Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Koppa Katonda ow’Amazima

Koppa Katonda ow’Amazima

Koppa Katonda ow’Amazima

“Mukoppenga Katonda, ng’abaana abaagalwa.”​—ABAEFESO 5:1, NW.

1. Ndowooza ki abamu ze balina ku mazima, era lwaki endowooza zaabwe nkyamu?

“AMAZIMA kye ki?” (Yokaana 18:38) Ekibuuzo ekyo, Pontiyo Piraato kye yabuuza mu ngeri ey’obunyoomi kumpi emyaka nga 2,000 egiyise, kiraga nti kizibu nnyo okutegeera amazima. Bangi ekyo bakkiriziganya nakyo. Kyokka abantu balina endowooza za njawulo ku bikwata ku mazima. Oyinza okuba wawulirako nga boogera nti buli muntu ye yeesalirawo eky’amazima, oba nti teri mazima ga ddala, oba nti amazima gakyukakyuka buli kiseera. Endowooza ezo nkyamu. Ekiruubirirwa ky’okunoonyereza n’okufuna obuyigirize kwe kuzuula amazima agakwata ku nsi gye tulimu. Amazima tegeesigama ku ndowooza ya muntu. Ng’ekyokulabirako, omuntu alina emmeeme etafa oba tagirina. Setaani waali oba taliiwo. Obulamu bulina ekigendererwa oba tebukirina. Mu ebyo ebimenyeddwa waggulu, kimu ku bibiri kye kituufu. Byombi tebiyinza kuba bituufu.

2. Mu ngeri ki Yakuwa gy’ali Katonda ow’amazima, era bibuuzo ki bye tugenda okwekenneenya?

2 Mu kitundu ekivuddeko, twalabye nti Yakuwa ye Katonda ow’amazima. Amanyi amazima agakwata ku buli kintu. Okwawukanira ddala ku mulabe we Setaani Omulyolyomi omulimba, Yakuwa bulijjo ayogera mazima. Okugatta ku ekyo, Yakuwa talekaayo kutegeeza balala mazima. Omutume Pawulo yakubiriza Bakristaayo banne: “Mukoppenga Katonda, ng’abaana abaagalwa.” (Abaefeso 5:1, NW) Ng’Abajulirwa ba Yakuwa, tuyinza tutya okumukoppa mu kwogera amazima n’okugakolerako? Lwaki kikulu okukola ekyo? Era bukakafu ki bwe tulina nti Yakuwa asiima abo abagoberera amazima? Ka tulabe.

3, 4. Abatume Pawulo ne Peetero baayogera batya ku byandibaddewo mu ‘nnaku ez’oluvannyuma’?

3 Tuli mu kiseera ng’obulimba mu by’eddiini bucaase. Nga bwe kyalagulwa omutume Pawulo eyaluŋŋamizibwa Katonda, abantu bangi mu ‘nnaku zino ez’oluvannyuma’ balina ekifaananyi eky’okutya Katonda naye beegaana amaanyi gaakwo. Abamu bagaanira ddala amazima, olw’okuba ‘ebirowoozo byabwe byonoonefu nnyo.’ Ate era, ‘abantu ababi n’abalimba beeyongera okuba ababi, ne babuzaabuza abalala, era nabo ne babuzaabuzibwa.’ Wadde abantu ng’abo bayiga buli kiseera, tebafuna ‘kumanya kutuufu okukwata ku mazima.​—2 Timoseewo 3:1, 5, 7, 8, 13.

4 Era n’omutume Peetero yaluŋŋamizibwa okuwandiika ebikwata ku nnaku ez’oluvannyuma. Nga bwe yalagula, abantu tebakoma ku kugaana mazima kyokka naye era banyooma Ekigambo kya Katonda n’abo abalangirira amazima agakirimu. ‘Okusinziira ku ndowooza yaabwe,’ abasekerezi ng’abo beerabira nti ensi y’omu kiseera kya Nuuwa yabuutikirwa amataba, nga kiraga ekiribaawo mu kiseera kyaffe ku lunaku olw’okusalirako omusango. Endowooza yaabwe eyo enkyamu ejja kubaviiramu akabi ekiseera bwe kinaatuuka Katonda okuzikiriza ababi.​—2 Peetero 3:3-7.

