Wulira Omwoyo Kye Gugamba!
Wulira Omwoyo Kye Gugamba!
“Alina okutu awulire [o]mwoyo ky’agamba ekkanisa.”—OKUBIKKULIRWA 3:22.
1, 2. Kubuulirira ki okuli mu bubaka bwa Yesu okuddiŋŋanwa eri ebibiina omusanvu ebyogerwako mu Okubikkulirwa?
ABAWEEREZA ba Yakuwa bateekwa okussaayo omwoyo ku bigambo bya Yesu Kristo ebyaluŋŋamizibwa bye yategeeza ebibiina omusanvu ebyogerwako mu kitabo ky’Okubikkulirwa. Mazima ddala, obubaka obwo bwonna bulimu okubuulirira kuno: “Alina okutu awulire [o]mwoyo ky’agamba ekkanisa.”—Okubikkulirwa 2:7, 11, 17, 29; 3:6, 13, 22.
2 Tumaze okwekenneenya obubaka bwa Yesu eri bamalayika oba abalabirizi ab’omu Efeso, Sumuna ne Perugamo. Tuyinza tutya okuganyulwa mu ebyo bye yategeeza ebibiina ebina ebisigaddeyo okuyitira mu mwoyo omutukuvu?
Eri Malayika ow’Omu Suwatira
3. Suwatira kyali kisangibwa wa, era kyali kimanyiddwa lwa bintu ki?
3 “Omwana wa Katonda” asiima era n’akangavvula ekibiina ky’omu Suwatira. (Soma Okubikkulirwa 2:18-29) Suwatira (kati ekiyitibwa Akhisar) kyali kizimbiddwa okumpi n’ekikono ky’Omugga Gediz (edda ogwali guyitibwa Heumus) oguli mu bukiika kkono bwa Asiya Omutono. Ekibuga ekyo kyali kimanyiddwa olw’ebintu eby’emikono ebyakolebwangayo mu bungi. Abaatabulanga langi baakozesanga emirandira gy’emiti okusobola okufuna langi z’engoye ez’efulungu n’eza kakobe ezaali zimanyiddwa ennyo. Ludiya, eyafuuka Omukristaayo mu kiseera Pawulo kye yakyaliramu e Firipi eky’omu Buyonaani, yali ‘mutunzi w’engoye ez’effulungu mu kibuga Suwatira.’—Ebikolwa 16:12-15.
4. Ekibiina ky’omu Suwatira kyasiimibwa lwa bintu ki?
4 Yesu asiima ekibiina ky’omu Suwatira olw’ebikolwa byakyo ebirungi, gamba ng’okwagala, okukkiriza, obugumiikiriza n’olw’obuweereza bwabwe. Mu butuufu, ‘ebikolwa byabwe eby’oluvannyuma byali birungi okusinga eby’olubereberye.’ Kyokka, ne bwe tuba ng’emabega twali tukola bulungi, tetusaanidde kulagajjalira nneeyisa yaffe.
5-7. (a) “Omukazi Yezeberi” yali ani, era kiki ekyali eky’okumutuukako olw’ebikolwa bye? (b) Obubaka bwa Kristo eri ekibiina ky’omu Suwatira buyamba abakazi abatya Katonda kukola ki?
5 Ekibiina ky’omu Suwatira kyali kibuusa amaaso ebikolwa eby’okusinza ebifaananyi, okuyigiriza okw’obulimba n’obukaba. Kyalimu “omukazi oli Yezeberi”—oboolyawo kino kyali kibiina ky’abakazi abaalina empisa ng’eza Kwiini Yezeberi omubi ow’omu Bwakabaka bwa Isiraeri obw’ebika ekkumi. Abeekenneenya abamu bagamba nti ‘nnabbi omukazi’ ow’omu Suwatira yagezaako okusendasenda Abakristaayo okusinza bakatonda b’emirimu era n’okwenyigira mu mikolo egyali gizingiramu okulya emmere eweereddwayo eri ebifaananyi. Ka waleme kubeerawo muntu yenna eyeefuula nga nnabbi omukazi mu kiseera kino okubuzaabuza Abakristaayo mu kibiina!
