Engeri y’Okukulaakulanyamu Okwagala Okwa Nnamaddala
Engeri y’Okukulaakulanyamu Okwagala Okwa Nnamaddala
“Okwagala lye ddagala ly’obulamu; okwagala bwe bulamu.”—Living to Purpose, ekya Joseph Johnson, 1871.
OMUNTU ayiga atya okwagala? Ng’asoma ebikwata ku ndowooza n’enneeyisa y’abantu? Ng’asoma ebitabo ebiyamba abantu okukulaakulanya okwagala? Ng’alaba firimu ezikwata ku kwagala? Si bwe kiri. Abantu bayiga okwagala, nga balabira ku bazadde baabwe era ng’abazadde baabwe babayigiriza okukwoleka. Abaana bajja kutegeera amakulu g’okwagala, singa mu bwesimbu bazadde baabwe babafunira eky’okulya, babakuuma obutatuukibwako kabi, boogera nabo, era nga babafaako kinnoomu. Era bayiga okwagala bazadde baabwe bwe babayigiriza okugoberera emisingi egikwata ku kituufu n’ekikyamu.
Okwagala okwa nnamaddala kusingawo ku kwoleka obwolesi enneewulira eziraga okwagala. Kwoleka okufaayo ku balala, wadde nga bayinza obutakisiima mu kiseera ekyo, ng’abaana abato bwe batera okukola nga bawabuddwa. Ekyokulabirako ekisingiridde eky’oyo alaga okwagala okw’obuteefaako ye Mutonzi waffe kennyini. Omutume Pawulo yawandiika: “Mwana wange, tonyoomanga kukangavvula kwa Mukama, so toddiriranga bw’akunenyanga; kubanga Mukama gw’ayagala amukangavvula, era akuba [“awabula,” NW] buli mwana gw’akkiriza.”—Abaebbulaniya 12:5, 6.
Abazadde, musobola mutya okukoppa Yakuwa nga mulaga ab’omu maka gammwe okwagala? Era ekyokulabirako kye muteekawo mu nkolagana yammwe ng’omwami n’omukyala kikulu kwenkana wa?
Yigiriza Okwagala ng’Oteekawo Ekyokulabirako
Bw’oba ng’oli mwami, mukyala wo omutwala nga wa muwendo era n’omuwa ekitiibwa? Bw’oba ng’oli mukyala, oyagala mwami wo era n’omuwagira? Baibuli egamba nti omwami n’omukyala balina okwagalana era n’okuwaŋŋana ekitiibwa. (Abaefeso 5:28; Tito 2:4) Bwe bakola bwe batyo, abaana baabwe balaba okwagala okw’Ekikristaayo nga kuteekebwa mu nkola. Ng’ekyokulabirako ekyo kiyinza okuyamba ennyo abaana abo!
Era abazadde bakulaakulanya okwagala mu maka bwe banywerera ku mitindo egya waggulu egikwata ku by’okwesanyusaamu, empisa, ebiruubirirwa mu bulamu n’ebintu ebisinga obukulu. Okwetooloola ensi, abantu bakizudde nti Baibuli ya mugaso nnyo mu kuteekerawo ab’omu maka emisingi, nga bakyoleka nti ddala ‘yaluŋŋamizibwa Katonda, era egasa olw’okuyigirizanga, olw’okunenyanga, olw’okutereezanga, olw’okubuulirira okuli mu butuukirivu.’ (2 Timoseewo 3:16) Mu butuufu, okwetooloola ensi yonna, emisingi egikwata ku mpisa n’obulagirizi mu bulamu egisangibwa mu Kubuulira okw’Oku Lusozi, gitwalibwa okuba nti tewali gigisinga.—Matayo, essuula 5 okutuuka ku 7.
