Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

“Temutya So Temukeŋŋentererwa”

“Temutya So Temukeŋŋentererwa”

“Temutya So Temukeŋŋentererwa”

“Temutya so temukeŋŋentererwa. . . . Mukama ali nammwe.” ​—2 EBYOMUMIREMBE 20:17.

1. Ebikolwa bya bannalukalala bikola ki ku bantu, era lwaki batuufu okutya?

EBIKOLWA bya bannalukalala! Okuwulira obuwulizi ebigambo ebyo kireeta okutya mu mutima, okwewulira nti tolina bukuumi wadde obuyambi. Kireeta okweraliikirira, ennaku n’obusungu. Era bye bigambo ebinnyonnyola ekyo abantu bangi kye batya nti kijja kubeerawo okumala emyaka mingi. Olw’okuba ensi ezimu zimaze emyaka mingi nga zirwanyisa ebikolwa bya bannalukalala ebitali bimu, kyokka nga zikyalemereddwa okubimalawo, tekyewuunyisa lwaki waliwo okutya bwe kutyo.

2. Abajulirwa ba Yakuwa balina ndowooza ki ku bikolwa ebya bannalukalala, era bibuuzo ki ebijjawo?

2 Wadde kiri kityo, waliwo ensonga kwe tusinziira okuba n’essuubi. Abajulirwa ba Yakuwa ababuulira mu nsi 234, balina essuubi nti ebintu bijja kuba birungi gye bujja. Mu kifo ky’okutya nti ebikolwa bya bannalukalala tebijja kumalibwawo, bakakafu nti bijja kuggwaawo, ate mu bwangu. Kiba kya magezi okuba n’essuubi bwe lityo? Ddala ani ayinza okumalawo nnawookera ono ku nsi, era kisoboka kitya? Olw’okuba ffenna twali tukwatiddwako ebikolwa eby’obukambwe mu ngeri emu oba endala, kyandibadde kirungi okwekenneenya ensonga esinziirwako okuba n’essuubi ng’eryo.

3. Biki ebiriwo ebireetera abantu okutya, era biki ebyalagulwa ebikwata ku kiseera kyaffe?

3 Leero abantu batya era beeraliikirivu olw’ensonga ezitali zimu. Lowooza ku nnamungi w’abantu abatakyasobola kwerabirira olw’obukadde, abantu abanafuwa olw’endwadde ezitaliiko ddagala, oba amaka agakaluubirirwa okufuna ebyetaago by’obulamu. Oba lowooza ku mbeera ey’obutamanya ki ekiyinza okutuuka ku bulamu bwo! Akabenje oba akatyabaga kayinza okutuutuukako essaawa yonna ne tufa, ekyo ne kikomya buli kimu. Okutya ng’okwo n’okweraliikirira, ssaako n’ebizibu ebirala bingi ebikosa abantu kinnoomu, bifuulidde ddala ebiseera bye tulimu okuba ebyo omutume Pawulo bye yayogerako nti: “Tegeera kino nga mu nnaku ez’oluvannyuma ebiro eby’okulaba ennaku birijja. Kubanga abantu baliba nga beeyagala bokka, . . . abatayagala ba luganda, abatatabagana, abawaayiriza, abateegendereza, abakambwe, abatayagala bulungi.”​—2 Timoseewo 3:1-3.

4. Ssuubi ki eriri mu 2 Timoseewo 3:1-3 awalaga embeera ezitasanyusa?

4 Wadde ng’ekyawandiikibwa kino kiraga embeera eziriwo ezitasanyusa, naye era kiwa essuubi. Weetegereze nti ebiro eby’okulaba ennaku, bya kubeerawo “mu nnaku ez’oluvannyuma” ez’enteekateeka ya Setaani eno embi. Kino kitegeeza nti obuweerero buli kumpi era nti obufuzi obutuukiridde obw’Obwakabaka bwa Katonda Yesu bwe yayigiriza abagoberezi be okusaba, bunaatera okuzikiriza embeera y’ebintu embi eriwo mu nsi. (Matayo 6:9, 10) Obwakabaka obwo ye gavumenti ya Katonda ey’omu ggulu ‘etalizikirizibwa emirembe gyonna’ naye, ‘ejja kumenyaamenya era ezikirize obwakabaka bw’abantu bwonna era yo ebeerere emirembe gyonna,’ nga nnabbi Danyeri bw’agamba.​—Danyeri 2:44.