6 Kristo ‘yali ali kumpi okusuula Yezeberi ku kiriri, era n’abo abenda naye abatuuse mu kubonaabona okungi, bwe batandyenenyezza bikolwa bya Yezeberi.’ Abalabirizi tebasaanidde kutwalirizibwa njigiriza ng’ezo embi, era tewali Mukristaayo n’omu asaanidde kwenda mu by’omwoyo ne mu mubiri oba okwenyigira mu kusinza ebifaananyi mbu alyoke amanye nti ‘ebintu eby’obuziba ebya Setaani’ ddala bibi. Singa tugoberera okulabula kwa Yesu, ‘tujja kunywezanga kye tulina,’ era ekibi tekijja kutufuga. Olw’okuba beesamba ebikolwa ebitasiimibwa Katonda, okwegomba okubi n’ebiruubirirwa ebirala, abaafukibwako amafuta abazuukira bafuna “amaanyi ku mawanga” era bajja kukolera wamu ne Kristo okugamenyaamenya. Ebibiina ebiriwo mu kiseera kino birina emmunyeenye ez’akabonero, era abaafukibwako amafuta bajja kuweebwa “emmunyeenye ey’enkya,” Omugole Yesu Kristo, nga bazuukiziddwa mu bulamu obw’omu ggulu.—Okubikkulirwa 22:16.
7 Ekibiina ky’omu Suwatira kyalabulwa obutakkiriza bikolwa bibi eby’abakazi bakyewaggula. Obubaka bwa Kristo eri ebibiina obwaluŋŋamizibwa buyamba abakazi abatya Katonda leero okumanya ekifo kyabwe mu kuweereza Katonda. Tebagezaako kufuga basajja era tebasendasenda baluganda kwenda mu by’omwoyo oba mu mubiri. (1 Timoseewo 2:12) Okwawukana ku ebyo, abakazi ng’abo bassaawo ekyokulabirako mu bikolwa ebirungi ne mu buweereza ne baleetera Katonda ettendo. (Zabbuli 68:11; 1 Peetero 3:1-6) Singa ekibiina kikuuma ekyo kye kirina, kwe kugamba, enjigiriza ennongoofu, empisa ennungi, n’obuweereza bw’Obwakabaka obw’omuwendo, Kristo ajja kujja abawe emikisa so si okubazikiriza.
Eri Malayika ow’Omu Saadi
8. (a) Saadi kyali kisangibwa wa, era biki ebikimanyiddwako? (b) Lwaki ekibiina ky’omu Saadi kyali kyetaaga okuyambibwa?
8 Ekibiina ky’omu Saadi kyali kyetaaga obuyambi obw’amangu kubanga kyali kifu mu by’omwoyo. (Soma Okubikkulirwa 3:1-6) Saadi ekyali mayiro nga 30 ebukiika ddyo bwa Suwatira, kyali kibuga ekikulaakulana ennyo. Eby’obusuubuzi, obugimu bw’ettaka, ssaako engoye n’ebiweempe ebyakolebwanga mu byoya by’endiga, byasobozesa ekibuga ekyo okubeera ekigagga era ng’olumu kyalimu abatuuze nga 50,000. Okusinziira ku munnabyafaayo Josephus, Saadi kyalimu Abayudaaya bangi nnyo mu kyasa ekyasooka B.C.E. Ekuŋŋaaniro ne yeekaalu ya katonda omukazi ow’Abaefeso ayitibwa Atemi, bye bimu ku matongo g’ekibuga.
9. Kiki ekirina okukolebwa singa obuweereza bwaffe bwa kutuukiriza butuukiriza luwalo’?
9 Kristo yagamba malayika w’omu kibiina ky’omu Saadi: “Mmanyi ebikolwa byo, ng’olina erinnya ery’okuba omulamu [kyokka] oli mufu.” Kiba kitya singa tulowooza nti tutunula mu by’omwoyo naye nga tetufaayo kufuna nkizo ez’Ekikristaayo, era nga tumala gaweereza lwa kutuukiriza luwalo, era nga mu by’omwoyo ‘tugenda kufa’? Olwo nno tuba twetaaga ‘okujjukira bwe twaweebwa ne bwe twawulira’ obubaka bw’Obwakabaka, era tusaanidde okuzza obuggya amaanyi gaffe mu buweereza obutukuvu. Era tulina okutandika okwenyigira mu bujjuvu mu nkuŋŋaana ez’Ekikristaayo. (Abaebbulaniya 10:24, 25) Kristo yalabula ekibiina ky’omu Saadi: “Kale bw’otalitunula, ndijja ng’omubbi, so tolimanya ssaawa gye ndijjiramu gy’oli.” Okulabula okwo kutukwatako leero? Mangu ddala tujja kusalirwa omusango.