Ab’omu maka bonna bwe batunuulira Katonda okubawa obulagirizi era ne banywerera ku mitindo gye, buli omu awulira nga mutebenkevu, era n’ekivaamu abaana baagala bazadde baabwe era ne babawa ekitiibwa. Ku luuyi olulala, singa abazadde baba bannanfuusi, ne batassaawo kyakulabirako kirungi, abaana bayinza okunyiiga era ne beewaggula.—Abaruumi 2:21; Abakkolosaayi 3:21.
Kiri kitya eri bazadde abali obwannamunigina? Embeera gye balimu tebasobozesa kuyigiriza baana baabwe kwagala? Si bwe kiri. Wadde nga kya muganyulo nnyo bombi taata ne maama okubaawo, ebiriwo biraga nti omuzadde ali obwannamunigina bw’abeera n’enkolagana ennungi n’ab’omu maka ge, kirina kinene nnyo kye kikola okuzibikira eddibu ery’omuzadde aba taliiwo. Bw’oba ng’oli muzadde ali obwannamunigina, fuba okussa mu nkola emisingi gya Baibuli mu maka go. Olugero olumu lugamba: “Weesigenga Mukama n’omutima gwo gwonna. So teweesigamanga ku kutegeera kwo ggwe: mwatulenga mu makubo go gonna, kale anaaluŋŋamyanga olugendo lwo”—nga mw’otwalidde n’ebikwata ku kutuukiriza obuvunaanyizibwa bwo ng’omuzadde.—Engero 3:5, 6; Yakobo 1:5.
Abavubuka bangi abalungi baakulira mu maka agalimu omuzadde ali obwannamunigina, era kati baweereza Katonda n’obwesigwa mu bibiina nkumi na nkumi eby’Abakristaayo Abajulirwa ba Yakuwa okwetooloola ensi. Buno bujulizi obulaga nti n’omuzadde omu asobola bulungi nnyo okuyigiriza abaana be okwagala.
Engeri Abantu Bonna Gye Basobola Okukulaakulanyamu Okwagala
Baibuli yalagula nti “ennaku ez’oluvannyuma” zandibaddemu “abatayagala ba luganda,” kwe kugamba obutafaayo ku b’omu maka nga bwe kyandibadde mu mbeera eza bulijjo. (2 Timoseewo 3:1, 3) Wadde kiri kityo, n’abo abataalagibwa kwagala nga bakula basobola okuyiga okulaga okwagala. Batya? Nga bayigira ku Yakuwa, Ensibuko yennyini ey’okwagala era alaga okwagala n’okufaayo eri abo abadda gyali. (1 Yokaana 4:7, 8) Omuwandiisi wa Zabbuli yagamba: ‘Ne bwe kiba nti kitange ne mmange bandese, Mukama ananjijjajanbanga.’—Zabbuli 27:10.
Yakuwa atulaga okwagala mu ngeri nyingi. Zino zizingiramu obulagirizi bw’awa okuyitira mu Baibuli, obuyambi bw’omwoyo omutukuvu, n’obuwagizi bw’oluganda olw’Ekikristaayo. (Zabbuli 119:97-105; Lukka 11:13; Abaebbulaniya 10:24, 25) Weekenneenye engeri ebintu bino ebisatu gye biyinza okukuyamba okukulaakulanya okwagala eri Katonda ne muliraanwa.
Obulagirizi Obwaluŋŋamizibwa Obuva eri Kitaffe
Okusobola okufuna omukwano ogw’oku lusegere n’omuntu, twetaaga okuyiga obulungi omuntu oyo. Ng’atutegeeza kyali okuyitira mu Baibuli, Yakuwa ayagala tufune enkolagana ennungi naye. Kyokka, okusoma Baibuli tekimala. Tulina okussa mu nkola by’egamba tusobole okufuna emiganyulo. (Zabbuli 19:7-10) “Nze Mukama Katonda wo, akuyigiriza okugasa, akukulembera mu kkubo ly’oba oyitamu,” bwe watyo Isaaya 48:17 bwe wagamba. Yee, Yakuwa, ensibuko ey’okwagala, atuyigiriza okutuganyula, so si okutukugira ng’atuteerawo amateeka agateetaagisa.