Abakristaayo Obutabaako Ludda Lwe Bawagira n’Ebikolwa bya Bannalukalala

5. Gye buvuddeko awo, amawanga gakozeewo ki olw’entiisa y’ebikolwa bya bannalukalala?

5 Okumala amakumi g’emyaka, ebikolwa bya bannalukalala bireetedde abantu bangi nnyo okufiirwa obulamu bwabwe. Ensi yonna yeeyongera okumanya akabi akali mu bikolwa ebyo, oluvannyuma lw’okulumbibwa kw’ebibuga New York ne Washington, D.C., nga Ssebutemba 11, 2001. Oluvannyuma lw’okukiraba nti ebikolwa bya bannalukalala kizibu kya maanyi nnyo ekibunye ensi yonna, amawanga ag’enjawulo geegatta mu bwangu okubikomya. Ng’ekyokulabirako, okusinziira ku alipoota z’eby’empuliziganya, nga Ddesemba 4, 2001, “baminisita 55 okuva mu nsi za Bulaaya, Amerika, ne mu massekati ga Asiya, bakkiriziganya okutandikawo enkola” ey’okukolera awamu. Omukungu omu Omwamerika, yatendereza ekikolwa kino nti, kyongedde “amaanyi amappya” mu kaweefube w’okumalawo ebikolwa bya bannalukalala. Mangu ddala, obukadde n’obukadde bw’abantu baatandika okuwagira ekyo magazini eyitibwa The New York Times kye yayita “entandikwa y’olutalo kasiggu.” Mpaawo amanyi ebinaava mu kaweefube ono. Kyokka, emitawaana emirala egiyinza okuva mu lutalo olwo olw’okulwanyisa ebikolwa bya bannalukalala, gireetedde bangi okutya n’okweraliikirira. Naye abo abeesiga Yakuwa tebalina kweraliikirira okwo.

6. (a) Lwaki abamu oluusi kibazibuwalira okukkiriziganya n’Abajulirwa ba Yakuwa ku nsonga y’obutaba na ludda lwe bawagira mu by’obufuzi? (b) Ku bikwata ku by’obufuzi, kyakulabirako ki Yesu kye yateerawo abagoberezi be?

6 Abajulirwa ba Yakuwa bamanyiddwa bulungi olw’obutabaako ludda lwe bawagira mu by’obufuzi. Wadde ng’abantu bangi bayinza okuba abeetegefu okukkiriziganya n’Abajulirwa ba Yakuwa ku nsonga eno mu biseera eby’emirembe, embeera enzibu bwe zijjawo bakyuka. Emirundi mingi, okutya n’okweraliikirira, ebireetebwa olutalo, bitumbula mwoyo gwa ggwanga. Enneewulira eyo eyinza okulemesa abamu okutegeera lwaki omuntu yenna yandigaanye okuwagira kaweefube akolebwa bannabyabufuzi. Kyokka, Abakristaayo ab’amazima bakimanyi nti balina okugondera ekiragiro kya Yesu ‘eky’obutaba ba nsi.’ (Yokaana 15:19; 17:14-16; 18:36; Yakobo 4:4) Kino kibeetaagisa obutabaako ludda lwe bawagira mu by’obufuzi oba mu nsonga endala ez’ensi ezikontana ne Baibuli. Yesu kennyini yassaawo ekyokulabirako ekirungi. Bw’olowooza ku magezi ge yalina agaali gatuukiridde awamu n’obusobozi bwe obw’enjawulo ennyo, yandisobodde okubaako ky’akola okulongoosa embeera z’abantu ab’omu kiseera kye. Kyokka, yagaana okwenyigira mu by’obufuzi. Ku ntandikwa y’obuweereza bwe, yagaanira ddala ekyo Setaani kye yali amuwa, okuba omufuzi w’obwakabaka bwonna obw’omu nsi. Era oluvannyuma, yagaana ekifo eky’obufuzi abantu kye baali baagala okumukakaatikako.​—Matayo 4:8-10; Yokaana 6:14, 15.