10. Wadde ne mu mbeera ng’eyo eyali mu Saadi, kiki Abakristaayo abamu kye basobola okukola?
10 Wadde ne mu mbeera ng’eyo eyali mu Saadi, wayinza okubeerawo abatonotono ‘abatayonoona ngoye zaabwe, era abasobola okutambula ne Kristo mu ngoye enjeru kubanga basaanidde.’ Basigala nga Bakristaayo ebiseera byonna, nga tebeeyonoona era nga tebaliiko bbala mu mpisa oba mu by’eddiini ez’omu nsi eno. (Yakobo 1:27) N’olwekyo, Yesu ‘talisangula mannya gaabwe mu kitabo ky’obulamu, naye alyatula amannya gaabwe eri Kitaawe n’eri bamalayika.’ Olw’okuba basaanidde okutambulira awamu ne Kristo, ekibiina ky’abagole be abaafukibwako amafuta bajja kwambazibwa bafuta entukuvu era ennungi, ezikiikirira ebikolwa eby’obutuukirivu eby’abatukuvu ba Katonda. (Okubikkulirwa 19:8) Enkizo ez’ekitalo ez’obuweereza ze basuubira okufuna mu ggulu zibakubiriza okuwangula ensi eno. Era n’abo abajja okufuna obulamu obutaggwaawo ku nsi bajja kufuna emikisa. Nabo amannya gaabwe gawandiikiddwa mu kitabo ky’obulamu.
11. Kiki kye tusaanidde okukola singa tuba tutandise okwebaka mu by’omwoyo?
11 Tewali n’omu ku ffe ayagala okubeera mu mbeera embi ey’eby’omwoyo ng’eyali mu kibiina ky’omu Saadi. Naye kiba kitya singa tumanya nti tutandise okwebaka mu by’omwoyo? Tusaanidde okubaako kye tukolawo mu bwangu ku lw’obulungi bwaffe. Ka tugambe nti tutandise okusikirizibwa empisa embi oba obutajjumbira nkuŋŋaana oba obuweereza bw’ennimiro. Ka tunoonye obuyambi bwa Yakuwa nga tunyiikirira okusaba. (Abafiripi 4:6, 7, 13) Okusoma Baibuli buli lunaku n’ebitabo “by’omuwanika omwesigwa” bijja kutuyamba okubeera abazuukufu mu by’omwoyo. (Lukka 12:42-44) Bwe tunaakola bwe tutyo, tujja kubeera ng’abo ab’omu Saadi Kristo be yasiima, era tujja kuzzaamu nnyo amaanyi bakkiriza bannaffe.
Eri Malayika ow’Omu Firaderufiya
12. Wandinnyonnyodde otya embeera y’eddiini eyali mu Firaderufiya eky’edda?
12 Yesu yasiima ekibiina ky’omu Firaderufiya. (Soma Okubikkulirwa 3:7-13) Firaderufiya (kati ekiyitibwa Alasehir) kye kyali ekitundu ekyavangamu enviinyo ennyingi ennyo mu bugwanjuba bwa Asiya Omutono. Mu butuufu, katonda omukulu gwe baali basinza yali ayitibwa Diyonisasi, katonda ow’enviinyo. Kirabika, Abayudaaya abaali mu Firaderufiya baalemererwa okusendasenda Abayudaaya Abakristaayo abaali mu kibuga ekyo okweyongera okugoberera obulombolombo obwali mu Mateeka ga Musa.
13. Kristo akozesezza atya “ekisumuluzo kya Dawudi”?
13 Kristo “alina ekisumuluzo kya Dawudi,” era n’olwekyo aweereddwa ebintu by’Obwakabaka byonna n’okulabirira ebiri mu nnyumba ey’okukkiriza. (Isaaya 22:22; Lukka 1:32) Kristo yakozesa ekisumuluzo ekyo okuggulawo emikisa gy’Obwakabaka era n’okuggulirawo Abakristaayo abaali mu Firaderufiya n’awalala enkizo ez’obuweereza. Okuva mu 1919 agguliddewo “omuwanika omwesigwa” “oluggi olunene” olumusobozesa okubuulira Obwakabaka abaziyiza lwe batayinza kuggalawo. (1 Abakkolinso 16:9; Abakkolosaayi 4:2-4) Kya lwatu, oluggi olw’emikisa gy’Obwakabaka luggaddwawo eri abo abali mu “kkuŋŋaaniro lya Setaani,” kubanga tebali Isiraeri wa Katonda.
