Okugaba Okusanyusa Katonda
Okugaba Okusanyusa Katonda
YESU n’abayigirizwa be baali balya ekijjulo ekiwoomu e Bessaniya nga bali wamu ne mikwano gyabwe ab’oku lusegere, omwali Malyamu, Maliza ne Lazaalo eyali yaakazuukizibwa. Malyamu bwe yanaaza ebigere bya Yesu n’amafuta ag’omuwendo omungi, Yuda Isukalyoti yasunguwala era n’abategeeza endowooza ye. Yagamba: “Amafuta gano bandiyinzizza okugatundamu eddinaali ebikumi bisatu [ssente ezenkanankana n’omusaala ogw’omwaka gumu] [ne bazi]gabira abaavu.” Abalala nabo beemulugunya mu ngeri y’emu.—Yokaana 12:1-6; Makko 14:3-5.
Kyokka, Yesu yaddamu: “Mumuleke; . . . Kubanga abaavu be muli nabo bulijjo; na buli lwe mwagala muyinza okubakola obulungi: naye nze temuli nange bulijjo.” (Makko 14:6-9) Abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya baayigirizanga nti okugabira abali mu bwetaavu tekyakoma ku kubeera mpisa nnungi kyokka naye era kyali kisobola okutangirira ebibi. Ku luuyi olulala, Yesu yakyoleka kaati nti okugaba okusanyusa Katonda tekukoma ku kugabira baavu.
Okwekenneenya mu bufunze engeri Abakristaayo mu kyasa ekyasooka gye baagabamu, kijja kutulaga ezimu ku ngeri mwe tuyinza okulaga okufaayo eri abalala, mu ngeri eyo Katonda asiime okugaba kwaffe. Era tujja kulaba okugaba okw’enjawulo okusinga okuba okw’omuganyulo.
‘Mugabire Abaavu’
Emirundi mingi Yesu yakubiriza abayigirizwa be ‘okugabira abaavu,’ oba ng’enzivuunula endala bwe zikiteeka, ‘okuwa abali mu bwetaavu,’ oba ‘abatalina mwasirizi.’ (Lukka 12:33; New English Bible; A Translation in the Language of the People, eya Charles B. Williams) Kyokka, Yesu yalabula ku kugaba olw’okweraga obwerazi n’ekigendererwa eky’okugulumiza agabye mu kifo kya Katonda. Yagamba bw’ati: “Kale, bw’ogabiranga abaavu, teweefuuyiranga ŋŋombe mu maaso go, nga bannanfuusi bwe bakola mu makuŋŋaaniro ne mu nguudo, abantu babawe ekitiibwa.” (Matayo 6:1-4) Nga bagoberera okubuulira kuno, Abakristaayo abaasooka beewala okweraga ng’abakulembeze b’eddiini ab’omu kiseera kyabwe ne balondawo okuyamba abo abali mu bwetaavu nga babafaako kinnoomu oba nga babaako ebirabo bye babawa.
Ng’ekyokulabirako, mu Lukka 8:1-3 tutegeezebwa nti Malyamu Magudaleene, Yowaana, Susaana n’abalala baakozesa “ebintu bye baalina” okulabirira Yesu n’abatume be. Wadde ng’abantu bano tebaali baavu lunkupe, baali balese emirimu gyabwe egyabasobozesanga okufuna ekigulira magala eddiba ne beemalira ku buweereza. (Matayo 4:18-22; Lukka 5:27, 28) Nga babayamba okutuukiriza omulimu Katonda gwe yabakwasa, abakyala abo baali batendereza Katonda. Era Katonda yalaga okusiima kwe ng’awandiisa bye baakola mu Baibuli, abantu bonna abandibaddewo oluvannyuma babisomeko.—Engero 19:17; Abaebbulaniya 6:10.
Doluka ye mukyala omulala ‘eyajjula ebikolwa ebirungi n’ebirabo eby’ekisa.’ Yakoleranga bannamwandu engoye abaali mu bwetaavu mu kibuga ky’e Yopa. Tetumanyi oba yagulanga buguzi ngoye n’ebyakozesebwanga oba ye kennyini ye yazitunganga. Kyokka, ebikolwa bye ebirungi byaviirako be yayambanga okumwagala, era ne Katonda okumuwa omukisa olw’ekyo.—Ebikolwa 9:36-41.