Abaweereza ba Katonda Bamanyi Amazima

5. Okusinziira ku nnabbi Danyeri, kiki ekyandibaddewo mu ‘kiseera eky’enkomerero,’ era obunnabbi buno butuukiriziddwa butya?

5 Ng’ayogera ku ‘kiseera eky’enkomerero,’ nnabbi Danyeri yalagula embeera ey’enjawulo eyandibaddewo mu bantu ba Katonda​—okuzza obuggya amazima agakwata ku kusinza. Yawandiika: “Bangi [abalinoonyereza], n’okumanya kulyeyongera.” (Danyeri 12:4) Abantu ba Yakuwa tebabuzaabuziddwa oba okulimbibwa Omulimba omukulu. Nga banoonyereza mu Baibuli, bafunye okumanya okutuufu. Mu kyasa ekyasooka, Yesu yayigiriza abayigirizwa be. ‘Yabikkula emitima gyabwe ne bategeera Ebyawandiikibwa.’ (Lukka 24:45) Mu kiseera kyaffe, Yakuwa akoze kye kimu. Okuyitira mu Kigambo kye, omwoyo gwe, n’ekibiina kye, asobozesezza abantu ng’obukadde mukaaga mu nsi yonna okutegeera amazima.

6. Mazima ki aga Baibuli abantu ba Katonda ge bamanyi leero?

6 Ng’abantu ba Katonda, tutegedde ebintu bingi nnyo bye tutandisobodde kutegeera. Tumanyi eby’okuddamu mu bibuuzo ebibobbezza emitwe gy’abagezigezi mu nsi okumala emyaka n’emyaka. Ng’ekyokulabirako, tumanyi ensonga lwaki okubonaabona we kuli, lwaki abantu bafa, era ne lwaki abantu tebayinza kuleetawo mirembe na bumu. Era tutegedde ebiri mu biseera eby’omu maaso​—Obwakabaka bwa Katonda, olusuku lwe ku nsi, n’obulamu obutaggwaawo nga tuli batuukirivu. Tutegedde Yakuwa, Afuga Obutonde Bwonna. Tuyize ebikwata ku ngeri ze ezisikiriza n’ekyo kye tuteekwa okukola okufuna emikisa gye. Okumanya amazima kituyamba okwawulawo ekitali kya mazima. Okugoberera amazima kituyamba obutaluubirira bitaliimu, okufuna ekisingayo obulungi mu bulamu, era kituwa essuubi ery’ekitalo mu biseera eby’omu maaso.

7. Baani abayinza okutegeera amazima g’omu Baibuli era baani abatayinza kugategeera?

7 Otegeera amazima ga Baibuli? Bwe kiba bwe kityo olina enkizo ya maanyi nnyo. Omuntu bw’awandiika ekitabo, akiwandiika mu ngeri eyinza okusikiriza ekika ky’abantu abamu. Ebitabo ebimu biwandiikirwa abayivu, ebirala abaana, ate ebirala abakugu mu masomo agamu. Wadde nga Baibuli eyinza okufunibwa abantu bonna, yagendererwa okutegeerwa n’okusikiriza abantu abamu. Yakuwa yagikolera abeetoowaze abali ku nsi. Abantu ng’abo bayinza okutegeera Baibuli, ka babe na buyigirize ki, mu mbeera ki oba ba ggwanga ki. (1 Timoseewo 2:3, 4) Ku luuyi olulala, okutegeera Baibuli tekuweereddwa bataagala mazima, ka babe bagezi oba bayigirize batya. Ab’amalala tebayinza kutegeera mazima ga muwendo agali mu Kigambo kya Katonda. (Matayo 13:11-15; Lukka 10:21; Ebikolwa 13:48) Katonda yekka ye yali asobola okukola ekitabo ng’ekyo.

Abaweereza ba Yakuwa ba Mazima

8. Lwaki Yesu kennyini ye yali amazima?

8 Okufaananako Yakuwa, Abajulirwa be abeesigwa ba mazima. Yesu Kristo, Omujulirwa wa Yakuwa asingirayo ddala obukulu, yalagira ddala amazima olw’ebintu bye yayigiriza, engeri gye yayisaamu obulamu bwe n’engeri gye yafaamu. Yanywerera ku mazima g’omu kigambo kya Yakuwa n’ebisuubizo bye. N’olwekyo, Yesu kennyini ye yali amazima, nga ye kennyini bwe yagamba.​—Yokaana 14:6; Okubikkulirwa 3:14; 19:10.