14. (a) Yesu yasuubiza ki ekibiina ky’omu Firaderufiya? (b) Tusobola tutya okwekuuma tuleme okugwa mu ‘kiseera eky’okukemebwamu’?
14 Yesu yasuubiza bw’ati Abakristaayo abaali mu Firaderufiya eky’edda: “Kubanga weekuuma ekigambo eky’okugumiikiriza kwange, era nange ndikukuuma obutayingira mu kiseera eky’okukemebwa, ekigenda okujja ku nsi zonna okukema abo abatuula ku nsi.” Kyetaagisa okubeera n’obugumiikiriza nga Yesu bwe yayoleka okusobola okubuulira. Teyatya balabe be naye yeeyongera okukolanga ekyo Kitaawe ky’ayagala. N’olwekyo, Kristo yazuukizibwa n’afuna obulamu obw’omu ggulu obutafa. Singa tunywerera ku kusalawo kwaffe okw’okusinza Yakuwa era ne tuwagira Obwakabaka nga tubuulira amawulire amalungi, tujja kukuumibwa tuleme kugwa mu “kiseera eky’okukemebwa.” Tujja kweyongera ‘okunyweza kye tulina’ okuva eri Kristo nga tufuba okwongera ku bungi bw’ebintu by’Obwakabaka. Okukola ekyo kijja kuviirako abaafukibwako amafuta okufuna ekirabo eky’omuwendo ennyo eky’okugenda mu ggulu era ne bannaabwe abalala abeesigwa okufuna obulamu obutaggwaawo ku nsi.
15. Kiki ekyetaagisa okuva eri abo abanaabeera ‘empagi mu yeekaalu ya Katonda’?
15 Kristo agattako: “Awangula ndimufuula empagi mu yeekaalu ya Katonda wange, so talifuluma nate bweru: nange ndiwandiika ku ye erinnya lya Katonda wange, n’erinnya ly’ekibuga kya Katonda wange, Yerusaalemi ekiggya, ekikka okuva mu ggulu eri Katonda wange, n’erinnya lyange eriggya.”
Abalabirizi abaafukibwako amafuta bateekwa okuwagira okusinza okw’amazima. Bateekwa okusigala nga balina ebisaanyizo by’okubeera mu “Yerusaalemi ekiggya” nga babuulira ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda era n’okusigala nga bayonjo mu by’omwoyo. Kino kyetaagisa naddala bwe baba nga baagala okubeera empagi mu yeekaalu ey’omu ggulu eyagulumizibwa, era bwe baba nga bannaawandiikibwako erinnya ly’ekibuga kya Katonda ekiggya nga bakakasibwa okubeera abatuuze mu ggulu awamu n’okufuna erinnya ly’okubeera omugole wa Kristo. Ate era bateekwa okubeera n’amatu ‘agawulira omwoyo kye gugamba ekkanisa.’Eri Malayika ow’Omu Lawodikiya
16. Bintu ki ebimu ebimanyiddwa ku Lawodikiya?
16 Kristo yakangavvuula ekibiina ky’omu Lawodikiya ekyali tekyefiirayo. (Soma Okubikkulirwa 3:14-22) Lawodikiya kyali kibuga ekikulaakulana ennyo mu by’amakolero ne mu by’ensimbi nga kiri mayiro nga 90 ebuvanjuba bwa Efeso era nga kiri mu masanganzira g’amakubo agaayitangamu ennyo eby’obusuubuzi, mu kiwonvu ky’Omugga Lukasi ekyali ekigimu. Engoye ezaakolebwanga mu byoya by’endiga ebiddugavu zaali zimanyiddwa nnyo mu kitundu ekyo. Olw’okuba kyalimu essomero eritendeka mu by’ekisawo eryali limanyiddwa ennyo, oboolyawo eddagala ly’amaaso ery’obuwunga eriyitibwa Phrygian lyakolebwanga mu Lawodikiya. Sikeropisi, katonda w’eddagala, yali omu ku bakatonda abakulu abaasinzibwanga mu kibuga ekyo. Kirabika mu Lawodikiya mwalimu Abayudaaya bangi nnyo ate nga kirabika abamu ku bo baali bagagga nnyo.
