Koppa Yakuwa, Katonda Waffe Atasosola
Koppa Yakuwa, Katonda Waffe Atasosola
“Katonda tasosola mu bantu.”—ABARUUMI 2:11.
1, 2. (a) Okutwalira awamu, Yakuwa yalina kigendererwa ki eri Abakanani? (b) Kiki Yakuwa kye yakola, era kino kireetawo bibuuzo ki?
NGA basiisidde mu Nsenyi za Mowaabu mu 1473 B.C.E., Abaisiraeri bassaayo omwoyo nga bawuliriza Musa. Baali ba kwolekagana n’embeera enzibu emitala w’Omugga Yoludaani. Musa yababuulira ekigendererwa kya Yakuwa eky’okubasobozesa okuwangula amawanga ga Kanani ag’amaanyi musanvu agaali mu Nsi Ensuubize. Ng’ebigambo bya Musa bino byali bigumya: “Awatali kubuusabuusa Yakuwa Katonda wo ajja kubagabula mu maaso go, era ojja kubawangula”! Abaisiraeri tebaali ba kukola ndagaano na mawanga ago era gaali tegagwanira kulagibwa kisa.—Ekyamateeka 1:1; 7:1, 2, NW.
2 Kyokka, Yakuwa alina amaka ge yawonyawo mu kibuga Isiraeri kye yasooka okulumba. Abantu b’omu bibuga ebirala bina nabo baafuna obukuumi bwa Katonda. Lwaki kyali bwe kityo? Ebikwata ku kuwonawo kw’Abakanani bano bituyigiriza ki ku Yakuwa? Era tusobola tutya okumukoppa?
Baakwatibwako Ettuttumu lya Yakuwa
3, 4. Abantu b’omu Kanani baakwatibwako batya bwe baawulira ebikwata ku buwanguzi bw’Abaisiraeri?
3 Emyaka 40 Abaisiraeri gye baamala mu ddungu nga tebannayingira mu Nsi Ensuubize, Yakuwa yabakuuma era n’abalwanirira. Mu bukiika ddyo bw’Ensi Ensuubize, Abaisiraeri baayolekagana ne kabaka Omukanani ow’e Yaladi. Nga bayambibwako Yakuwa, Abaisiraeri baawangula kabaka oyo n’abantu be e Koluma. (Okubala 21:1-3) Oluvannyuma, Abaisiraeri baayita ku nsalo ya Edomu, ne bagenda mu bukiika kkono, nga boolekera ebuvanjuba w’Ennyanja Enfu. Ekitundu kino okusooka kyali kibeeramu Bamowaabu, kyokka kati kyalimu Baamoli. Kabaka Sikoni Omwamoli yagaana Abaisiraeri okuyita mu kitundu kye. Kabaka oyo yalwanagana n’Abaisiraeri e Yakazi, ekisangibwa mu bukiika kkono bw’ekiwonvu ky’e Alunoni, era ng’eyo gye yafiira. (Okubala 21:23, 24; Ekyamateeka 2:30-33) Okweyongerayo mu bukiika kkono, kabaka Ogi yali afuga Abaamoli abalala e Basani. Wadde nga Ogi yali muwagguufu, yali tasobola kuziyiza Yakuwa. Ogi yattibwa e Derei. (Okubala 21:33-35; Ekyamateeka 3:1-3, 11) Amawulire agakwata ku buwanguzi buno, n’ebyaliwo ng’Abaisiraeri bava e Misiri, birina eky’amaanyi kye byakola ku bantu kinnoomu mu Kanani. *
4 Abaisiraeri bwe baali baakayingira mu Kanani oluvannyuma lw’okusomoka Yoludaani, basiisira e Girugaali. (Yoswa 4:9-19) Okumpi ne we baasiisira waaliwo ekibuga Yeriko ekyaliko bbugwe. Lakabu Omukanani bye yawulira ku bikolwa bya Yakuwa, byamuleetera okubaako ne ky’akolawo ekyayoleka okukkiriza kwe. N’ekyavaamu, Yakuwa bwe yali azikiriza Yeriko, yawonyawo Lakabu n’ab’ennyumba ye.—Yoswa 2:1-13; 6:17, 18; Yakobo 2:25.