Okumanya obulungi Baibuli kituyamba okwagala bantu bannaffe. Kino kiri kityo olw’okubanga Abafiripi 1:9, NW.
Baibuli etuyigiriza engeri Katonda gy’atunuuliramu abantu era n’etulaga emisingi kwe twandisinzidde okukolagana n’abalala. Ebyo bwe tubitegeera, tuba n’eky’okusinziirako okwagala baliraanwa baffe. Omutume Pawulo yagamba: “Kino kye nneeyongera okusaba nti okwagala kwammwe kweyongereyongerenga kusukkirirenga nga mulina okumanya okutuufu n’okutegeera.”—Okuwaayo ekyokulabirako ku ngeri okwagala gye kuyinza okukubirizibwamu “okumanya okutuufu,” weekenneenye ebiri mu Ebikolwa 10:34, 35: “Katonda tasosola mu bantu: naye mu ggwanga lyonna amutya n’akola obutuukirivu amukkiriza.” Bwe kiba nti Katonda asiima abantu okusinziira ku birungi bye bakola n’engeri gye bamutyamu, so si ku mawanga gaabwe oba langi, naffe tetusaanidde kuba na ndowooza ng’eyo ku bannaffe nga tetubasosola?—Ebikolwa 17:26, 27; 1 Yokaana 4:7-11, 20, 21.
Okwagala—Kibala kya Mwoyo gwa Katonda
Ng’enkuba ettonyera mu kiseera ekituufu bw’esobozesa amakungula amalungi okubaawo, n’omwoyo gwa Katonda gusobola okuyamba abantu abawulize okwoleka engeri Baibuli zeeyogerako nga “ebibala by’omwoyo.” (Abaggalatiya 5:22, 23) Ekisingayo obukulu mu byo kwe kwagala. (1 Abakkolinso 13:13) Naye tusobola tutya okufuna omwoyo gwa Katonda? Engeri emu enkulu kwe kuyitira mu kusaba. Singa tusaba Katonda omwoyo omutukuvu, ajja kugutuwa. (Lukka 11:9-13) ‘Weeyongera’ okusaba ofune omwoyo omutukuvu? Bwe kiba bwe kityo, ebibala byagwo ebirungi, nga mw’otwalidde n’okwagala, byandyeyongedde okweyoleka mu bulamu bwo.
Kyokka, waliwo omwoyo omulala oguvuganya n’ogwa Katonda. Baibuli eguyita ‘omwoyo gw’ensi.’ (1 Abakkolinso 2:12; Abaefeso 2:2) Omwoyo ogwo mubi, era ensibuko yaagwo ye Setaani, ‘katonda w’ensi eno’ ey’abantu abeeyawudde ku Katonda. (Yokaana 12:31) Okufaananako empewo efuumuula enfuufu n’ebisaaniiko, ‘omwoyo gw’ensi’ gukubiriza okwegomba okubi okunafuya okwagala era ne kutumbula okwegomba okw’omubiri.—Abaggalatiya 5:19-21.
Abantu batwalirizibwa omwoyo omubi bwe baluubirira eby’obugagga, bwe beefaako, bwe balaba ebikolwa eby’ettemu, era ne bakkiriza endowooza ezinnyooleddwanyooleddwa ezikwata ku kwagala ezicaase ennyo mu nsi. Bw’oba oyagala okukulaakulanya okwagala okwa nnamaddala, olina okuziyiza omwoyo gw’ensi. (Yakobo 4:7) Kyokka, teweesigama ku busobozi bwo; saba Yakuwa akuwe obuyambi. Omwoyo gwe—amaanyi agasingayo mu butonde bwonna—gusobola okukunyweza n’otuuka ku buwanguzi.—Zabbuli 121:2.