17. Lwaki Abalawodikiya baakangavvulwa?
17 Ng’ayogera n’ekibiina ky’omu Lawodikiya okuyitira mu “malayika” waakyo, Yesu ayogeza buyinza nga ‘Omujulirwa omwesigwa era ow’amazima, omubereberye w’ebitonde bya Katonda.’ (Abakkolosaayi 1:13-16) Abalawodikiya baakangavvulwa olw’okuba baali ‘tebannyogogga era nga tebabuguma’ mu by’omwoyo. Olw’okuba baali baakibuguumirize, Kristo yali agenda kubasesema. Ekyo kyali kyangu okutegeera. Ekibuga Kiyerapoli ekyali ku muliraano, kyalina ensulo z’amazzi agookya ng’ate Kkolosaayi kyo kirina z’amazzi agannyogogga. Olw’okuba amazzi gaasikibwanga okuva mayiro eziwerako okusobola okutuuka mu Lawodikiya, kirabika, we gaatuukiranga mu kibuga, gaali nga ga kibuguumirize. Nga ganaatera okutuuka mu Lawodikiya, gaayisibwanga mu middumu egyazimbibwa mu mayinja.
18, 19. Abakristaayo ab’omu kiseera kino okufaananako ab’omu Lawodikiya bayinza kuyambibwa batya?
18 Abantu leero abalinga ab’omu Lawodikiya, tebannyogogga era tebabuguma. Okufaananako amazzi ag’ekibuguumirize, bajja kusesemebwa! Yesu tayagala babeere boogezi be, ‘ng’ababaka abaafukibwako amafuta abali mu kifo kya Kristo.’ (2 Abakkolinso 5:20) Okuggyako nga beenenyeza, bajja kufiirwa enkizo yaabwe ey’okubeera abalangirizi b’Obwakabaka. Abalawodikiya baali beenoonyeza bya bugagga obw’omu nsi nga ‘tebamanyi nti baali banaku, abasaasirwa, abaavu, abazibe b’amaaso era abali obwereere.’ Okusobola okuggyawo obwavu bwabwe obw’eby’omwoyo, obuzibe bw’amaaso, n’okubeera obwereere, bonna abalinga abo leero beetaaga okugula okuva eri Kristo ‘zaabu eyalongoosebwa mu muliro,’ kwe kugamba, okukkiriza okugezeseddwa, “engoye enjeru” ez’obutuukirivu, ‘n’eddagala ery’okusiiga ku maaso’ eribasobozesa okulaba eby’omwoyo. Abalabirizi Abakristaayo baagala okuyamba abalinga abo okufaayo ku mbeera yaabwe ey’eby’omwoyo basobole okubeera ‘abagagga mu kukkiriza.’ (Yakobo 2:5; Matayo 5:3) Ate era, abalabirizi beetaaga okubayamba beesiige ‘eddagala ly’amaaso,’ kwe kugamba, bakkirize era bagoberere enjigiriza za Yesu, okuwabulwa, ekyokulabirako kye n’endowooza gye yalina. Ebyo bye biwonya omuntu ‘okwegomba kw’omubiri n’okwegomba kw’amaaso n’okwegulumiza kw’obulamu okutaliimu.’—1 Yokaana 2:15-17.
19 Yesu akangavvula era n’abuulirira abo bonna b’ayagala. Abalabirizi abali wansi w’obulagirizi bwe nabo bateekwa okukola ekintu kye kimu mu ngeri ey’ekisa. (Ebikolwa 20:28, 29) Abalawodikiya baali beetaaga ‘okubeera abanyiikivu n’okwenenya,’ nga bakola enkyukakyuka mu ndowooza yaabwe ne mu bulamu bwabwe. Kyandiba nti abamu ku ffe tweyisa mu ngeri efuula obuweereza bwa Katonda obutukuvu obutaba bukulu nnyo mu bulamu bwaffe? Bwe kiba kityo, ka ‘tugule eddagala ly’amaaso okuva eri Yesu’ tusobole okulaba obukulu bw’okusooka okunoonya Obwakabaka.—Matayo 6:33.
20, 21. Baani abaanukula ‘okukonkona’ kwa Yesu leero, era balina ssuubi ki?
Lukka 5:29-39; 7:36-50; 14:1-24) Kaakano akonkona ku luggi lw’ekibiina ng’eky’omu Lawodikiya. Abo abakirimu banaayanukula, bazze buggya okwagala kwabwe gy’ali, bamwanirize ng’agenze gye bali era bamukkirize abayigirize? Bwe kiba bwe kityo, Kristo ajja kuliira wamu nabo basobole okuganyulwa mu by’omwoyo.
