Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Sigala ng’Oli Munywevu Owangule Embiro z’Obulamu

Sigala ng’Oli Munywevu Owangule Embiro z’Obulamu

Sigala ng’Oli Munywevu Owangule Embiro z’Obulamu

SINGA obadde wa kuyita ku nnyanja eriko omuyaga ogw’amaanyi, wandikozesezza ki? Wandikozesezza kaato akatono era akanafu, oba wandikozesezza emmeeri ennene ezimbiddwa obulungi? Awatali kubuusabuusa wandikozesezza mmeeri okuva bwe yandisobodde okuyita obulungi mu mayengo ag’amaanyi.

Nga tuyita mu nteekateeka y’ebintu eno eringa omuyaga, twolekagana n’ebintu bingi ebiyinza okutuleetera obutaba banywevu. Ng’ekyokulabirako, emirundi egimu abavubuka bayinza okuwulira nga batabuddwa era nga beeraliikirivu olw’endowooza z’abantu ezibuzaabuza n’emisono egiriwo. Abamu abaatandika obulamu obw’Ekikristaayo gye buvuddeko awo bayinza okuba nga bakyawulira nti si banywevu. N’abo abanywevu abaweerezza Katonda n’obwesigwa okumala emyaka mingi, bayinza okuba nga boolekaganye n’okugezesebwa olw’okuba bye basuubira tebinnaba kutuukirizibwa mu bujjuvu.

Enneewulira ng’ezo tezaakatandika kati. Abaweereza ba Yakuwa gamba nga Musa, Yobu, ne Dawudi, emirundi egimu baawulira nga si banywevu. (Okubala 11:14, 15; Yobu 3:1-4; Zabbuli 55:4) Kyokka, baanywerera ku Yakuwa mu bulamu bwabwe. Ebyokulabirako byabwe bitukubiriza okubeera abanywevu, naye Setaani Omulyolyomi ayagala kutuwugula okuva mu mbiro ez’obulamu obutaggwaawo. (Lukka 22:31) N’olwekyo, tusobola tutya okusigala nga tuli “banywevu mu kukkiriza”? (1 Peetero 5:9) Era tusobola tutya okunyweza bakkiriza bannaffe?

Yakuwa Ayagala Tubeere Banywevu

Bwe tubeera abeesigwa eri Yakuwa, ajja kutuyamba buli kiseera tuleme kusagaasagana. Dawudi, omuwandiisi wa Zabbuli yayolekagana n’ebizibu bingi, naye yeesiga Katonda, era n’olw’ensonga eyo yasobola okuyimba bw’ati: “[Yakuwa] n’anzi[ggy]a mu bunnya obw’okuzikirira, mu bitositosi; n’ateeka ebigere byange ku lwazi, n’anyweza okugenda kwange.”​—Zabbuli 40:2.

Yakuwa atunyweza tulwane “okulwana okulungi okw’okukkiriza,” tusobole ‘okunyweza obulamu obutaggwaawo.’ (1 Timoseewo 6:12) Era atusobozesa okusigala nga tuli banywevu tusobole okutuuka ku buwanguzi mu lutalo lwaffe olw’eby’omwoyo. Omutume Pawulo yakubiriza Bakristaayo banne ‘okufuna amaanyi mu Mukama waffe ne mu buyinza obw’amaanyi ge,’ era ‘bambale eby’okulwanyisa byonna ebya Katonda balyoke basobole okwaŋŋanga enkwe za Setaani.’ (Abaefeso 6:10-17) Naye biki ebiyinza okutuleetera obutaba banywevu? Era tusobola tutya okwaŋŋanga ebintu ng’ebyo eby’akabi?

Weegendereze Ebiyinza Okutuleetera Obutaba Banywevu

Kikulu nnyo okujjukira ekintu kino: Ebintu bye tusalawo bijja kukwata ku bunywevu bwaffe ng’Abakristaayo mu ngeri ennungi oba embi. Abavubuka boolekagana n’okusalawo ku bikwata ku mirimu, okweyongerayo okusoma, n’obufumbo. Abakulu boolekagana n’okusalawo okukwata ku kusengukira mu kifo ekirala oba okufuna omulimu ogw’okubiri. Buli lunaku tusalawo engeri gye tukozesaamu ebiseera byaffe n’ebikwata ku nsonga endala. Kiki ekinaatuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi tusobole okunywera ng’abaweereza ba Katonda? Omukristaayo omu amazze ebbanga eddene ng’aweereza yagamba: “Nsaba Yakuwa okunnyamba nga nnina bye nsalawo. Mmanyi nti kikulu nnyo okukkiriza era n’okukolera ku magezi ge tufuna mu Baibuli, mu nkuŋŋaana ez’Ekikristaayo, okuva eri abakadde, era ne mu bitabo ebyesigamiziddwa ku Baibuli.”