9. Ebyawandiikibwa byogera ki ku kwogera amazima?

9 Yesu yali ‘ajjudde ekisa n’amazima’ era ‘mu kamwa ke temwali bukuusa.’ (Yokaana 1:14; Isaaya 53:9) Abakristaayo ab’amazima bagoberera ekyokulabirako Yesu kye yassaawo mu kwogera amazima eri abalala. Pawulo yabuulirira bakkiriza banne: “Mwogerenga amazima buli muntu ne munne: kubanga tuli bitundu bya bannaffe fekka na fekka.” (Abaefeso 4:25) Emabegako, nnabbi Zekkaliya yawandiika: “[Mwogerenga] eby’amazima buli muntu ne munne.” (Zekkaliya 8:16) Abakristaayo ba mazima kubanga baagala okusanyusa Katonda. Yakuwa wa mazima era amanyi akabi akava mu bulimba. N’olwekyo, asuubira abaweereza be okwogera amazima.

10. Lwaki abantu balimba, era bibi ki ebivaamu?

10 Bangi balimba okusobola okufuna bye baagala. Abantu balimba baleme okubonerezebwa, basobole okuganyulwa mu ngeri emu, oba okutenderezebwa abalala. Kyokka, obulimba kikolwa kibi. Okugatta ku ekyo, omulimba tayinza kusiimibwa Katonda. (Okubikkulirwa 21:8, 27; 22:15) Bwe tumanyibwa ng’ab’amazima, abalala bakkiriza bye twogera; batwesiga. Kyokka, singa tulimba wadde omulundi gumu, abalala bajja kubuusabuusa bye twogera. Olugero olumu mu Afirika lugamba nti: “Okulimba okumu bwe kuti kwonoona ebituufu lukumi.” Olugero olulala lugamba: “Omulimba by’ayogera tebikkirizibwa ne bwe biba bya mazima.”

11. Mu ngeri ki okuba ow’amazima gye kisingawo ku kwogera obwogezi amazima?

11 Okuba ow’amazima kisingawo ku kwogera obwogezi amazima. Ngeri ya bulamu. Kulaga kye tuli. Tutegeeza abalala amazima si okuyitira mu ebyo byokka bye twogera wabula n’ebyo bye tukola. “Gwe ayigiriza omulala, teweeyigiriza wekka?” bw’atyo omutume Pawulo bwe yabuuza. “Abuulira obutabbanga, obba? Ayogera obutayendanga, oyenda?” (Abaruumi 2:21, 22) Bwe tuba ab’okuyigiriza abalala amazima, tuteekwa okuba ab’amazima mu ngeri zonna. Bwe tunaamanyibwa ng’ab’amazima era abeesigwa, kijja kubaako kinene nnyo kye kikola ku ngeri abantu gye batwalamu bye tuyigiriza.

12, 13. Omuvubuka omu yawandiika ki ku mazima, era kiki ekyamusobozesa okunywerera ku mitindo gy’empisa egya waggulu?

12 Abato mu baweereza ba Yakuwa, nabo bategeera obukulu bw’okubeera ab’amazima. Mu mboozi gye baasabibwa okuwandiika ku ssomero, Jenny, eyalina emyaka 13, yawandiika bw’ati: “Obwesigwa kye kintu kye ntwala ng’ekikulu ennyo. Eky’ennaku, abantu abeesigwa leero si bangi. Ndi mumalirivu okubeera omwesigwa mu bulamu bwange. Era nja kubeera mwesigwa ne bwe kiba nti okwogera amazima kiyinza obutaŋŋanyulirawo wadde okuganyula mikwano gyange. Benfuula mikwano gyange beebo aboogera amazima era abeesigwa.”

13 Ng’ayogera ku mboozi ya Jenny, omusomesa we yagamba: “Wadde oli muto nnyo, ogoberera emitindo gy’empisa egya waggulu. Nkimanyi nti ojja kunywerera ku mitindo egyo kubanga oli mumalirivu.” Kiki ekyaviirako omuwala ono okuba omumalirivu okunywerera ku mitindo gy’empisa? Mu nnyanjula y’emboozi gye yawandiika, Jenny yagamba nti eddiini ye “ye muteerawo emitindo gy’empisa egy’okugoberera.” Waakayitawo emyaka musanvu kasookedde Jenny awandiika mboozi eyo. Ng’omusomesa we bwe yagamba, Jenny, yeeyongera okunywerera ku mitindo gy’empisa egya waggulu mu bulamu bwe ng’omu ku Bajulirwa ba Yakuwa.