Ekiruubirirwa Ekirungi Kyetaagisa
Kiki ekyakubiriza abantu abo okugaba? Tekyali kukwatibwa kinyegenyege olw’okuba abantu baali beetaaga obuyambi. Baakitwala nti buvunaanyizibwa bwabwe okukola kyonna kye baali basobola buli lunaku okuyamba abaavu, abalwadde oba abalina ebizibu ebirala. (Engero 3:27, 28; Yakobo 2:15, 16) Kuno kwe kugaba okusanyusa Katonda. Okusingira ddala kukubirizibwa okwagala okw’amaanyi eri Katonda era n’okwegomba okukoppa ekisa kye n’okugaba.—Matayo 5:44, 45; Yakobo 1:17.
Omutume Yokaana yaggumiza obukulu bw’engeri eno ey’okugaba bwe yabuuza: “Buli alina ebintu eby’omu nsi, n’atunuulira muganda we nga yeetaaga, n’amuggalirawo emmeeme ye, okwagala kwa Katonda kubeera kutya mu ye?” (1 Yokaana 3:17) Eky’okuddamu kyeyoleka lwatu. Okwagala Katonda kukubiriza abantu okuyamba abali mu bwetaavu. Katonda asiima era asasula abo abooleka omwoyo omugabi nga ye. (Engero 22:9; 2 Abakkolinso 9:6-11) Tulaba abantu abalina omwoyo omugabi ng’ogwo leero? Lowooza ku ekyo ekyaliwo gye buvuddeko awo mu kibiina ekimu eky’Abajulirwa ba Yakuwa.
Ennyumba y’omukyala Omukristaayo nnamukadde yali yeetaaga okudaabirizibwa. Nnamukadde ono yali abeera yekka era nga talina ba ŋŋanda ze okumuyamba. Okumala emyaka mingi ennyumba ye yakozesebwanga okubeeramu enkuŋŋaana ez’Ekikristaayo, era emirundi mingi yaliiranga wamu ekijjulo na buli eyakkirizanga. (Ebikolwa 16:14, 15, 40) Bwe baalaba obuzibu bwe yalina, ab’omu kibiina baasalawo okumuyamba. Abamu baawaayo ssente, ate abalala amaanyi gaabwe. Mu wiikendi ntono, bannakyewa abo bassaako akasolya akappya, baakola ekinaabiro ekippya, baakuba pulasita era ne basiiga langi ebisenge byonna ebya kalina eya wansi, awamu n’okuzza obuggya dduloowa z’effumbiro. Okugaba kwabwe tekwaganyula nnamukadde oyo yekka, naye era n’ab’omu kibiina beeyongera okubeera obumu. Era, baliraanwa baalaba ekyokulabirako eky’okugaba okw’Ekikristaayo okwa nnamaddala.
Waliwo engeri nnyingi mwe tuyinza okuyambira abalala. Tuyinza okuwaayo ebiseera okubeera ne bamulekwa? Tuyinza okugulira nnamwandu akaddiye gwe tumanyi ebintu bye yeetaaga oba okumutungira olugoye? Tuyinza okuyita omuntu ow’enfuna enjabayaba ku kijjulo oba okumuwaayo ku nsimbi? Tetulina kubeera bagagga okusobola okuyamba abalala. Omutume Pawulo yawandiika: “[Bwe waba] nga waliwo okwagala amangu, kukkirizibwa ng’omuntu bw’alina, si nga bw’atalina.” (2 Abakkolinso 8:12) Kyokka, Katonda asiima kugaba ng’okwo kwokka? Nedda.
Ate Obuyambi obw’Oku Kigero Ekinene?
Emirundi egimu obuyambi obuva eri kinnoomu tebumala. Mu butuufu, Yesu n’abatume be baateekawo ensawo ey’awamu okuyamba abaavu, era bakkirizanga essente ezaabawebwanga abantu abalumirwa abalala be baasanganga mu buweereza bwabwe. (Yokaana 12:6; 13:29) Mu ngeri y’emu, ebibiina by’omu kyasa ekyasooka byakuŋŋaanya obuyambi, obwetaavu bwe bwajjawo era ne bategeka okuwa obuyambi ku kigero ekinene.—Ebikolwa 2:44, 45; 6:1-3; 1 Timoseewo 5:9, 10.
Olumu ekyo kyaliwo mu 55 C.E. Ebibiina by’omu Buyudaaya byali byolekaganye n’obwavu, oboolyawo nga kyava ku njala kasiggu eyali ebaddewo emabega. (Ebikolwa 11:27-30) Omutume Pawulo, bulijjo eyalumirwanga abaavu, yasaba ebibiina okuyamba nga mw’otwalidde n’ebyo ebyali e Makedoni. Ye kennyini yakuŋŋaanya ebintu era n’akozesa abasajja abaalondebwa okubitwalira abo abali mu bwetaavu. (1 Abakkolinso 16:1-4; Abaggalatiya 2:10) Tewali n’omu yafuna musaala olw’okwenyigira mu mirimu egyo k’abeere Pawulo yennyini.—2 Abakkolinso 8:20, 21.
