi bwa Yakuwa!

‘Mubeere mu kifo kyammwe, muyimirire butengerera mulabe obulokozi bwa Yakuwa ku lwammwe.’​—2 EBYOMUMIREMBE 20:17, NW.

1, 2. Lwaki okulumba okubindabinda okwa “Googi ow’omu nsi ya Magoogi” kujja kuba kwa kabi nnyo n’okusinga ebikolwa bya bannalukalala ebikolebwa mu nsi yonna?

EBIKOLWA bya bannalukalala, abamu babinnyonnyodde ng’ebikolwa eby’obulumbaganyi ku bantu mu nsi era ebigootaanya enkulaakulana. Mazima ddala akabi ng’ako tekalina kubuusibwa maaso. Kyokka, waliwo okulumba okulala okw’akabi ennyo n’okusingawo abantu kwe batalowoozaako oba kwe batassaako mwoyo. Kulumba ki okwo?

2 Kuno kwe kulumba kwa “Googi ow’omu nsi ya Magoogi,” Baibuli kw’eyogerako mu Ezeekyeri essuula 38. Kuba kusavuwaza okugamba nti okulumba kuno kujja kuba kwa kabi nnyo n’okusinga ebikolwa bya bannalukalala ebikolebwa mu nsi yonna? N’akatono, kubanga Googi tajja kulumba gavumenti z’abantu buntu. Ajja kuba alumba gavumenti ya Katonda ey’omu ggulu! Kyokka, obutafaananako bantu abatalina nnyo kye basobola kukola ku bulumbaganyi obubakolebwako, Omutonzi ye, asobolera ddala okubaako ky’akola ku bulumbaganyi bwa Googi.

Okulwanyisa Gavumenti ya Katonda

3. Abafuzi b’ensi bakubiriziddwa kukola ki okuva mu 1914, era bakozeewo ki?

3 Okuva Obwakabaka bwa Katonda bwe bwateekebwawo mu ggulu mu 1914, wabaddewo akakuubagano wakati wa Kabaka afuga Katonda gw’ataddewo n’enteekateeka ya Setaani. Okuva mu kiseera ekyo, abafuzi baakubirizibwa okukkiriza Omufuzi Katonda gwe yateekawo. Kyokka bagaanyi okukikola nga bwe kyalagulwa: “Kiki ekibagugumusizza ab’amawanga, n’abantu kiki ekibalowoozesezza ekitaalimu? Bakabaka b’ensi beeteeseteese, n’abafuga bateesezza ebigambo wamu ku Mukama ne ku Masiya we nga boogera nti, ka tumenyemenye enjegere zaabwe tusuule wala emigwa gyabwe.” (Zabbuli 2:1-3) Okuziyiza obufuzi bw’Obwakabaka kujja kutuuka ku ntikko yaakwo mu lulumba lwa Googi ow’e Magoogi.

4, 5. Abantu basobola batya okulwanyisa gavumenti ya Katonda ey’omu ggulu etalabika?

4 Tuyinza okwebuuza engeri abantu gye basobola okulwanyisamu gavumenti ey’omu ggulu etalabika. Baibuli eraga nti gavumenti eno erimu abafuzi ‘emitwalo kumi n’ena mu enkumi nnya abaagulibwa okuva mu nsi,’ awamu ‘n’omwana gw’endiga’ Yesu Kristo. (Okubikkulirwa 14:1, 3; Yokaana 1:29) Olw’okuba ya mu ggulu, gavumenti eno empya eyogerwako nga “eggulu eriggya,” ate abo b’egenda okufuga ku nsi boogerwako nga “ensi empya.” (Isaaya 65:17; 2 Peetero 3:13) Abasinga obungi ku 144,000 abanaafugira awamu ne Kristo, baamaliriza obulamu bwabwe obw’oku nsi nga beesigwa. N’olwekyo beeraga okuba nti basaanira emirimu emippya egibakwasibwa mu ggulu.