5. Kiki ekyaleetera Abagibyoni okukola ekyo kye baakola?
5 Ekyaddirira, Abaisiraeri baayambuka okuva mu bitundu ebiriraanye Omugga Yoludaani ne bagenda mu nsozi z’omu kitundu ekyo. Ng’agoberera obulagirizi bwa Yakuwa, Yoswa yakozesa obukodyo obw’okuswamirira nga balumba ekibuga Ayi. (Yoswa, essuula 8) Amawulire ag’obuwanguzi obw’amaanyi obwaddirira gaaleetera bakabaka bangi ab’omu Kanani okwegatta awamu okulwana. (Yoswa 9:1, 2) Abatuuze b’omu kibuga ekyali kiriraanyewo, eky’Abakiivi ekiyitibwa Gibyoni, beeyisa mu ngeri ya njawulo. Yoswa 9:4 wagamba: “Baasala amagezi.” Okufaananako Lakabu, nabo baali bawulidde engeri Yakuwa gye yanunulamu abantu be okuva e Misiri era n’engeri gye yawangulamu Ogi ne Sikoni. (Yoswa 9:6-10) Abagibyoni baakitegeera nti okuziyiza Abaisiraeri kwandibadde kutawaanira bwereere. N’olwekyo, ku lw’obulungi bwabwe era ne ku lw’ebibuga ebirala bisatu, kwe kugamba, Kefira, Beerosi ne Kiriyasuyalimu, baasindika ababaka eri Yoswa e Girugaali nga beefudde ng’abava mu nsi ey’ewala. Akakodyo kaakola. Yoswa yakola nabo endagaano obutabazikiriza. Oluvannyuma lw’ennaku ssatu, Yoswa n’Abaisiraeri baakitegeera nti Abagibyoni baali babasalidde amagezi. Kyokka, olw’okuba baali balayidde mu maaso ga Yakuwa nti bajja kutuukiriza endagaano eyo, baalina okuginywererako. (Yoswa 9:16-19) Yakuwa yakisiima?
6. Kiki Yakuwa kye yakolawo olw’endagaano Yoswa gye yakola n’Abagibyoni?
6 Abagibyoni bakkirizibwa okwetikkiranga Abaisiraeri amazzi era agaakozesebwanga ne ku ‘kyoto kya Yakuwa’ mu weema ey’okusisinkaniramu n’okubeera abaasi b’enku. (Yoswa 9:21-27) Ng’oggyeko ekyo, bakabaka bataano Abaamoni n’amaggye gaabwe bwe beekobaana okulumba Abagibyoni, Yakuwa yawonya Abagibyoni mu ngeri ey’ekyewuunyo. Amayinja g’omuzira gatta abalabe bangi n’okusinga abattibwa abalwanyi ba Yoswa. Era Yakuwa yaddamu Yoswa bwe yasaba nti enjuba n’omwezi biyimirire mu kifo kimu basobole okuwangulira ddala abalabe baabwe. Yoswa yagamba: “Tewali lunaku olwenkana olwo oba olwalusooka oba oluvannyuma lwalwo Mukama okuwulira eddoboozi ly’omuntu, kubanga Mukama yalwanirira Isiraeri.”—Yoswa 10:1-14.
7. Kiki Peetero kye yayogera ekyeyoleka obulungi okusinziira ku byatuuka ku Bakanani abamu?
7 Lakabu Omukanani n’ab’omu maka ge awamu n’Abagibyoni baatya Yakuwa era ne babaako kye baakolawo. Ebyabatuukako bikakasiza ddala bulungi ebigambo omutume Peetero bye yayogera oluvannyuma: “Katonda tasosola mu bantu naye mu ggwanga lyonna lyonna amutya n’akola obutuukirivu amukkiriza.”—Ebikolwa 10:34, 35.
Engeri Gye Yakolaganamu ne Ibulayimu era ne Isiraeri
8, 9. Obutasosola bwa Yakuwa bweyoleka butya mu ngeri gye yakolaganamu ne Ibulayimu era n’eggwanga lya Isiraeri?