7, 8. (a) Abajulirwa ba Yakuwa obutabaako ludda lwe bawagira mu by’obufuzi tekitegeeza ki, era lwaki? (b) Abaruumi 13:1, 2 walaga watya nti kiba kikyamu okwenyigira mu bikolwa eby’obukambwe eby’okulwanyisa gavumenti?

7 Abajulirwa ba Yakuwa obutabaako ludda lwe bawagira mu by’obufuzi, tekirina kutwalibwa nti, bawagira oba babuusa amaaso ebikolwa eby’obukambwe. Bwe bandikoze ekyo kyandibadde kiraga nti si baweereza ba Katonda “ow’okwagala n’emirembe.” (2 Abakkolinso 13:11) Bayize endowooza Yakuwa gy’alina ku bikolwa eby’obukambwe. Omuwandiisi wa Zabbuli yawandiika: “Yakuwa kennyini yeekenneenya omutuukirivu n’omubi, era oyo yenna ayagala eby’obukambwe emmeeme Ye emukyawa.” (Zabbuli 11:5, NW) Era bamanyi bulungi ekyo Yesu kye yagamba omutume Peetero nti: “Ekitala kyo kizze mu kifo kyakyo, kubanga abo bonna abakwata ekitala balifa kitala.”​—Matayo 26:52.

8 Wadde ng’ebyafaayo biraga kaati ng’emirundi mingi Abakristaayo ab’obulimba beeyambisizza “ekitala,” ekyo si bwe kibadde eri Abajulirwa ba Yakuwa. Beewalira ddala ekikolwa ng’ekyo. Abajulirwa bagondera ekiragiro ekiri mu Abaruumi 13:1, 2, awagamba nti: “Buli muntu awulirenga abakulu abafuga [abafuzi mu gavumenti] kubanga tewali bukulu butava eri Katonda, n’abakulu abaliwo baalagirwa Katonda. Awakanya obukulu kyava awakanya okulagira kwa Katonda, era abawakana balyezzaako omusango bo bokka.”

9. Mu ngeri ki ebbiri Abajulirwa ba Yakuwa gye balwanyisaamu ebikolwa bya bannalukalala?

9 Okuva ebikolwa bya bannalukalala bwe biri ebibi ennyo, ddala Abajulirwa ba Yakuwa tebandibaddeko kye bakola mu kubirwanyisa? Yee, bandibaddeko ne kye bakola, era bakikola. Okusookera ddala, bo bennyini beewala okwenyigira mu bikolwa ng’ebyo. Eky’okubiri, bayigiriza abantu emisingi egy’Ekikristaayo egireetera ababa bagigoberedde okulekera awo okwenyigira mu bikolwa eby’obukambwe eby’engeri yonna. * Omwaka oguwedde, Abajulirwa baamala essaawa 1,202,381,302 nga bayamba abantu okuyiga ekkubo lino ery’Ekikristaayo. Ebiseera ebyo tebaabyonoona kubanga olw’omulimu ogwo, abantu 265,469 baabatizibwa ng’Abajulirwa ba Yakuwa, bwe batyo ne booleka mu lujjudde nti beesambidde ddala ebikolwa eby’obukambwe.

