Yakuwa Asiima ky’Okola?
Yakuwa Asiima ky’Okola?
WANDIZEEMU otya ekibuuzo ekyo? Bangi bayinza okugamba: ‘Nzikiriza nti Katonda yasiima ebyakolebwa abasajja nga Musa, Gidiyoni, ne Dawudi, naye mbuusabuusa obanga asiima kyonna kye nkola. Mu butuufu nze siringa Musa, Gidiyoni, oba Dawudi.’
Kituufu nti abasajja abamu abeesigwa baayoleka ebikolwa eby’okukkiriza ebiwuniikiriza. ‘Baawangula obwakabaka, baabuniza obumwa bw’empologoma, baazikiza amaanyi g’omuliro, era badduka obwogi bw’ekitala.’ (Abaebbulaniya 11:33, 34) Kyokka, abamu baayoleka okukkiriza kwabwe mu ngeri etaali ya nkukunala, naye Baibuli etukakasa nti Katonda yasiima ebikolwa byabwe eby’okukkiriza. Lowooza ku byokulabirako bino mu Byawandiikibwa ebikwata ku musumba, nnabbi, ne nnamwandu.
Omusumba Awaayo Ssaddaaka
Kiki ky’ojjukira ku Abbeeri, omwana wa Adamu ne Kaawa ow’okubiri? Oyinza okujjukira nti yattibwa olw’okusiimibwa Yakuwa, ekintu ekiyinza okutuuka ku batono ennyo ku ffe. Kyokka, Abbeeri yasiimibwa Katonda olw’ensonga endala.
Lumu, Abbeeri yalonda mu kisibo kye ebisolo ebisingayo obulungi n’abiwaayo eri Katonda nga ssaddaaka. Ssaddaaka eno eyinza okulabika ng’entono leero, naye Yakuwa yagisiima era n’agikkiriza. Kyokka, tebyakoma awo. Kumpi emyaka ng’enkumi nnya oluvannyuma, Yakuwa yaluŋŋamya omutume Pawulo okuwandiika ku kintu kino mu kitabo kya Abebbulaniya. Wadde nga waali wayiseewo emyaka mingi, Katonda yali teyeerabidde ssaddaaka eno entono!—Abaebbulaniya 6:10; 11:4.
Abbeeri yasalawo atya ssaddaaka ey’okuwaayo? Ekyo Baibuli tekyogerako, naye ayinza okuba ng’ekintu kino yamala kukirowoozaako. Yali musumba, n’olwekyo tekyewuunyisa nti yawaayo ebimu ku bisolo by’omu kisibo kye. Weetegereze nti yawaayo ebisolo ebisingayo obulungi—‘ebisava.’ (Olubereberye 4:4) Era kirabika yafumiitiriza ku bigambo bya Yakuwa eri omusota mu lusuku Adeni: “Nange obulabe n’abuteekanga wakati wo n’omukazi, era ne wakati w’ezzadde lyo n’ezzadde ly’omukazi. Ezzadde ly’omukazi lirikubetenta omutwe, naawe oliribetenta ekisinziiro.” (Olubereberye 3:15; Okubikkulirwa 12:9) Wadde nga yali tamanyidde ddala “omukazi” “n’ezzadde” lye, Abbeeri ayinza okuba nga yakitegeera nti okubetenta ekisinziiro ky’ezzadde ly’omukazi, kyali kizingiramu okuyiwa omusaayi. Mazima ddala, yamanya nti tewaliiwo kya muwendo ekisinga ekitonde ekiramu. Ekisinga obukulu, ssaddaaka gye yawaayo ddala yali esaanira.
Okufaananako Abbeeri, leero Abakristaayo bawaayo ssaddaaka eri Katonda. Tebawaayo ebibereberye eby’ekisibo, naye bawaayo ‘ssaddaaka ey’okutendereza, kye kibala, eky’emimwa egyatula erinnya lya Katonda mu lujjudde.’ (Abaebbulaniya 13:15) Emimwa gyaffe gyatula mu lujjudde bwe twogera n’abalala ku nzikiriza yaffe.