Abaweereza ba Yakuwa Babikkula Amazima

14. Lwaki abaweereza ba Katonda bavunaanyizibwa nnyo okunywerera ku mazima?

14 Kya lwatu, ng’oggyeko Abajulirwa ba Yakuwa, abalala bayinza okwogera amazima era ne bagezaako okubeera abeesigwa. Kyokka, ng’abaweereza ba Katonda, tulina obuvunaanyizibwa bwa maanyi obw’okunywerera ku mazima. Tukwasiddwa amazima ga Baibuli​—amazima agayinza okutuusa omuntu mu bulamu obutaggwaawo. N’olwekyo, tulina obuvunaanyizibwa okubuulira abalala amazima ago. Yesu yagamba nti: “Buli eyaweebwa ebingi, alinoonyezebwako bingi.” (Lukka 12:48) Mazima ddala, ‘bingi binoonyezebwa’ ku abo abafunye okumanya okw’omuwendo okukwata ku Katonda.

15. Ssanyu ki ly’ofuna mu kuyigiriza abalala amazima ga Baibuli?

15 Okutegeeza abalala amazima ga Baibuli kireeta essanyu. Okufaananako abayigirizwa ba Yesu ab’omu kyasa ekyasooka, tulangirira amawulire amalungi​—obubaka obubuguumiriza obuwa essuubi​—eri ‘abasaasaanye ng’endiga ezitalina musumba’ n’eri abazibiddwa amaaso era ababuzaabuziddwa ‘enjigiriza za badayimooni.’ (Matayo 9:36; 1 Timoseewo 4:1) Omutume Yokaana yawandiika: “Sirina ssanyu lingi erisinga lino, okuwulira abaana bange nga batambulira mu mazima.” (3 Yokaana 4) Obwesigwa ‘bw’abaana’ ba Yokaana​—oboolyawo abo be yayigiriza amazima​—bwamuleetera essanyu ppitirivu. Kituleetera essanyu abantu bwe basiima Ekigambo kya Katonda.

16, 17. (a) Lwaki abantu bonna tebakkiriza mazima? (b) Ssanyu ki ly’oyinza okufuna ng’obuulira abalala amazima ga Baibuli?

16 Kyo kituufu nti bonna tebajja kukkiriza mazima. Yesu yayogera amazima agakwata ku Katonda, wadde ng’abantu abasinga obungi baali tebagaagala. Yagamba bw’ati Abayudaaya abaali bamuziyiza: “Kiki ekibalobedde okunzikiriza? Owa Katonda awulira ebigambo bya Katonda: mmwe kyemuva mulema okuwulira, kubanga temuli ba Katonda.”​—Yokaana 8:46, 47.

17 Ffe, okufaananako Yesu, tetulekaayo kwogera mazima agakwata ku Yakuwa. Tetusuubira buli omu kukkiriza bye tumubuulira, kubanga bonna tebakkiriza Yesu bye yayogera. Wadde kiri kityo, tuli basanyufu kubanga tumanyi nti kye tukola kituufu. Olw’ekisa kye, Yakuwa ayagala abantu bategeezebwe amazima. Ng’abo abalina amazima, Abakristaayo boolesa ekitangaala mu nsi ejjudde ekizikiza. Nga tuleka ekitangaala ky’amazima okwaka okuyitira mu bigambo n’ebikolwa byaffe, tuyinza okuyamba abalala okuwa Kitaffe ow’omu ggulu ekitiibwa. (Matayo 5:14, 16) Mu lujjudde tukimanyisa nti tetukkiriza ngeri Setaani gy’atwalamu amazima era ne tunywerera ku Kigambo kya Katonda. Amazima ge tumanyi era ge tubuulira abalala gayinza okuwa eddembe abo abagakkiriza.​—Yokaana 8:32.