10. Waliwo ssuubi ki ku bikwata ku kumalawo ebikolwa eby’obukambwe mu nsi leero?

10 Okugatta ku ekyo, Abajulirwa ba Yakuwa bakkiriza nti bo ku bwabwe tebasobola kumalawo bubi ku nsi. Eyo ye nsonga lwaki bassa obwesige bwabwe bwonna mu oyo asobola, ng’ono ye Yakuwa Katonda. (Zabbuli 83:18) Wadde bafuba batya, abantu tebasobola kumalawo bikolwa bya bukambwe. Omuwandiisi wa Baibuli eyaluŋŋamizibwa yalagula ku kiseera kyaffe, ‘ennaku ez’oluvannyuma’ nti: “Abantu ababi n’abeetulinkiri[z]a balyeyongera okuyitirira mu bubi, nga balimba era nga balimbibwa.” (2 Timoseewo 3:1, 13) Bw’olowooza ku ekyo, kiwa essuubi ttono nnyo ddala nti abantu bayinza okuwangula olutalo olw’okumalawo obubi. Ku luuyi olulala, tusobola okwesiga Yakuwa okumalirawo ddala ebikolwa eby’obukambwe.​—Zabbuli 37:1, 2, 9-11; Engero 24:19, 20; Isaaya 60:18.

Bagumu Wadde nga Bagenda Kulumbibwa

11. Biki Yakuwa by’akozeewo okusobola okumalawo ebikolwa eby’obukambwe?

11 Olw’okuba Katonda ow’emirembe akyawa ebikolwa eby’obukambwe, tukitegeera bulungi lwaki abaddeko ne by’akolawo mu kusaanyawo ensibuko yaabyo, Setaani Omulyolyomi. Mu butuufu, yamala dda okufeebya Setaani, ng’akozesa malayika omukulu Mikaeri, kwe kugamba, Kabaka Katonda gw’ataddewo Yesu Kristo. Baibuli etunnyonnyola bw’eti: “Ne waba olutalo mu ggulu, Mikaeri ne bamalayika be nga batabaala okulwana n’ogusota ogusota ne gulwana ne bamalayika baagwo, ne batayinza so ne watalabika kifo kyabwe nate mu ggulu. N’ogusota ogunene ne gusuulibwa omusota ogw’edda, oguyitibwa Setaani , omulimba w’ensi zonna ne gusuulibwa ku nsi ne bamalayika baagwo.”​—Okubikkulirwa 12:7-9.

12, 13. (a) Kintu ki ekikulu ekyaliwo mu mwaka 1914? (b)  Kiki ekyogerwako mu bunnabbi bwa Ezeekyeri ekijja okutuuka ku abo abawagira Obwakabaka bwa Katonda?

12 Okubalirira ebiseera okwesigamiziddwa ku Baibuli, n’ebintu ebibaddewo mu nsi biraga nti omwaka 1914 kye kiseera olutalo olwo we lwabeererawo mu ggulu. Okuva olwo, embeera y’ensi yeeyongedde okwonooneka. Okubikkulirwa 12:12 lunnyonnyola ensonga lwaki, nga lugamba nti: “Kale musanyuke eggulu n’abatuulamu. Zisanze ensi n’ennyanja kubanga Omulyolyomi asse gye muli ng’alina obusungu bungi ng’amanyi ng’alina akaseera katono.”

13 Omulyolyomi ayolekeza obusungu bwe okusingira ddala eri abasinza ba Katonda abaafukibwako amafuta ne bannaabwe ‘ab’endiga endala.’ (Yokaana 10:16; Okubikkulirwa 12:17) Okuyigganya kuno kujja kutuuka ku ntikko yaakwo Omulyolyomi bw’anaakola olulumba ssinzigu ku abo bonna abawagira Obwakabaka bwa Katonda obwateekebwawo era ababussaamu obwesige. Olulumba luno ssinzigu lwogerwako mu Ezeekyeri essuula 38 ng’olulumba lwa “Googi ow’omu nsi ya Magoogi.”