5 Batono nnyo ku 144,000 abakyali ku nsi. Ku bantu abasukka 15,000,000 abaaliwo ku kukuza Eky’Ekiro kya Mukama waffe mu 2002, abantu 8,760 bokka be baalaga nti balina essuubi eryo ery’okugenda mu ggulu. Omuntu yenna agezaako okukola ekintu kyonna ekibi ku abo abakyasigaddewo abagenda okufuga mu Bwakabaka, mu butuufu aba alwanyisa Bwakabaka bwa Katonda.​—Okubikkulirwa 12:17.

Kabaka Awangulira Ddala

6. Yakuwa ne Yesu batwala batya okuziyiza okutuuka ku bantu ba Katonda?

6 Ekyo Yakuwa ky’anaakola abo abaziyiza Obwakabaka bwe obuteekeddwawo kyalagulwa bwe kiti: “Atuula mu ggulu aliseka, Mukama alibaduulira. Mu biro biri alibagamba mu busungu bwe, alibateganya mu kiruyi kye ekingi: Naye n[n]ateeka kabaka wange ku lusozi lwange olutukuvu Sayuuni.” (Zabbuli 2:4-6) Kaakano ekiseera kituuse Kristo ng’akolera wansi w’obulagirizi bwa Yakuwa ‘okumaliriza okuwangula kwe.’ (Okubikkulirwa 6:2) Yakuwa atunuulira atya okuziyiza abantu be kwe boolekagana nakwo mu kiseera kino ekisembayo? Akitwala nga abaziyiza ye kennyini ne Kabaka we afuga. Agamba: ‘Abakomako mmwe akoma ku mmunye y’eriiso lyange.’ (Zekkaliya 2:8) Ne Yesu yagamba nti, abantu kye bakolera baganda be abaafukibwako amafuta akitwala nga kye bakoledde ye, ate ekyo kye batabakolera baba tebakimukoledde.​—Matayo 25:40, 45.

7. Lwaki ab’ekibiina ekinene aboogerwako mu Okubikkulirwa 7:9, boolekezebwa obusungu bwa Googi?

7 Kya lwatu, n’abo abawagira ensigalira y’abaafukibwako amafuta bajja kwolekezebwa obusungu bwa Googi. Bano abanaabeera mu “nsi empya” eya Katonda be ‘b’ekibiina ekinene’ abaayitibwa okuva “mu buli ggwanga, n’ebika n’abantu n’ennimi.” (Okubikkulirwa 7:9) Boogerebwako nga “abayimiridde mu maaso g’entebe ne mu maaso g’omwana gw’endiga, nga bambadde ebyambalo ebyeru.” N’olwekyo balina ennyimirira ennungi mu maaso ga Katonda ne Yesu Kristo. Nga bakutte ‘amatabi g’enkindu mu mikono gyabwe,’ batendereza Yakuwa ng’Omufuzi w’obutonde bwonna, era ng’obufuzi bwe bweyolekera mu kufuga kwa Kabaka gw’ataddewo, Yesu Kristo, “Omwana gw’endiga gwa Katonda.”​—Yokaana 1:29, 36.

8. Okulumba kwa Googi kunaaleetera Kristo kukola ki, era kiki ekinaavaamu?

8 Okulumba kwa Googi kujja kuleetera Kabaka Katonda gw’ataddewo okubaako ky’akola era atandike olutalo olwa Kalumagedoni. (Okubikkulirwa 16:14, 16) Abo abagaanye okukkiriza obufuzi bwa Katonda bajja kuzikirizibwa. Ku luuyi olulala, abo abagu­miikirizza okubonaabona, ­olw’okuwagira Obwakabaka bwa Katonda, bajja kufuna obuweerero obw’olubeerera. Omutume Pawulo yawandiika bw’ati ku nsonga eyo: “Ebyo ke kabonero k’omusango gwa Katonda ogw’ensonga, mulyoke musaanyizibwe obwakabaka bwa Katonda n’okubonaabona kwe mwabonaabonera, oba nga kya nsonga eri Katonda okubasasula okubonaabona abababonyaabonya, era nammwe ababonyaabonyezebwa okubasasula okwesiima awamu naffe, mu kubikkulibwa kwa Mukama waffe Yesu okuva mu ggulu awamu ne bamalayika ab’obuyinza bwe, mu muliro ogwaka ng’awalana eggwanga abatamanyi Katonda, n’abo abatagondera njiri ya Mukama waffe Yesu.”​—2 Abasessaloniika 1:5-8.