Leero, Abajulirwa ba Yakuwa nabo banguwa okudduukirira nga wabaddewo akatyabaga. Ng’ekyokulabirako, mu 2001, nnamutikwa w’enkuba yaviirako amataba okwanjaala mu Houston, Texas, ekya Amerika. Amayumba g’Abajulirwa ba Yakuwa 723 ge gaayonoonebwa era nga agamu ku go gaayonoonebwa nnyo. Bunnambiro akakiiko akakola ku kuwa obuyambi nga waguddewo akatyabaga nga kaliko abakadde Abakristaayo abalina ebisaanyizo kaateekebwawo okwekenneenya obwetaavu bwa buli omu, era n’okuwa ensimbi Abajulirwa ab’omu kitundu okwaŋŋanga embeera awamu n’okuddaabiriza amayumba gaabwe. Bannakyewa okuva mu bibiina eby’omuliraano baakola emirimu gyonna. Omujulirwa omu yasiima nnyo obuyambi bwe yafuna ne kiba nti insuwalensi bwe yamuliyirira ssente addaabirize ennyumba ye, ssente ezo zonna yazikwata n’aziwa ab’akakiiko ako zisobole okuyamba abalala.
Kyokka, bwe kituuka ku kuwa ssente ebibiina ebigaba obuyambi, twetaaga okwegendereza. Ebibiina ebimu bisasula ssente nnyingi abo ababiddukanya oba mu kuyisa obulango obukubiriza abantu okuwaayo, ne wasigalawo ssente ntono nnyo ku ezo ezikuŋŋaanyiziddwa okukola ku kigendererwa kyennyini. Engero 14:15 wagamba: “Atalina magezi akkiriza buli kigambo kyonna: naye omuntu omutegeevu akebera nnyo amagenda ge.” N’olwekyo, kiba kya magezi okwekenneenya buli ekizingirwamu.
Okugaba Okusingayo Okuba okw’Omuganyulo
Waliwo okugaba okusinga n’okuyamba abaavu obukulu. Kuno Yesu yakujulizaako omusajja omugagga bwe yamubuuza ekyo ky’asaanidde okukola okusobola okufuna obulamu obutaggwaawo. Yesu yamugamba: “Genda otunde ebibyo, ogabire abaavu, oliba n’obugagga mu ggulu: olyoke ojje, ongoberere.” (Matayo 19:16-22) Weetegereze nti Yesu teyamugamba bugambi, ‘Gabira abaavu awo ojja kufuna obulamu.’ Wabula yagattako, “Ojje ongoberere.” Mu ngeri endala, wadde ng’okugabira abali mu bwetaavu kulungi era nga kuleeta emiganyulo, okubeera omuyigirizwa Omukristaayo kisingawo ku ekyo.
Ekiruubirirwa ekikulu ekya Yesu kyali okuyamba abantu mu by’omwoyo. Ng’ebulayo akaseera katono afe, yagamba Piraato: “Nze nnazaalirwa ekyo, n’ekyo kye kyandeeta mu nsi, ntegeeze amazima.” (Yokaana 18:37) Wadde nga yawoma omutwe mu kuyamba abaavu, okuwonya abalwadde, n’okuliisa abalumwa enjala, okusingira ddala Yesu yatendeka abayigirizwa be okubuulira. (Matayo 10:7, 8) Mu butuufu, ekimu ku biragiro bye yasembayo okubawa kyali: “Mugende, mufuule amawanga gonna abayigirizwa.”—Matayo 28:19, 20.
Kya lwatu, okubuulira tekujja kugonjoola bizibu byonna ebiri mu nsi. Kyokka, okubuulira abantu aba buli ngeri amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda kigulumiza Katonda kubanga okubuulira kutuukiriza Katonda ky’ayagala era ne kiggulirawo ekkubo abo abakkiriza amawulire ago okufuna obulamu obutaggwaawo. (Yokaana 17:3; 1 Timoseewo 2:3, 4) Lwaki towuliriza Bajulirwa ba Yakuwa nga baagala okwogera naawe omulundi omulala? Bakuleetera ekirabo eky’eby’omwoyo. Era bakimanyi nti kino kye kirabo ekisingayo obulungi kye bayinza okukuwa.
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 6]
Waliwo engeri nnyingi mwe tuyinza okulagira nti tufaayo ku balala
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 7]
Okubuulira amawulire amalungi kisanyusa Katonda era kiggulawo ekkubo ery’okufuna obulamu obutaggwaawo