Wandyagadde okulongoosa ssaddaaka yo ey’okutendereza? Bwe kiba bwe kityo, lowooza ku byetaago by’abantu abali mu kitundu kyo. Biki bye bassaako omwoyo? Biki bye baagala? Bubaka ki mu Baibuli obuyinza okubasikiriza? Bw’oba ng’obuulira, weekenneenye engeri gy’obuuliramu
ng’olina ekigendererwa eky’okulongoosa mu buweereza bwo. Era bw’oba oyogera ku Yakuwa, yogera nga weekakasa okuva mu mutima gwo. Fuula ‘ssaddaaka yo ey’okutendereza’ eya ddala.Nnabbi Abuulira Abantu Abataagala Kuwulira Bubaka Bwe
Kaakano lowooza ku nnabbi Enoka. Kiyinzika okuba nti ye yekka eyali omujulirwa wa Yakuwa Katonda mu kiseera kye. Olinga Enoka, nga gwe wekka aweereza Yakuwa n’obwesigwa mu maka gammwe? Gwe muyizi wekka mu kibiina kyo oba omukozi wekka ku mulimu agoberera emisingi gya Baibuli? Bwe kiba kityo, oyinza okuba oziyizibwa oba ng’onyigirizibwa. Ab’emikwano, ab’eŋŋanda, bayizi bano, bakozi bano bayinza okukusindiikiriza okumenya amateeka ga Katonda. Bayinza okugamba nti: “Tewali ayinza kumanya by’okoze, oba nti tetujja kutegeeza balala.” Basobola okukugamba nti si kya magezi okugoberera emitindo gya Baibuli egy’empisa kubanga Katonda tafaayo ku by’okola. Olw’okuba tekibasanyusa bw’ogaana okulowooza n’okukola nga bo, bayinza okukola kyonna kye basobola okukulemesa.
Kituufu, si kyangu okwaŋŋanga okuyigganyizibwa, naye kisoboka. Lowooza ku Enoka, omusajja ow’omusanvu okuva ku Adamu. (Yuda 14) Ekiseera Enoka we yazaalirwa, abantu bangi baali beeyisa bubi nnyo. Enjogera yaabwe yali enakuwaza; enneeyisa yaabwe yali ‘yeesisiwaza.’ (Yuda 15) Beeyisa mu ngeri y’emu ng’abantu bangi leero.
Enoka yasobola atya okwaŋŋanga embeera eyo? Eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo kya makulu gye tuli leero. Wadde Enoka ayinza okuba nga ye yali omusajja yekka ku nsi asinza Yakuwa, mazima ddala teyali yekka. Enoka yatambula ne Katonda.—Olubereberye 5:22.
Okusanyusa Katonda kye kyali ekikulu mu bulamu bwa Enoka. Yamanya nti okutambula ne Katonda kyali kisingawo ku kuba n’empisa ennyonjo mu bulamu. Yakuwa yali amusuubira okubuulira. (Yuda 14, 15) Abantu baali beetaaga okulabulwa nti ebikolwa byabwe ebibi Katonda yali abiraba. Enoka yeeyongera okutambula ne Katonda okumala emyaka egisukka mu 300—ekiseera ekiwanvu ennyo okusinga ekyo ffe kinnoomu kye tugumiikirizza. Okutuusa okufa kwe, yali atambula ne Katonda.—Olubereberye 5:23, 24.
Okufaananako Enoka, tuweereddwa omulimu ogw’okubuulira. (Matayo 24:14) Ng’oggyeko okubuulira nnyumba ku nnyumba, tugezaako okutuusa amawulire amalungi ku b’eŋŋanda, be tukola nabo mu bizineesi, ne be tusoma nabo. Kyokka, olumu tuyinza obutaba bavumu mu kubuulira. Naawe olina ekizibu ng’ekyo? Toggwamu maanyi. Koppa Abakristaayo ab’edda, era saba Katonda akuwe obuvumu. (Ebikolwa 4:29) Teweerabira nti bw’oba otambula ne Katonda, ddala oba toli wekka.
Nnamwandu Ateekateeka Ekijjulo
Kirowoozeeko, nnamwandu okufuna emikisa egy’emirundi ebiri olw’okubanga yateekateeka ekijjulo ekitono! Teyali Muisiraeri, wabula yali munnaggwanga eyaliwo mu kyasa eky’ekkumi B.C.E., mu kibuga Zalefazi. Ng’ekiseera eky’enjala kinaatera okuggwako, emmere ya nnamwandu kumpi yali eweddewo. Kye yali asigaza
lwali olubatu lw’obutta obwali busobola okukola ekijjulo kimu, ekimala ye ne mutabani we.Mu kiseera ekyo kyennyini omugenyi yatuuka. Yali nnabbi wa Katonda Eriya, eyasaba nnamwandu okumuwa ku mmere eyali entono. Emmere eyaliwo yali emala ye ne mutabani we, n’olwekyo teyalina ya kuwa mugenyi. Naye Eriya yamukakasa nga yeesigama ku kigambo kya Yakuwa nti, singa amuwaako ku mmere, nnamwandu ne mutabani we tebandirumiddwa njala nate. Kyali kyetaagisa okukkiriza nti Katonda wa Isiraeri yali asobola okulowooza ku nnamwandu oyo munnaggwanga. Kyokka, nnamwandu yakkiriza ebigambo bya Eriya, era Yakuwa yamuwa empeera. “Eppipa ey’obutta teyakendeera, so n’akasumbi k’amafuta tekaggwaawo, nga ekigambo kya Mukama bwe kyali kye yayogera mu Eriya.” Omukazi ono ne mutabani we baalina emmere eyabayisa mu kyeya.—1 Bassekabaka 17:8-16.