Bwe tuba tusalawo, tusaanidde okwebuuza: ‘Emyaka etaano oba kkumi okuva kati nnaaba nkyali mumativu ne kye nsazeewo leero, oba nja kwejjusa? Nfuba okukakasa nti bye nsalawo tebindeetera butabeera munywevu mu by’omwoyo, wabula okunsobozesa okukulaakulana?’​—Abafiripi 3:16.

Okwenyigira mu bikolwa ebikyamu oba okweteeka mu mbeera eyinza okubaleetera okumenya amateeka ga Katonda, kiviiriddeko ababatize bangi obutaba banywevu mu bulamu. Abamu abagobeddwa mu kibiina olw’obuteenenya, bafubye nnyo ne bakomezebwawo, kyokka ate ne baddamu okugobebwa olw’ensobi y’emu, ng’emirundi egimu kino kibaawo nga baakakomezebwawo. Kyandiba nti tebasabye Katonda kubayamba ‘okukyawa ekibi era banywerere ku kirungi’? (Abaruumi 12:9; Zabbuli 97:10) Ffenna tulina ‘okweyongera okutambulira mu makubo amagolokofu.’ (Abaebbulaniya 12:13) N’olwekyo, ka twekenneenye ebintu ebimu ebiyinza okutuyamba okusigala nga tuli banywevu mu by’omwoyo.

Beera Munywevu nga Weenyigira mu Mirimu gy’Ekikristaayo

Engeri emu ey’okubeera omunywevu mu mbiro ez’obulamu kwe kubeera n’eby’okukola bingi mu mulimu gw’okubuulira Obwakabaka. Yee, obuweereza bwaffe obw’Ekikristaayo bukulu nnyo mu kukuuma emitima gyaffe n’ebirowoozo nga binyweredde ku kukola Katonda by’ayagala era ne ku kirabo eky’obulamu obutaggwaawo. Ku nsonga eno Pawulo yakubiriza Abakkolinso: “Baganda bange abaagalwa, munywerenga obutasagaasagana, nga mweyongera bulijjo mu mulimu gwa Mukama waffe, kubanga mumanyi ng’okufuba kwammwe si kwa bwereere mu Mukama waffe.” (1 Abakkolinso 15:58) ‘Obunywevu’ butegeeza ‘obutaseguka mu kifo.’ “Obutasagaasagana” buyinza okutegeeza ‘okunywerera ku kintu.’ N’olwekyo, okubeera n’eby’okukola bingi mu buweereza bwaffe kiyinza okutunyweza mu kkubo ery’Ekikristaayo. Okuyamba abalala okumanya Yakuwa kiwa obulamu bwaffe amakulu era ne kituleetera essanyu.​—Ebikolwa 20:35.

Pauline, Omukristaayo amazze emyaka egisukka mu 30 ng’aweereza ng’omuminsani era ne mu buweereza obulala obw’ekiseera kyonna, agamba: “Obuweereza bukuumi olw’okubanga okubuulira abalala kinkakasa nti nnina amazima.” Obukakafu obulala buva mu butayosa kwenyigira mu bintu ebirala eby’Ekikristaayo gamba ng’okubeerawo mu nkuŋŋaana ez’okusinza era n’okwesomesa Baibuli.

Tunywezebwa Oluganda Olwagazi

Okuba mu luganda olw’ensi yonna olw’abasinza ab’amazima kisobola okutunyweza ennyo. Nga nkizo ya maanyi okukolagana n’oluganda olwagazi olw’ensi yonna! (1 Peetero 2:17) Era naffe tusobola okunyweza bakkiriza bannaffe.

Lowooza ku bikolwa bya Yobu omusajja omwesigwa. Ne Erifaazi omubudaabuzi ow’obulimba yawalirizibwa okugamba: “Ebigambo byo byamuwaniriranga oyo eyali agudde, era wawanga amaanyi amaviivi agaddirira.” (Yobu 4:4) Tukola tutya mu nsonga eno? Kinnoomu tulina obuvunaanyizibwa okuyamba baganda baffe ne bannyinnaffe mu by’omwoyo okugumiikiriza mu buweereza bwa Katonda. Nga tukolagana nabo, tuyinza okussa mu nkola ebigambo bino: “Munyweze emikono eminafu, mukakase n’amaviivi agajugumira.” (Isaaya 35:3) N’olwekyo, lwaki tokifuula kiruubirirwa kyo okugumya n’okuzzaamu amaanyi Omukristaayo omu oba babiri buli lwe musisinkana? (Abaebbulaniya 10:24, 25) Okubeebaza n’okubasiima olw’okweyongera okufuba okusanyusa Yakuwa kiyinza okubayamba okusigala nga banywevu nga balina ekiruubirirwa eky’okuwangula embiro ez’obulamu.