Yiga Okwagala Okuyitira mu Luganda olw’Ekikristaayo
Ng’abaana bwe bayiga okulaga okwagala bwe kubalagibwa mu maka, ffenna—abato n’abakulu—tusobola okuyiga okwagala nga tukuŋŋaana ne Bakristaayo bannaffe. (Yokaana 13:34, 35) Mu butuufu, ekimu ku bigendererwa ebikulu eby’ekibiina Ekikristaayo kwe kuteekawo embeera esobozesa abantu “okukubirizigana okwagala n’ebikolwa ebirungi.”—Abaebbulaniya 10:24, New International Version.
Okwagala ng’okwo kusiimibwa nnyo abo abayinza okuba nga ‘bakooye era nga basaasaanye’ mu nsi eno etaliimu kwagala. (Matayo 9:36) Ebiriwo biraga nti abantu abalagibwa okwagala nga bakuze basobola okuvvuunuka embeera embi gye baayitamu mu buto olw’obutalagibwa kwagala. N’olwekyo, nga kikulu nnyo Abakristaayo bonna abeewaddeyo okwaniriza abappya okubeegattako!
“Okwagala Tekuggwaawo Emirembe Gyonna”
Baibuli egamba nti “okwagala tekuggwaawo emirembe gyonna.” (1 Abakkolinso 13:8) Ekyo kisoboka kitya? Omutume Pawulo atunnyonnyola: “Okwagala kugumiikiriza, kulina ekisa; okwagala tekuba na buggya; okwagala tekwekulumbaza, tekwegulumiza. Tekukola bitasaana, tekunoonya byakwo, tekunyiiga, tekusiba bubi ku mwoyo.” (1 Abakkolinso 13:4, 5) Kya lwatu, okwagala okw’ekika kino si kwa kungulu oba ekintu ekiteeberezebwa obuteeberezebwa. Okwawukana ku ekyo, abo abakwoleka bamanyi ebizibu by’obulamu, naye tebabiganya kubakugira kulaga bannaabwe kwagala. Mazima ddala, okwagala okw’ekika ng’ekyo ‘kintu ekigatta awamu.’—Abakkolosaayi 3:12-14.
Lowooza ku kyokulabirako ky’omuwala Omukristaayo ow’emyaka 17 mu Korea. Bwe yatandika okuweereza Yakuwa Katonda, ab’omu maka ge tebaakisanyukira era n’olwekyo yeesanga ng’alina okuva awaka. Kyokka, mu kifo ky’okunyiiga, yasaba era n’aleka Ekigambo kya Katonda n’omwoyo gwe bifuge endowooza ye. Nga wayiseewo ekiseera, yabawandiikiranga, era n’abategeeza engeri gye yali abalowoozaako ennyo. Ekyavaamu, bannyina babiri abakulu baatandika okuyiga Baibuli era kati Bakristaayo abeewaddeyo. Mwannyina omuto ne maama we nabo bakkiriza amazima ga Baibuli. Mu nkomerero, kitaawe, eyamuziyizanga ennyo, yakyusa endowooza. Omuwala ono Omujulirwa yawandiika: “Ffenna twafumbirwa Abakristaayo era kati abantu 23 mu maka basinza Yakuwa.” Nga okwagala kwatuuka ku buwanguzi!
Wandyagadde okukulaakulanya okwagala okwa nnamaddala era oyambe n’abalala okukola kye kimu? Bwe kiba bwe kityo, tunuulira Yakuwa, Ensibuko y’engeri eyo ey’omuwendo. Soma Ekigambo kye, saba omwoyo omutukuvu, era toyosanga kukuŋŋaana ne baganda bo Abakristaayo. (Isaaya 11:9; Matayo 5:5) Nga kibuguumiriza nnyo okumanya nti mangu ddala ababi bonna bajja kugwaawo, wasigalewo abo bokka abalina okwagala okwa nnamaddala! Mazima ddala, okwagala kye kisumuluzo eky’okufuna essanyu n’obulamu.—Zabbuli 37:10, 11; 1 Yokaana 3:14.
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 5]
Okusaba n’okusoma Ekigambo kya Katonda bijja kutuyamba okukulaakulanya okwagala okwa nnamaddala