9, 10. (a) Yakuwa yayamba atya Yuda okuwangula abalabe ab’entiisa? (b) Leero Abakristaayo balina kweyongera kukola ki?

9 Mu kibonyoobonyo ekinene ekijja, ekigenda okukomekkerezebwa ne Kalumagedoni, Kristo, ajja kulwanyisa obubi bwonna. Naye tekijja kwetaagisa bagoberezi be kulwana, nga bwe kyali mu bwakabaka bwa Yuda obw’ebika ebibiri, emyaka egisukka 2,900 emabega. Olutalo lwali lwa Yakuwa era yabatuusa ku buwanguzi. Ebyawandiikibwa bigamba: “Mukama n’ateekawo abateezi okuteega abaana ba Amoni ne Mowaabu n’ab’oku lusozi Seyiri, abaali batabadde Yuda ne bakubibwa. Kubanga abaana ba Amoni ne Mowaabu baalumba ab’oku lusozi Seyiri, buli muntu ne beegatta okuzikiriza munne. Awo Yuda bwe baatuuka ku kigo ekikuumirwako eky’omu ddungu ne batunuulira eggye, kale, laba, nga emirambo egigudde wansi so tewali abaawona.”​—2 Ebyomumirembe 20:22-24.

10 Kyali ddala nga Yakuwa bwe yalagula nti: “Temulyetaaga kulwana.” (2 Ebyomumirembe 20:17) Ekyo kye kyokulabirako Abakristaayo kye bajja okugoberera, Yesu Kristo bw’anaaba amaliriza ‘okuwangula kwe.’ Kyokka kati, beeyongera okulwanyisa obubi, si na bya kulwanyisa bya mubiri wabula eby’omwoyo. Mu ngeri eyo beeyongera ‘okuwangula obubi nga bakola obulungi.’​—Abaruumi 6:13; 12:17-21; 13:12; 2 Abakkolinso 10:3-5.

Ani Anaakulembera Okulumba kwa Googi?

11. (a) Baani Googi b’anaakozesa okulumba? (b) Okuba obulindaala mu by’omwoyo kizingiramu ki?

11 Googi ow’e Magoogi ye Setaani Omulyolyomi mu mbeera ye ey’okufeebezebwa gy’abaddemu okuva mu 1914. Ng’ekitonde eky’omwoyo, ye kennyini tajja kulumba butereevu naye ajja kweyambisa abantu okutuukiriza ky’ayagala. Abantu bano banaaba baani? Baibuli tetuwa kalonda, kyokka erina by’etulaga ebisobola okutuyamba okutegeera abantu abo. Ng’ebiriwo mu nsi bigenda bituukiriza obunnabbi bwa Baibuli, tujja kufuna ekifaananyi ekisingawo mpolampola. Abantu ba Yakuwa beewala okuteebereza, naye basigala nga bali bulindaala mu by’omwoyo, nga bamanyi bulungi embeera eziriwo mu by’obufuzi ne mu madiini ezituukiriza obunnabbi bwa Baibuli.

12, 13. Nnabbi Danyeri yalagula atya ku kulumbibwa kw’abantu ba Katonda okusembayo?

12 Nnabbi Danyeri atubuulira ebikwata ku kulumbibwa kw’abantu ba Katonda okusembayo, ng’awandiika: “[Kabaka ow’omu bukiika kkono] alivaayo nga yeejuumudde nnyo okuzikiriza n’okumalirawo ddala bangi. Era alisimba eweema z’olubiri lwe wakati w’ennyanja n’olusozi olw’ekitiibwa olutukuvu.”​—Danyeri 11:44, 45.