Abakadde Abakristaayo balina kinene nnyo kye bayinza okukola nga bazzaamu amaanyi abappya. Kino kiyinza okukolebwa nga babawa ebirowoozo ebirungi n’amagezi ageesigamiziddwa ku Byawandiikibwa, era nga bakola nabo mu buweereza bw’ennimiro. Omutume Pawulo yakozesanga buli kakisa okuzzaamu abalala amaanyi. Yali ayagala nnyo okulaba Abakristaayo mu Rooma asobole okubayamba okunywera mu by’omwoyo. (Abaruumi 1:11) Baganda be abaagalwa ab’omu Firipi yabatwala ‘ng’essanyu lye era engule ye’ era n’abakubiriza ‘okunywera mu Mukama waffe.’ (Abafiripi 4:1) Bwe yawulira ebizibu bya baganda be mu Ssessaloniika, Pawulo yatuma Timoseewo ‘okubanyweza era ababudeebude waleme kubaawo n’omu awangulibwa ebizibu.’​—1 Abasessaloniika 3:1-3.

Omutume Pawulo ne Peetero baalaba era ne basiima okufuba kwa basinza bannaabwe. (Abakkolosaayi 2:5; 1 Abasessaloniika 3:7, 8; 2 Peetero 1:12) Mu ngeri y’emu, ka naffe tuleme kussa ssira ku bunafu bwa baganda baffe, wabula tulisse ku ngeri zaabwe ennungi n’engeri gye bafubyemu okunywerera ku Yakuwa era n’okumuwa ekitiibwa.

Bwe tuba nga tuvumirira abalala, mu butali bugenderevu tuyinza okubakaluubiriza okusigala nga banywevu mu kukkiriza. N’olw’ensonga eyo, nga kikulu nnyo okujjukira nti baganda baffe ‘bakooye era basaasanye’ mu nteekateeka ey’ebintu bino! (Matayo 9:36) Basuubira okubudaabudibwa n’okuzzibwamu amaanyi mu kibiina Ekikristaayo. N’olwekyo, ka ffenna tukole kyonna kye tusobola okuzimba bakkiriza bannaffe era tubayambe okusigala nga banywevu.

Emirundi egimu abalala bayinza okutuyisa mu ngeri eyinza okutuleetera obutaba banywevu. Tunaaleka ekigambo ekyogeddwa oba ekikolwa ekibi okutuleetera okuddirira mu buweereza bwaffe eri Yakuwa? Ka tuleme kukkiriza muntu yenna kutulemesa kubeera banywevu!​—2 Peetero 3:17.

Ebisuubizo bya Katonda Bitunyweza

Ekisuubizo kya Yakuwa ekikwata ku biseera ebirungi wansi w’Obwakabaka, kituwa essuubi erituyamba okusigala nga tuli banywevu. (Abaebbulaniya 6:19) Era okubeera abakakafu nti bulijjo Katonda atuukiriza ebisuubizo bye kitukubiriza ‘okusigala nga tutunula era nga tuli banywevu mu kukkiriza.’ (1 Abakkolinso 16:13; Abaebbulaniya 3:6) Okuba nti ebisuubizo bya Katonda ebimu biyinza okulabika ng’ebiruddewo okutuukirizibwa, kiyinza okugezesa okukkiriza kwaffe. N’olwekyo, kikulu nnyo okuba obulindaala tuleme okutwalirizibwa enjigiriza ez’obulimba wamu n’okuva ku ssuubi lyaffe.​—Abakkolosaayi 1:23; Abaebbulaniya 13:9.

Ekyokulabirako ekibi eky’Abaisiraeri abaazikirira olw’obutaba na kukkiriza mu bisuubizo bya Yakuwa kwandibadde kulabula gye tuli. (Zabbuli 78:37) Mu kifo ky’okweyisa nga bo, ka tubeere banywevu nga tuweereza Katonda n’obunyiikivu mu nnaku zino ez’enkomerero. “Buli lunaku nneeyisa ng’olunaku olukulu olwa Yakuwa olugenda okujja enkya,” bw’atyo omukadde aludde ng’aweereza bwe yagamba.​—Yoweeri 1:15.

Yee, olunaku olukulu olwa Yakuwa lunaatera okutuuka. Kyokka, tetulina kutya kintu kyonna kasita tubeera n’enkolagana ennungi ne Katonda. Singa tunywerera ku misingi gye emituukirivu era ne tusigala nga tuli banywevu, tusobola okutuuka ku buwanguzi mu mbiro z’obulamu obutaggwaawo!​—Engero 11:19; 1 Timoseewo 6:12, 17-19.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 21]

Okola kyonna ky’osobola okuyamba Bakristaayo banno okusigala nga banywevu?

[Ensibuko y’ekifaananyi ekiri ku lupapula 19]

The Complete Encyclopedia of Illustration/J. G. Heck