14. Buyambi ki Abajulirwa ba Yakuwa bwe bafunye mu biseera eby’emabega, era baneeyongeranga okubufuna ekiseera kyonna?

14 Okuva Setaani lwe yagobwa mu ggulu, abantu ba Katonda bwe babadde bayigganyizibwa, emirundi egimu bafunye obuyambi okuva eri abafuzi abamu, aboogerwako mu lulimi olw’akabonero mu Okubikkulirwa 12:15, 16. Kyokka, Baibuli eraga nti mu lulumba lwa Setaani olusembayo, enteekateeka z’abantu tezijja kuwa bukuumi abo abassa obwesige bwabwe mu Yakuwa. Kino kyandireetedde Abakristaayo okutya oba okweraliikirira? N’akatono!

15, 16. (a) Ebigambo bya Yakuwa ebyagumya abantu be mu nnaku za Yekosafaati, biwa ssuubi ki Abakristaayo leero? (b) Kyakulabirako ki Yekosafaati n’abantu kye baateerawo abaweereza ba Katonda leero?

15 Katonda ajja kuwa abantu be obukuumi nga bwe yakuuma eggwanga lye mu nnaku za Kabaka Yekosafaati. Tusoma bwe tuti: “Muwulire mmwe Abayuda mwenna, nammwe ababeera mu Yerusaalemi, naawe kabaka Yekosafaati: bw’atyo bw’abagamba Mukama nti Temutya mmwe so temukeŋŋentererwa olw’eggye lino eddene kubanga olutalo si lwammwe naye lwa Katonda. . . . Temulyetaaga kulwana mu lutalo luno, mwesimbe muyimirire buyimirizi mulabe obulokozi bwa Mukama obuli nammwe, gwe Yuda ne Yerusaalemi temutya so temukeŋŋentererwa, enkya mutabaale kubanga Mukama ali nammwe.”​—2 Ebyomumirembe 20:15-17.

16 Abantu ba Yuda baakakasibwa nti baali tebajja kwetaaga kulwana. Mu ngeri y’emu, abantu ba Katonda bwe banaalumbibwa Googi ow’e Magoogi, tebajja kukwata bya kulwanyisa okwerwanako. Mu kifo ky’ekyo, bajja ‘kuyimirira buyimirizi balabe obulokozi bwa Yakuwa’ ng’abalwanirira. Kya lwatu, okuyimirira obuyimirizi tekitegeeza nti bajja kubeera bubeezi awo nga tebalina kye bakola, kuba n’abantu ba Katonda mu biseera bya Yekosafaati nabo tebaali awo bubeezi nga tebalina kye bakola. Tusoma bwe tuti: “Awo Yekosafaati n’avuunama amaaso ge ku ttaka, ne Yuda yenna n’ababeera mu Yerusaalemi ne bavuunama mu maaso ga Mukama nga basinza Mukama. . . . Awo [Yekosafaati] bwe yamala okuteesa n’abantu, n’assaawo abo abanaayimbira Mukama ne batendereza obulungi bw’obutukuvu nga bafuluma nga bakulembera eggye ne boogera nti, mwebaze Mukama kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.” (2 Ebyomumirembe20:18-21) Yee, ne mu kiseera ekyo nga boolekaganye n’abalabe baabwe, abantu beeyongera okutendereza Yakuwa. Baateerawo Abajulirwa ba Yakuwa ekyokulabirako eky’okugoberera, Googi bw’anaabalumba.

17, 18. (a) Ndowooza ki ennungi Abajulirwa ba Yakuwa gye balina ku bikwata ku kulumba kwa Googi? (b) Kujjukizibwa ki gye buvuddeko awo okwaweebwa abavubuka Abakristaayo?