13 “Ennyanja” eyogerwako wano mu Baibuli ye Ennyanja Ennene oba Ennyanja Meditereniyani, ate “olusozi olutukuvu” ye Sayuuni Yakuwa lwe yayogerako ng’agamba nti: “N[n]aateeka kabaka wange ku lusozi lwange olutukuvu Sayuuni.” (Zabbuli 2:6; Yoswa 1:4) N’olwekyo, mu ngeri ey’eby’omwoyo, ensi eri “wakati w’ennyanja n’olusozi olutukuvu” ekikiikirira embeera ennungi ey’eby’omwoyo Abakristaayo abaafukibwako amafuta gye balimu. Tebakyabalibwa wamu n’ennyanja ey’abantu abeeyawudde ku Katonda, era beesunga okufugira awamu ne Yesu Kristo mu Bwakabaka obw’omu ggulu. Kya lwatu, abaweereza ba Katonda abaafukibwako amafuta, awamu ne bannaabwe ab’ekibiina ekinene, bajja kulumbibwa kabaka ow’omu bukiika kkono mu lulumba ssinziggu olwogerwako mu bunnabbi bwa Danyeri.​—Isaaya 57:20; Abaebbulaniya 12:22; Okubikkulirwa 14:1.

Abaweereza ba Katonda Banaakola Ki?

14. Bintu ki ebisatu abantu ba Katonda bye banaakola nga balumbiddwa?

14 Abantu ba Katonda basuubirwa kukola ki nga balumbiddwa? Ekyo eggwanga lya Yakuwa mu nnaku za Yekosafaati kye lyakola, nabo kye bajja okukola. Weetegereze nti abantu baalagirwa okukola ebintu bisatu: (1) okubeera mu kifo kyabwe, (2) okuyimirira obutengerera, (3) n’okulaba obulokozi bwa Yakuwa. Abantu ba Katonda banaakolera batya ku bigambo bino?​—2 Ebyomumirembe 20:17.

15. Kitegeeza ki eri abantu ba Yakuwa okubeera mu kifo kyabwe?

15 Okubeera mu kifo kyabwe: Awatali kusagaasagana, abantu ba Katonda bajja kweyongera okuwagira Obwakabaka bwa Katonda. Bajja kweyongera okunywerera ku nnyimirira yaabwe ey’obutaba na ludda lwe bawagira. Bajja ‘kuba banywevu era nga tebasagaasagana’ mu kuweereza Yakuwa era bajja kweyongera okutendereza Yakuwa olw’ekisa kye. (1 Abakkolinso 15:58; Zabbuli 118:28, 29) Tewali kupikirizibwa okuliwo kaakano oba okujja mu maaso okusobola okubaggya ku nnyimirira yaabwe eyo esiimibwa Katonda.

16. Mu ngeri ki abaweereza ba Katonda gye bajja okuyimirira obutengerera?

16 Okuyimirira obutengerera: Abaweereza ba Katonda tebajja kugezaako kwewonya bokka naye bajja kussa obwesige bwabwe bwonna mu Yakuwa. Yakuwa yekka y’asobola okuwonya abaweereza be okuva mu buzibu obwo era asuubizza okukikola. (Isaaya 43:10, 11; 54:15; Okukungubaga 3:26) Okwesiga Yakuwa kujja kuzingiramu okwesiga omukutu ogulabikako gw’azze akozesa okumala amakumi g’emyaka okutuukiriza ebigendererwa bye. N’okusinga bwe kyali kibadde, kijja kwetaagisa Abakristaayo ab’amazima mu kiseera ekyo okussa obwesige mu basinza bannaabwe abalondeddwa Yakuwa ne Kabaka we afuga okubakulembera. Abasajja bano abeesigwa bajja kuwa abantu ba Katonda obulagirizi. Obutafaayo ku bulagirizi bwabwe kiyinza okuba eky’omutawaana.​—Matayo 24:45-47; Abaebbulaniya 13:7, 17.