8 Omuyigirizwa Yakobo yayogera ku kisa eky’ensusso Yakuwa kye yalaga ng’akolagana ne Ibulayimu era ne bazzukulu be. Okukkiriza kwa Ibulayimu kwe kwamuleetera okuba “mukwano gwa Katonda” so si buzaale bwe. (Yakobo 2:23) Okukkiriza kwa Ibulayimu n’okwagala kwe yalina eri Yakuwa, byaviirako bazzukulu be okufuna emikisa. (2 Ebyomumirembe 20:7) Yakuwa yasuubiza Ibulayimu: “Okukuwa omukisa n[n]aakuwanga omukisa, n’okwongera n[n]aakwongerangako ezzadde lyo ng’emmunyeenye ez’omu ggulu, ng’omusenyu oguli ku ttale ly’ennyanja.” Kyokka ate weetegereze ekisuubizo ekiri mu lunyiriri oluddako: “Mu zzadde lyo amawanga gonna ag’omu nsi mwe galiweerwa omukisa.”—Olubereberye 22:17, 18; Abaruumi 4:1-8.
9 Okusinziira ku ngeri gye yakolaganamu ne Isiraeri, Yakuwa yalaga ekyo ky’asobola okukolera abo abamugondera awatali kusosola kwonna. Ebyo Yakuwa bye yabakolera byoleka bulungi engeri gy’alagamu abaweereza be abeesigwa okwagala. Wadde nga Isiraeri yali ‘kintu kya Yakuwa Okuva 19:5; Ekyamateeka 7:6-8) Kyo kituufu, Yakuwa yanunula Isiraeri okuva mu buddu e Misiri era oluvannyuma n’agamba: “Mmwe mmweka be nnamanya ku bika byonna eby’ensi zonna.” Kyokka okuyitira mu nnabbi Amosi ne bannabbi abalala, Yakuwa era yawa “amawanga gonna” essuubi ery’ekitalo.—Amosi 3:2; 9:11, 12; Isaaya 2:2-4.
ekiganzi,’ kino kyali tekitegeeza nti abantu abalala tebaali ba kulagibwa kisa kya Katonda. (Yesu, Omuyigiriza Atasosola
10. Yesu yakoppa atya Kitaawe mu butasosola?
10 Mu buweereza bwe ku nsi, Yesu, oyo ayolekera ddala ekifaananyi kya Kitaawe, yakoppa obutasosola bwa Yakuwa. (Abaebbulaniya 1:3) Ekigendererwa kye ekikulu mu kiseera ekyo kyali okuzuula “endiga ezaabula ez’omu nnyumba ya Isiraeri.” Kyokka, teyalema kuwa mukazi Omusamaliya obujulirwa ng’ali ku luzzi. (Matayo 15:24; Yokaana 4:7-30) Era bwe yasabibwa omukungu w’amagye, kirabika ataali Muyudaaya, Yesu yakola ekyamagero. (Lukka 7:1-10) Ku ebyo kw’ogatta ebikolwa ebyoleka okwagala kwe yalina eri abantu ba Katonda. Abayigirizwa ba Yesu nabo baabulira ebule n’ebweya. Kyeyoleka bulungi nti eggwanga ly’omuntu si lye lyali lisinziirwako okufuna emikisa gya Yakuwa, wabula embeera y’omutima. Abantu abawombeefu, ab’emitima emirungi abaalina ennyonta ey’amazima, bakkiriza amawulire amalungi ag’Obwakabaka. Okubaawukanako, abantu ab’amalala baanyooma Yesu n’obubaka bwe. Yesu yagamba: “Nkwebaza, Kitange Mukama w’eggulu n’ensi, kubanga bino wabikweka abagezi n’abakabakaba, n’obibikkulira abaana abato. Weewaawo, Kitange; kubanga bwe kyasiimwa bwe kityo mu maaso go.” (Lukka 10:21) Bwe tukolagana n’abalala nga tukubirizibwa okwagala n’okukkiriza, tuba tetusosola. Era tuba tukimanyi nti kino Yakuwa akisiima.