20 Kristo agamba: “Laba nnyimiridde ku luggi, nneeyanjula: omuntu yenna bw’awulira eddoboozi lyange, n’aggulawo oluggi, nnaayingira gy’ali era nnaaliira wamu naye, naye nange.” Yesu yateranga okuwa obulagirizi obw’eby’omwoyo ng’alya emmere. (21 ‘Ab’endiga endala’ abaliwo leero, baaniriza Yesu mu ngeri ey’akabonero, era ekikolwa ng’ekyo kibasobozesa okufuna obulamu obutaggwaawo. (Yokaana 10:16; Matayo 25:34-40, 46) Buli omu ku baafukibwako amafuta awangula, Kristo ajja kumuwa enkizo ‘ey’okutuula naye ku ntebe ye ey’obwakabaka, era nga naye bwe yawangula n’atuula wamu ne Kitaawe ku ntebe ye ey’obwakabaka.’ Yee, abaafukibwako amafuta abawangula, Yesu abasuubiza okubawa ekirabo eky’okutuula naye ku ntebe ku mukono gwa Kitaawe ogwa ddyo mu ggulu. Ate bo ab’endiga endala abawangula basuubira okufuna ekifo ekirungi ennyo ku nsi wansi w’obufuzi bw’Obwakabaka.
Eky’Okuyiga Ffenna Kye Tufuna
22, 23. (a) Ebibiina byonna bisobola bitya okuganyulwa mu bigambo bya Yesu eri ebibiina omusanvu? (b) Tusaanidde kubeera bamalirivu kukola ki?
22 Tewali kubuusabuusa nti Abakristaayo bonna basobola okuganyulwa mu bubaka bwa Yesu eri ebibiina omusanvu eby’omu Asiya Omutono. Ng’ekyokulabirako, bwe bamanya nti Yesu yabisiima mu ngeri etuukirawo, abakadde Abakristaayo abalina okwagala, nabo basiima ab’oluganda kinnoomu n’ebibiina ebikola obulungi mu by’omwoyo. Bakkiriza bannaabwe bwe babeera n’obunafu, abakadde babayamba okukozesa Ebyawandiikibwa. Ffenna tusobola okweyongera okuganyulwa mu kubuulirira Yesu kwe yawa ebibiina omusanvu, kasita tunaakussa mu nkola mu bwangu nga kwe tutadde n’okusaba. *
23 Ebiseera bino eby’enkomerero si bya buteefiirayo, okunoonya eby’obugagga oba okukola ekintu ekirala kyonna ekiyinza okutuleetera okuweereza Katonda nga tutuukiriza butuukiriza mukolo. N’olwekyo, ka ebibiina byonna byeyongere okwakayakana ng’ettabaaza Yesu z’aleka mu bifo byazo. Ng’Abakristaayo abeesigwa, ka bulijjo tubeere bamalirivu okussaayo omwoyo nga Kristo ayogera era tuwulirize omwoyo kye gugamba. Mu ngeri eyo, tujja kubeera n’essanyu ery’olubeerera ng’abatwala ekitangaala kya Yakuwa, kimuleetere ettendo.
[Obugambo obuli wansi]
^ lup. 22 Okubikkulirwa 2:1–3:22 zikubaganyizibwako ebirowoozo mu ssuula 7 okutuuka 13 mu kitabo Revelation—Its Grand Climax At Hand!, ekikubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
Wandizzeemu Otya?
• “Omukazi Yezeberi” yali ani, era lwaki abakazi abatya Katonda tebasaanidde kumukoppa?
• Mbeera ki eyali mu kibiina ky’omu Saadi, era kiki kye tusobola okukola obutaba nga bangi ku Bakristaayo abaali mu kibiina ekyo?
• Bisuubizo ki Yesu bye yawa ekibiina ky’omu Firaderufiya, era bitukwatako bitya leero?
• Lwaki Abalawodikiya baakangavvulwa, naye bisuubizo ki ebiweebwa Abakristaayo abanyiikivu?
[Ebibuuzo]
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 14]
Ebikolwa ebibi ‘eby’omukazi Yezeberi’ biteekwa okwewalibwa
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 16]
Yesu agguliddewo abagoberezi be ‘oluggi olunene’ olw’enkizo ez’Obwakabaka
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 18]
Oyaniriza Yesu era n’omuwuliriza?