Abaavu Beeyongera Kwavuwala
Abaavu Beeyongera Kwavuwala
“Teri kitundu kiyinza kukulaakulana era ne kibaamu abantu abasanyufu ng’abasinga obungi ku abo abakirimu baavu era banakuwavu.”
KAKENSA mu by’enfuna Adam Smith bw’atyo bwe yayogera mu kyasa eky’ekkumi n’omunaana. Bangi bakikkiriza nti ebigambo ebyo bye yayogera bituufu nnyo naddala mu kiseera kino. Enjawulo eriwo wakati w’abagagga n’abaavu erabikira ddala. Mu Philippines, kimu kya kusatu eky’abantu abaliyo beeyimirizaawo ku ssente ezitasukka ddoola emu ey’Amereka buli lunaku, so ng’ate ssente ezo zifunibwa mu ddakiika budakiika mu nsi engagga. Lipoota y’ekibiina ky’Amawanga Amagatte eya 2002 ekwata ku nkulaakulana y’abantu (Human Development Report 2002) egamba nti, “enfuna y’abantu bataano ku buli kikumi abasingayo obugagga mu nsi yonna ekubisaamu ey’abasingayo obwavu abataano ku buli kikumi, emirundi 114.”
Wadde ng’abantu abamu tebali bubi nnyo, bukadde na bukadde basenga busenzi mu bifo ebitali byabwe era ne bazimbamu obuyumba obutali bwa nkalakkalira. Ate abalala bali bubi nnyo n’okusingawo; basula ku nguudo, oboolyawo nga baalirirawo agapapulapapula oba obuveera. Bangi ku bo bafaabiina nnyo okusobola okwebeesaawo—nga balonderera mu kasasiro, nga beetikka emigugu, oba nga bakuŋŋaanya ebintu ebyasuulibwa basobole okubitunda bafunemu akasente.
Enjawulo eri wakati w’abagagga n’abaavu teri mu nsi ezikyakulaakulana zokka, naye era nga Banka ey’Ensi yonna bw’egamba: “Mu buli nsi eriyo ebitundu omusangibwa abaavu bokka.” Wadde nga waliwo abantu abali obulungiko, ka kibe mu Bangladesh oba mu Amereka, eriyo n’abo abafaabiina ennyo okufuna emmere emala oba aw’okuteeka oluba. Olupapula lw’amawulire oluyitibwa The New York Times lwajuliza alipoota ekwata ku kubala abantu mu Amereka okwaliwo mu 2001, eyalaga nti enjawulo eri wakati w’abagagga n’abaavu mu nsi eyo yeeyongeredde ddala. Lwagamba: ‘Ku nnyingiza y’amaka gonna ag’omu Amereka ey’omu 2001, kimu kya kubiri eky’ennyingiza eyo kyafunibwa bagagga. Abasingayo obwavu baafunako obutundu 3.5 ku buli kikumi.’ Embeera bw’etyo bw’eri ne mu nsi endala ate mu nsi ezimu esingako nawo obubi. Ekiwandiiko ekyafulumizibwa Banka ey’Ensi yonna kyalaga nti ku bantu bonna abali mu nsi, 57 ku buli kikumi, beeyimirizaawo ku ssente ezitasukka doola z’Amereka bbiri buli lunaku.
Ate n’ekisingawo obubi, mu mwaka 2002, abantu bangi baawulira bubi bwe baamanya ebyo ebikwata ku bakungu abaagaggawala
mu ngeri etaategeerekeka. Ka kibe nti tewali kye baakola kimenya mateeka, okusinziira ku ebyo ebiragibwa mu magazini eyitibwa Fortune, bangi balowooza nti abakungu abo “baali bagaggawadde nnyo eky’ensusso ne baba nga tebakyalimu na ka buntu.” Bwe batunuulira ebiriwo mu nsi, abamu bayinza okwebuuza engeri obuwumbi n’obuwumbi bwa ssente, obubalirirwa mu by’obugagga abamu bye balina gye buyinza okuba nga bwafunibwa mu makubo amatuufu ng’ate abantu abasinga obungi baavu lunkupe.Obwavu bwa Kubeerawo Lubeerera?
Kino tekitegeeza nti tewali muntu n’omu agezaako okuyamba abaavu. Abakungu ba gavumenti abalina ebiruubirirwa ebirungi n’ebibiina ebikola ku kuyamba abantu, biwadde amagezi agayinza okukozesebwa okukendeeza ku bwavu. Kyokka, tewannabaawo ssuubi kkakafu. Alipoota ekwata ku Nkulaakulana y’Abantu ey’omu 2002 (Human Development Report 2002) egamba nti “ensi nyingi zaavuwadde nnyo n’okusinga bwe zaali emyaka kkumi, abiri oba asatu egiyise,” wadde ng’abantu bataddemu amaanyi mangi okulwanyisa obwavu.
Kino kireetera abaavu obutaba na ssuubi? Osabibwa okusoma ekitundu ekiddako olabe amagezi ag’omuganyulo agayinza okubayamba kati awamu n’ebinaagonjoola ekizibu kino, oboolyawo bye wali tolowoozangako.