11. Mu ngeri ki gye waaliwo obutasosola mu kibiina Ekikristaayo ekyasooka?
11 Mu kibiina Ekikristaayo ekyasooka, Abayudaaya n’abataali Bayudaaya baali benkana. Omutume Pawulo yannyonnyola: “Ekitiibwa n’ettendo n’emirembe ku buli akola obulungi, okusookera ku Muyudaaya era ne ku Muyonaani, kubanga Katonda tasosola mu bantu.” * (Abaruumi 2:10, 11) Si ggwanga lyabwe lye lyasinziirwako okuganyulwa mu kisa kya Yakuwa, wabula ekyo kye baakolawo nga bayize ebimukwatako era n’ebikwata ku ssuubi eryaleetebwawo ekinunulo ky’Omwana we, Yesu. (Yokaana 3:16, 36) Pawulo yawandiika: “Omuyudaaya ow’okungulu si ye Muyudaaya, so n’okukomolebwa kw’omubiri okw’okungulu si kwe kukomolebwa: naye Omuyudaaya ow’omunda ye Muyudaaya, n’okukomolebwa kwe kw’omutima mu mwoyo, si mu nnukuta.” Mu kwogera bw’atyo ng’akozesa ekigambo “Omuyudaaya” (ekitegeeza “owa Yuda,” kwe kugamba, atenderezebwa oba asuutibwa), Pawulo yagattako: “Atatenderezebwa bantu, wabula Katonda.” (Abaruumi 2:28, 29) Yakuwa tasosola mu kutendereza abantu. Naffe bwe tukola?
12. Okubikkulirwa 7:9 luwa ssuubi ki, era eri baani?
12 Oluvannyuma, omutume Yokaana yalaba mu kwolesebwa Abakristaayo abeesigwa abaafukibwako amafuta abalagibwa ng’eggwanga ery’eby’omwoyo eririmu 144,000, “abaateekebwako akabonero mu buli kika ky’abaana ba Isiraeri.” Ate era n’alaba “ekibiina ekinene . . . mu buli ggwanga n’ebika, n’abantu n’ennimi nga bayimiridde mu maaso g’entebe ne mu maaso g’Omwana gw’endiga nga bambadde ebyambalo ebyeru, n’amatabi g’enkindu mu mikono gyabwe.” (Okubikkulirwa 7:4, 9) N’olwekyo, tewali ggwanga oba lulimi ebiboolebwa mu kibiina Ekikristaayo leero. Abantu okuva mu bika byonna balina essuubi ery’okuwonawo mu ‘kibonyoobonyo ekinene’ ekijja, era banywe okuva mu ‘nzizi ez’amazzi ag’obulamu’ mu nsi empya.—Okubikkulirwa 7:14-17.
Ebirungi Ebivaamu
13-15. (a) Tuyinza tutya okuvvuunuka enjawukana eziriwo wakati waffe n’abalala mu langi ne mu mawanga? (b) Waayo ebyokulabirako ebiraga emiganyulo egiva mu kulaga omukwano.
13 Yakuwa atumanyi bulungi nga taata omulungi bw’amanya abaana be. Mu ngeri y’emu, naffe bwe tufaayo ku balala nga tumanya ebikwata ku ggwanga lyabwe n’embeera zaabwe ez’obulamu, enjawulo eziriwo wakati waffe nabo zikendeerera ddala. Waba tewakyali lukonko wakati waffe nabo, era muvaamu omukwano omunywevu n’okwagalana. Obumu bweyongera. (1 Abakkolinso 9:19-23) Kino kyeyolekera bulungi mu mulimu gw’abaminsani abaweereza mu nsi endala. Balaga nti bafaayo ku bantu ababeera mu nsi ezo, n’ekivaamu abaminsani baba bumu n’Abajulirwa ab’omu nsi ezo.—Abafiripi 2:4.