17. Lwaki abaweereza ba Katonda abeesigwa bajja kulaba obulokozi bwa Yakuwa?

17 Okulaba obulokozi bwa Yakuwa: Obulokozi kye kirabo ekijja okuweebwa abo bonna abanywerera ku bugolokofu obw’Ekikristaayo era abassa obwesige bwabwe mu Yakuwa okubanunula. Bajja kulangirira nga bwe basobola, okujja kw’olunaku lwa Yakuwa olw’okusala omusango, okutuusiza ddala ku ssaawa esembayo. Obutonde bwonna buteekwa okumanya nti Yakuwa ye Katonda ow’amazima era nti alina abantu abeesigwa abamuweereza ku nsi. Yakuwa taliddamu kuleka kiseera kiwanvu kuyitawo, ng’akyagumiikiriza abawakanya obutuufu bw’obufuzi bwe.​—Ezeekyeri 33:33; 36:23.

18, 19. (a) Oluyimba olw’obuwanguzi oluli mu Okuva essuula 15 lwoleka lutya enneewulira y’abo abanaawonawo mu kulumba kwa Googi? (b) Kiki abantu ba Katonda kye basaanidde okukola kati?

18 Nga beeyongedde amaanyi, abantu bajja kuyingira ensi empya nga beesunga okuyimba oluyimba olw’obuwanguzi, ng’Abaisiraeri ab’edda bwe baakola oluvannyuma lw’okuyita mu Nnyanja Emmyufu. Nga basiima Yakuwa olw’obukuumi bwe, kinnoomu era bonna awamu, bajja kwogera ebigambo bino ebyayogerwa edda ennyo: “Ndimuyimbira Mukama kubanga yawangulidde ddala. . . . Mukama ye muzira okulwana. [Yakuwa] lye linnya lye. . . . Omukono gwo ogwa ddyo, Mukama, gubetenta omulabe. Era mu bukulu obw’okusinga kwo obasuula abakulumba. Otuma obusungu bwo, ne bubasiriiza ng’ebisasiro. . . . Ggwe mu kisa kyo wabakulembera abantu be wanunula: n’obaleeta mu maanyi go okutuuka mu kifo kyo ekitukuvu. . . . Olibayingiza, olibasimba ku lusozi olw’obusika bwo, ekifo kye weerongooseza, Mukama, okutuula omwo. Awatukuvu wo, Mukama, emikono gyo we gyanyweza. Mukama alifuga emirembe n’emirembe.”​—Okuva 15:1-19.

19 Kaakati ng’essuubi ery’obulamu obutaggwaawo lyeyongera okuba ekkakafu n’okusinga bwe kyali kibadde, nga kino kiseera kirungi nnyo abaweereza ba Katonda okulaga nti beemalidde ku Yakuwa era nti bamaliridde okumuweereza nga Kabaka waabwe ow’emirembe gyonna!​—1 Ebyomumirembe 29:11-13.

Osobola Okunnyonnyola?

• Lwaki Googi ajja kulumba abaafukibwako amafuta n’ab’endiga endala?

• Abantu ba Katonda banaabeera batya mu kifo kyabwe?

• Kitegeeza ki okuyimirira obutengerera?

• Abantu ba Katonda banaalaba batya obulokozi bwa Yakuwa?

[Ebibuuzo]

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 28]

Yakuwa yatuusa Yekosofaati n’abantu be ku buwanguzi nga tekibeetaagisizza kwerwanako

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 30]

Abaafukibwako amafuta n’ab’endiga endala, bakolera wamu mu kuwagira obufuzi bwa Yakuwa

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 31]

Okufaananako Abaisiraeri ab’edda, abantu ba Katonda bajja kuyimba oluyimba olw’obuwanguzi mu kiseera ekitali kya wala