Nywerera ku Mazima

18. Lwaki Yesu yasiima Nassanayiri, era yamusiima mu ngeri?

18 Yesu yayagala amazima era yayogeranga amazima. Mu buweereza bwe ku nsi, yasiima abantu ab’amazima. Yesu yayogera bw’ati ku Nassanayiri: “Laba Omuisiraeri wawu, ataliimu bukuusa!” (Yokaana 1:47) Oluvannyuma, Nassanayiri, kirabika era eyayitibwanga Battolomaayo, yalondebwa okubeera omu ku batume 12. (Matayo 10:2-4) Nga yafuna enkizo ya maanyi!

19-21. Omusajja eyaliko omuzibe yaweebwa atya omukisa olw’obuvumu bwe yalaga ng’ayogera amazima?

19 Essuula nnambirira mu kitabo kya Baibuli ekya Yokaana eyogera ku musajja omwesigwa Yesu gwe yawa omukisa. Tetumanyi linnya lye. Kye tumanyi kiri nti omusajja oyo yali masiikiini eyali omuzibe okuva bwe yazaalibwa. Abantu beewuunya nnyo Yesu bwe yamuzibula amaaso. Amawulire ag’okuwonyezebwa kuno mu ngeri ey’ekyamagero gaatuuka ku Bafalisaayo, abaali bataagalira ddala mazima, era abaali beekobaanye nti buli yenna eyandikkirizza Yesu yali wa kugobebwa mu kuŋŋaaniro. Nga bamanyi olukwe lwabwe, bazadde b’oyo eyali omuzibe abaali batidde ennyo baalimba Abafalisaayo nga bagamba nti baali tebamanyi ngeri mwana waabwe gye yatandikamu okulaba era n’oyo eyamuzibula amaaso.​—Yokaana 9:1-23.

20 Omusajja eyawonyezebwa yaddamu okuyitibwa mu maaso g’Abafalisaayo. Nga tafuddeyo ku kyonna ekyandimutuuseeko, n’obuvumu yayogera amazima. Yannyonnyola engeri gye yawonyezebwamu era n’abategeeza nti Yesu ye yamuwonya. Nga yeewuunya nti abasajja bano abatutumufu era abayivu tebakkiriza nti Yesu yali ava eri Katonda, awatali kutya kwonna, omusajja oyo eyawonyezebwa yabakubiriza okukkiriza amazima ageeyoleka ekyere ng’agamba: ‘Singa omusajja ono yali tava eri Katonda, yandibadde tayinza kukola kintu kyonna.’ Nga tebalina kya kumuddamu, Abafalisaayo baamuvunaana okubanyooma era ne bamusindika ebweru.​—Yokaana 9:24-34.

21 Yesu bwe yategeera ebibaddewo, yanoonya omusajja oyo. Oluvannyuma lw’okumuzuula, yeeyongera okunyweza okukkiriza kwe yalina. Mu lujjudde Yesu yagamba nti ye yali Masiya. Omusajja oyo nga yaweebwa omukisa olw’okwogera amazima! Mazima ddala Yakuwa asiima abo aboogera amazima.​—Yokaana 9:35-37.

22. Lwaki twandinyweredde ku mazima?

22 Okunywerera ku mazima twandikitutte ng’ekintu ekikulu. Kikulu nnyo bwe tuba ab’okufuna enkolagana ennungi n’abantu era ne Katonda. Okubeera ab’amazima kitegeeza okuba abeesimbu, abatuukirikika, era abeesigwa, era kireetera Yakuwa okutusiima. (Zabbuli 15:1, 2) Obutaba wa mazima kitegeeza okulimba, obutaba mwesigwa, okuwaayiriza era kiviirako Yakuwa obutatusiima. (Engero 6:16-19) N’olwekyo, beera mumalirivu okunywerera ku mazima. Mazima ddala, okusobola okukoppa Katonda ow’amazima, tuteekwa okumanya amazima, okwogera amazima era n’okukolera ku mazima.

Wandizzeemu Otya?

• Lwaki twandisanyuse okuba nti tumanyi amazima?

• Tuyinza tutya okukoppa Yakuwa mu kubeera ab’amazima?

• Miganyulo ki egiri mu kutegeeza abalala amazima agali mu Baibuli?

• Lwaki kikulu okunywerera ku mazima?

[Ebibuuzo]

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 29]

Abakristaayo banyiikira okubuulira abalala amazima ga Baibuli ge bakwasiddwa

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 31]

Omuzibe eyawonyezebwa Yesu yaweebwa omukisa olw’okwogera amazima