14 Ebirungi ebiva mu butasosola byeyoleka mu nsi nnyingi. Aklilu, enzaalwa y’omu Ethiopia, yeesanga ng’awuubaalidde mu kibuga kya Bungereza ekikulu, London. Ate bwe kyamulabikira nti abantu b’omu nsi endala tebalagibwa nnyo mukwano mu kibuga ekyo, era nga kino kye kiri ne mu bibuga ebinene bingi eby’omu mawanga amalala aga Bulaaya, ekiwuubaalo kyamweyongera. Nga Aklilu yalaba enjawulo ya maanyi bwe yagenda mu lukuŋŋaana lw’Ekikristaayo mu Kizimbe ky’Obwakabaka eky’Abajulirwa ba Yakuwa! Be yasangayo baamwaniriza bulungi, era mangu ddala ekiwuubaalo kyamuggwaako. Yakulaakulana mangu nnyo mu kutegeera n’okusiima Omutonzi. Mangu ddala yakozesa buli kakisa okubunyisa amawulire amalungi ag’Obwakabaka eri abalala mu kitundu ekyo. Lumu munne gwe yali abuulira naye bwe yamubuuza ebiruubirirwa bye yalina mu bulamu, Aklilu yaddamu nti yalina essuubi nti luliba lumu n’abeera mu kibiina ekyogera olulimi lwe, Olwamahariki. Abakadde b’omu kibiina ekyogera Olungereza eky’omu kitundu ekyo bwe baakitegeera, baateekateeka emboozi eyeesigamiziddwa ku Baibuli okuweebwa mu lulimi lwa Aklilu. Abagwira bangi era n’abantu b’omu kitundu ekyo bajja mu lukuŋŋaana lwa bonna olwasooka mu lulimi Olwamahariki mu Bungereza. Leero, Abeesiyopiya bangi n’abalala mu kitundu ekyo, bali bumu mu kibiina ky’Olwamahariki ekikola obulungi. Bangi bakizudde nti tewali kibagaana kubeera ku ludda lwa Yakuwa era kino bakiraga nga babatizibwa.—Ebikolwa 8:26-36.
15 Embeera z’abantu n’ebibakwatako byawukana, era si kwe twandisinzidde okutwala omuntu okuba owa waggulu oba owa wansi. Nga batunuulira okubatizibwa kw’abaweereza ba Yakuwa abaali baakewaayo ku kizinga ky’e Malta, Abajulirwa ab’omu kitundu ekyo baabuguumirira nnyo olw’essanyu, ate bo abagenyi abaava mu Bungereza baakaaba amaziga olw’essanyu. Ab’oku kizinga ekyo n’abagenyi abaava e Bungereza baalaga enneewulira yaabwe mu ngeri ya njawulo, era okwagala okw’amaanyi kwe baalina eri Yakuwa kwayongera okunyweza obumu bwabwe obw’Ekikristaayo.—Zabbuli 133:1; Abakkolosaayi 3:14.
Okuvvuunuka Obusosoze
16-18. Waayo ekyokulabirako ekiraga engeri obusosoze gye buyinza okuvvuunukwa mu kibiina Ekikristaayo.
16 Ng’okwagala kwe tulina eri Yakuwa ne baganda baffe Abakristaayo kugenda kweyongera, tusobola okumukoppera ddala mu ngeri gye tutunuuliramu abalala. Tusobola okuvvuunuka okusosola kwonna kwe twalina mu mawanga, oba mu bika. Twala ekyokulabirako kya Albert eyaweerezaako mu magye ga Bungereza mu Ssematalo II era n’awambibwa Abajapaani bwe baawamba Singapore mu 1942. Oluvannyuma yamala emyaka esatu ng’akola ku luguudo lw’eggaali y’omukka olwatokomokerako abantu abangi oluliraanye ekifo oluvannyuma ekyamanyibwa ng’olutindo ku Mugga Kwai. Bwe yasumululwa ku nkomerero y’olutalo, yali azitowa kilo 32. Yali amenyese oluba era nga n’ennyindo ye ndwadde. Yali addukana musaayi, ng’alina oluwumu n’omusujja gw’ensiri. Enkumi n’enkumi z’abasibe banne baali mu mbeera mbi nnyo n’okusingawo, era bangi baafa. Olw’ebikolobero bye yalaba ne bye yayitamu, Albert yaddayo ewaabwe mu 1945 ng’alina ennyiike ya maanyi, era nga tayagala kintu kyonna kikwata ku Katonda oba eddiini.