17 Okutuuka ku kulumba kwa Googi, n’oluvannyuma lwakwo, Abajulirwa ba Yakuwa bajja kweyongera okuwagira Obwakabaka bwa Katonda. Bajja kweyongera okufuna amaanyi n’obukuumi nga bakuŋŋaanira mu bibiina ebisukka mu 94,600 okwetooloola ensi. (Isaaya 26:20) Kino nga kiseera kirungi nnyo okutendereza Yakuwa n’obuvumu! Mazima ddala, okubeera nga basuubira okulumbibwa Googi, tekibaleetera kuterebuka. Mu kifo ky’ekyo, kibakubiriza bukubiriza okwongera ku ssaddaaka yaabwe ey’okutendereza.​—Zabbuli 146:2.

18 Endowooza eno ennungi eragibwa bulungi enkumi n’enkumi z’abavubuka okwetooloola ensi yonna abatandise obuweereza obw’ekiseera kyonna. Okulaga obukulu bw’okulondawo ekkubo eryo, tulakiti Abavubuka​—Munaakozesa Mutya Obulamu Bwammwe? yafulumizibwa mu lukuŋŋaana lwa disitulikiti olwaliwo mu 2002. Abakristaayo abato n’abakulu, basiima nnyo okujjukizibwa ng’okwo okwatuukira mu kiseera ekituufu.​—Zabbuli 119:14, 24, 99, 119, 129, 146.

19, 20. (a) Lwaki Abakristaayo tebalina nsonga yonna okutya oba okweraliikirira? (b) Ekitundu ekiddako kinaakola ki?

19 Wadde ng’embeera eziriwo mu nsi si nnungi, Abakristaayo tebeetaaga kutya oba okweraliikirira. Bakimanyi nti Obwakabaka bwa Yakuwa mangu ddala bujja kumalirawo ddala ebikolwa byonna eby’obukambwe. Era kibazzaamu amaanyi okumanya nti abantu bangi abaatirimbulwa bajja kuzuukizibwa. Wadde ng’okuzuukira okwo kujja kusobozesa abamu okufuna omukisa ogusooka okuyiga ebifa ku Yakuwa, abalala kujja kubasobozesa okweyongera okumuweereza n’obwesigwa. ​—Ebikolwa 24:15.

20 Ng’Abakristaayo ab’amazima, tutegeera bulungi obwetaavu bw’okusigala nga tetulina ludda lwe tuwagira era tuli bamalirivu okusigala nga tukola bwe tutyo. Twagala okunywerera ku ssuubi ery’ekitalo ‘ery’okuyimirira obuyimirizi okulaba obulokozi bwa Yakuwa.’ Ekitundu ekiddako kijja kunyweza okukkiriza kwaffe nga kitutegeeza ebintu ebiriwo leero ebigenda bitulaga kutuukirizibwa kw’obunnabbi bwa Baibuli.

[Obugambo obuli wansi]

^ lup. 9 Okusobola okufuna ebyokulabirako by’abantu kinnoomu abeesamba ebikolwa eby’obukambwe okusobola okufuuka Abajulirwa ba Yakuwa, laba Awake! aka Maaki 22, 1990, olupapula 21; aka Agusito 8, 1991, olupapula 18; ne Watchtower aka Jjanwali, 1996, olupapula 5; n’aka Agusito 1, 1998, olupapula 5.

Osobola Okunnyonnyola?

• Lwaki abantu bangi leero tebasuubirayo birungi mu maaso?

• Lwaki Abajulirwa ba Yakuwa balina essuubi nti ebintu bijja kuba birungi gye bujja?

• Kiki Yakuwa ky’akozeewo ku bikwata ku nsibuko y’ebikolwa eby’obukambwe?

• Lwaki tetusaanidde kutya kulumba kwa Googi?

[Ebibuuzo]

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]

Yesu yassizaawo Abakristaayo ekyokulabirako ekirungi eky’obutaba na ludda lwe bawagira mu by’obufuzi

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 26]

Enkumi n’enkumi z’abavubuka Abajulirwa bennyigidde mu buweereza obw’ekiseera kyonna

[Ensibuko y’ekifaananyi ekiri ku lupapula 22]

UN PHOTO 186226/M. Grafman