Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Nga Tannaba n’Oluvannyuma lw’Okufuna Amaanyi Okukyuka

Nga Tannaba n’Oluvannyuma lw’Okufuna Amaanyi Okukyuka

“Funa Enkolagana Ennungi ne Katonda, Naye Anaabeera Mukwano Gwo”

Nga Tannaba n’Oluvannyuma lw’Okufuna Amaanyi Okukyuka

SANDRA, omukyala ow’omu Mexico, yeeyogerako ng’eyali omubi mu maka g’ewaabwe. Olw’obutafiibwako n’obutalagibwa kwagala, emyaka gye egy’obutiini gyali mibi nnyo. Agamba: “Emyaka gyange gyonna egy’obutiini nnagimalako nga mpulira nti sirina mugaso era nga nneebuuza ekigendererwa ky’obulamu.”

Ng’ali mu ssomero lya sekendule, Sandra yatandika okunywa omwenge kitaawe gwe yalekanga awaka. Oluvannyuma lw’akaseera, yatandika okweguliranga omwenge era yafuuka lujuuju. Agamba: “Nnali nneetamiddwa obulamu.” Olw’okuba Sandra yalina ebirowoozo bingi, yatandika okukozesa enjaga. Agamba bw’ati: “Ekintu kyokka ekyannyambanga okwerabira ebizibu byange, ye ccuppa y’omwenge n’enjaga bye nnatambulanga nabyo mu kasawo kange.”

Ng’amaze okutendekebwa mu by’ekisawo, Sandra yeeyongera okunywa omwenge. Yagezaako okukomya obulamu bwe naye teyafa.

Talina buyambi bwonna bwe yafuna mu bya mwoyo mu madiini ag’enjawulo ge yagendamu. Nga amaze okuggwamu essuubi, yasabanga Katonda olutatadde nti: “Oli ludda wa? Lwaki tonnyamba?” Ekiseera we yawulirira ddala nti takyalina mugaso, Omujulirwa wa Yakuwa we yayogerera naye. Oluvannyuma baatandika okuyiga naye Baibuli. Sandra yakwatibwako nnyo bwe yamanya nti ‘Yakuwa ali kumpi n’abo abalina omutima ogumenyese.’​—Zabbuli 34:18.

Eyayigiriza Sandra Baibuli yamuyamba okutegeera nti Yakuwa Katonda amanyi nti tusobola okwonoona olw’obutali butuukirivu bwe twasikira okuva ku Adamu. Sandra yakizuula nti Katonda akimanyi nti tetusobola kutuukiriza mitindo gye mu bujjuvu. (Zabbuli 51:5; Abaruumi 3:23; 5:12, 18) Sandra yasanyuka okuyiga nti Yakuwa tatunuulira bunafu bwaffe, era tatusuubira kukola ekyo ekisukka ku busobozi bwaffe. Omuwandiisi wa Zabbuli yasaba: “Bw’onoobalanga ebitali bya butuukirivu, Ai Mukama, aliyimirira aluwa?”​—Zabbuli 130:3.

Ekintu ekikulu ennyo mu Baibuli ekyabuguumiriza Sandra, ye ssaddaaka ey’ekinunulo kya Yesu Kristo. Mu yo Yakuwa awa abantu be abawulize ennyimirira ennungi wadde nga si batuukirivu. (1 Yokaana 2:2; 4:9, 10) Yee, tusobola okusonyiyibwa ebibi byaffe era ne tulekera awo okuwulira nti tetusaana.​—Abaefeso 1:7.

Sandra alina kye yayigira ku kyokulabirako ky’omutume Pawulo. Pawulo yasiima nnyo ekisa kya Yakuwa Katonda olw’okusonyiwa ebibi bye n’okumuyamba okulwanyisa obunafu bwe yalina. (Abaruumi 7:15-25; 1 Abakkolinso 15:9, 10) Pawulo yalongoosa obulamu bwe, era ‘n’afuga omubiri gwe ng’omuddu’ asobole okusiimibwa Katonda. (1 Abakkolinso 9:27) Teyakkiriza bunafu bwe kumufuga ng’omuddu.

Obunafu bwa Sandra bwamutawaanyanga enfunda n’enfunda, naye yabulwanyisanga. Yasabanga Yakuwa amuyambe okuvvuunuka obunafu bwe era amusaasire. (Zabbuli 55:22; Yakobo 4:8) Olw’okukitegeera nti Yakuwa amufaako, Sandra yakyusa obulamu bwe. Agamba: “Nnina essanyu eriva mu kuyigiriza abalala Baibuli ekiseera kyonna.” Sandra yafuna enkizo okuyamba muganda we omukulu n’omuto okumanya Yakuwa. Nga yeeyongera okukola ‘ebirungi,’ Sandra akozesa obumanyirivu bw’alina mu by’ekisawo mu nkuŋŋaana ennene ez’Abajulirwa ba Yakuwa.​—Abaggalatiya 6:10.

Ate emize gya Sandra emibi? Agamba: “Ebirowoozo byange bitebenkevu. Sikyanywa mwenge, sikyafuuweeta sigala wadde okukozesa enjaga. Sikyabyetaaga. Nnazuula kye nnali nnoonya.”

[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ebiri ku lupapula 9]

“Nnazuula kye nnali nnoonya”

[Akasanduuko akali ku lupapula 9]

Emisingi gya Baibuli Egiganyula

Gino wammanga gye gimu ku misingi gya Baibuli egiyambye abantu bangi okwekutula ku mize emibi:

“Twenaazengako obugwagwa bwonna obw’omubiri n’obw’omwoyo, nga tutuukiriza obutukuvu mu kutya Katonda.” (2 Abakkolinso 7:1) Katonda awa omukisa abo abeenaazizaako eby’obugwagwa, ne beewala ebikolwa ebitali bya butuukirivu.

“Okutya Mukama kwe kukyawa obubi.” (Engero 8:13) Okutya Yakuwa ng’omuwa ekitiibwa kiyamba omuntu okwekutula ku mize emibi, nga mw’otwalidde n’okunywa enjaga. Ng’oggyeko okuba nti asanyusa Yakuwa, omuntu akyusizza obulamu bwe aba yeekuuma okuva ku ndwadde ez’akabi.

‘Mugonderenga abakulu abafuga n’abalina obuyinza.’ (Tito 3:1) Mu bitundu bingi okusangibwa n’enjaga oba okugikozesa kimenya amateeka. Abakristaayo ab’amazima tebakozesa njaga mu bukyamu.