17 Irene, mukyala wa Albert, yafuuka omu ku Bajulirwa ba Yakuwa. Olw’okwagala okumusanyusa, Albert yagendako mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa. Omukristaayo ayitibwa Pawulo, eyali mu buweereza obw’ekiseera kyonna yakyalirako Albert okuyiga naye Baibuli. Mangu ddala, Albert yakitegeera nti Yakuwa atunuulira abantu okusinziira ku mbeera y’omutima. Yeewaayo eri Yakuwa era n’abatizibwa.
18 Oluvannyuma Pawulo yasengukira mu London, n’ayiga Olujapaani era n’atandika okukuŋŋaanira mu kibiina ekyogera Olujapaani. Bwe yaleeta ekiteeso okutwala abamu ku Bajulirwa Abajapaani abaali bakyadde mu kibiina kye bakyalireko ekibiina kye yali avuddemu, ab’oluganda ab’omu kibiina ekyo bajjukira obukyayi obw’amaanyi Albert bwe yalina ku Bajapaani. Okuva bwe yali akomyewo mu Bungereza, Albert yali yeewaze okusisinkana n’Omujapaani yenna, n’olwekyo ab’oluganda beeraliikirira kye yali ayinza okukolawo. Beeraliikirira bwereere kubanga Albert yabaaniriza bulungi nnyo n’okwagala okutaalimu nkenyera.—1 Peetero 3:8, 9.
“Mugaziwe”
19. Kubuulirira ki okw’omutume Pawulo okuyinza okutuyamba singa tubaamu n’engeri yonna ey’obusosoze?
19 “Okusosola mu bantu si kulungi,” bw’atyo Kabaka ow’amagezi Sulemaani bwe yawandiika. (Engero 28:21) Kyangu nnyo okufaayo ennyo ku abo be tumanyi obulungi. Kyokka, oluusi ne tulaga okufaayo kutono eri abo be tutamanyi bulungi. Okusosola ng’okwo tekusaanira muweereza wa Yakuwa. Mazima ddala, ffenna tulina okugoberera okubuulirira kwa Pawulo ‘okugaziwa,’—yee, okugaziya okwagala kwaffe eri Bakristaayo bannaffe bonna.—2 Abakkolinso 6:13.
20. Mu ngeri ki ez’obulamu mwe tusaanidde okukoppa Yakuwa, Katonda waffe atasosola?
20 Ka tube nti tulina enkizo ey’okugenda mu ggulu, oba essuubi ery’okuba abalamu emirembe gyonna ku nsi, obutasosola butuyamba okunyumirwa obumu mu kisibo kimu n’omusumba omu. (Abaefeso 4:4, 5, 16) Okukoppa Yakuwa Katonda waffe atasosola, kijja kutuyamba mu buweereza bwaffe obw’Ekikristaayo, mu maka gaffe, mu bibiina, ne mu bulamu bwaffe bwonna. Mu ngeri ki? Ekitundu ekiddako kijja kutubuulira.
[Obugambo obuli wansi]
^ lup. 3 Oluvannyuma ennyimba entukuvu zaayogera nnyo ku ttutumu lya Yakuwa.—Zabbuli 135:8-11; 136:11-20.
^ lup. 11 Wano, ekigambo “Abayonaani” kitegeeza Ab’amawanga bonna awamu.—Insight on the Scriptures, Omuzingo 1, olupapula 1004, ekyakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
Wandizzeemu Otya?
• Yakuwa yalaga atya Lakabu n’Abagibyoni obutasosola?
• Yesu yalaga atya obutasosola mu kuyigiriza kwe?
• Kiki ekiyinza okutuyamba okuvvuunuka obusosoze mu mawanga n’ebika?
[Ebibuuzo]
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 8]
Isiraeri etandika okuwangula Kanani
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 9]
Yesu teyalema kuwa mukazi Omusamaliya obujulirwa
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 10]
Olukuŋŋaana mu lulimi Olwamahariki mu Bungereza
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 10]
Okwagala Albert kwe yalina eri Yakuwa kwamuyamba okuvvuunuka obukyayi