Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

“Kaakola ku Ekyo Omutima Gwange kye Gwali Gwetaaga”

“Kaakola ku Ekyo Omutima Gwange kye Gwali Gwetaaga”

“Kaakola ku Ekyo Omutima Gwange kye Gwali Gwetaaga”

MBEEBAZA okuviira ddala ku ntobo y’omutima gwange olw’ekirabo ekirungi eky’akatabo ‘Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa.’ Kaakola ku ekyo omutima gwange kye gwali gwetaaga​—okwagala okuwulira nti Yakuwa anjagala era nti antwala nga ndi wa muwendo. Kati mpulira nga nneeyongedde okwagala Yakuwa n’Omwana we gw’ayagala ennyo. Njagala okutegeeza buli muntu ebikwata ku katabo kano era n’okukawa abaagalwa bange bonna.” Eyo ye nneewulira omu ku Bajulirwa ba Yakuwa gye yalina ku katabo akappya ak’empapula 320 akaafulumizibwa mu Nkuŋŋaana za Disitulikiti ezaaliwo mu 2002/03 ezaalina omutwe “Abalangirizi b’Obwakabaka Abanyiikivu.” Ka twekenneenye ebimu ku ebyo ebiri mu katabo kano akappya n’ensonga lwaki kaakubibwa.

Ebimu ku Ebyo Ebiri mu Katabo Akappya

Biki ebiri mu katabo ako akappya? Byonna ebyogeddwako mu bitundu eby’okuyiga ebibiri ebisembayo mu magazini eno eya Omunaala gw’Omukuumi awamu n’ebirala bingi nnyo! Akatabo ako kalimu essuula 31, nga buli ssuula yenkana n’ekitundu eky’okuyiga ekiba mu Omunaala gw’Omukuumi. Oluvannyuma lw’ennyanjula n’essuula esatu ezisooka, akatabo kagabanyizibwamu ebitundu bina, nga buli kitundu kyogera ku emu ku ngeri za Yakuwa ezisingayo obukulu. Buli kitundu kitandika n’ennyanjula entonotono ekwata ku emu ku ngeri za Yakuwa. Essuula eziddako ziraga engeri Yakuwa gy’ayolekamu engeri ezo. Buli kitundu kirimu essuula ekwata ku Yesu. Lwaki? Yesu yagamba: “Alabye ku nze, ng’alabye ku Kitange.” (Yokaana 14:9) Okuva Yesu bwe yayoleka engeri za Yakuwa mu ngeri etuukiridde, ye kwe tulabira engeri za Katonda nga ziri mu nkola. Buli kitundu kifundikira n’essuula etuyigiriza engeri y’okukoppamu Yakuwa mu kwoleka engeri eba emaze okwogerwako. Nga koogera ku ngeri za Yakuwa, akatabo kano akappya kajuliza buli kitabo ekiri mu Baibuli.

Akatabo Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa era kalimu ebintu ebirala ebirungi. Okutandikira ku ssuula ey’okubiri, buli ssuula erimu akasanduuko akalina omutwe “Ebibuuzo eby’Okufumiitirizaako.” Ebyawandiikibwa n’ebibuuzo ebirimu tebiba bya kukozesebwa mu kwejjukanya ebisomeddwa mu ssuula eyo. Wabula ekigendererwa kyabyo kwe kukuyamba okukozesa Baibuli yo okufumiitiriza ennyo ku nsonga eyogeddwako. Kiba kirungi okusoma n’obwegendereza buli kyawandiikibwa ekiweereddwa. Bw’omala, fumiitiriza ku kibuuzo era olabe engeri gy’oyinza okweyambisaamu by’oyize. Okufumiitiriza ng’okwo kusobola okubaako kye kukola ku mutima gwo era ne kukusobozesa okweyongera okunyweza enkolagana yo ne Yakuwa.​—Zabuli 19:14.

Ebifaananyi ebiri mu katabo Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa byategekebwa n’obwegendereza era ne kiba nti bisobola okuyigiriza n’okukubiriza. Essuula 17 zirimu ebifaananyi ebirungi ennyo nga biraga ebifo ebyogerwako mu Baibuli.

Lwaki Kaakubibwa?

Lwaki akatabo Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa kaakubibwa? Ekigendererwa ekisinga obukulu eky’akatabo kano akappya kwe kutuyamba okweyongera okumanya Yakuwa tusobole okunyweza enkolagana yaffe naye.

Waliwo omuntu gw’oyinza okulowoozaako ayinza okuganyulwa ennyo mu katabo Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa, oboolyawo omuyizi wa Baibuli oba ow’oluganda atakyabuulira? Ate ggwe kennyini​—otandise okusoma akatabo kano akappya? Bw’oba nga tonnaba, lwaki tokola nteekateeka amangu ddala nga bwe kisoboka otandike okukasoma? Funa ebiseera okufumiitiriza ku by’osoma. Akatabo kano akappya ka kakuyambe okweyongera okunyweza enkolagana yo ne Yakuwa Katonda, kikusobozese okulangirira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwe n’essanyu era n’obunyiikivu!