Kyokka, omukisa omulala gwali gulindiridde nnamwandu. Nga wayiseewo ekiseera oluvannyuma lw’ekyamagero ekyo, mutabani we omwagalwa yalwala era n’afa. Olw’ekisa, Eriya yasaba Yakuwa okuzzaawo obulamu bw’omulenzi. (1 Bassekabaka 17:17-24) Ekyo kyandyetaagisizza ekyamagero ekitabangawo. Tewaaliwo buwandiike obulaga nti waaliwo omuntu yenna eyali azuukiziddwako emabega! Yakuwa yandizeemu okusaasira nnamwandu munnaggwanga? Ye yamusaasira. Yakuwa yasobozesa Eriya okuzzaawo obulamu bw’omulenzi. Oluvannyuma Yesu yayogera bw’ati ku mukazi ono eyafuna enkizo: “Waaliwo bannamwandu bangi mu Isiraeri . . . [kyokka] Eriya yatumibwa . . . e Zalefazi mu nsi ya Sidoni eri omukazi nnamwandu.”—Lukka 4:25, 26.
Embeera y’eby’enfuna si nnungi, wadde ne mu nsi ezaakulaakulana edda. Amakampuni amanene gasazeeko abakozi baago bangi ababadde abeesigwa okumala emyaka mingi. Ng’ayolekaganye n’ebbula ly’emirimu, Omukristaayo ayinza okwesanga ng’amala ebiseera bingi ku mulimu, ng’asuubira nti kampuni ejja kumusigazza. Okukola kino kiyinza okumulemesa okufuna ebiseera okujja mu nkuŋŋaana, okwenyigira mu buweereza bw’ennimiro, oba n’okukola ku byetaago by’ab’omu maka ge, eby’omwoyo n’eby’enneewulira ez’omunda. Kyokka, ye awulira nti alina okusigaza omulimu gwe ka kibeere ki.
Omukristaayo ali mu mbeera y’eby’enfuna enzibu ng’eno alina ensonga entuufu okweraliikirira. Kizibu okufuna emirimu ennaku zino. Abasinga obungi ku ffe tetunoonya kugaggawala, naye nga nnamwandu ow’e Zalefazi, twagala okuba n’ebyetaago eby’obulamu. Kyokka, omutume Pawulo atujjukiza Katonda ky’agamba: “Sirikuleka n’akatono, so sirikwabulira n’akatono.” Tuyinza okwogera n’obukakafu nti: ‘Yakuwa ye mubeezi wange sijja kutya: omuntu anankola ki?’ (Abaebbulaniya 13:5, 6) Pawulo yali mwetegefu okuwaayo obulamu bwe olw’ekisuubizo kino, era Yakuwa yamulabirira. Mu ngeri y’emu Katonda ajja kutulabirira singa tetumwabulira.
Wadde tuyinza okulowooza nti tetuyinza kukola bintu eby’ekitalo nga Musa, Gidiyoni, ne Dawudi, kyokka tusobola okukoppa okukkiriza kwabwe. Era tuyinza n’okujjukira ebikolwa eby’okukkiriza Abbeeri, Enoka, ne nnamwandu ow’e Zalefazi bye baalaga. Yakuwa asanyukira ebikolwa byonna eby’okukkiriza—ne bwe biba bitono bitya. Omuyizi atya Katonda bw’agaana enjaga banne gye bamuwa, oba Omukristaayo bwe yeesamba empisa ez’obugwenyufu ku mulimu, oba Omujulirwa akuze mu myaka bw’abeerawo mu nkuŋŋaana z’ekibiina wadde nga talina maanyi oba nga mulwadde, Yakuwa ebyo byonna abiraba. Era asanyuka!—Engero 27:11.
Osiima Abalala Bye Bakola?
Yee, Yakuwa asiima bye tukola. N’olwekyo, ng’abantu abakoppa Katonda, tulina okusiima abalala bye bakola. (Abaefeso 5:1) Lwaki towaayo kiseera okumanya ebizibu Bakristaayo bano bye bayitamu okusobola okubaawo mu nkuŋŋaana z’ekibiina, okwenyigira mu buweereza bw’ennimiro, ne mu bulamu bwabwe obwa bulijjo?
Oluvannyuma lw’ekyo, laga basinza bano nti osiima bye bakola. Bajja kusanyuka nnyo olw’okubasiima era kino kiyinza n’okubakakasa nti Yakuwa naye asiima bye bakola.